LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w06 8/1 lup. 23-27
  • Beera wa Magezi—Tya Katonda!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Beera wa Magezi—Tya Katonda!
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okuyiga Okutya Katonda
  • Okutya Katonda nga Twolekaganye n’Ebizibu
  • Okutya Katonda Lwe Kwaddirira
  • Okutya Katonda Kutuziyiza Okwonoona
  • Tya Yakuwa—Beera Musanyufu!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Sanyukira mu Bulamu obw’Okutya Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Kulaakulanya Omutima Ogutya Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
  • ‘Njigiriza Okukola by’Oyagala’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
w06 8/1 lup. 23-27

Beera wa Magezi​—Tya Katonda!

“Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera.”​—ENGERO 9:10.

1. Lwaki eky’okutya Katonda bangi kibazibuwalira okutegeera?

WALIWO ekiseera omuntu bwe yayogerwangako nti atya Katonda, ng’abantu bakitwala okuba ekintu ekirungi. Naye ennaku zino si bwe kiri era eky’okutya Katonda bangi kibazibuwalira okutegeera. Bayinza okubuuza nti, bwe kiba nti “Katonda kwagala,” ‘lwaki twandimutidde?’ Gye bali, okutya si kintu kirungi, era kireetera omuntu okutabulwatabulwa. Kyokka, okutya Katonda kulina amakulu mangi, era nga bwe tujja okulaba, si nneewulira bwewulizi omuntu gy’aba nayo.

2, 3. Okutya Katonda kuzingiramu ki?

2 Mu Baibuli, okutya Katonda kwogerwako ng’ekintu ekirungi. (Isaaya 11:3) Okutya Katonda kitegeeza okumuwa ekitiibwa eky’amaanyi era n’okwewala okukola ekintu kyonna ekimunyiiza. (Zabbuli 115:11) Kuzingiramu okukkiriza n’okunywerera ku mitindo gya Katonda era n’okwagala okugoberera ekyo Katonda ky’agamba nti kye kituufu, oba okwewala ekyo ky’agamba nti kikyamu. Ekitabo ekimu kigamba nti, okutya okw’ekika ekyo kwoleka “endowooza omuntu gy’aba nayo eri Katonda era emuviirako okweyisa mu ngeri ey’amagezi n’okwewala okukola ekintu kyonna ekibi.” Nga kituukirawo, Ekigambo kya Katonda kitugamba nti: “Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera.”​—Engero 9:10.

3 Okutya Katonda kuzingiramu ebintu bingi ebikwata ku muntu. Tekukwataganyizibwa na magezi gokka, wabula era n’essanyu, emirembe, obugagga, okuwangaala, essuubi, n’obwesige. (Zabbuli 2:11; Engero 1:7; 10:27; 14:26; 22:4; 23:17, 18; Ebikolwa 9:31) Ate era, kukwataganyizibwa n’okukkiriza era n’okwagala. Mu butuufu, kuzingiramu enkolagana yaffe ne Katonda era ne bantu bannaffe. (Ekyamateeka 10:12; Yobu 6:14; Abaebbulaniya 11:7) Okutya Katonda kuzingiramu okuba abakakafu nti Kitaffe ow’omu ggulu atufaako kinnoomu era nti mwetegefu okutusonyiwa ebibi byaffe. (Zabbuli 130:4 ) Ababi abateenenya be bokka abasaanidde okuba n’entiisa mu maaso ga Katonda.a​—Abaebbulaniya 10:26-31.

Okuyiga Okutya Katonda

4. Kiki ekiyinza okutuyamba “okuyiga okutya Yakuwa”?

4 Okuva bwe kiri nti okutya Katonda kwetaagisa okusobola okusalawo mu ngeri ey’amagezi era n’okufuna emikisa gye, tuyinza tutya ‘okuyiga okutya Yakuwa’? (Ekyamateeka 17:19) Ebyokulabirako bingi eby’abasajja n’abakazi abatya Katonda byawandiikibwa mu Baibuli ‘okutuyigiriza.’ (Abaruumi 15:4) Okusobola okutuyamba okutegeerera ddala kye kitegeeza okutya Katonda, ka twekenneenye obulamu bw’omu ku bantu abo, Kabaka Dawudi owa Isiraeri ey’edda.

