LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w10 3/15 lup. 24-28
  • Ekisibo Kimu, Omusumba Omu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ekisibo Kimu, Omusumba Omu
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Eggwanga Eriggya
  • Waliwo n’Abalala Abazingirwamu?
  • Endagaano Empya
  • Baani Abasaanidde Okunywa n’Okulya ku Bubonero?
  • ‘Banaafuuka Bantu Bange’
  • Mujja Kuba ‘Obwakabaka bwa Bakabona’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Okukuŋŋaanya Ebiri mu Ggulu n’Ebiri ku Nsi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
w10 3/15 lup. 24-28

Ekisibo Kimu, Omusumba Omu

“Nammwe [abangoberedde] mulituula ku ntebe ekkumi n’ebbiri ne mulamula ebika bya Isiraeri ekkumi n’ebibiri.”​—MAT. 19:28.

1. Yakuwa yakolagana atya ne bazzukulu ba Ibulayimu, era lwaki ekyo tekitegeeza nti ab’amawanga amalala yali tabatwala nga kikulu?

YAKUWA yayagala nnyo Ibulayimu, era yayagala nnyo ne bazzukulu be. Okumala ebyasa ebisukka mu 15, yali atwala eggwanga lya Isiraeri, bazzukulu ba Ibulayimu, ng’abantu be abalonde, “eggwanga ery’envuma.” (Soma Ekyamateeka 7:6.) Ekyo kitegeeza nti abantu ab’amawanga amalala Yakuwa yali tabatwala nga kikulu? Nedda. Mu kiseera ekyo, abantu abataali Baisiraeri abaali baagala okusinza Yakuwa bakkirizibwanga okwegatta ku ggwanga lye ery’envuma. Abantu ng’abo baatwalibwanga ng’ab’eggwanga eryo. Abaisiraeri baalina okubayisa nga baganda baabwe. (Leev. 19:33, 34) Era nabo baalina okukwata amateeka ga Yakuwa gonna.​—Leev. 24:22.

2. Bigambo ki ebyewuunyisa Yesu bye yayogera, era kino kireetawo bibuuzo ki?

2 Kyokka, Yesu yayogera ebigambo ebyewuunyisa bwe yagamba Abayudaaya ab’omu kiseera kye nti: “Obwakabaka bwa Katonda bujja kubaggibwako buweebwe eggwanga eribala ebibala byabwo.” (Mat. 21:43) Baani abandibadde mu ggwanga lino, era ekyo kitukwatako kitya leero?

Eggwanga Eriggya

3, 4. (a) Omutume Peetero yalaga atya eggwanga eriggya? (b) Baani abali mu ggwanga lino eriggya?

3 Omutume Peetero yalaga bulungi eggwanga eryo eriggya. Yagamba Bakristaayo banne nti: “Mmwe muli ‘ggwanga ddonde, bakabona abaweereza nga bakabaka, eggwanga ettukuvu, abantu Katonda be yeetwalidde, musobole okulangirira obulungi’ bw’oyo eyabayita okuva mu kizikiza okuyingira mu kitangaala eky’ekitalo.” (1 Peet. 2:9) Nga bwe kyalagulwa, Abayudaaya abakkiriza Yesu nga Masiya be baasooka okubeera mu ggwanga eryo eriggya. (Dan. 9:27a; Mat. 10:6) Oluvannyuma, n’abalala bangi abataali Baisiraeri beegatta ku ggwanga eryo, kubanga Peetero yagattako nti: “Mu kusooka temwali ggwanga, naye kati muli ggwanga lya Katonda.”​—1 Peet. 2:10.

