LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w08 11/15 lup. 27-31
  • ‘Ziyiza Omulyolyomi’ nga Yesu Bwe Yakola

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • ‘Ziyiza Omulyolyomi’ nga Yesu Bwe Yakola
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Yakuwa Akuuma Abaweereza Be
  • Yesu Yatuteerawo Ekyokulabirako Ekirungi
  • “Muziyizenga Omulyolyomi Naye Anaabaddukanga”
  • Muziyizenga Setaani, Naye Anaabaddukanga!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Yigira ku Ngeri Yesu Gye Yaziyizaamu Ebikemo
    Yesu—Ekkubo, Amazima, n’Obulamu
  • Omulyolyomi Muntu wa Ddala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka Bwa yakuwa—2001
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
w08 11/15 lup. 27-31

‘Ziyiza Omulyolyomi’ nga Yesu Bwe Yakola

“Muziyizenga Omulyolyomi naye anaabaddukanga.”​—YAK. 4:7, NW.

1. Kuziyizibwa ki Yesu kwe yamanya nti yandyolekaganye nakwo, era kiki ekyandivuddemu?

YESU KRISTO yali akimanyi nti Omulyolyomi ajja kugezaako okumuziyiza. Kino kyeyolekera bulungi mu bigambo Katonda bye yagamba omusota, naye ng’abyolekeza ekitonde ky’omwoyo ekyali kyogerera mu gwo: “Nange obulabe [nna]abuteekanga wakati wo n’omukazi [ekibiina kya Yakuwa eky’omu ggulu], era ne wakati w’ezzadde lyo n’ezzadde ly’omukazi: (ezzadde ly’omukazi) [Yesu Kristo] lirikubetenta omutwe, naawe oliribetenta ekisinziiro.” (Lub. 3:14, 15; Kub. 12:9) Yesu okubetentebwa ekisinziiro kyalaga nti bwe yandittiddwa, okufa kwe kwandibadde kwa kaseera buseera kubanga Yakuwa yandimuzuukizza ng’alina ekitiibwa eky’omu ggulu. Naye omusota okubetentebwa omutwe kyalaga nti Omulyolyomi yandizikiriziddwa emirembe n’emirembe.​—Soma Ebikolwa 2:31, 32; Abaebbulaniya 2:14.

2. Lwaki Yakuwa yali mukakafu nti Yesu yandisobodde okuziyiza Omulyolyomi?

2 Yakuwa yali akimanyi nti Yesu ajja kusobola bulungi okutuukiriza omulimu gwe n’okuziyiza Omulyolyomi ng’ali ku nsi. Kino Yakuwa yakimanya atya? Yakimanya olw’okuba yali yatonda dda Yesu, yali amaze ebbanga ddene nnyo ng’amwetegereza era yali akimanyi nti “omukoza” we oyo era “omubereberye w’ebitonde byonna” muwulize era mwesigwa. (Nge. 8:22-31; Bak. 1:15) N’olwekyo, Katonda bwe yatuma Yesu ku nsi era n’aleka Omulyolyomi amugezese okutuukira ddala ku kufa, yali mukakafu nti Omwana We oyo eyazaalibwa omu yekka yandituuse ku buwanguzi.​—Yok. 3:16.

Yakuwa Akuuma Abaweereza Be

3. Omulyolyomi ayisa atya abaweereza ba Yakuwa?

3 Yesu yalaga nti Omulyolyomi ye ‘mufuzi w’ensi eno’ era yalabula abayigirizwa Be nti nabo yali ajja kubayigganya. (Yok. 12:31, NW; 15:20) Ensi eno eri mu buyinza bwa Setaani Omulyolyomi, era teyagalira ddala Bakristaayo ba mazima olw’okuba baweereza Yakuwa, era babuulizi ba butuukirivu. (Mat. 24:9; 1 Yok. 5:19) Omulyolyomi okusinga obukyayi abwolekeza ensigalira y’abaafukibwako amafuta abagenda okufuga ne Kristo mu Bwakabaka bw’omu ggulu. Setaani ayigganya n’Abajulirwa ba Yakuwa abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna. Ekigambo kya Katonda kitulabula nti: “Omulabe wammwe Setaani atambulatambula, ng’empologoma ewuluguma, ng’anoonya gw’anaalya.”​—1 Peet. 5:8.

