LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w08 2/15 lup. 31-32
  • Abayizi ba Giriyadi Bakubirizibwa “Okutandika Okusima”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Abayizi ba Giriyadi Bakubirizibwa “Okutandika Okusima”
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Similar Material
  • Abaminsani Bakubirizibwa Okuba nga Yeremiya
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 2/15 lup. 31-32

Olufuluma lw’Abaminsani ba Giriyadi Olwa 123

Abayizi ba Giriyadi Bakubirizibwa “Okutandika Okusima”

KU LW’OMUKAAGA, nga Ssebutemba 8, 2007, abantu 6,352 okuva mu nsi 41 be baaliwo ng’Essomero lya Giriyadi lifulumya abayizi ab’omulundi ogwa 123. Ku ssaawa nnya ez’enkya, ssentebe wa programu, Anthony Morris ali ku Kakiiko Akafuzi, yayaniriza abaaliwo. Oluvannyuma lw’ebigambo ebiggulawo, yayita omwogezi eyasooka, Gary Breaux ali ku Kakiiko k’Ettabi lya Amerika.

Ow’Oluganda Breaux yakakasa abayizi nti ka babe nga balabika bulungi oba nedda, abo abakola Yakuwa by’ayagala balabika bulungi nnyo mu maaso Ge. (Yer. 13:11) Yakubiriza abayizi abo okukuuma endabika eyo ennungi. Eyaddako okwogera, Gerrit Lösch ali ku Kakiiko Akafuzi yagamba nti si kibi okulowooza ku mpeera nga tuweereza Yakuwa. (Beb. 11:6) Kyokka, ekyanditukubirizza mu byonna bye tukola kwe kwagala okwa nnamaddala.

William Samuelson, omulabirizi w’Ekitongole ky’Amasomero g’Omulimu gwa Katonda, yakubiriza abayizi abaali bamalirizza emisomo gyabwe okunywerera ku mulimu ogw’ekitiibwa ogubaweereddwa ogw’okulangirira Kabaka afuga n’okweyisa mu ngeri ebaweesa ekitiibwa.a Sam Roberson, omuyambi w’omulabirizi w’Ekitongole ky’Amasomero g’Omulimu gwa Katonda, yakubiriza abayizi bulijjo okunoonya ebirungi mu balala. Olwo nno abayizi abo baba bajja ‘kwagala ab’oluganda’ bonna.​—1 Peet. 2:17.

Oluvannyuma lw’emboozi ezo ennyuvu, Mark Noumair, omusomesa mu Giriyadi, yasaba abayizi abaali bamalirizza emisomo gyabwe abawerako okwogera ku birungi bye baali bafunye mu buweereza bw’ennimiro nga batendekebwa mu Giriyadi. Abawuliriza tebaasigalamu kakunkuna nti abayizi abo banyumirwa nnyo obuweereza bw’ennimiro era baagala okuyamba abalala. Kent Fischer ow’oku Ofiisi ya Beseri ey’e Patterson yabuuza ebibuuzo abali ku Bukiiko bw’Amatabi okuva mu nsi ssatu ewali abaminsani. Ab’oluganda abo bye baddamu byakakasa abaaliwo, nga bangi ku bo baali bazadde ba bayizi abo, nti abaminsani abapya balabirirwa bulungi eyo gye baba basindikiddwa okuweereza. Izak Marais ali ku Kitongole Ekikola ku Kuvvuunula naye yabuuza ebibuuzo abamu ku baminsani abaludde mu buweereza obwo era nga bye baayogera byaleetera abayizi okwesunga okufuna essanyu ng’eryo.

