Osobola Okuweereza Awali Obwetaavu Obusingawo obw’Ababuulizi b’Obwakabaka?
“Twali mu bulamu bulungi mu Amerika naye twakiraba ng’okubeera mu bantu abaluubirira eby’obugagga kiyinza okubeera eky’akabi eri ffe ffenyini awamu n’abaana baffe. Nze ne mukyala wange twaweerezaako ng’abaminsani, era twali twagala okuddamu okuba mu bulamu obwo obwangu era obw’essanyu.”
N’EKIRUUBIRIRWA ekyo mu birowoozo, mu 1991, Ralph ne Pam baasalawo okuwandiikira ofiisi z’amatabi ez’enjawulo okubategeeza nti bandyagadde okuweereza mu bitundu awali obwetaavu obusingawo obw’ababuulizi bw’Obwakabaka. Ofiisi y’ettabi ey’omu Mexico yabategeeza nti waaliwo obwetaavu bw’amaanyi obw’ababuulizi b’Obwakabaka abasobola okubuulira abantu aboogera olulimi Olungereza mu nsi eyo. Mu butuufu, ofiisi y’ettabi yabagamba nti ekitundu ekyo kyali ‘kituuse okukungula.’ (Yok. 4:35) Oluvannyuma lwe bbanga ttono, Ralph ne Pam awamu ne batabani baabwe babiri, ow’emyaka 8 n’ow’emyaka 12, baatandika okukola enteekateeka ez’okugenda mu nsi eyo.
Ekitundu Ekinene Ennyo eky’Okubuuliramu
Ralph agamba: “Nga tetunnava mu Amerika, abamu ku b’oluganda mu kibiina baatugamba nti: ‘Ky’akabi nnyo okugenda mu nsi endala!’ ‘Watya singa mulwalirayo?’ ‘Lwaki mugenda okubuulira mu kitundu ekirimu abantu aboogera Olungereza? Abantu abo tebajja kukkiriza bubaka bwammwe!’ Wadde kyali kityo, ffe twali tumaliridde okugenda. Ggwe ate oba, kino tetwakisalawo lwa kukwatibwa bukwatibwa kinyegenyege. Twali tumaze emyaka mingi nga tukyetegekera. Twewalanga okubeera n’amabanja amanene, twaterekangawo ku ssente era twakubaganyanga ebirowoozo ng’amaka ku bizibu bye twandisanze.”
Okusooka, Ralph n’ab’omu maka ge bakyala ku ttabi ly’e Mexico. Nga bali eyo, ab’oluganda babalaga mmaapu y’ensi eyo era ne babagamba nti, “Kino kye kitundu kye mugenda okubuuliramu!” Amaka ago gaasalawo okubeera mu San Miguel de Allende, ekibuga ekirimu abantu abangi aboogera olulimi olugwira, ekiri mayiro nga 150 mu bukiikakkono bw’obuvanjuba bw’Ekibuga Mexico. Oluvannyuma lw’emyaka esatu nga batuuse mu kibuga ekyo, ekibiina eky’Olungereza ekirimu ababuulizi 19 kyatandikibwawo. Ekyo kye kibiina eky’Olungereza ekyasookera ddala mu Mexico—naye waali wakyaliwo omulimu munene ogwali gubalindiridde.
Kiteberezebwa nti mu Mexico waliyo abantu abaava mu Amerika abawerera ddala akakadde kalamba. Okugatta ku ekyo, mu Mexico waliyo abakozi bangi abatendeke awamu n’abayizi abasobola okwogera Olungereza. Ralph agamba: “Twasaba Yakuwa atwongere abakozi abalala. Twalina n’ekisenge ky’abagenyi omwasulanga ab’oluganda abajjanga ‘okuketta ensi,’ kwe kugamba, abajjanga okulaba obanga basobola okuweereza mu kitundu ekyo omuli obwetaavu obusingawo.”—Kubal. 13:2.
