Semberera Katonda
Amanyi Bulungi Ennaku Yaffe
OKULUMIRIRWA omuntu kwe kuba ng’ekimuluma naawe okiwulira mu mutima gwo. Yakuwa Katonda y’asingirayo ddala okulumirirwa abalala. Ategeera bulungi ennaku abantu be gye baba bayitamu. Ekyo tukimanya tutya? Tukimanyira ku ebyo Yesu bye yayogera ne bye yakola ng’ali ku nsi. (Yokaana 5:19) Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ebyo ebyogerwako mu Yokaana 11:33-35.
Mukwano gwe Lazaalo bwe yafa, Yesu yasituka n’agenda ku kyalo Lazaalo gye yali abeera. Tekyewuunyisa nti bannyina ba Lazaalo, Malyamu ne Maliza, baali mu nnaku ya maanyi nnyo. Yesu yali ayagala nnyo ab’omu maka ago. (Yokaana 11:5) Yesu yakolawo ki? Baibuli egamba nti: “Yesu bwe [yalaba Malyamu] ng’akaaba, n’Abayudaaya abazze naye nga bakaaba, n’asinda mu mwoyo, ne yeeraliikirira, n’agamba nti Mwamuteeka wa? Ne bamugamba nti Mukama waffe, jjangu olabe. Yesu n’akaaba amaziga.” (Yokaana 11:33-35) Lwaki Yesu yakaaba? Kituufu nti mukwano gwe Lazaalo yali afudde, naye ate yali agenda kumuzuukiza. (Yokaana 11:41-44) Kati olwo waliwo ekintu ekirala ekyaleetera Yesu okunakuwala?
Ddamu wekkaanye ennyiriri ezo waggulu. Weetegereze nti Yesu bwe yalaba Malyamu n’abo abaali naye nga bakaaba, ‘yasinda’ era ne “yeeraliikirira.” Mu lulimi mwe byasooka okuwandiikirwa, ebigambo ebyo bitegeeza okuwulira ennaku ey’amaanyi.a Yesu kye yalaba kyamukwatako nnyo. Okuyunguka amaziga kyalaga ennaku ennyingi gye yali awulira. Kyeyoleka bulungi nti Yesu yali alumirirwa abalala. Wali oyunguseeko amaziga olw’okulaba omuntu gw’oyagala ng’akaaba?—Abaruumi 12:15.
Eky’okuba nti Yesu yali alumirirwa abalala kituyamba okutegeera engeri za Kitaawe, Yakuwa. Jjukira nti Yesu yayolekera ddala mu bujjuvu engeri za Kitaawe. Kye yava agamba nti: ‘Alabye ku nze, aba alabye ku Kitange.’ (Yokaana 14:9) N’olwekyo, ebigambo ‘Yesu yakaaba amaziga,’ biwa obukakafu nti ddala Yakuwa alumirirwa abaweereza be bwe baba bali mu nnaku. Abawandiisi ba Baibuli abalala nabo balaga nti bwe kityo bwe kiri. (Isaaya 63:9; Zekkaliya 2:8) Nga Yakuwa afaayo nnyo ku bantu be!
Ffenna twagala abantu abatulumirirwa. Bwe wabaawo ekitumazeemu amaanyi oba ekitunakuwazizza, tuba twagala okufuna omuntu asobola okutegeera ennaku gye tulimu. Tekisingako okusemberera Yakuwa atulumirirwa nga tuli mu nnaku era ategeera obulungi ebituleetera okukaaba!—Zabbuli 56:8.
[Obugambo obwa wansi]
a Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa “n’akaaba amaziga” kitera kutegeeza “kukaaba mu kasirise,” ate ng’ekyo ekyogera ku Malyamu n’abalala nga bakaaba kiyinza okutegeeza “okutema emiranga.”