Lwaki Osaanidde Okukuuma Obugolokofu Bwo?
“Nnamula, ai Yakuwa, . . . okusinziira ku bugolokofu bwange.”—ZAB. 7:8, NW.
1, 2.Ezimu ku mbeera ezigezesa obugolokofu bwaffe ng’Abakristaayo ze ziruwa?
PLOWOOZA ku mbeera zino wammanga: Omulenzi omu bayizi banne bamuyiikiriza. Bamusosonkereza nga baagala anyiige, oboolyawo alwane n’okulwana. Omulenzi oyo anaabaddamu, oba anaatambula n’abaviira? Ssemaka omu ali yekka awaka era alina by’anoonyereza ku Internet. Ku kompyuta ye kujjako akabokisi akalaga engeri gy’ayinza okutuuka ku mukutu ogulaga ebifaananyi eby’obugwenyufu. Anaagenda ku mukutu ogwo oba nedda? Omukazi Omukristaayo ali ne banne banyumya era abamu batandika okwogera obubi ku muganda waabwe omu mu kibiina. Anaayongereza ku bye boogera, oba anaagezaako okukyusa emboozi?
2 Wadde ng’embeera ezo za njawulo, zirina ekintu kye zifaanaganya. Zonsatule zeetaagisa omuntu okufuba okukuuma obugolokofu ng’Omukristaayo. Bw’oba ofuba okwetuusaako bye weetaaga mu bulamu oba okutuuka ku biruubirirwa byo, olowooza ku bugolokofu bwo? Buli lunaku abantu balowooza ku ndabika yaabwe, ku bulamu bwabwe, ku ngeri gye bayinza okweyimirizaawo, ku mikwano gyabwe, n’ebirala bingi. Ebintu ng’ebyo tuyinza okubimalirako ennyo ebirowoozo. Naye Yakuwa bw’aba akebera emitima gyaffe, kiki ddala ky’asinga okutwala ng’ekikulu? (Zab. 139:23, 24) Bugolokofu bwaffe.
3. Kiki Yakuwa ky’atuleka okwesalirawo, era tugenda kwetegereza ki mu kitundu kino?
3 Yakuwa, Omugabi wa ‘buli kirabo ekirungi,’ buli omu ku ffe yamuwa ebirabo ebitali bimu. (Yak. 1:17) Tulina omubiri, obulamu, obusobozi bw’okulowooza, n’ebirala bingi. (1 Kol. 4:7) Naye tatukaka kukuuma bugolokofu. Atuleka ne twesalirawo obanga tunaakulaakulanya engeri eno ennungi. (Ma. 30:19) N’olwekyo, tuba tulina okumanya amakulu g’ekigambo obugolokofu. Era tujja kulaba ensonga ssatu lwaki engeri eyo nkulu nnyo.
Obugolokofu Kye Ki?
4. Obugolokofu buzingiramu ki, era kiki kye tuyinza okuyiga mu tteeka lya Yakuwa erikwata ku ssaddaaka z’ensolo?
4 Ekigambo obugolokofu bangi tebakitegeera bulungi. Ng’ekyokulabirako, abantu bwe boogera ku bugolokofu, emirundi egisinga baba boogera ku kuba wa mazima. Okuba ow’amazima kirungi, naye ekyo kimu bumu ku bintu ebiraga obugolokofu. Obulongoofu obwogerwako mu Baibuli butwaliramu okuba ng’otuukiridde mu mpisa era nga tolina kikubulako. Ekigambo “obugolokofu” kiva mu bigambo by’Olwebbulaniya ebitegeeza ekintu ekirungi ennyo, ekiramba, oba ekitaliiko kamogo. Ekimu ku bigambo ebyo kyakozesebwanga ku ssaddaaka ezaaweebwangayo eri Yakuwa. Ensolo ennungi ennyo, oba ennamba, ye yokka Yakuwa gye yakkirizanga ng’eweereddwayo nga ssaddaaka. (Soma Eby’Abaleevi 22:19, 20.) Yakuwa yanenya abantu abaamenyanga etteeka lye ne bawaayo ensolo ennema, endwadde, oba ezaaziba amaaso.—Mal. 1:6-8.
