LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w08 10/15 lup. 7-11
  • Yakuwa Atutunuulira ku lwa Bulungi Bwaffe

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yakuwa Atutunuulira ku lwa Bulungi Bwaffe
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Tambula ne Katonda
  • Yali Taata owa Nnamaddala eri Baluki
  • Omwana Yayoleka Okwagala kwa Kitaawe
  • Obuyambi mu Kiseera Ekituufu
  • Okwaŋŋanga Ebiseera by’Omu Maaso n’Obuvumu
  • Kola Emikwano Eminywevu ng’Enkomerero Tennajja
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Yakuwa Awa Abo Abamugondera Omukisa era n’Abakuuma
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Abavubuka, Mujjukire Omutonzi Wammwe Kati
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Beera Muvumu nga Yeremiya
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2004
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 10/15 lup. 7-11

Yakuwa Atutunuulira ku lwa Bulungi Bwaffe

“Amaaso ga Mukama gatambulatambula wano ne wali okubuna ensi zonna, okweraga bw’ali ow’amaanyi eri abo abalina omutima ogutuukiridde gy’ali.”—2 BYOM. 16:9.

1. Lwaki Yakuwa atwetegereza?

YAKUWA ye Kitaffe atuukiridde. Atumanyi bulungi nnyo era ategeera ‘n’okufumiitiriza kwonna okw’ebirowoozo byaffe.’ (1 Byom. 28:9) Kyokka, mu kutwetegereza aba tatunoonyamu nsobi. (Zab. 11:4; 130:3) Aba ayagala kutuyamba twewale ekintu kyonna ekiyinza okwonoona enkolagana yaffe naye oba ekiyinza okutulemesa okufuna obulamu obutaggwawo.—Zab. 25:8-10, 12, 13.

2. Yakuwa amaanyi ge agakozesa kuyamba baani?

2 Yakuwa y’asingayo okuba ow’amaanyi era alaba byonna. Olw’ensonga eyo, asobola okuyamba abantu be abeesigwa buli lwe bamukoowoola, era asobola okubagumya nga balina ebizibu. Ebyomumirembe Ekyokubiri 16:9 wagamba nti: “Amaaso ga Mukama gatambulatambula wano ne wali okubuna ensi zonna, okweraga bw’ali ow’amaanyi eri abo abalina omutima ogutuukiridde gy’ali.” Weetegereze nti Yakuwa akozesa amaanyi ge okuyamba abo abamuweereza n’omutima ogutuukiridde—omutima omulongoofu era ogutaliimu bukuusa. Tagakozesa kuyamba bakuusa oba bannanfuusi.—Yos. 7:1, 20, 21, 25; Nge. 1:23-33.

Tambula ne Katonda

3, 4. ‘Okutambula ne Katonda’ kitegeeza ki, era byakulabirako ki mu Baibuli ebituyamba okukitegeera obulungi?

3 Bangi balowooza nti Omutonzi w’ebintu byonna tayinza kukkiriza bantu kutambula naye mu ngeri ey’eby’omwoyo. So ng’ate ekyo kye nnyini Yakuwa ky’ayagala tukole. Mu biseera bya Baibuli, Enoka ne Nuuwa ‘baatambula ne Katonda.’ (Lub. 5:24; 6:9) Musa “yagumiikiriza ng’alaba oyo atalabika.” (Beb. 11:27) Kabaka Dawudi yatambula ne Kitaawe ow’omu ggulu. Yagamba nti: “Kubanga [Yakuwa] ali ku mukono gwange ogwa ddyo, sirisagaasagana.”—Zab. 16:8.

4 Kya lwatu nti tetusobola kwekwata ku mukono gwa Yakuwa nga bwe twekwata ku gw’omuntu. Naye tusobola okukikola mu ngeri ey’akabonero. Tutya? Omuwandiisi wa zabbuli Asafu yawandiika nti: “Ndi wamu naawe ennaku zonna: onkutte omukono gwange ogwa ddyo. Ononnuŋŋamyanga n’amagezi go.” (Zab. 73:23, 24) Mu ngeri endala, tutambula ne Yakuwa bwe tugoberera obulagirizi bw’atuwa okuyitira mu Kigambo kye ne mu ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi.’—Mat. 24:45; 2 Tim. 3:16.

