Ensonga Lwaki Okubonaabona Kwonna Kunaatera Okukoma
“Lwazi, omulimu gwe gwatuukirira.”—EKYAMATEEKA 32:4.
1, 2. (a) Lwaki essuubi ly’okuba omulamu emirembe gyonna olitwala nga lya muwendo? (b) Kiki ekiremesa abasinga okukkiririza mu Katonda asuubiza ebintu ebirungi mu biseera ebijja?
OTERA okulowooza ku bulamu nga bwe bulibeera mu Lusuku lwa Katonda? Oyinza okuba ng’okuba akafaanyi ng’otambula mu bitundu by’ensi eno ennungi ennyo ebitali bimu era ng’olina ebintu bingi by’oyiga. Oboolyawo olowooza ku ssanyu ly’onoofuna ng’okola n’abalala okufuula ensi eno ekifo ekirabika obulungi. Oba oyinza okuba ofumiitiriza ku bitone by’osobola okukulaakulanya, gamba ng’okuzimba, okukuba ebivuga, n’ebintu ebirala by’otosobola kukola kati olw’obutaba na biseera. K’obe ng’otera okukirowoozaako oba nedda, essuubi ly’okuba mu ekyo Baibuli ky’eyita ‘obulamu obwa nnamaddala,’ obulamu obutaggwaawo Yakuwa bw’atwagaliza, olitwala nga lya muwendo.—1 Timoseewo 6:19.
2 Si kya ssanyu era si nkizo ya maanyi okubuulirako abalala ku ssuubi lino ery’omu Baibuli lye tulina? Kyokka, bangi tebeefiirayo ku bye tubabuulira. Babitwala ng’ekirooto obulooto, era nti abo abatalina kye bamanyi be bakkiriza ebyo. Bayinza n’okukisanga nga kizibu okukkiririza mu Katonda asuubiza nti abantu bajja kuba balamu emirembe gyonna mu nsi ennungi. Lwaki? Abamu ekibalemesa okukkiriza kwe kuba nti waliwo obubi bungi. Bawulira nti singa Katonda gy’ali, nga ye muyinza wa buli kantu era ng’ayagala abantu, teyandikkiriza bubi kubeerawo. Bagamba nti Katonda tasobola kukkiriza bubi bwa kika kino kubaawo era nti ddala bw’aba gy’ali—si ye muyinza w’ebintu byonna oba nti tatufaako. Endowooza eno bangi bakkiriziganya nayo. Mu butuufu Setaani akiraze nti mukugu nnyo mu kubuzaabuza abantu.—2 Abakkolinso 4:4.
3. Kibuuzo ki ekizibu kye tusobola okuyamba abantu okufuna eky’okuddamu, era lwaki ffe tusobola bulungi okukikola?
3 Ng’Abajulirwa ba Yakuwa, tusobola bulungi okuyamba abantu abalimbibwa Setaani n’amagezi g’ensi eno. (1 Abakkolinso 1:20; 3:19) Tutegeera bulungi ensonga lwaki bangi tebakkiririza mu bisuubizo bya Baibuli. Yakuwa tebamumanyi bulungi. Bayinza okuba nga tebamanyi linnya lye oba obukulu bwalyo, oba okuba nga bamanyi kitono nnyo ku ngeri ze oluusi n’obutazimanyirako ddala era nga tebamanyi nti atuukiriza ebisuubizo bye. Ffe tuli ba mukisa okuba nti tumanyi ebintu nga bino. Kirungi okulowooza ku ngeri gye tuyinza okuyamba abantu ‘abali mu kizikiza’ basobole okufuna eky’okuddamu mu kimu ku bibuuzo ebisingayo okuba ebizibu abantu bye babuuza, “Lwaki Katonda aleseewo obubi n’okubonaabona?” (Abaefeso 4:18) Okusooka tugenda kwetegereza engeri gye tusobola okukwatamu obulungi ekibuuzo ekyo. Oluvannyuma tujja kulaba engeri za Yakuwa bwe zeeyolekera mu ngeri gy’akuttemu ensonga ekwata ku bubi n’okubonaabona.
Engeri Ennungi ey’Okukiddamu
4, 5. Omuntu abuuza nti lwaki Katonda aleseewo okubonaabona, tuyinza kumuddamu tutya? Nnyonnyola.