4 Wano Peetero yali ayogera ku baani? Bwe yali atandika ebbaluwa ye, yagamba nti: “[Katonda] yatuzaala buggya ne tuba n’essuubi eddamu okuyitira mu kuzuukira kwa Yesu Kristo, ne tuba n’obusika obutavunda, obulongoofu era obutaggwaawo. Obusika obwo bubaterekeddwa mu ggulu.” (1 Peet. 1:3, 4) N’olwekyo, Abakristaayo abaafukibwako amafuta, abalina essuubi ery’okugenda mu ggulu, be bali mu ggwanga lino eriggya. Era bano ye “Isiraeri wa Katonda.” (Bag. 6:16) Mu kwolesebwa, omutume Yokaana yalaba Abaisiraeri bano ab’omwoyo nga bali 144,000. “Baagulibwa okuva mu bantu okuba ebibala ebibereberye eri Katonda n’Omwana gw’Endiga” okuweereza nga “bakabona” ‘n’okufugira awamu ne Yesu nga bakabaka okumala emyaka lukumi.’​—Kub. 5:10; 7:4; 14:1, 4; 20:6; Yak. 1:18.

Waliwo n’Abalala Abazingirwamu?

5. (a) Ebigambo “Isiraeri wa Katonda” bikwata ku baani? (b) Lwaki ekigambo “Isiraeri” tekirina makulu ga mulundi gumu gwokka?

5 Kyo kituufu nti ebigambo “Isiraeri wa Katonda” ebiri mu Abaggalatiya 6:16 bikwata ku Bakristaayo abaafukibwako amafuta bokka. Naye, waliwo ggwanga lya Isiraeri lwe likozesebwa okukiikirira Abakristaayo abalala ng’oggyeko abaafukibwako amafuta? Eky’okuddamu kisangibwa mu bigambo bya Yesu bino bye yagamba abatume be abeesigwa: “Nkola nammwe endagaano nga Kitange bwe yakola nange endagaano ey’obwakabaka, musobole okuliira n’okunywera ku mmeeza yange mu bwakabaka bwange, era mutuule ku ntebe ez’obwakabaka okusalira emisango ebika ekkumi n’ebibiri ebya Isiraeri.” (Luk. 22:28-30) Kino kijja kubaawo ‘ng’ebintu byonna bizzibwa buggya’ mu kiseera ky’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi.​—Soma Matayo 19:28.

6, 7. Okusinziira ku Matayo 19:28 ne Lukka 22:30 “ebika ekkumi n’ebibiri ebya Isiraeri” bikiikirira baani?

6 Abaafukibwako amafuta 144,000 bajja kuweereza mu ggulu nga bakabaka, bakabona, era abalamuzi mu kiseera ky’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi. (Kub. 20:4) Baani be bajja okusalira emisango, era baani be bajja okufuga? Okusinziira ku Matayo 19:28 ne Lukka 22:30, bajja kusalira emisango “ebika ekkumi n’ebibiri ebya Isiraeri.” ‘Ebika ekkumi n’ebibiri ebya Isiraeri’ ebyogerwako mu byawandiikibwa ebyo bikiikirira baani? Bikiikirira abo bonna abalina essuubi ery’okubeera ku nsi​—abo abakkiririza mu ssaddaaka ya Yesu naye nga tebali mu kibiina kya bakabona. (Ekika kya Leevi tekyamenyebwa mu bika 12 ebya Isiraeri ow’omubiri.) Abo aboogerwako wano ng’ebika 12 ebya Isiraeri beebo abajja okuganyulwa mu buweereza bwa bakabona 144,000. Wadde nga bo si bakabona, nabo bantu ba Katonda, abaagala era abasiima. Eyo y’ensonga lwaki bageraageraanyizibwa ku bantu be ab’edda.

7 N’olwekyo tekyewuunyisa nti oluvannyuma lw’omutume Yokaana okulaba Abaisiraeri ab’omwoyo 144,000 nga bateekebwako akabonero ng’ekibonyoobonyo ekinene tekinnatandika, era yalaba ‘ab’ekibiina ekinene’ abatamanyiddwa muwendo nga bava “mu buli ggwanga.” (Kub. 7:9) Bano bajja kuyita mu kibonyoobonyo ekinene batuuke mu Bufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi. Era bajja kwegattibwako abantu buwumbi na buwumbi abanaaba bazuukiziddwa. (Yok. 5:28, 29; Kub. 20:13) Bano be bakiikirirwa “ebika ekkumi n’ebibiri ebya Isiraeri,” Yesu awamu ne banne 144,000 be bajja okusalira emisango.​—Bik. 17:31; 24:15; Kub. 20:12.