5, 6. (a) Byakulabirako ki ebiraga nti ekintu ekiramba oba ekitaliiko kamogo tukitwala nga kya muwendo? (b) Okusobola okukuuma obugolokofu omuntu alina kuba ng’atuukiridde? Nnyonnyola.
5 Kya bulijjo okwagala ekintu ekiramba oba ekitaliiko kamogo. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku mukuŋŋaanya w’ebitabo ng’azudde ekitabo ky’abadde anoonya okumala ebbanga, naye n’asanga ng’ezimu ku mpapula okuli by’ayagala teziriimu. Awulira ennaku, era ayinza n’okusalawo obutakigula. Oba lowooza ku mukazi ng’agenda alonda amasonko ku lubalama lw’ennyanja. Buli lw’alaba essonko erimusanyusa alironda n’alyekebejja. Olowooza masonko ki g’anaasalawo okutwala? Awatali kubuusabuusa, ajja kutwala ago gokka amalamba era agataliiko kamogo. Katonda naye bw’atyo anoonya abantu abalungi, abalina emitima egituukiridde.—2 Byom. 16:9.
6 Muli oyinza okwebuuza obanga omuntu okusobola okukuuma obugolokofu alina kuba ng’atuukiridde. Olw’okuba twazaalibwa nga tuli boonoonyi era nga tetutuukiridde, tuyinza okuwulira nga tulinga ekitabo kiri ekyakuukamu empapula oba essonko eryamogokako. Naawe oluusi owulira bw’otyo? Ba mukakafu nti Yakuwa akimanyi bulungi nti tetutuukiridde. Tatusuubira kukola bintu bisukka ku busobozi bwaffe.a (Zab. 103:14; Yak. 3:2) Kyokka atusuubira okukuuma obugolokofu. Kati olwo, waliwo enjawulo wakati w’omuntu okukuuma obugolokofu n’okuba atuukiridde? Yee. Ng’ekyokulabirako: Omusajja aba ayagala nnyo omukazi gw’aba agenda okuwasa. Naye takitwala nti omukazi oyo atuukiridde. Wadde kiri kityo, aba amusuubira okumwagala n’omutima gwe gwonna, era nga ye musajja yekka gw’ayagala. Mu ngeri y’emu, Yakuwa ‘Katonda wa buggya.’ (Kuv. 20:5) Akimanyi bulungi nti tetutuukiridde, naye atusuubira okumwagala n’omutima gwaffe gwonna.
7, 8. (a) Yesu yateekawo kyakulabirako ki mu kukuuma obugolokofu? (b) Okusinziira ku Byawandiikibwa, okukuuma obugolokofu kitegeeza ki?
7 Ekyo kitujjukiza Yesu kye yaddamu bwe yabuuzibwa etteeka erisinga gonna obukulu. (Soma Makko 12:28-30.) Kye yaddamu naye yennyini kwe yali atambulizako obulamu bwe. Yassaawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi ng’ayagala Yakuwa n’omutima gwe gwonna, n’emmeeme ye yonna, n’amaanyi ge gonna. Yalaga nti obugolokofu tebukoma mu bigambo, wabula bulina okweyolekera ne mu bikolwa ebisibukira ddala mu mutima omulungi. Okusobola okukuuma obugolokofu, tulina okutambulira mu bigere bya Yesu.—1 Peet. 2:21.
8 N’olwekyo, okusinziira ku Byawandiikibwa, okukuuma obugolokofu kitegeeza okwemalira ku Yakuwa Katonda yekka wamu n’ebigendererwa bye. Kitegeeza okufuba okusanyusa Yakuwa mu byonna bye tukola buli lunaku, era ng’ebintu by’atwala ng’ebikulu naffe bye tutwala ng’ebikulu. Ka tulabe ensonga ssatu lwaki kino kikulu nnyo.