4. Kiki ekiraga nti abantu ba Katonda basobodde okuziyiza Omulyolyomi mu kiseera kyaffe?

4 Ng’ekibiina, tulina obuwagizi bwa Yakuwa Katonda era tusobola bulungi okuziyiza Omulyolyomi. Lowooza ku bino ebibaddewo: Mu myaka 100 egiyise, abamu ku bannakyemalira abakyasingidde ddala okuba ababi bagezezzaako okusaanyawo Abajulirwa ba Yakuwa. Naye Abajulirwa bazze beeyongera bweyongezi obungi era kati kumpi bali 7,000,000 mu bibiina ebisukka mu 100,000 mu nsi yonna. Kyokka abafuzi abo abaali bayigganya abantu ba Yakuwa baasaanawo dda!

5. Ebiri mu Isaaya 54:17 bituukiridde bitya ku bantu ba Yakuwa?

5 Katonda yagamba eggwanga lya Isiraeri ery’edda nti: “Tewaabenga kya kulwanyisa kye baliweesa okulwana naawe ekiriraba omukisa; era buli lulimi olulikugolokokerako okuwoza naawe olirusinga. Obwo bwe busika obw’abaddu ba Mukama, n’obutuukirivu bwabwe obuva gye ndi.” (Is. 54:17) Ekisuubizo ekyo kituukiridde ku bantu ba Yakuwa okwetooloola ensi mu ‘nnaku zino ez’oluvannyuma.’ (2 Tim. 3:1-5, 13) Olw’okuba Yakuwa atuwagira, tusobola bulungi okuziyiza Omulyolyomi, era tewali kyakulwanyisa kyonna ky’ayinza kukozesa kumalawo bantu ba Katonda.​—Zab. 118:6, 7.

6. Okusinziira ku bunnabbi bwa Danyeri, kiki ekinaatuuka ku bufuzi bw’Omulyolyomi?

6 Enkomerero y’enteekateeka y’ebintu eno kati esembedde, era obufuzi bwa Setaani bwonna bujja kusaanyizibwawo. Nnabbi Danyeri yaluŋŋamizibwa okulagula nti: “Mu mirembe gya bakabaka abo [abaliwo mu kiseera kyaffe], Katonda ow’eggulu alissaawo obwakabaka [mu ggulu], obutalizikirizibwa emirembe gyonna, so n’okufuga kwabwo tekulirekerwa ggwanga ddala: naye bulimenyaamenya era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna [obuliwo kati], era bunaabeereranga emirembe gyonna.” (Dan. 2:44) Ekyo bwe kinaatuukirira, obufuzi bwa Setaani wamu n’obw’abantu bujja kukoma. Buli kintu ekikwatagana n’enteekateeka y’ebintu eno eya Setaani kijja kusaanyizibwawo, era Obwakabaka bwa Katonda bujja kufuga ensi yonna nga tewali abuvuganya.​—Soma 2 Peetero 3:7, 13.

7. Tumanya tutya nti buli muweereza wa Yakuwa asobola okuziyiza Omulyolyomi?

7 Tewali kubuusabuusa nti ekibiina kya Yakuwa kijja kufuna obukuumi era kijja kweyongera okuba obulungi mu by’omwoyo. (Soma Zabbuli 125:1, 2.) Naye ate kiri kitya ku ffe? Baibuli egamba nti tusobola okuziyiza Omulyolyomi nga Yesu bwe yakola. Mu butuufu, Kristo bye yayogera okuyitira mu mutume Yokaana biraga nti wadde Setaani akola buli ky’asobola, ‘ekibiina ekinene’ eky’abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi kijja kuwonawo ng’enteekateeka y’ebintu eno ezikirizibwa. Okusinziira ku Byawandiikibwa, abo abakirimu boogerera waggulu nga bagamba nti: “Obulokozi buba bwa Katonda waffe atudde ku ntebe, n’eri Omwana gw’endiga [Yesu Kristo].” (Kub. 7:9-14) Abaafukibwako amafuta boogerwako nti bawangula Setaani, era ne bannaabwe ‘eb’endiga endala’ bamuziyiza. (Yok. 10:16; Kub. 12:10, 11) Naye kino kyetaagisa okufuba kwa maanyi n’okusaba ennyo Katonda ‘atulokole eri omubi’ oyo.​—Mat. 6:13.