5. Okulunda endiga ekiro kwayamba kutya Dawudi okuyiga okutya Yakuwa?

5 Yakuwa yagaana Sawulo, kabaka wa Isiraeri eyasooka, olw’okuba yali atya abantu mu kifo ky’okutya Katonda. (1 Samwiri 15:24-26) Ku luuyi olulala, obulamu bwa Dawudi n’enkolagana ey’oku lusegere gye yalina ne Yakuwa biraga nti ddala yali muntu atya Katonda. Okuviira ddala ng’akyali muto, Dawudi yalundanga ndiga za kitaawe. (1 Samwiri 16:11) Okulunda endiga mu budde obw’ekiro kiteekwa okuba nga kyamuyamba okuyiga okutya Yakuwa. Wadde nga Dawudi yalaba akatundu katono nnyo ku bwengula obwagaagavu, yatuuka ku kusalawo okutuufu​—abantu basaanidde okussa ekitiibwa mu Katonda n’okumutendereza. Dawudi yagamba: “Bwe ndowooza eggulu lyo, omulimu gw’engalo zo, omwezi n’emmunyeenye, bye walagira; omuntu kye ki gwe okumujjukira oba omwana w’omuntu gwe okumujjira?”​—Zabbuli 8:3, 4.

6. Dawudi yawulira atya bwe yategeera obukulu bwa Yakuwa?

6 Dawudi yalaba nga talina bw’ali bwe yeegeraageranya ku ggulu erijjudde emmunyeenye. Mu kifo ky’okufuna entiisa, bye yalaba byamuleetera okutendereza Yakuwa era n’agamba nti: “Eggulu lyogera ekitiibwa kya Katonda: n’ebbanga libuulira emirimu gy’emikono gye.” (Zabbuli 19:1) Okutendereza Katonda olw’emirimu gye kyaleetera Dawudi okufuna enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa era n’okwagala okuyiga amakubo ge era n’okugagoberera. Teeberezaamu engeri Dawudi gye yawuliramu bwe yayogera ku Yakuwa nti: “Ggwe mukulu, era okola eby’ekitalo: ggwe Katonda wekka. Onjigirizenga ekkubo lyo, ai Mukama; naatambuliranga mu mazima go: Ogatte wamu omutima gwange gutye erinnya lyo.”​—Zabbuli 86:10, 11.

7. Okutya Katonda kwayamba kutya Dawudi okulwanyisa Goliyaasi?

7 Abafirisuuti bwe baalumba Isiraeri, Goliyaasi, omulwanyi waabwe omuzira, eyali aweza ffuuti mwenda n’ekitundu, yasoomooza Abaisiraeri ng’abagamba nti: ‘Mwerondere omusajja okulwana nange. Bw’anaanzita, kale tunaaba baddu bammwe.’ (1 Samwiri 17:4-10) Sawulo n’eggye lye lyonna baatya nnyo naye Dawudi ye teyatya. Yamanya nti Yakuwa gw’alina okutya, so si muntu mulala yenna k’abe wa maanyi kwenkana wa. Dawudi yagamba Goliyaasi nti: “Njija gy’oli mu linnya lya Mukama ow’eggye era ekibiina kino kyonna kitegeere nga Mukama talokola na kitala na ffumu: kubanga olutalo lwa Mukama.” Ng’akozesa envuumuulo n’ejjinja awamu n’obuyambi bwa Yakuwa, Dawudi yatta Goliyaasi.​—1 Samwiri 17:45-47.

8. Ebyokulabirako by’omu Baibuli eby’abantu abatya Katonda bituyigiriza ki?

8 Tuyinza okuba nga twolekaganye n’abalabe oba n’ebizibu ebifaananako ebyo Dawudi be yayolekagana nabyo. Kiki kye tuyinza okukola? Tusobola okubyaŋŋanga mu ngeri y’emu nga Dawudi n’abaweereza ba Katonda abalala abeesigwa​—nga tutya Katonda. Okutya Katonda kutusobozesa okuvvuunuka okutya abantu. Nekkemiya omuweereza wa Katonda omwesigwa yakubiriza Baisiraeri banne, abaali baziyizibwa abalabe baabwe ng’abagamba nti: “Temubatya: mujjukire Mukama omukulu ow’entiisa.” (Nekkemiya 4:14) N’obuyambi bwa Yakuwa, Dawudi, Nekkemiya, n’abaweereza ba Katonda abalala, baasobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa Katonda bwe yabawa. Naffe bwe tuba tutya Katonda tusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa bw’atuwa.