5. Yakuwa atunuulira atya abantu be abeesigwa, era kino kyandituleetedde kumutunuulira tutya?

5 Olw’okuba Yakuwa atwala abantu abatambula naye nga ba muwendo, abatunuulira ng’abaana be, abalabirira, abakuuma, era abayigiriza. Agamba nti: ‘Nnaakuyigirizanga, nnaakuluŋŋamyanga mu kkubo ly’oyitamu, era nnaakuteesezanga ebigambo ng’eriiso lyange liri ku ggwe.’ (Zab. 32:8) Weebuuze: ‘Nange ntambula ne Yakuwa ng’ankutte ku mukono, era nkolera ku magezi ge nga nkimanyi nti eriiso lye ery’ekisa liri ku nze? Okukimanya nti andaba kikwata ku bye ndowooza, bye njogera, ne bye nkola? Era bwe nkola ensobi, mu kifo ky’okutya nti Yakuwa Katonda mukambwe, mmutunuulira nga Kitaffe omusaasizi ayagala okuyamba abo abeenenyezza bazzeewo enkolagana naye?’—Zab. 51:17.

6. Mu ngeri ki Yakuwa gy’asinga bazadde baffe?

6 Oluusi Yakuwa atuyamba nga tetunnaba na kukwata kkubo kyamu. Ayinza okukiraba nti omutima gwaffe omulimba gutandise okwegomba ebintu ebitasaana. (Yer. 17:9) Obutafaananako bazadde baffe, ye ayanguwa okutuyamba mu mbeera ng’eyo kubanga “amaaso ge” gasobola okutunula mu mitima gyaffe n’amanya kye tulowooza. (Zab. 11:4; 139:4; Yer. 17:10) Weetegereze Katonda kye yakola bwe yalaba Baluki, eyali omuwandiisi wa nnabbi Yeremiya era eyali mukwano gwe ennyo, ng’agenda okukwata ekkubo ekyamu.

Yali Taata owa Nnamaddala eri Baluki

7, 8. (a) Baluki yali ani, era kwegomba ki okuyinza okuba nga kwali kuzze mu mutima gwe? (b) Yakuwa yamukwata atya nga taata bw’akwata omwana we?

7 Baluki yali muwandiisi omutendeke ng’akolera wamu ne Yeremiya omulimu ogwali omuzibu—okulangirira omusango gwa Yakuwa eri Yuda. (Yer. 1:18, 19) Ekiseera kyatuuka Baluki, alabika nga yali ava mu maka ga waggulu, n’ayagala okwenoonyeza “ebikulu.” Osanga yali ayagala kufuna bya bugagga oba kubaako ebirala by’atuukako mu bulamu. Ka kibe ki Baluki kye yali ayagala, Yakuwa yakiraba nti omutima gwe gwali guzzeemu endowooza enkyamu. Amangu ago Yakuwa yayitira mu Yeremiya n’agamba Baluki nti: “Wayogera nti Zinsanze kaakano! kubanga Mukama ayongedde obuyinike ku kulumwa kwange; okusinda kwange kunkooyezza, so siraba kuwummula kwonna.” Katonda yagattako nti: “Weenoonyeza ebikulu? Tobinoonya.”—Yer. 45:1-5.

8 Wadde nga Yakuwa yalaga Baluki kye yalina okukola, yamukwata nga taata bw’akwata omwana we, so si na bukambwe. Katonda yakiraba nti omusajja ono teyalina mutima mubi wadde nga yalina bye yeegomba. Yakuwa era yali akimanyi nti Yerusaalemi ne Yuda byali bigenda kuzikirizibwa, nga tayagala Baluki akwate kkubo kyamu ku ssaawa eyo. N’olwekyo, okusobola okuyamba omuweereza we oyo okulaba ekituufu, Katonda yamujjukiza nti Yali agenda ‘kuleeta obubi ku balina omubiri bonna,’ era nti Baluki bwe yandikoze ebintu mu ngeri ey’amagezi yandiwonyeewo. (Yer. 45:5) Mu ngeri endala, Katonda yali agamba: ‘Baluki, tolaba biriwo. Jjukira ekigenda okutuuka ku Yuda ne ku Yerusaalemi. Kuuma obwesigwa osigaze obulamu! Nja kukukuuma.’ Awatali kubuusabuusa, Yakuwa yatuuka Baluki ku mutima kubanga yakyusa endowooza ye era yawonawo Yerusaalemi bwe kyazikirizibwa, nga wayise emyaka 17.