Yesu Yatuteerawo Ekyokulabirako Ekirungi

8. Omulyolyomi lwe yasooka okukema Yesu ng’ali mu ddungu yamugamba kukola ki, era Kristo yaddamu atya?

8 Omulyolyomi yafuba okulaba nti Yesu takuuma bwesigwa bwe eri Katonda. Yesu bwe yali mu ddungu, Setaani yagezaako okumukema ajeemere Yakuwa. Naye Yesu yassawo ekyokulabirako ekirungi mu kuziyiza Setaani. Oluvannyuma lw’okumala ennaku 40 nga talya emisana n’ekiro, ateekwa okuba ng’enjala yali emuluma nnyo. Setaani yamugamba: “Oba oli Mwana wa Katonda, gamba amayinja gano gafuuke emmere.” Naye Yesu yagaana okukozesa amaanyi Katonda ge yamuwa okufuna by’ayagala. Yamuddamu nti: “Kyawandiikibwa nti Omuntu tabanga mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.”​—Mat. 4:1-4; Ma. 8:3.

9. Lwaki twandifubye okulaba nti Omulyolyomi tatubuzaabuza ng’akozesa okwegomba kw’omubiri?

9 Leero, Omulyolyomi agezaako okubuzaabuza abaweereza ba Yakuwa ng’akozesa okwegomba kw’omubiri. N’olwekyo, tuteekwa okufuba okulaba nti tetutwalirizibwa bikolwa bya bugwenyufu ebicaase ennyo mu nsi eno. Ekigambo kya Katonda kigamba: “Temumanyi ng’abatali batuukirivu tebalisikira bwakabaka bwa Katonda? Temulimbibwanga: newakubadde abakaba, newakubadde abasinza ebifaananyi, newakubadde abenzi, newakubadde abafuuka abakazi, newakubadde abalya ebisiyaga . . . tebalisikira bwakabaka bwa Katonda.” (1 Kol. 6:9, 10) N’olwekyo, abantu abakola ebikolwa eby’obugwenyufu nga tebaagala kubireka tebajja kukkirizibwa kubeera mu nsi ya Katonda empya.

10. Okusinziira ku Matayo 4:5, 6, Setaani yagezaako atya nate okulemesa Yesu okukuuma obwesigwa bwe eri Katonda?

10 Ebyawandiikibwa biraga nti Setaani yagezaako okukema Yesu ng’ali mu ddungu omulundi omulala. Bigamba nti: “Setaani n’amutwala ku kibuga ekitukuvu; n’amuteeka ku kitikkiro kya yeekaalu, n’amugamba nti Oba oli Mwana wa Katonda, buuka ogwe wansi: kubanga kyawandiikibwa nti Alikulagiririza ba malayika be: mu mikono gyabwe balikuwanirira, oleme okwesittala ekigere kyo ku jjinja.” (Mat. 4:5, 6) Setaani yali ayagala Yesu alowooze nti okukola ekyo kyandiraze nti ddala ye Masiya. Naye ekituufu kyali nti ekikolwa ekyo kyandibadde kiraga kwegulumiza era tekyandisanyusizza Katonda. Ne ku mulundi ogwo, Yesu yakuuma obwesigwa bwe eri Yakuwa era yamuddamu ng’akozesa ekyawandiikibwa. Yagamba: “Kyawandiikibwa nate nti Tokemanga Mukama Katonda wo.”​—Mat. 4:7; Ma. 6:16.