Obulamu Bwabwe Baabufuula Bwangu Basobole Okugaziya ku Buweereza Bwabwe
Mu bbanga ttono, ab’oluganda abalala abaali baagala okugaziya ku buweereza bwabwe nabo bajja mu kitundu ekyo. Bill ne Kathy okuva mu Amerika be bamu ku abo abajja. Baali baweerezzaako mu bitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi abasingako okumala emyaka 25. Baali baagala okuyiga Olusipanisi, naye ekirowoozo kyabwe kyakyuka bwe baasengukira mu kibuga kye Ajijic ekiri ku lubalama lw’Ennyanja Chapala, awabeera abantu okuva mu Amerika abaawummula emirimu gyabwe. Bill agamba nti: “Twafuba nnyo okunoonya abantu aboogera olulimi Olungereza abaali baagala okuyiga amazima mu Ajijic.” Mu bbanga lya myaka ebiri gyokka, Bill ne Kathy baali basanyufu nnyo okulaba ng’ekibiina eky’okubiri eky’Olungereza kitandikibwawo mu Mexico.
Ken ne Joanne okuva mu Canada baayagala okufuula obulamu bwabwe obwangu basobole okukola ekisingawo mu mulimu gw’Obwakabaka. Nabo baasengukira mu Mexico. Ken agamba nti: “Kyatutwalira ekiseera okumanyira okubeera mu kifo we tutayinza kufuna mazzi gookya, masannyalaze, ssaako n’essimu okumala akabanga.” Wadde kyali kityo, twanyumirwa nnyo omulimu gw’okubuulira. Mu bbanga ttono, Ken yalondebwa okukola ng’omuweereza mu kibiina, era oluvannyuma lwe myaka ebbiri n’alondebwa okuweereza ng’omukadde. Mu kusooka, tekyali kyangu eri muwala waabwe Britanny okumanyira okubeera mu kibiina eky’Olungereza omutaali bavubuka bangi. Naye bwe yatandika okwenyigira mu mulimu ogw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka, yafuna emikwano emirungi mingi okwetooloola ensi eyo yonna.
Patrick ne Roxanne, okuva mu ssaza lya Texas mu Amerika, kyabasanyusa nnyo okuwulira ebikwata ku kitundu kye baali bagenda okubuuliramu ekitaali wala nnyo era nga kirimu abantu aboogera Olungereza. Patrick agamba nti: “Nga tutuuse mu Monterrey, ekibuga ekiri mu bukiikakono bw’obuvanjuba bwa Mexico, twawulira nti Yakuwa yali ayagala tugende tubuulire mu kitundu ekyo.” Mu nnaku ttaano zokka, baasobola okutunda amaka gaabwe ag’omu Texas ne bagenda e Mexico, bwe kityo ne baba ‘ng’abawunguse okugenda e Makedoni.’ (Bik. 16:9) Tekyali kyangu gye bali okweyimirizaawo mu Mexico, naye mu myaka ebiri gyokka, kyabasanyusa nnyo okulaba ng’akabinja k’abantu 17 kafuuka ekibiina ekinene eky’ababuulizi abawerera ddala 40.
Jeff ne Deb nabo baafuula obulamu bwabwe obwangu basobole okugaziya ku buweereza bwabwe. Baatunda amaka gaabwe amanene agaali mu Amerika era ne bapangisa ennyumba entonotono eri mu Cancún, ekibuga ekiri mu buvanjuba bw’olubalama lwa Mexico. Baali bamanyidde okufunira enkuŋŋaana ennene mu kizimbe ekiri okumpi n’awaka ekirimu ebyuma ebiyingiza empewo. Naye kati baali balina okutindigganga olugendo lwa ssaawa munaana okusobola okutuuka mu kibangirizi gye baafuniranga olukuŋŋaana olunene olw’Olungereza. Naye kyabasanyusa nnyo okulaba nga mu Cancún watandikibwawo ekibiina eky’ababuulizi abawerera ddala 50.