9. Obugolokofu bwaffe bulina kakwate ki n’obufuzi bwa Yakuwa?
9 Yakuwa okuba nti y’agwanidde okufuga tekisinziira ku bugolokofu bwaffe. Obufuzi bwe bwa bwenkanya, bwa mirembe na mirembe, era buzingiramu obutonde bwonna. Ka ebitonde bikole ki oba byogere ki, ekyo tekigenda kukyukako. Kyokka, obufuzi bwa Katonda bwasiigibwa enziro mu ggulu ne ku nsi. Bulina okuggibwako enziro eyo, ebitonde byonna ebirina amagezi bimanye nti obufuzi bwe butuufu, bwa bwenkanya, era bwa kwagala. Ng’Abajulirwa ba Yakuwa, tuli basanyufu okwogera na buli muntu eyandyagadde okumanya ebikwata ku bufuzi bwa Katonda. Naye, tusobola tutya okulaga nti ddala tuwagira obufuzi bwe? Tuyinza tutya okulaga nti Yakuwa ye mufuzi waffe? Nga tukuuma obugolokofu.
10. Setaani yayogera ki ekikwata ku bugolokofu bw’abantu, era ggwe wandyagadde kukolawo ki?
10 Lowooza ku nsonga lwaki obugolokofu bwo kintu kikulu. Okusinziira ku Setaani, tewali muntu ayinza kuwagira bufuzi bwa Katonda, era nti tewali ayinza kuweereza Yakuwa lwa kumwagala bwagazi nga tewali ky’afunamu. Mu maaso ga bamalayika abaali bakuŋŋaanye, Omulyolyomi yagamba Yakuwa nti: “Eddiba olw’eddiba, weewaawo, byonna omuntu by’alina alibiwaayo olw’obulamu bwe.” (Yobu 2:4) Weetegereze nti ebigambo bya Setaani bizingiramu abantu bonna, so si Yobu yekka. Baibuli ky’eva eyogera ku Setaani ng’oyo “avunaana baganda baffe.” (Kub. 12:10, NW) Asoomooza Yakuwa ng’agamba nti Abakristaayo—nga naawe mw’oli—tebasobola kuba beesigwa. Setaani agamba nti ojja kwegaana Yakuwa singa obulamu bwo bunaabeera mu katyabaga. Muli ggwe owulira otya bw’oyogerwako ebintu ng’ebyo? Tewandyagadde kufuna kakisa kulaga nti Setaani mulimba? Kino osobola okukikola ng’okuuma obugolokofu bwo.
11, 12. (a) Byakulabirako ki ebiraga nti ebintu bye tukola mu bulamu obwa bulijjo bikwata ku bugolokofu bwaffe? (b) Lwaki okukuuma obugolokofu nkizo ya maanyi?
11 Eky’okuba omugolokofu kikwata nnyo ku nneeyisa yaffe ne ku ebyo bye tukola. Jjukira abantu abasatu be twayogeddeko ku ntandikwa. Bandikoze ki okusigala nga bagolokofu? Omulenzi oyo bayizi banne gwe basosonkereza awulira nga yandyagadde abaddemu, naye ajjukira ebigambo bino: “Temuwalananga mwekka ggwanga, abaagalwa, naye waakiri musegulirenga obusungu: kubanga kyawandiikibwa nti Okuwalana kwange; nze ndisasula, bw’ayogera Mukama.” (Bar. 12:19) Bw’atyo atambula n’abaviira. Ssemaka ali ku Internet ayinza okusalawo okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu, naye ajjukira omusingi oguli mu bigambo bya Yobu bino: “N[n]alagaana endagaano n’amaaso gange; kale nandiyinzizza ntya okutunuulira omuwala?” (Yobu 31:1) Ssemaka oyo naye bw’atyo asalawo obutalaba bifaananyi ebyo ebibi, era abyewalira ddala nga bwe yandyewaze obutwa. Omukazi anyumya ne banne bw’awulira nga batandise okwogera ebintu ebibi ku balala, asiriikirira bw’ajjukira ebigambo bino: “Buli muntu mu ffe asanyusenga munne mu bulungi olw’okumuzimba.” (Bar. 15:2) Ebigambo banne bye boogera tebizimba. Byonoona erinnya lya Mukristaayo munnaabwe era tebisanyusa Kitaawe ow’omu ggulu. Bw’atyo afuga olulimi lwe era n’akyusa emboozi.