Okutya Katonda nga Twolekaganye n’Ebizibu

9. Mu mbeera ki Dawudi mwe yalagira nti atya Katonda?

9 Oluvannyuma lwa Dawudi okutta Goliyaasi, Yakuwa yamusobozesa okuwangula entalo endala. Sawulo eyalina obuggya, yagezaako okutta Dawudi​—okusooka yayagala okumugwikiriza, olulala ng’amukolera olukwe, ate mu nkomerero ng’akozesa amagye. Wadde nga Yakuwa yali akakasizza Dawudi nti ajja kuba kabaka, okumala emyaka yalina okudduka, okulwana, n’okulindirira okutuusa Yakuwa bwe yandimufudde kabaka. Mu bino byonna, Dawudi yakiraga nti atya Katonda ow’amazima.​—1 Samwiri 18:9, 11, 17; 24:2.

10. Dawudi yalaga atya nti atya Katonda bwe yali ng’ayolekaganye n’akabi?

10 Lumu, Dawudi yaddukira ewa Akisi, kabaka w’ekibuga Gaasi eky’Abafirisuuti, Goliyaasi gye yali abeera. (1 Samwiri 21:10-15) Abaweereza ba kabaka oyo baagamba nti Dawudi yali mulabe wa ggwanga lyabwe. Dawudi yakola ki mu mbeera eyo enzibu? Yeeyabiza Yakuwa mu kusaba. (Zabbuli 56:1-4, 11-13) Wadde nga Dawudi yalina okwefuula omuzoole asobole okudduka ave mu kifo ekyo, yakimanya nti Yakuwa ye yali amununudde ng’awa omukisa okufuba kwe. Dawudi okwemalira ku Yakuwa n’okumussaamu obwesige kyalaga nti yali atya Katonda.​— Zabbuli 34:4-6, 9-11.

11. Tusobola tutya okulaga nti tutya Katonda nga Dawudi bwe tuba tugezesebwa ?

11 Okufaananako Dawudi, naffe tusobola okulaga nti tutya Katonda nga tukkiririza mu kisuubizo kye eky’okutuyamba okwaŋŋanga ebizibu byaffe. Dawudi yagamba: “Olugendo lwo luyiringisizenga ku Mukama; era weesigenga oyo, naye anaakituukirizanga.” (Zabbuli 37:5) Kino tekitegeeza nti ebizibu byaffe tubikwasa bukwasa Yakuwa ffe nga tetulina kye tukolawo ne tusuubira nti ajja kubitugonjoolera. Dawudi teyasaba Katonda okumuwa obuyambi ate n’atabaako ky’akolawo. Yakozesa amaanyi n’amagezi Yakuwa bye yamuwa okwaŋŋanga ebizibu bye yali ayolekaganye nabyo. Kyokka, Dawudi yakimanya nti obusobozi bw’omuntu ku bwabwo tebuyinza kumusobozesa kutuuka ku buwanguzi. Naffe twandibadde n’endowooza ng’eyo. Bwe tumala okukola kyonna kye tusobola, ebisigadde tubirekera Yakuwa. Mu butuufu, emirundi mingi tuba tetulina kya kukola okuggyako okwesiga Yakuwa. Ekyo kiraga nti tutya Katonda. Tuyinza okufuna okubudaabudibwa mu bigambo bya Dawudi bino nti: ‘Mukama aba mukwano gw’abo abamutya.’​— Zabbuli 25:14.

12. Lwaki okusaba kwaffe twandikututte nga kukulu era ndowooza ki gye tutalina kuba nayo?

12 N’olwekyo, okusaba n’enkolagana yaffe ne Katonda tusaanidde okubitwala nga bikulu. Bwe tuba tusaba, tuteekwa “okukkiriza nga Katonda waali, era nga ye mugabi w’empeera eri abo abamunoonya.” (Abaebbulaniya 11:6; Yakobo 1:5-8) Bw’atuyamba, twandibadde ‘tumwebaza’ ng’omutume Pawulo bwe yatukubiriza. (Abakkolosaayi 3:15, 17) Tetuteekwa kuba ng’abo Omukristaayo eyafukibwako amafuta be yayogerako nti: “Balowooza nti Katonda alinga omuweereza mu wooteeri. Bwe baba nga balina kye baagala bamuwenyako n’ajja. Bwe bamala okufuna kye baagala baba baagala agende.” Endowooza ng’eyo eraga nti omuntu aba tatya Katonda.