Abamu ku baganda baffe ne bannyinaffe ab’omu Mexico baatandika okubuulira mu lulimi Olungereza. Ng’ekyokulabirako, Rubén n’ab’omu maka ge bwe baawulira nti ekibiina ky’Olungereza kyali kitandikiddwawo mu San Miguel de Allende era nga kye kyali kivunaanyizibwa okubuulira mu Mexico yonna, amangu ddala baasalawo okukiwagira. Kino kyali kibeetaagisa okuyiga Olungereza, okumanyira empisa z’omu kitundu, n’okutindigganga eŋŋendo empanvu, kwe kugamba, mayiro 500 buli wiiki okusobola okubangawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina. Rubén agamba: “Twanyumirwa nnyo okubuulira abagwira abaali bamaze emyaka emingi mu Mexico naye nga baali tebawulirangako mawulire malungi mu lulimi lwabwe. Abamu ku bo baatulaga okusiima nga bakulukusa n’amaziga.” Bwe baamala okuyamba ekibiina ky’omu San Miguel de Allende, Rubén n’ab’omu maka ge baasalawo okugenda okuweereza nga bapayoniya mu kibuga ky’e Guanajuato, ekiri mu massekati ga Mexico, era bayambako mu kutandikawo ekibiina eky’Olungereza ekyalimu ababuulizi abasoba 30. Leero, baweereza mu kibinja ekyogera olulimi Olungereza ekiri mu Irapuato, ekibuga ekiri okumpi ne Guanajuato.
Okubuulira Abo Abatali Bangu ba Kutuukako
Ng’oggyeko abagwira, waliwo bannansi ba Mexico bangi aboogera Olungereza. Oluusi tekiba kyangu kubatuusaako bubaka bw’Obwakabaka okuva bwe kiri nti babeera mu bifo ebigagga era ng’abakozi b’awaka be baggulawo enzigi. Oba singa nnyinimu y’aba aguddewo oluggi, ayinza obutayagala bubaka bwaffe olw’okuba aba alowooza nti Abajulirwa ba Yakuwa kadiinidiini ak’omu kitundu. Naye ate bw’aba ng’atuukiriddwa Abajulirwa ba Yakuwa okuva mu nsi endala, ayinza okukkiriza obubaka bwaffe.
Lowooza ku kyokulabirako kya Gloria ow’omu kibuga ky’e Querétaro, ekiri mu masekkati ga Mexico. Agamba nti: “Abajulirwa ba Yakuwa aboogera Olusipanisi baali bantuukiriddeko naye ne sibawuliriza. Naye, ab’omu maka gange n’emikwano gyange bwe baatandika okufuna ebizibu, nnennyamira nnyo era ne nsaba Katonda annyambe. Nga wayiseewo ebbanga ttono, omukyala ayogera Olungereza yajja mu maka gange. Yambuuza obanga waliwo omuntu yenna mu maka gange eyali asobola okwogera Olungereza. Olw’okuba yali mugwira, nnayagala okumanya ebimukwatako era ne mugamba nti nsobola okulwogera. Bwe yali ng’ayogera, muli nnali nneebuuza nti, ‘Omukyala ono Omumerika, kiki ekimuleese mu kitundu kino?’ Naye nnali nsabye Katonda annyambe. Oboolyawo Katonda yali azzeemu okusaba kwange ng’ayitira mu mukyala ono omugwira.” Gloria yakkiriza okuyiga Baibuli era n’akulaakulana mangu nnyo n’abatizibwa, wadde nga yali aziyizibwa ab’omu maka ge. Leero, Gloria aweereza nga payoniya owa bulijjo, era omwami we ne mutabani we nabo baweereza Yakuwa.
Emikisa Egifunibwa Abo Abagaziya ku Buweereza Bwabwe
Wadde nga si kyangu nnyo okuweereza mu kitundu awali obwetaavu obusingawo obw’ababuulizi b’Obwakabaka, kino ku bwakyo kirimu emiganyulo mingi. Ralph, eyayogeddwako waggulu, gamba nti: “Twayiga Baibuli n’abantu okuva mu Bungereza, China, Jamaica, Sweden, ne mu Ghana. Abamu ku bayizi ba Baibuli bano, baasalawo okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna. Mu myaka egiyiseewo, amaka gaffe galabye ebibiina musanvu eby’Olungereza nga bitandikibwawo. Batabani baffe bombi nabo baatandika okuweereza nga bapayoniya, era nga kati baweerereza mu maka ga Beseri mu Amerika.”