9. Oyinza kuddamu otya ebibuuzo ebyo mu katundu?

9 Nga bw’ofumiitiriza ku bikwata ku Baluki, lowooza ku bibuuzo ne ebyawandiikibwa bino: Engeri Katonda gye yakwatamu Baluki etuyigiriza ki ku Yakuwa n’engeri gy’atunuuliramu abaweereza be? (Soma Abaebbulaniya 12:9.) Mu biseera bino ebizibu bye tulimu, tuyiga ki mu magezi Katonda ge yawa Baluki, n’engeri Baluki gye yagatwalamu? (Soma Lukka 21:34-36.) Okufaananako Yeremiya, abakadde mu kibiina bayinza batya okukoppa engeri Yakuwa gy’afaayo ku baweereza Be?—Soma Abaggalatiya 6:1.

Omwana Yayoleka Okwagala kwa Kitaawe

10. Lwaki Yesu asobola bulungi okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe ng’Omutwe gw’ekibiina Ekikristaayo?

10 Ng’Obukristaayo tebunnabaawo, okwagala kwa Yakuwa eri abantu be kweyolekeranga mu bannabbi n’abaweereza be abalala abeesigwa. Mu kiseera kino, okwagala kwe kusinga kweyolekera mu Yesu Kristo, Omutwe gw’ekibiina Ekikristaayo. (Bef. 1:22, 23) Eno ye nsonga lwaki mu kitabo ky’Okubikkulirwa, Yesu ayogerwako ng’omwana gw’endiga alina “amaaso musanvu, gye myoyo omusanvu egya Katonda, egitumibwa mu nsi zonna.” (Kub. 5:6) Yee, olw’okuba alina omwoyo gwa Katonda omutukuvu mu bujjuvu, Yesu asobola okulaba ebintu byonna. Naye asobola okulaba ekiri mu mitima gyaffe, era buli ekibaawo akimanya.

11. Kifo ki Kristo ky’alina, era engeri gy’atwetegerezaamu efaanana etya eya Kitaawe?

11 Okufaananako Yakuwa, Yesu si wa poliisi ali eyo waggulu. Atwetegereza nga taata ow’okwagala. Ekimu ku bitiibwa bya Yesu, ‘Kitaffe Ataggwaayo,’ kitujjukiza ekifo ky’alina mu kuwa abo bonna abamukkiririzaamu obulamu obutaggwawo. (Is. 9:6) Ate era, ng’Omutwe gw’ekibiina Ekikristaayo, Kristo asobola okukozesa Abakristaayo abakuze mu by’omwoyo, naddala abakadde, okubudaabuda oba okubuulirira abo abali mu bwetaavu.—1 Bas. 5:14; 2 Tim. 4:1, 2.

12. (a) Amabaluwa eri ebibiina omusanvu eby’omu Asiya Omutono galaga ki ku Yesu? (b) Abakadde booleka batya endowooza Kristo gy’alina eri ekisibo kya Katonda?

12 Okwagala okw’amaanyi Kristo kw’alina eri ekisibo kweyolekera mu bbaluwa ze eri abakadde b’omu bibiina omusanvu mu Asiya Omutono. (Kub. 2:1–3:22) Mu bbaluwa ezo, Yesu yalaga nti yali amanyi bulungi ebifa mu buli kibiina era nti yali afaayo nnyo ku bagoberezi be. Ne leero bwe kityo bwe kiri—kisinga nawo—kubanga ebiri Okubikkulirwa bituukirizibwa kati mu “lunaku lwa Mukama waffe.”a (Kub. 1:10) Okwagala kwa Kristo kweyolekera mu bakadde, abaweereza ng’abasumba ab’eby’omwoyo mu kibiina. Asobola okukozesa ‘ebirabo ebyo mu bantu’ okubudaabuda abali mu bwetaavu, okubazzaamu amaanyi, oba okubabuulirira. (Bef. 4:8; Bik. 20:28; soma Isaaya 32:1, 2.) Okiraba bulungi nti okufuba kwabwe kwoleka nti Kristo akufaako?