4 Omuntu bw’abuuza nti lwaki Katonda aleseewo obubi n’okubonaabona, tumuddamu tutya? Tuyinza okwagala okumunnyonnyola buli kimu nga tutandikira ku byaliwo mu lusuku Adeni. Oluusi kino kiyinza okuba ekirungi. Naye tulina okuba abeegendereza. Kiyinza okutwetaagisa okubaako bye tulowoozaako okusooka. (Engero 25:11; Abakkolosaayi 4:6) Ka tulabe ensonga ssatu ze tusobola okukozesa kuyamba omuntu nga tetunnaba kutandika kuddamu kibuuzo.
5 Esooka, singa omuntu alabika nga mwennyamivu nnyo olw’obubi obuyitiridde mu nsi, kyandiba nti waliwo ekintu ekibi ekyamutuukako oba ekyatuuka ku baagalwa be. Kati olwo kiyinza okuba eky’amagezi okusooka okumusaasira. Omutume Pawulo yabuulirira Abakristaayo nti: “Mukaabirenga wamu n’abo abakaaba.” (Abaruumi 12:15) Omuntu bw’omulaga nti omulumirirwa era ‘bw’omusaasira,’ ayinza okukwatibwako. (1 Peetero 3:8) Bw’akitegeera nti tumufaako kiyinza okumuleetera okuwuliriza bye tumubuulira.
6, 7. Omuntu bw’abuuza ekibuuzo ekimutawaanya ekikwata ku by’omwoyo, lwaki twandimwebazizza?
6 Ey’okubiri, tuyinza okusiima omuntu olw’okubuuza ekibuuzo ekyo. Abantu abamu balowooza nti omuntu bwe yeebuuza ebibuuzo ng’ebyo aba talina kukkiriza oba nti tassa kitiibwa mu Katonda. Kiyinza n’okuba nti bwe batyo abakulembeze b’eddiini bwe baabagamba. Kyokka, kino kiyinza obutategeeza nti omuntu talina kukkiriza, gwe ate oba n’abantu abeesigwa mu biseera bya Baibuli beebuuza ebibuuzo ng’ebyo. Ng’ekyokulabirako, omuwandiisi wa zabbuli Dawudi yabuuza: “Kiki ekikuyimirizisizza ewala, ai Mukama? Kiki ekikwekwesezza mu biro eby’ennaku?” (Zabbuli 10:1) Mu ngeri y’emu, nnabbi Kaabakuuku yabuuza nti: “Ai Mukama, ndituusa wa okukaaba, naawe nga tokkiriza kuwulira? Nkukaabirira olw’eby’ekyejo, so tokkiriza kulokola. Onjoleseza ki obutali butuukirivu n’otunuulira obukyamu? [K]ubanga okunyaga n’ekyejo biri mu maaso gange: era waliwo empaka, n’okuyomba kubaawo.”—Kaabakuuku 1:2, 3.
7 Bano baali basajja beesigwa abaali bawa ennyo Katonda ekitiibwa. Baakola bubi okubuuza ebibuuzo ng’ebyo? Nedda, kubanga singa kyali bwe kityo, Yakuwa teyandikkirizza biwandiikibwe mu Kigambo kye. Omuntu bw’aba yeebuuza ensonga lwaki waliwo obubi bungi, ayinza okuba nga muyala mu by’omwoyo era ng’ayagala okufuna eby’okuddamu okuva mu Baibuli. Jjukira nti Yesu yasiima abo abaalaga nti ‘bamanyi obwetaavu bwabwe ebw’eby’omwoyo.’ (Matayo 5:3) Nga nkizo ya maanyi okuyamba abalinga abo okufuna essanyu Yesu lye yasuubiza!
8. Njigiriza ki ezireetedde abantu okulowooza nti Katonda y’aviirako okubonaabona, era tuyinza kubayamba tutya?
8 Eky’okusatu, kiyinza okutwetaagisa okuyamba omuntu okutegeera nti Katonda si y’aleetawo obubi obuliwo mu nsi. Abantu bangi bayigirizibwa nti Katonda y’afuga ensi eno, era nti yasalawo dda buli ekitutuukako, era nti alina ensonga ze tutasobola kutegeera lwaki aleetera abantu okubonaabona. Enjigiriza ezo si ntuufu. Teziweesa Katonda kitiibwa era zimulabisa nga y’aviirako obubi n’okubonaabona okuli mu nsi. N’olw’ekyo kiyinza okutwetaagisa okuddamu omuntu ng’oyo nga tukozesa Ekigambo kya Katonda. (2 Timoseewo 3:16) Yakuwa si y’afuga ensi eno ejjudde obubi; Setaani Omulyolyomi y’agifuga. (1 Yokaana 5:19) Yakuwa teyasalawo dda buli kinaatuuka ku bitonde bye ebitegeera; awa buli omu eddembe okwesalirawo ekirungi n’ekibi, ekituufu n’ekikyamu. (Ekyamateeka 30:19) Era Yakuwa si yasibukako obubi; akyawa obubi era afaayo ku abo ababonaabonera obwereere.—Yobu 34:10; Engero 6:16-19; 1 Peetero 5:7.