Mu kiseera kino, mu Mexico waliyo ebibiina 88 eby’Olungereza awamu n’ebibinja ebirala bingi. Kiki ekiviiriddeko okukulaakulana kuno okw’amaanyi? Abantu bangi aboogera Olungereza mu Mexico baali tebafunanga mukisa kuwulira bubaka bw’Abajulirwa ba Yakuwa. Abalala bakkiriza obubaka bwaffe olw’okuba baali tebaziyizibwa ab’eŋŋanda zaabwe n’emikwano gyabwe ab’omu nsi zaabwe. Era n’abalala bakkiriza okuyiga Baibuli olw’okuba baali bawummudde emirimu gyabwe era nga balina ebiseera bingi okuyiga ebikwata ku Katonda. Okugatta ku ekyo, ababuulizi abasukka mu kimu kyakusatu abali mu bibiina by’Olungereza baweereza nga bapayoniya ekiviiriddeko ebibiina ebyo okuba ebinyiikivu mu mulimu gw’okubuulira era n’okukulaakulana ennyo.
Emikisa Mingi Gikulindiridde
Awatali kubuusabuusa abantu bangi okwetooloola ensi yonna bajja kusiima obubaka bw’Obwakabaka bwe bunaababuulirwa mu nnimi zaabwe. N’olwekyo, kizzaamu nnyo amaanyi okulaba nga baganda baffe ne bannyinaffe bangi abafaayo ku by’omwoyo—abakulu n’abato, abafumbo n’abo abali obwannamunigina—nga beetegefu okusengukira mu bifo awali obwetaavu obusingawo obw’ababuulizi b’Obwakabaka. Kyo kituufu nti bayinza okwolekagana n’ebizibu, naye ebizibu ebyo biba bitono nnyo bw’obigeraageranya n’essanyu lye bafuna nga basanze omuntu ayagala okuyiga amazima ga Baibuli. Oyinza okukola enkyukakyuka ezinaakusobozesa okusengukira mu kitundu ekirala ekiri mu nsi yo oba mu nsi endala awali obwetaavu obusingawo obw’ababuulizi ab’Obwakabaka?a (Luk. 14:28-30; 1 Kol. 16:9) Bwe kiba bwe kityo, ba mukakafu nti ojja kufuna emikisa mingi.
[Obugambo obuli wansi]
a Okusobola okumanya ebisingawo ebikwata ku kuweereza awali obwetaavu obusingawo, laba akatabo Organized to Do Jehovah’s Will, olupapula 111-112.
[Akasanduuko akali ku lupapula 21]
Abantu Abasanyufu Abaawummula ku Mirimu Basikiriza Abalala
Beryl yasenguka okuva mu Bungereza n’agenda e Canada. Ng’ali eyo, yakola nga maneja mu kampuni nnyingi eziddukanyiza emirimu gyazo mu nsi yonna. Era yali mukugu mu kuvuga embalaasi bw’atyo n’alondebwa okukiikirira Canada mu mpaka z’Olimpikisi ezaaliwo mu 1980. Ng’ali mu Chapala eky’omu Mexico oluvannyuma lw’okuwummula emirimu gye, Beryl n’omwami we baateranga okuliirako mu wooteeri eri mu kibuga ekyo. Bwe yalaba abantu abasanyufu aboogera Olungereza abaawummula ku mirimu, yabeeyanjulira era n’ababuuza kye baali bakola mu Mexico. Abantu abo abasanyufu baabanga Bajulirwa ba Yakuwa. Beryl n’omwami we baalowooza nti bwe kiba nti essanyu n’ekigendererwa mu bulamu biva mu kumanya Katonda, nabo bandyagadde okumumanya. Oluvannyuma lw’okugenda mu nkuŋŋaana z’ekibiina okumala emyezi egiwerako, Beryl yakkiriza okuyiga Baibuli. Beryl yaweereza nga payoniya owa bulijjo okumala emyaka mingi.