8. Ebyo ebyabangawo ku Lunaku olw’Okutangirirako ebibi byalaga bitya akakwate akali wakati wa 144,000 n’abantu abalala?

8 Ebyo ebyabangawo ku Lunaku olw’Okutangirirako Ebibi biraga akakwate akali wakati wa 144,000 n’abantu abalala. (Leev. 16:6-10) Kabona omukulu yalinanga okusooka okusaddaaka ente ennume okutangirira ebibi ‘bye n’eby’ab’ennyumba ye.’ Ekyo kitegeeza nti ssaddaaka ya Yesu okusookera ddala eganyula abo ab’ennyumba ye, abajja okuweerereza awamu naye nga bakabona mu ggulu. Era ku Lunaku lw’Okutangirirako Ebibi, embuzi bbiri zaaweebwangayo okutangirira ebibi by’Abaisiraeri abalala. Ab’ekika kya bakabona bakiikirira 144,000, ate bo Abaisiraeri abalala bakiikirira abo bonna abalina essuubi ery’okubeera ku nsi. Ekyo kiraga nti ebigambo “ebika ekkumi n’ebibiri ebya Isiraeri” tebikoma ku kukozesebwa ku baafukibwako amafuta bokka, naye era bisobola n’okukozesebwa ku abo bonna abakkiririza mu ssaddaaka ya Yesu.a

9. Mu kwolesebwa kwa Ezeekyeri okukwata ku yeekaalu, bakabona bakiikirira baani, era Abaisiraeri abataali bakabona bakiikirira baani?

9 Lowooza ku kyokulabirako ekirala. Nnabbi Ezeekyeri yafuna okwolesebwa okukwata ku yeekaalu ya Yakuwa. (Ez., sul. 40-48) Mu kwolesebwa okwo, bakabona baaweerezanga mu yeekaalu, nga bayigiriza abantu era nga bafuna obulagirizi okuva eri Yakuwa. (Ez. 44:23-31) Mu kwolesebwa kwe kumu, abantu ab’ebika ebirala baagendanga okusinza n’okuwaayo ssaddaaka. (Ez. 45:16, 17) Okusinziira ku kwolesebwa okwo, bakabona bakiikirira abaafukibwako amafuta, ate bo Abaisiraeri okuva mu bika ebitaali bya bakabona bakiikirira abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi. Okwolesebwa okwo kulaga nti bakabona n’abo abataali bakabona baakoleranga wamu, naye nga bakabona be baatwalanga obukulembeze mu kusinza okw’amazima.

10, 11. (a) Bigambo ki Yesu bye yayogera ebituukiriziddwa mu kiseera kino? (b) Kibuuzo ki ekikwata ku b’endiga endala kye tugenda okwetegereza?

10 Yesu yayogera ku ‘ndiga endala’ ezitandibadde mu ‘kisibo ekitono’ eky’abagoberezi be abaafukibwako amafuta. (Yok. 10:16; Luk. 12:32) Yagamba nti: “Nazo nnina okuzireeta era zijja kuwulira eddoboozi lyange, zonna zifuuke ekisibo kimu, wansi w’omusumba omu.” Nga kizzaamu nnyo amaanyi okulaba obunnabbi buno nga butuukirira! Leero, ebibiina bino ebibiri bigattiddwa wamu​—ekibiina ekitono eky’abaafukibwako amafuta n’ekibiina ekinene eky’ab’endiga endala. (Soma Zekkaliya 8:23.) Wadde nga ab’endiga endala mu ngeri ey’akabonero tebaweerereza mu luggya olw’omunda olwa yeekaalu ey’eby’omwoyo, baweerereza mu luggya lwa yeekaalu olw’ebweru.

11 Bwe kiba nti Abaisiraeri ab’edda abataali bakabona oluusi bakiikirira ab’endiga endala, kati olwo abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi nabo basaanidde okulya ku bubonero bw’Ekijjukizo? Ka tulabe eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo.

