Obadde Okimanyi?
Abasajja abalaguza emmunnyeenye bajja ddi okulaba Yesu?
Enjiri ya Matayo egamba nti “abalaguzisa emmunyeenye ne bava e buvanjuba” ne bajja okulaba Yesu, ne bamuleetera ebirabo. (Matayo 2:1-12, NW) Omuwendo gw’abasajja abo abalaguzisa emmunyeenye, oba “abamagi” abajja okulaba omwana Yesu tegumanyiddwa, era tewali kikakasa nti ddala baali basatu nga bangi bwe balowooza; era Baibuli tetubuulira n’amannya gaabwe.
Ekitabo ekiyitibwa New International Version Study Bible kyogera bwe kiti ku Matayo 2:11: “Okwawukana ku ekyo abangi kye bakkiriza, Abamagi bo tebaakyalira Yesu mu kiro ekyo kyennyini nga yaakazaalibwa mu kiraalo ng’abasumba bwe baakola. Bajja okumukyalira nga wayise emyezi era baamusanga mu ‘nnyumba.’” Kino kituufu kubanga Kerode bwe yali ayagala okutta omwana oyo, yalagira batte abaana ab’obulenzi bonna mu Besirekemu n’ebitundu ebiriraanyewo abaali ab’emyaka ebiri n’okukka wansi. Yasalawo okutta abaana ab’emyaka egyo okusinziira ku kiseera ‘kye yabuuza abalaguzi.’—Matayo 2:16.
Singa abasajja abo abalaguzisa emmunyeenye baali bazze okulaba Yesu mu kiro kye yazaalibwamu ne bamuleetera zaabu n’ebirabo eby’omuwendo ebirala, Maliyamu teyandiwaddeyo binnyonnyi bibiri byokka mu yeekaalu e Yerusaalemi bwe yatwalayo Yesu oluvannyuma lw’ennaku 40. (Lukka 2:22-24) Okusinziira ku Mateeka, kino kyakolebwanga bantu abaavu abatasobola kugula ndiga nnume. (Eby’Abaleevi 12:6-8) Kyokka, ebintu ebyo eby’omuwendo birabika byayamba Yesu ne bazadde be okweyimirizaawo nga baali e Misiri.—Matayo 2:13-15.
Lwaki Yesu kyamutwalira ennaku nnya okutuuka ku ntaana ya Lazaalo?
Kirabika nti Yesu bw’atyo bwe yakyagala kibe. Lwaki tuyinza okugamba bwe tutyo? Weetegereze Yokaana essuula 11 ky’egamba.
Lazaalo eyali omutuuze w’e Bessaniya era mukwano gwa Yesu bwe yalwala ennyo, bannyina baatumya eri Yesu. (Olunyiriri 1-3) Yesu kyandimutwalidde ennaku nga bbiri okuva we yali okutuuka e Bessaniya. (Yokaana 10:40) Kirabika nti Lazaalo yafiira mu kiseera Yesu we yafunira amawulire ago. Yesu yakola ki? ‘Yamala ennaku bbiri ng’akyali mu kifo kye yalimu,’ olwo n’alyoka ayolekera e Bessaniya. (Olunyiriri 6, 7) Olw’okuba yamala ennaku bbiri mu kifo ekyo era n’amala endala bbiri ku lugendo, yatuuka ku ntana nga wayise ennaku nnya bukya Lazaalo afa.—Olunyiriri 17.
Emabegako, Yesu yali azuukizza abantu babiri—omu yali yaakafa ate omulala yamuzuukiza ku lunaku lwe yafa naye nga wayiseewo ekiseera. (Lukka 7:11-17; 8:49-55) Yali asobola okuzuukiza omuntu amaze ennaku nnya ng’afudde era ng’atandise n’okuvunda? (Olunyiriri 39) Ekitabo ekimu ekyogera ku Baibuli kigamba nti Abayudaaya baalina enzikiriza nti waba tewakyali ssuubi “omuntu bw’amala ennaku nnya nga mufu; omubiri gwe guba gutandise okuvunda, n’emmeeme ye, gye baalowoozanga nti ebeera mu banga okumala ennaku ssatu, yabanga emaze okugenda.”
Singa ku abo abaali bakuŋŋaanidde ku ntana mwalimu abalina endowooza ng’eyo, baali banaatera okulaba obuyinza Yesu bw’alina ku kufa. Ng’ayimiridde okumpi n’entana eggiddwako ejjinja, Yesu yayogerera waggulu n’eddoboozi eddene nti: “Lazaalo, fuluma ojje.” Awo, “[omusajja] eyali afudde n’afuluma.” (Olunyiriri 43, 44) Okuzuukira lye ssuubi erya namaddala eri abafu, so si endowooza enkyamu bangi gye balina nti omwoyo guwonawo ng’omuntu afudde.—Ezeekeri 18:4; Yokaana 11:25.