11. Setaani ayinza kutukema atya, era biki ebiyinza okuvaamu?

11 Setaani oluusi agezaako okutukema twenoonyeze ebitiibwa mu ngeri ezitali zimu. Ayinza okwagala tukopperere abantu b’ensi mu nnyambala ne mu kwekolako, oba twesanyuseemu mu ngeri ezitasaana. Naye bwe tubuusa amaaso emitindo gya Baibuli ne tutambulira ku gy’ensi, ddala twandisuubidde bamalayika okututaasa emitawaana egiva mu kukwata ekkubo ng’eryo? Wadde nga Kabaka Dawudi yeenenya ebibi bye yakola ng’ayenze ne Basuseba, yalina okwolekagana n’emitawaana gyonna egyava mu bikolwa bye. (2 Sam. 12:9-12) N’olwekyo, ka twewale ebintu ebituleetera okukema Yakuwa, gamba ng’okukola omukwano n’ensi.​—Soma Yakobo 4:4; 1 Yokaana 2:15-17.

12. Okusinziira ku Matayo 4:8, 9, Omwana wa Katonda yakemebwa atya, era yaddamu ki?

12 Omulyolyomi era yagezaako okukema Yesu ng’ali mu ddungu ng’amusuubiza okuwa obufuzi. Setaani yalaga Yesu obwakabaka bwonna obw’omu nsi n’ekitiibwa kyabwo n’amugamba nti: “Ebyo byonna n[n]aabikuwa bw’onoovun[n]ama okunsinza.” (Mat. 4:8, 9) Nga yalaga obukuusa bwa kika kya waggulu ng’ayagala Yesu asinze ye mu kifo kya Yakuwa, mu ngeri eyo, amulemese okukuuma obwesigwa bwe eri Katonda! Okwegomba okusinzibwa kwaleetera malayika oyo eyali omwesigwa okwonoona, n’afuuka Setaani Omulyolyomi. (Yak. 1:14, 15) Kyokka ye Yesu yali mumalirivu okukuuma obwesigwa bwe eri Kitaawe ow’omu ggulu, era yagamba: ‘Vaawo genda Setaani, kubanga kyawandiikibwa nti Osinzanga Mukama Katonda wo, era gw’oweerezanga yekka.’ Bw’atyo Yesu nate yaziyiza Omulyolyomi awatali kuluma mu bigambo. Omwana wa Katonda yali tayagala kintu kyonna kikwatagana na nsi ya Setaani, era yagaanira ddala okusinza omubi oyo!​—Mat. 4:10; Ma. 6:13; 10:20.

“Muziyizenga Omulyolyomi Naye Anaabaddukanga”

13, 14. (a) Bwe yalaga Yesu obwakabaka bwonna obw’omu nsi, Omulyolyomi yali ayagala kumuwa ki? (b) Setaani atusendasenda atya?

13 Bwe yalaga Yesu obwakabaka bwonna obw’omu nsi, Omulyolyomi yali ayagala kumuwa buyinza omufuzi yenna bw’atabangako nabwo. Setaani yalowooza nti Yesu bwe yandirabye ebyo, yandisikiriziddwa okwagala okufuuka omufuzi asingirayo ddala okuba ow’amaanyi mu nsi yonna. Kituufu nti ffe Omulyolyomi tatusuubiza bwakabaka, naye agezaako okutubuzaabuza ng’ayitira mu bintu bye tulaba, bye tuwulira, ne bye tulowooza.

14 Omulyolyomi y’afuga ensi eno. Bwe kityo, eby’empuliziganya byayo biri mu mikono gye. N’olwekyo, tekyewuunyisa nti ebintu abantu bye balaba, bye bawuliriza, ne bye basoma bijjudde eby’obugwenyufu n’ettemu. Amakampuni galanga eby’amaguzi nfaafa nga gagezaako okutusikiriza tubigule, wadde nga mu butuufu tuba tetubyetaaga. Omulyolyomi akozesa ebintu ng’ebyo bye tulaba, bye tuwulira, ne bye tulowooza okutuleetamu omutima ogw’okwagala ennyo ebintu. Naye bwe twewala ebintu ng’ebyo ebikontana n’Ebyawandiikibwa, naffe tuba tugamba nti: “Vaawo genda, Setaani!” Mu ngeri eyo, tuba tukoppye Yesu mu kuba abamalirivu era abavumu nga tulwanyisa ensi ya Setaani eno embi. Ate era tukiraga bulungi nti tetuli kitundu kya nsi ya Setaani olw’okuba tukyogera kaati ku ssomero, ku mulimu, gye tubeera, ne mu b’eŋŋanda zaffe nti tuli Bajulirwa ba Yakuwa era bagoberezi ba Kristo.​—Soma Makko 8:38.