Endagaano Empya

12. Nteekateeka ki empya Yakuwa gye yayogerako?

12 Yakuwa yayogera ku nteekateeka empya eyandibaddewo wakati we n’abantu be bwe yagamba nti: “Eno ye ndagaano gye ndiragaana n’ennyumba ya Isiraeri oluvannyuma lw’ennaku ezo, . . . nditeeka amateeka gange mu bitundu byabwe eby’omunda, era mu mutima gwabwe mwe ndigawandiik[a]; nange n[n]aabanga Katonda waabwe, nabo banaabanga bantu bange.” (Yer. 31:31-33) Okuyitira mu ndagaano eno empya, ekisuubizo kya Yakuwa eri Ibulayimu kyali kya kutuukirizibwa.​—Soma Olubereberye 22:18.

13, 14. (a) Baani abali mu ndagaano empya? (b) Baani abaganyulwa mu ndagaano empya, era ‘baginyweza’ batya?

13 Mu kiro ekyasembayo amale attibwe, Yesu yali ayogera ku ndagaano eno empya bwe yagamba nti: “Ekikopo kino kikiikirira endagaano empya ekoleddwa olw’omusaayi gwange ogugenda okuyiibwa ku lwammwe.” (Luk. 22:20; 1 Kol. 11:25) Abakristaayo bonna bali mu ndagaano eno empya? Nedda. Abamu ku bo, gamba ng’abatume abaanywa ku kikopo mu kiro ekyo, be bali mu ndagaano eyo.b Yesu yakola endagaano endala nabo basobole okufugira awamu naye mu Bwakabaka bwe. (Luk. 22:28-30) Bajja kufugira wamu ne Yesu mu Bwakabaka bwe.​—Luk. 22:15, 16.

14 Ate kiri kitya ku abo abajja okubeera ku nsi wansi w’Obwakabaka bwe? Bo baganyulwa mu ndagaano eno empya. (Bag. 3:8, 9) Wadde nga tebali mu ndagaano eno, ‘baginyweza’ nga bagikolerako, nga nnabbi Isaaya bwe yalagula: ‘Bannaggwanga abeegatta ku Mukama, okumuweerezanga, n’okwagalanga erinnya lya Mukama, okuba abaddu be, buli muntu akwata ssabbiiti obutagyonoona, n’anyweza endagaano yange; abo ndibatuusa ku lusozi lwange olutukuvu, ne mbasanyusa mu nnyumba yange ey’okusabirangamu.’ Yakuwa yagattako nti: “Kubanga ennyumba yange eneeyitibwanga nnyumba ya kusabirangamu eri amawanga gonna.”​—Is. 56:6, 7.

Baani Abasaanidde Okunywa n’Okulya ku Bubonero?

15, 16. (a) Endagaano empya Pawulo yagikwataganya na baani? (b) Lwaki abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi tebanywa era tebalya ku bubonero bwa Kijjukizo?

15 Abo abali mu ndagaana empya ‘balina obugumu nti basobola okukozesa ekkubo eriyingira mu kifo ekitukuvu.’ (Soma Abebbulaniya 10:15-20.) Bano be bajja ‘okufuna obwakabaka obutayinza kunyeenyezebwa.’ (Beb. 12:28) N’olwekyo, abo bokka abajja okuba bakabaka era bakabona mu ggulu ne Yesu Kristo be basaanidde okunywa ku ‘kikopo’ ekikiikirira endagaano empya. Bano abali mu ndagaano empya beebo abajja okufumbirwa Omwana gw’Endiga. (2 Kol. 11:2; Kub. 21:2, 9) Abantu abalala bonna ababaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo bo baba batunuulizi, era tebanywa wadde okulya ku bubonero.

16 Pawulo era atuyamba okutegeera nti abo abalina essuubi ery’okubeera ku nsi tebalina kulya wadde okunywa ku bubonero bw’Ekijjukizo. Yagamba Abakristaayo abaafukibwako amafuta nti: “Buli lwe mulya ku mugaati guno era ne munywa ne ku kikopo kino muba mulangirira okufa kwa Mukama waffe okutuusa lw’alijja.” (1 Kol. 11:26) Mukama waffe “alijja” ddi? Kino kijja kubaawo bw’alijja okutwala eyafukibwako amafuta, ow’ekibiina ky’omugole, asembayo mu ggulu. (Yok. 14:2, 3) Kya lwatu nti ekiseera kijja kutuuka omukolo gw’okukwata eky’Ekiro kya Mukama Waffe gukome. ‘Abakyasigaddewo’ ku b’ezzadde ly’omukazi bajja kugenda mu maaso n’okulya ku ky’ekiro ekyo okutuusa bonna lwe banaafuna empeera yaabwe mu ggulu. (Kub. 12:17) Singa abo ab’okubeera ku nsi emirembe gyonna baali balya era nga banywa ku bubonero, olwo omukolo gw’Ekijjukizo tegwandikwatiddwa emirembe gyonna?