9. Ebimu ku bintu ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ by’atuwadde okukozesa okuyamba abantu okutegeera lwaki Yakuwa Katonda aleseewo okubonaabona bye biruwa?
9 Oluvannyuma lw’okukola bw’otyo, oyinza okukisanga nti gw’oyogera naye ayagala okumanya ensonga lwaki Katonda aleseewo okubonaabona. ‘Omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ alina ebitabo by’akubye bingi ebisobola okutuyamba. (Matayo 24:45-47) Ng’ekyokulabirako, ku Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti “Obuwulize Eri Katonda” olw’omwaka 2005/06, tulakiti erina omutwe Okubonaabona Kwonna Kunaatera Okukoma! yafulumizibwa. Lwaki totwala kiseera kwetegereza biri mu tulakiti eno bw’eba nga gy’eri mu lulimi lwo? Mu ngeri y’emu, akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza?, kati akali mu nnimi 157, kalimu essuula nnamba eyogera ku kibuuzo kino ekikulu ennyo. Kozesa nnyo ebintu nga bino. Binnyonnyola bulungi Baibuli ky’eyogera ku nsonga ekwata ku bufuzi bw’obutonde bwonna eyabalukawo mu Adeni n’ensonga lwaki Yakuwa yasalawo okugigonjoola nga bwe yakola. Era kijjukire nti, bw’okubaganya ebirowoozo n’omuntu ku nsonga eno, oba omuyamba okutegeera ebintu ebikulu ennyo—okumanya Yakuwa n’engeri ze.
Teeka Essira ku Ngeri za Yakuwa
10. Kiki bangi kye batera okuzibuwalirwa okutegeera ku bikwata ku nsonga lwaki Katonda aleseewo okubonaabona, era beetaaga kumanya ki okusobola okutegeera ensonga eno?
10 Bw’oba oyamba abantu okutegeera lwaki Yakuwa akkirizza abantu okwefuga wansi w’obulagirizi bwa Setaani, fuba okubalaga engeri za Yakuwa ez’ekitalo. Abantu bangi bamanyi nti Katonda wa maanyi; batera okuwulira ng’ayitibwa Omuyinza w’Ebintu Byonna. Kyokka, bayinza okukisanga nga kizibu okutegeera lwaki takozesa buyinza bwe kati n’amalawo obutali bwenkanya n’okubonaabona. Kiyinza okuba nti tebategeera ngeri za Yakuwa endala gamba ng’obutukuvu, obwenkanya, amagezi n’okwagala. Yakuwa ayoleka engeri zino mu ngeri etuukiridde. Baibuli ky’eva egamba nti: “Omulimu gwe gwatuukirira.” (Ekyamateeka 32:4) Osobola otya okuggyayo engeri zino obulungi bw’oba oddamu ebibuuzo ebitera okubuuzibwa ku nsonga eno? Ka tulabeyo ebyokulabirako ebitonotono.
11, 12. (a) Lwaki kyali tekiyinzika Katonda kusonyiwa Adamu ne Kaawa bwe baayonoona? (b) Lwaki Yakuwa tajja kugumiikiriza kibi kubeerawo mirembe gyonna?
11 Lwaki Adamu ne Kaawa Yakuwa teyabasonyiwa busonyiyi? Yali tayinza kubasonyiwa n’akatono. Adamu ne Kaawa baali batuukiridde, n’olwekyo baakigenderera okujeemera Yakuwa ng’omufuzi waabwe ne basalawo okugoberera Setaani. Tekyewuunyisa nti abajeemu bano tebaalaga n’akatono nti beenenyezza. Kyokka, abantu bwe beebuuza lwaki Katonda teyabasonyiwa, mu ngeri endala baba ng’abagamba nti lwaki teyamala gassa ku mitindo gye, ekibi n’obujeemu n’abireka. Eky’okuddamu kizingiramu embeera ya Yakuwa ey’okuba nti mutukuvu.—Okuva 28:36; 39:30.