Emboozi enkulu eya programu, eyaweebwa Geoffrey Jackson ali ku Kakiiko Akafuzi, yalina omutwe “Oluvannyuma lw’Okuwulira Ebyo Byonna​—Ogenda Kukola Ki?” Ow’Oluganda Jackson, eyaweereza ng’omuminsani okumala emyaka kumpi 25 mu South Pacific, yayogera ku kitundu ekisembayo eky’Okubuulira kw’Oku Lusozi. Mu kubuulira okwo, Yesu yayogera ku basajja babiri abaazimba amayumba, ng’omu yali wa magezi ng’ate omulala talina magezi. Omwogezi yagamba nti amayumba gombi gazimbibwa mu kitundu kumpi kye kimu. Kyokka, omusajja ataalina magezi yazimba ku musenyu, ate ye ow’amagezi yasima n’atuukira ddala ku lwazi era okwo kwe yazimba ennyumba ye. Kibuyaga bwe yajja, ennyumba eyazimbibwa ku lwazi yawonawo naye eyazimbibwa ku musenyu yo yagwa.​—Mat. 7:24-27; Luk. 6:48.

Yesu yannyonnyola nti omusajja ataalina magezi yalinga abo abaakoma ku kumuwuliriza. Omusajja ow’amagezi yalinga abo abaawuliriza ebigambo bya Yesu era ne babissa mu nkola. Ow’Oluganda Jackson yagamba abayizi abaali bamalirizza emisomo gyabwe, “Bwe munnassa mu nkola bye muyize mu kwesomesa Baibuli mu buweereza bwammwe ng’abaminsani, mujja kuba ng’omusajja oli ow’amagezi.” Yafundikira ng’akubiriza abayizi “okutandika okusima” mu buweereza bwabwe ng’abaminsani.

Ku nkomerero, abayizi abaali bamalirizza emisomo gyabwe baawebwa dipuloma n’amabaluwa agalaga gye bagenda okuweereza, n’oluvannyuma Ow’Oluganda Morris yamaliriza ng’ababuulirira. Yabakuutira okugobereranga Yesu bulijjo n’okwesiganga amaanyi ga Yakuwa. Programu bw’etyo n’ekomekkerezebwa.

[Obugambo obuli wansi]

a Ekitongole ky’Amasomero g’Omulimu gwa Katonda, ekitwalibwa Akakiiko k’Eby’Okuyigiriza, kirabirira essomero lya Giriyadi, eryo eritendeka ab’Obukiiko bw’Amatabi, n’ery’abalabirizi abatambula.

[Akasanduuko akali ku lupapula 31]

EBIKWATA KU BAYIZI

Ensi mwe baava: 10

Ensi mwe basindikiddwa: 24

Abayizi bonna: 56

Buli omu alina emyaka nga: 33.5

Emyaka buli omu gy’amaze mu mazima: 17.9

Emyaka buli omu gy’amaze mu buweereza obw’ekiseera kyonna: 13.8

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]

Abayizi b’Essomero lya Giriyadi ab’Olufuluma Olwa 123

Mu lukalala luno wammanga, amannya agali mu layini eziragiddwa gasengekeddwa okuva ku kkono okudda ku ddyo.

(1) Esparza, E.; Papaya, S.; Bilal, A.; Suárez, M.; Evers, E.; Dimichino, K. (2) Rosa, M.; Fujii, R.; Ratey, O.; Leveton, J.; Van Leemputten, M. (3) Boscaino, A.; Beck, K.; Budanov, H.; Braz, C.; Peltz, K.; Siaw, A. (4) Leveton, S.; Santikko, H.; Conte, S.; Wilson, J.; Rylatt, J.; Pierce, S.; Fujii, K. (5) Rosa, D.; Boscaino, M.; Austin, V.; Rodiel, P.; Bilal, P.; Dimichino, P. (6) Ratey, B.; Czyzyk, D.; Clarke, C.; Riedel, A.; Esparza, F.; Siaw, P.; Van Leemputten, T.(7) Rodiel, J.; Evers, J.; Green, J.; Czyzyk, J.; Santikko, M.; Rylatt, M. (8) Peltz, L.; Austin, D.; Riedel, T.; Beck, M.; Pierce, W.; Conte, S.; Green, S. (9) Suárez, J.; Clarke, J.; Papaya, S.; Budanov, M.; Wilson, R.; Braz, R.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share