Okutya Katonda Lwe Kwaddirira

13. Dawudi yalemererwa atya okugoberera Amateeka ga Katonda?

13 Dawudi bwe yafuna obuyambi bwa Yakuwa ng’ayolekaganye n’ebizibu, kyamuleetera okweyongera okumutya era n’okumwesiga. (Zabbuli 31:22-24) Kyokka, emirundi esatu mirambirira, okutya Dawudi kwe yalina eri Katonda kwaddirira, era ebyavaamu byali bibi nnyo. Ku mulundi ogwasooka, yakola enteekateeka essanduuko y’endagaano n’etwalibwa e Yerusaalemi ku kigaali mu kifo ky’okugitwalira ku bibegabega by’Abaleevi ng’Amateeka ga Katonda bwe gaali galagira. Uzza eyali akulembera ekigaali bwe yakwata ku Ssanduuko okugitereeza, yafiirawo ‘olw’ekyonoono kye.’ Mazima ddala, Uzza yakola ekibi eky’amaanyi, kyokka, Dawudi okulemererwa okugoberera Amateeka ga Katonda kye kyaviirako akabi ako okubaawo. Okutya Katonda kitegeeza okukola ebintu nga tugoberera enteekateeka ye.​— 2 Samwiri 6:2-9; Okubala 4:15; 7:9.

14. Kiki ekyavaamu Dawudi bwe yabala Abaisiraeri?

14 Ku mulundi omulala, Setaani yaleetera Dawudi okubala abantu abaali mu ggye lya Isiraeri. (1 Ebyomumirembe 21:1) Ekyo nakyo kyalaga nti Dawudi yali addiridde mu kutya Katonda, era kyaviirako Abaisiraeri 70,000 okufa. Wadde nga Dawudi yeenenyeza Yakuwa, ye n’abo be yali nabo baabonaabona nnyo.​—2 Samwiri 24:1-16.

15. Kiki ekyaleetera Dawudi okugwa mu bwenzi?

15 Ku mulundi omulala, okuddirira mu kutya Katonda kwamuviirako okwenda ne Basuseba mukazi wa Uliya. Dawudi yali akimanyi nti kikyamu okwenda oba okwegomba mukazi w’omuntu omulala. (Okuva 20:14, 17) Ekizibu ekyo, kyatandika Dawudi bwe yatunuulira Basuseba ng’anaaba. Okutya Katonda kwandireetedde Dawudi obutatunuulira Basuseba era n’okussa ebirowoozo bye ku kintu ekirala. Mu kifo ky’ekyo, Dawudi ‘yeeyongera okumutunuulira’ okutuusa bwe yatwalirizibwa okwegomba n’alekera awo okutya Katonda. (Matayo 5:28; 2 Samwiri 11:1-4) Dawudi yeerabira nti Yakuwa yali alaba buli kyonna kye yali akola mu bulamu bwe.​— Zabbuli 139:1-7.

16. Dawudi yafuna bizibu ki olw’okwonoona?

16 Dawudi yazaala omwana ow’obulenzi mu Basuseba. Nga wayiseewo akaseera katono, Yakuwa yatuma nnabbi Nasani okwanika ekibi kya Dawudi. Bwe yeekuba mu kifuba, Dawudi yaddamu okutya Katonda era ne yeenenya. Yasaba Yakuwa obutamwabulira n’obutamuggyako mwoyo gwe. (Zabbuli 51:7, 11) Yakuwa yasonyiwa Dawudi era n’akendeeza ku kibonerezo kye, naye teyamukugira kutuukibwako ebyandivudde mu ebyo bye yakola. Mutabani wa Dawudi yafa, era okuva olwo yatandika okufuna ebizibu mu maka ge. Nga yafuna ebizibu bingi nnyo olw’okuddirira mu kutya Katonda!​—2 Samwiri 12:10-14; 13:10-14; 15:14.