Obuyambi mu Kiseera Ekituufu

13-15. Katonda ayinza kuddamu atya okusaba kwaffe? Waayo ebyokulabirako.

13 Wali osabyeko Katonda akuyambe, era n’akwanukula ng’ayitira mu Mukristaayo akuze mu by’omwoyo? (Yak. 5:14-16) Oboolyawo yakuddamu ng’ayitira mu mboozi eyaweebwa mu lukuŋŋaana lw’ekibiina, oba ng’ayitira mu kimu ku bitabo byaffe. Yakuwa atera okwanukula okusaba kwaffe mu ngeri ng’ezo. Ng’ekyokulabirako, mwannyinaffe omu eyali ayisiddwa mu ngeri eteri ya bwenkanya emabegako yatuukirira omukadde omu nga yaakamala okubawa emboozi. Mu kifo ky’okwogera ku kyali kimutuuseeko, yamwebaza olw’ebyawandiikibwa bye yali annyonnyodde obulungi mu mboozi ye. Byali bikwatira ddala ku kizibu kye yalina era byamubudaabuda nnyo. Nga yali musanyufu okuba nti yali abaddewo mu lukuŋŋaana olwo!

14 Bwe kituuka ku kufuna obuyambi okuyitira mu kusaba, lowooza ku kyokulabirako ky’abasibe basatu abaayiga amazima nga bali mu kkomera ne bafuuka ababuulizi abatali babatize. Olw’ekikolwa eky’effujjo kye baali bakoze, abasibe bonna mu kkomera eryo baali baweereddwa ekibonerezo. Kino kyabaleetera okwekalakaasa. Okulaga nti tebaali basanyufu, baasalawo obutazzaayo masowaani gaabwe nga bamaze okulya eky’enkya. Kino kyateeka ababuulizi bali abasatu mu buzibu. Bwe bandyenyigidde mu keediimo bandibadde bajeemedde ekiragiro kya Yakuwa ekiri mu Abaruumi 13:1. Ate obutakeenyigiramu kyandinyizizza basibe bannaabwe ne babatulugunya.

15 Olw’okuba ababuulizi abo baali tebasobola kusisinkana bateese eky’okukola, buli omu yasaba Katonda amuwe amagezi. Enkeera ku makya baakizuula nti bonsatule baali basazeewo ekintu kye kimu—butalya kya nkya. Abaserikale bwe bajja okukima amasowaani, abasajja abo abasatu tebaalina ssowaani za kuzaayo. Nga baali basanyufu nti Oyo “awulira okusaba” yali kumpi nabo!—Zab. 65:2.

Okwaŋŋanga Ebiseera by’Omu Maaso n’Obuvumu

16. Omulimu gw’okubuulira gulaga gutya nti Yakuwa afaayo ku bantu abalinga endiga?

16 Omulimu gw’okubuulira ogukolebwa mu nsi yonna nagwo gulaga nti Yakuwa afaayo ku bantu ab’emitima emirungi yonna gye bali. (Lub. 18:25) Yakuwa oluusi akozesa bamalayika be okulagirira abaweereza be eri abantu abalinga endiga—ka babe nga bali mu bitundu amawulire amalungi gye gatatuukanga. (Kub. 14:6, 7) Ng’ekyokulabirako, Katonda yakozesa malayika n’alagirira Firipo, eyali omubuulizi mu kyasa ekyasooka, okusisinkana omukungu w’omu Esiyopya amunnyonnyole Ebyawandiikibwa. Biki ebyavaamu? Omusajja oyo yakkiriza amawulire amalungi, yabatizibwa era n’afuuka omugoberezi wa Yesu.b—Yok. 10:14; Bik. 8:26-39.