12 Mu kusalawo okukola bwe batyo, buli omu ku Bakristaayo abo aba ng’agamba nti: ‘Yakuwa ye Mufuzi wange. Ka nfube okukola ekyo ekimusanyusa.’ Naawe ebintu obitunuulira bw’otyo ng’olina ensonga gy’osalawo oba ng’olina ky’oyagala okukola? Bwe kiba kityo, oba otuukiriza ebigambo bino ebiri mu Engero 27:11: “Mwana wange, beeranga n’amagezi osanyusenga omutima gwange, ndyokenga nziremu oyo anvuma.” Nga nkizo ya maanyi nnyo okusanyusa omutima gwa Katonda! Eyo si nsonga nnungi eyandituleetedde okukuuma obugolokofu bwaffe?
13. Ebigambo bya Yobu n’ebya Dawudi biraga bitya nti Yakuwa bw’aba atulamula asinziira ku bugolokofu bwaffe?
13 Bwe tukuuma obugolokofu kiba kiraga nti tuwagira obufuzi bwa Yakuwa. Era okwo Katonda kw’asinziira okutulamula. Kino Yobu yali akimanyi bulungi. (Soma Yobu 31:6.) Yobu yali akimanyi nti Katonda apima abantu bonna ku “minzaani eyenkanankana,” ng’akozesa emitindo gye egituukiridde okulaba obanga bagolokofu. Dawudi naye yagamba nti: “Yakuwa kennyini ajja kusalira amawanga omusango. Nnamula, ai Yakuwa, olw’obutuukirivu bwange era okusinziira ku bugolokofu bwange. . . . Katonda ow’obutuukirivu agezesa emitima n’ensigo.” (Zab. 7:8, 9, NW) Tukimanyi nti Katonda asobola okulaba ‘omutima n’ensigo’ eby’akabonero, kwe kugamba, kye tuli munda. Naye kikulu okujjukira kiki ky’aba anoonya. Nga Dawudi bwe yagamba, Yakuwa atulamula ng’asinziira ku bugolokofu bwaffe.
14. Lwaki tetusaanidde kulowooza nti tetusobola kukuuma bugolokofu olw’okuba tetutuukiridde?
14 Fumiitirizaamu nga Yakuwa Katonda akebera emitima gy’obukadde n’obukadde bw’abantu leero. (1 Byom. 28:9) Olowooza bameka balaba abakuuma obugolokofu bw’Ekikristaayo? Batono ddala! Wadde kiri kityo, tetusaanidde kulowooza nti tuli boonoonyi nnyo tetusobola kukuuma bugolokofu. Okufaananako Dawudi ne Yobu, tuli bakakafu nti Yakuwa ajja kukiraba nti tukuuma obugolokofu, wadde nga tetutuukiridde. Kikulu okukimanya nti omuntu ne bw’aba ng’atuukiridde, taba na busobozi bwa njawulo kukuuma bugolokofu. Ku nsi kwakabeerako abantu abatuukiridde basatu bokka, kyokka ababiri, Adamu ne Kaawa, baalemwa okukuuma obugolokofu. Naye ate abantu bangi nnyo abatatuukiridde basobodde okukikola. Era naawe osobola.