12 Emirundi mingi Baibuli eggumiza obutukuvu bwa Yakuwa. Naye eky’ennaku abantu batono nnyo mu nsi eno embi abategeera obutukuvu bwe. Yakuwa muyonjo, mulongoofu era talina kakwate konna na kibi. (Isaaya 6:3; 59:2) Akoze enteekateeka okuggirawo ddala ekibi, era tajja kukigumiikiriza mirembe gyonna. Singa Yakuwa yali wa kuleka kibi okubaawo mirembe gyonna, tetwandibadde na ssuubi lya biseera bya mu maaso. (Engero 14:12) Mu kiseera kye ekigereke, ebitonde byonna Yakuwa ajja kubifuula bitukuvu. Ekyo kikakafu kubanga kye kigendererwa ky’Oyo Omutukuvu.
13, 14. Lwaki Yakuwa yasalawo obutazikiriza bajeemu mu Adeni?
13 Lwaki Yakuwa teyazikiriza bajeemu abo mu Adeni n’addamu buto okutonda? Awatali kubuusabuusa yalina amaanyi okukikola; mangu ddala ajja kukozesa amaanyi ago okuzikiriza ababi bonna. Abantu abamu bayinza okubuuza, ‘Lwaki teyakikola ng’aboonoonyi bakyali basatu bokka mu butonde bwonna? Ekyo tekyandiziyizza ekibi n’okubonaabona ebibunye mu nsi yonna?’ Lwaki Yakuwa teyakola bw’atyo? Ekyamateeka 32:4 wagamba: “Amakubo ge gonna musango [“ga bwenkanya,” NW].” Mu butuufu, “Yakuwa ayagala obwenkanya.” (Zabbuli 37:28, NW) Eno y’ensonga lwaki Yakuwa teyazikiririzaawo boonoonyi abo mu Adeni. Lwaki kyali bwe kityo?
14 Okujeema kwa Setaani kwaleetawo ekibuuzo obanga Katonda y’asaanidde okufuga obutonde bwonna. Olw’okuba Yakuwa mwenkanya, kyali kimwetaagisa okukwata ensonga Setaani gye yaleetawo mu ngeri ey’obwenkanya. Wadde ng’abajeemu abo okuzikiririzaawo kyandibadde kibasaanira, ekyo ku bwakyo tekyandigonjodde nsonga mu bwenkanya. Okubazikiririzaawo kyandyongedde okulaga nti Yakuwa y’asinga amaanyi, naye yali tasoomoozeddwa obanga y’asinga amaanyi. Ate era Yakuwa yali abuulidde Adamu ne Kaawa ekigendererwa kye. Baali ba kuzaala abaana bajjuze ensi, era bafuge ebitonde ebirala byonna ebigiriko. (Olubereberye 1:28) Singa Yakuwa yali azikirizza Adamu ne Kaawa, ekigendererwa kye eri abantu tekyandituukiridde. Olw’okuba Yakuwa mwenkanya, yali tasobola kuleka kigendererwa kye butatuukirira, kubanga ebigendererwa bye bulijjo birina okutuukirira.—Isaaya 55:10, 11.
15, 16. Tuyinza kuyamba tutya abantu abawa “amagezi” ku ngeri ensonga ekwata ku bujeemu mu Adeni gye yandigonjoddwamu?
15 Waliwo omuntu yenna mu butonde bwonna eyandisobodde okukwata ensonga eno mu ngeri ey’amagezi okusinga Yakuwa? Abantu abamu bayinza okuwa “amagezi” agaabwe ku ngeri ensonga ekwata ku bujeemu mu Adeni gye yandigonjoddwamu. Naye mu kukola ekyo, tebaba ng’abagamba nti ensonga eyo bandigikutte mu ngeri esingako okuba ey’amagezi? Bayinza okuba nga tebakikola mu mutima mubi, naye nga bakikola olw’okuba tebategeera Yakuwa n’amagezi ge ag’ekitalo. Ng’awandiikira Abakristaayo b’omu Ruumi, Omutume Pawulo yayogera bingi ku magezi ga Katonda nga mw’otwalidde ‘n’ekyama ekitukuvu’ ekikwata ku kigendererwa kya Yakuwa eky’okukozesa Obwakabaka bwa Masiya okununula abantu abeesigwa n’okutukuza erinnya Lye ettukuvu. Pawulo yatwala atya magezi ga Katonda eyateekawo ekigendererwa kino? Pawulo yafundikira ebbaluwa ye n’ebigambo bino: “Katonda ow’amagezi omu yekka aweebwenga ekitiibwa ku bwa Yesu Kristo emirembe egitaggwaawo. Amiina.”—Abaruumi 11:25, NW; 16:25-27, NW.