17. Waayo ekyokulabirako ekiraga ennaku eva mu kukola ekibi?

17 Leero, omuntu bw’alemererwa okutya Katonda kiyinza okumuviirako ebizibu eby’amaanyi. Teeberezaamu obulumi omukyala omu bwe yafuna bwe yakitegeera nti bbaawe Omukristaayo yali takuumye bwesigwa ng’akola emirimu emitala w’amayanja. Ennaku n’obulumi bye yalina byamuleetera okukaaba ennyo. Kirimutwalira banga ki okuddamu okwesiga bbaawe? Akabi ng’ako kasobola okwewalibwa singa omuntu atya Katonda.​—1 Abakkolinso 6:18.

Okutya Katonda Kutuziyiza Okwonoona

18. Setaani alina kiruubirirwa ki era nkola ki gy’akozesa?

18 Setaani yeeyongera okwonoona emitindo gy’empisa mu nsi era okusingira ddala ayagala okusuula Abakristaayo ab’amazima. Okusobola okukola ekyo, akozesa ekintu ekiyinza okutuuka amangu ku mitima gyaffe n’ebirowoozo​—ng’ayitira mu kulaba n’okuwulira. (Abaefeso 4:17-19) Wandikoze ki singa mu butali bugenderevu olaba ebifaananyi eby’obugwenyufu, oba owulira ebigambo ebibi oba ne weesanga ng’oli n’abantu ababi?

19. Okutya Katonda kwa yamba kutya Omukristaayo omu okwewala okukemebwa?

19 Lowooza ku Andréb, omukadde mu kibiina, taata era nga musawo mu Bulaaya. Bwe yali ng’akola ekiro mu ddwaliro, bakozi banne abakazi baawandiikanga obubaluwa obw’omukwano ne babuteeka ku mutto gwe nga baagala beetabe naye. André yagaanira ddala okubeesembereza. Okusobola okwewala embeera ng’ezo embi, yafuna omulimu mu kifo ekirala. Kyali kya magezi okutya Katonda era kyamuviiramu okufuna emikisa kubanga leero André aweereza ku ttabi lya ofiisi y’Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi ye.

20, 21. (a) Okutya Katonda kuyinza kutya okutuyamba okwewala okukola ekibi? (b) Kiki kye tujja okwekenneenya mu kitundu ekiddako?

20 Omuntu bw’assa ennyo ebirowoozo ku bintu ebibi, kiyinza okumuviirako okusuula omuguluka enkolagana ey’omuwendo gy’alina ne Yakuwa n’akola ekintu ekibi. (Yakobo 1:14, 15) Ku luuyi olulala, bwe tutya Yakuwa, tujja kwewalira ddala abantu, ebifo, emirimu, n’eby’amasanyu ebiyinza okwonoona empisa zaffe. (Engero 22:3) Ne bwe kiba nti ekyo kituviirako okuswala oba okubaako kye twefiiriza, ebyo bitono nnyo bw’obigeraageranya n’okufiirwa enkolagana ennungi gye tulina ne Katonda. (Matayo 5:29, 30) Okutya Katonda kizingiramu obuteesembereza kintu kyonna eky’obugwenyufu, nga mw’otwalidde ebifaananyi eby’obugwenyufu eby’engeri yonna, era kutwetaagisa ‘okuwunjula amaaso gaffe obutalaba bitaliimu.’ Bwe tukola bwe tutyo tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa ajja ‘kutuwonyaawo’ era atuwe buli kimu kye twetaaga.​—Zabbuli 84:11; 119:37.

21 Mazima ddala, kiba kya magezi okutya Katonda era kiviirako okufuna essanyu erya nnamaddala. (Zabbuli 34:9) Kino tujja kweyongera okukyekenneenya mu kitundu ekiddako.

[Obugambo obuli wansi]

a Laba ekitundu ekirina omutwe “Endowooza ya Baibuli: Oyinza Otya Okutya Katonda ow’Okwagala?” mu Awake! aka Jjanwali 8, 1998, akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

b Erinnya likyusiddwa.

Osobola Okunnyonnyola

• Okutya Katonda kuzingiramu ngeri ki ez’Ekikristaayo?

• Okutya Katonda kutusobozesa kutya okuvvuunuka okutya abantu?

• Tusobola tutya okulaga nti tulina endowooza ennungi ku kusaba?

• Okutya Katonda kusobola kutya okutuyamba obutakola kibi?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 25]

Dawudi yayiga okutya Katonda bwe yekkaanya emirimu gy’engalo za Katonda

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 26]

Kiki kye wandikoze bwe weesanga mu mbeera egezesa?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share