17. Lwaki tetusaanidde kweraliikirira kisusse olw’ebyo ebinaabaawo mu biseera by’omu maaso?

17 Ng’enteekateeka eno ey’ebintu bw’esemberera enkomerero yaayo, “okulumwa” okwayogerwako kujja kweyongera. (Mat. 24:8) Ng’ekyokulabirako, ebbeeyi y’emmere eyinza okulinnya olw’abantu okweyongera obungi, olw’embeera y’obudde okwonooneka, oba olw’okugootaana kw’eby’enfuna. Ebbula ly’emirimu likyayinza okweyongera, era abakozi bakyayinza okuwalirizibwa okukola essaawa ennyingi okusinga ku za bulijjo. Embeera k’eyonooneke kwenkana wa, abo bonna abakulembeza eby’omwoyo era abalina ‘eriiso eriraba awamu’ tebalina kweraliikirira kisusse. Bakakafu nti Katonda abaagala era ajja kubalabirira. (Mat. 6:22-34) Ng’ekyokulabirako, lowooza ku ngeri Yakuwa gye yalabiriramu Yeremiya mu kiseera ekizibu ennyo nga Yerusaalemi kyolekedde okuzikirizibwa mu 607 E.E.T.

18. Yakuwa yalaga atya Yeremiya okwagala nga Yerusaalemi kizingiziddwa?

18 Ng’Abababulooni bamaze ekiseera nga bazingizza Yerusaalemi, Yeremiya yasibirwa mu luggya lw’abambowa. Yandisobodde atya okufuna emmere? Yandibadde agyenoonyeza bw’atandibadde musibe. Naye kati, yali mu mikono gy’abo abaali bamusibye, ate ng’abasinga ku bo baali tebamwagalira ddala! Kyokka, mu kifo ky’okwesiga abantu, Yeremiya yeesiga Katonda eyasuubiza okumulabirira. Yakuwa yatuukiriza ekisuubizo kye? Yee, yakituukiriza! Buli lunaku Yeremiya yaweebwanga “omugaati . . . okutuusa emigaati gyonna egy’omu kibuga lwe gyaggwaawo.” (Yer. 37:21) Yeremiya, wamu ne Baluki, Ebedumereki, n’abalala, baawona enjala, endwadde, n’okufa.—Yer. 38:2; 39:15-18.

19. Nga bwe tulindirira ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso, tusaanidde kuba bamalirivu kukola ki?

19 Yee, “amaaso ga Mukama gali ku batuukirivu, n’amatu ge gali eri okusaba kwabwe.” (1 Peet. 3:12) Oli musanyufu olw’okuba Kitaawo ow’omu ggulu akufaako? Owulira ng’olina obukuumi olw’okukimanya nti amaaso ge gakutunuulira ku lwa bulungi bwo? Bwe kiba bwe kityo, ba mumalirivu okweyongera okutambula ne Katonda, ka kibe ki ekinaabaawo mu biseera by’omu maaso. Tusobola okuba abakakafu nti nga Kitaffe ow’okwagala, Yakuwa bulijjo ajja kukuumira eriiso lye ku bantu be abeesigwa.—Zab. 32:8; soma Isaaya 41:13.

[[Obugambo obuli wansi]

a Wadde ng’ebiri mu bbaluwa ezo okusinga byawandiikirwa bagoberezi ba Kristo abaafukibwako amafuta, bikwata ku baweereza ba Katonda bonna.

b Ekyokulabirako ekirala ekiraga engeri Katonda gy’awaamu obulagirizi kisangibwa mu Ebikolwa By’Abatume 16:6-10. Ennyiriri ezo ziraga nti ‘omwoyo omutukuvu gwagaana’ Pawulo ne banne okubuulira mu Asiya ne Bisuniya. Mu kifo ky’ekyo, baalagirwa okugenda e Makedoni, ewaali abantu ab’emitima emiwombeefu abaawuliriza obubaka bwabwe.

Osobola Okunnyonnyola?

• Tuyinza tutya okulaga nti ‘tutambula ne Katonda’?

• Yakuwa yalaga atya okwagala kwe eri Baluki?

• Ng’Omutwe gw’ekibiina Ekikristaayo, Yesu ayoleka atya engeri za Kitaawe?

• Tuyinza kulaga tutya nti twesiga Katonda mu biseera bino ebizibu?

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 9]

Nga Yeremiya bwe yabuulirira Baluki, abakadde mu kibiina booleka engeri Yakuwa gy’afaayo ku baweereza be

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]

Yakuwa atuyamba atya mu kiseera ekituufu?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share