15. Lwaki tulina okuba obulindaala okusobola okuziyiza Setaani?

15 Omulyolyomi bwe yagezaako okukema Yesu omulundi ogw’okusatu n’alemwa, ‘yamuleka.’ (Mat. 4:11) Kyokka, eby’okukema Yesu yali tabiviiriddeeko ddala kubanga tusoma nti: “Omulyolyomi bwe yamala okumukema [mu ddungu], n’amuleka okutuusa lwe yandifunye akakisa omulundi omulala.” (Luk. 4:13, NW) Buli lwe tuziyiza Omulyolyomi, tusaanidde okwebaza Yakuwa. Naye era tulina okwongera okumusaba atuyambe kubanga tukimanyi nti Omulyolyomi ajja kufuna akakisa akalala atukeme​—oluusi nga tubadde tetukisuubira. N’olwekyo, tulina okuba obulindaala, nga tunyiikira okuweereza Yakuwa ka tube nga twolekaganye na kugezesebwa kwa ngeri ki.

16. Maanyi ki Yakuwa g’atuwa, era lwaki tulina okusaba tugafune?

16 Okusobola okuziyiza Omulyolyomi, tulina okusaba Katonda atuwe amaanyi agasinga amaanyi gonna butonde bwonna​—omwoyo gwa Katonda omutukuvu. Gujja kutusobozesa okukola ebintu bye tutandisobodde kukola ku lwaffe. Ng’alaga nti abagoberezi be basobola okufuna omwoyo gwa Katonda, Yesu yagamba: “Oba nga mmwe ababi mumanyi okuwa abaana bammwe ebirabo ebirungi, talisinga nnyo Kitammwe ali mu ggulu okuwa [o]mwoyo [o]mutukuvu abamusaba.” (Luk. 11:13) Ka bulijjo tusabenga Yakuwa atuwe omwoyo gwe omutukuvu. Bwe tunaayambibwako omwoyo ogwo ogw’amaanyi bwe gutyo, tujja kutuuka ku buwanguzi mu kuziyiza Omulyolyomi. Ng’oggyeko okunyiikirira okusaba, twetaaga okwambala eby’okulwanyisa byonna ebiva eri Katonda tusobole ‘okuziyiza enkwe za Setaani.’​—Bef. 6:11-18.

17. Ssanyu ki eryayamba Yesu okuziyiza Omulyolyomi?

17 Waliwo ekintu ekirala ekyayamba Yesu okuziyiza Omulyolyomi, era naffe kisobola okutuyamba. Baibuli egamba nti: ‘Olw’essanyu eryateekebwa mu maaso ge yagumiikiriza omuti ogw’okubonaabona, n’anyooma ensonyi, era n’atuula ku mukono ogwa ddyo ogw’entebe ya Katonda.’ (Beb. 12:2) Naffe tusobola okufuna essanyu ng’eryo nga tuwagira obufuzi bwa Yakuwa, nga tuwa erinnya lye ekitiibwa, era nga tukuumira ekirabo eky’obulamu obutaggwawo mu birowoozo byaffe. Nga tujja kusanyuka nnyo nga Setaani amaliddwawo wamu n’ebikolwa bye byonna, era ‘ng’abawombeefu basikidde ensi era nga beeyagalira mu mirembe emingi’! (Zab. 37:11) N’olwekyo, weeyongere okuziyiza Omulyolyomi nga Yesu bwe yakola.​—Soma Yakobo 4:7, 8.

Wandizzeemu Otya?

• Bukakafu ki obulaga nti Yakuwa akuuma abantu be?

• Yesu yateekawo kyakulabirako ki mu kuziyiza Setaani?

• Mu ngeri ki gy’osobola okuziyiza Omulyolyomi?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]

Okukola omukwano n’ensi kitufuula balabe ba Katonda

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 31]

Yesu yagaana okukkiriza obwakabaka bw’omu nsi Setaani bwe yali amuwa

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share