15. Dawudi yakiraga atya nti tulina okukuuma obugolokofu tusobole okuba n’essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso?
15 Olw’okuba Yakuwa asinziira ku bugolokofu bwaffe ng’atulamula, tulina okubukuuma tusobole okuba n’essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso. Kino Dawudi yali akimanyi bulungi. (Zabbuli 41:12.b) Yali musanyufu nnyo olw’essuubi ly’okuba mu maaso ga Katonda emirembe gyonna. Okufaananako Abakristaayo ab’amazima leero, Dawudi yali yeesunga okuba omulamu emirembe gyonna, abeerenga kumpi ne Yakuwa Katonda ng’amuweereza. Yali akimanyi bulungi nti okusobola okutuuka ku bisuubizo ebyo byonna, yalina okukuuma obugolokofu bwe. Yakuwa naffe atuwanirira, atuyigiriza, atuwa obulagirizi, era atuwa emikisa gye bwe tukuuma obugolokofu.
16, 17. (a) Lwaki oli mumalirivu okukuuma obugolokofu bwo? (b) Bibuuzo ki bye tujja okwekenneenya mu kitundu ekiddako?
16 Okuba n’essuubi kituyamba okuba abasanyufu. Essuubi litusobozesa okuyita mu biseera ebizibu. Liyamba ne mu kukuuma ebirowoozo byaffe. Jjukira nti essuubi Baibuli eryogerako nga sseppeewo. (1 Bas. 5:8) Nga sseppeewo bw’ekuuma omutwe gw’omuserikale ali mu lutalo, essuubi likuuma ebirowoozo byaffe ne twewala endowooza embi eziri mu nsi ya Setaani eno. Mu butuufu, omuntu bw’ataba na ssuubi, obulamu bwe tebuba na makulu. Tulina okwekebera mu bwesimbu tulabe engeri gye tuyinza okunywezaamu obugolokofu bwaffe, bwe tutyo tunyweze essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso. Teweerabira nti bw’okuuma obugolokofu oba olaga nti owagira obufuzi bwa Yakuwa era oba onyweza essuubi lyo ery’ebiseera eby’omu maaso. N’olwekyo, bulijjo fuba okukuuma obugolokofu bwo!
17 Olw’okuba kikulu nnyo okukuuma obugolokofu, waliwo ebibuuzo ebirala bye twetaaga okwekenneenya. Tuyinza tutya okukulaakulanya obugolokofu? Kiki ekinaatuyamba okukuuma obugolokofu bulijjo? Kiki ekiyinza okukolebwa okuyamba omuntu addiridde mu kukuuma obugolokofu? Ekitundu ekiddako kijja kuddamu ebibuuzo ebyo.
[Obugambo obuli wansi]
a Yesu yagamba: ‘Mulina okuba abatuukiridde nga Kitammwe ow’omu ggulu bw’atuukiridde.’ (Mat. 5:48, NW) Yesu yali akimanyi nti n’abantu abatatuukiridde basobola okukola ekintu obulungi, mu ngeri eyo ne baba nga batuukiridde. Tusobola bulungi okutuukiriza ekiragiro ky’okwagala abalala, bwe tutyo ne tusanyusa Katonda. Kyokka, ye Yakuwa atuukiridde mu buli ngeri yonna. Era “obugolokofu” obubwe buzingiramu okuba nti atuukiridde.—Zab. 18:30.
b Zabbuli 41:12 (NW): “Naye nze, ompaniridde olw’obugolokofu bwange, era ojja kunteeka mu maaso go emirembe gyonna.”
Wandizzeemu Otya?
• Obugolokofu kye ki?
• Obugolokofu bwaffe bukwata butya ku bufuzi bwa Yakuwa?
• Okukuuma obugolokofu kikwatagana kitya n’okuba n’essuu
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 5]
Bye tukola mu bulamu obwa bulijjo bigezesa obugolokofu bwaffe