16 Pawulo yakitegeera nti Yakuwa ye ‘w’amagezi omu yekka’ ekitegeeza nti y’asingayo okuba ow’amagezi mu butonde bwonna. Muntu ki atatuukiridde eyandirowoozezza nti alina engeri esingako ey’okugonjoola ekizibu kyonna nga mwe mw’otwalidde n’ekyo ekikwata ku kuwakanya obutuufu bw’obufuzi bwa Katonda? N’olwekyo twetaaga okuyamba abantu nabo basobole okuwa ekitiibwa Katonda, oyo alina ‘omutima ogw’amagezi.’ (Yobu 9:4) Gye tunaakoma okutegeera obulungi amagezi ga Yakuwa, gye tujja okukoma okuba n’obwesige nti engeri gy’akwatamu ensonga y’esingayo okuba ennungi.—Engero 3:5, 6.
Okutegeera Engeri ya Yakuwa Esinga Obukulu
17. Okutegeera obulungi okwagala kwa Yakuwa kiyinza kitya okuyamba abo abeebuuza ensonga lwaki Katonda akyaleseewo okubonaabona?
17 “Katonda kwagala.” (1 Yokaana 4:8) Ebigambo bya Baibuli ebyo biraga engeri ya Yakuwa esinga obukulu abantu gye basinga okumwagalako era esinga okugumya abo abenyamivu olw’obubi obuyitiridde. Yakuwa alaze okwagala kwe mu ngeri yonna gy’akuttemu ensonga ekwata ku bizibu ebyava mu kwonoona ebirumya ebitonde bye. Okwagala kwe kwaleetera Yakuwa okuwa bazzukulu ba Adamu ne Kaawa abatatuukiridde essuubi, ng’abateerawo engeri y’okufuna enkolagana ennungi naye. Okwagala kwe kwaleetera Katonda okuwaayo ekinunulo ekyandisobozesezza abantu okusonyiyibwa ddala ebibi byabwe n’okufuna obulamu obutaggwawo. (Yokaana 3:16) Era okwagala kumuleetedde okuba omugumiikiriza eri abantu, ng’abawa buli kakisa okwesamba Setaani era bakkirize Yakuwa ng’Omufuzi waabwe.—2 Peetero 3:9.
18. Kumanya ki kwe tulina okutuleetera okuba abasanyufu, era ekitundu ekiddako kigenda kwogera ku ki?
18 Omukulembeze w’eddiini omu bwe yali ayogera eri abantu abaali ku mukolo ogw’okujjukira abo abafiira mu kikolwa eky’obutujju, yagamba: “Tetumanyi nsonga lwaki Katonda alese obubi n’okubonaabona okweyongera.” Nga kya nnaku nnyo! Tetuli basanyufu nnyo okuba nti ffe tutegeera bulungi ensonga eno? (Ekyamateeka 29:29) Ate olw’okuba Yakuwa wa magezi, mwenkanya, era alina okwagala, tumanyi nti mangu ddala ajja kukomya okubonaabona kwonna. Mu butuufu asuubiza nti ajja kukikola. (Okubikkulirwa 21:3, 4) Ate kiri kitya ku abo abazze bafa mu byasa byonna? Engeri Yakuwa gy’akuttemu ensonga eyabalukawo mu Adeni ebalese tebalina ssuubi? Nedda. Okwagala kwamuleteera okubateerawo essuubi ery’okuzuukira. Essuubi eryo lye lijja kwogerwako mu kitundu ekiddako.
Wandizzeemu Otya?
• Kiki kye tuyinza okugamba omuntu eyeebuuza lwaki Katonda aleseewo okubonaabona?
• Obutukuvu bwa Yakuwa n’obwenkanya bwe byeyoleka bitya mu ngeri gye yakwatamu abajeemu mu Adeni?
• Lwaki tusaanidde okuyamba abantu okutegeera obulungi okwagala kwa Yakuwa?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Yamba abo abeebuuza lwaki waliwo okubonaabona mu nsi
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 17]
Abasajja abeesigwa Dawudi ne Kaabakuuku babuuza Katonda ebibuuzo mu bwesimbu