[Akasanduuko akali ku lupapula 22]
“Ba Muganyulo Nnyo Gye Tuli”
Abo abasengukira mu nsi endala awali obwetaavu obusingawo obw’ababuulizi b’Obwakabaka, basiimibwa nnyo ab’oluganda ababa mu nsi ezo. Ofiisi y’ettabi emu mu Caribbean yagamba nti: “Singa enkumi n’enkumi z’ab’oluganda abagwira abaweerereza mu nsi eno baddayo ewaboobwe, kiyinza okukosa ennyo ebibiina. Mu butuufu, ab’oluganda bano ba muganyulo nnyo gye tuli.”
Ekigambo kya Katonda kigamba nti “abakazi ababuulira amawulire amalungi ggye ddene.” (Zab. 68:11, NW) N’olwekyo, tekyewuunyisa nti waliwo bannyinaffe bangi abali obwannamunigina abaweerereza mu nsi endala. Bannyinaffe bano abalina omwoyo gw’okwerekereza ba muganyulo nnyo. Ofiisi y’ettabi emu eri mu Bulaaya ow’Ebuvanjuba yagamba nti: “Mu bibiina bingi, mulimu bannyinaffe bangi, era ng’oluusi bawerera ddala ebitundu 70 ku buli kikumi ku muwendo gw’ababuulizi bonna abali mu buli kibiina. Abasinga obungi ku bano baakayiga amazima, naye batendekebwa bannyinaffe abaava mu nsi endala abali obwannamunigina. Mu butuufu, tusiima nnyo bannyinaffe bano abava mu nsi endala!”
Bannyinaffe abo bawulira batya okuweerereza mu nsi engwira? Angelica mwannyinaffe atemera mu myaka 30 egy’obukulu eyali aweerezzaako nga payoniya ali obwannamunigina mu nsi endala okumala emyaka egiwerako, agamba nti: “Ebizibu byo bingi. Mu kitundu ekimu gye nnasindikibwa okubuulira, buli lunaku nnatambuliranga mu makubo agajjudde ebisooto era kyannakuwazanga nnyo okulaba abantu ababonaabona. Naye nnafuna essanyu lingi mu kuyamba abantu mu buweereza. Era nnazzibwangamu nnyo amaanyi olw’abaganda bange ab’omu kitundu ekyo abaaneebazanga buli kiseera olw’okujja okubayamba. Muganda wange omu yaŋŋamba nti ekyokulabirako kyange eky’okuva mu nsi yange ne nzijja okuweereza nga payoniya mu nsi yaabwe, naye kyamuleetera okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna.”
Payoniya omu ayitibwa Sue, atemera mu myaka 50 egy’obukulu, agamba nti: “Awatali kubuusabuusa, wabaawo ebizibu by’oyolekagana nabyo, naye tebiyinza kugeraageranyizibwa na mikisa gy’ofuna. Okubuulira kunyuma nnyo! Olw’okuba mala ebiseera bingi nga mbuulira ne baganda bange abakyali abato, nsobodde okubayamba okutegeera engeri y’okwaŋŋangamu ebizibu nga mbabuulira ebyo bye mba njize okuva mu Baibuli ne mu bitabo byaffe. Batera okuŋŋamba nti ekyokulabirako kyange mu ngeri gye nkwatamu ebizibu bye njolekagana nabyo ng’ampeereza nga payoniya ali obwannamunigina okumala emyaka mingi kibayambye okukitegeera nti nabo basobola okuvvuunuka ebizibu bye basanga mu bulamu bwabwe. Okuyamba baganda bange bano kinyambye okufuna obumativu n’essanyu mu buweereza bwange.”
[Mmaapu eri ku lupapula 20]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu magazini)
MEXICO
Guanajuato
Irapuato
Chapala
Ajijic
Ennyanja Chapala
Monterrey
San Miguel de Allende
Querétaro
EKIBUGA MEXICO
Cancún
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 23]
Abamu bafunye essanyu mu kubuulira abantu abagwira abatawulirangako mawulire malungi