‘Banaafuuka Bantu Bange’

17, 18. Obunnabbi obuli mu Ezeekyeri 37:26, 27 butuukiriziddwa butya?

17 Yakuwa yalagula ku bumu obwandibadde mu bantu be ng’agamba nti: “Ndiragaana nabo endagaano ey’emirembe, eneebanga ndagaano eteriggwaawo gye bali: era ndibateekawo ne mbaaza, era nditeeka awatukuvu wange wakati mu bo emirembe gyonna. Era n’eweema yange eneebanga nabo: nange n[n]aabanga Katonda waabwe, nabo banaabanga bantu bange.”​—Ez. 37:26, 27.

18 Abantu ba Katonda bonna baganyulwa mu kutuukirizibwa kw’ekisuubizo kino eky’ekitalo, endagaano eno ey’emirembe. Yee, Yakuwa asuubizza abaweereza be bonna abeesigwa emirembe. Ekibala ky’omwoyo kyeyolese bulungi mu bantu be. Awatukuvu we, awakiikirira okusinza okw’amazima, wali wakati mu bo. Bafuukidde ddala bantu be olw’okuba baleseeyo okusinza ebifaananyi ne basalawo okusinza Yakuwa, Katonda omu ow’amazima.

19, 20. Baani ababalibwa mu abo Yakuwa b’ayita ‘abantu be,’ era endagaano empya esobozesa ki?

19 Nga tufunye essanyu lingi okulaba ebibiina ebibiri nga bigattiddwa wamu mu kiseera kyaffe! Wadde ng’ab’ekibiina ekinene abagenda beeyongerayongera obungi tebalina ssuubi lya kugenda mu ggulu, basanyufu okuba nti bakolera wamu n’abo abalina essuubi eryo. Beekutte ku Isiraeri wa Katonda. Bwe kityo nabo babalibwa mu abo Yakuwa b’ayita ‘abantu be.’ Bano be boogerwako mu bunnabbi buno obugamba nti: ‘Amawanga mangi galyegatta ku Mukama ne gafuuka bantu be: nange nnabeeranga wakati mu gwe.’​—Zek. 2:11; 8:21; soma Isaaya 65:22; Okubikkulirwa 21:3, 4.

20 Okuyitira mu ndagaano empya, Yakuwa asobozesezza ebintu bino byonna okutuukirira. Bannaggwanga ab’omwoyo bukadde na bukadde beegasse ku ggwanga Yakuwa ly’asiima. (Mi. 4:1-5) Bamalirivu okunyweza endagaano eyo nga bagikolerako. (Is. 56:6, 7) Bwe bakola batyo, awamu ne Isiraeri wa Katonda, bafuna emirembe egya nnamaddala. Si kya ssanyu nnyo okufuna emikisa egyo​—kati ne mu biseera eby’omu maaso!

[Obugambo obuli wansi]

a Mu ngeri y’emu, ekigamba “ekibiina” okusookera ddala kikozesebwa ku baafukibwako amafuta. (Beb. 12:23) Kyokka, ekigambo “ekibiina” kirina amakulu agasingawo, kiyinza n’okukozesebwa ku Bakristaayo bonna okutwalira awamu, ka babe nga balina ssuubi ki.​—Laba Omunaala gw’Omukuumi, Maayi 1, 2007, olupapula 9-11.

b Yesu ye Mutabaganya w’endagaano eyo, naye ye tali mu ndagaano eyo. Ng’Omutabaganya, Yesu teyalya ku bubonero.

Ojjukira?

• “Ebika ekkumi n’ebibiri,” 144,000 bye bajja okusalira emisango bye biruwa?

• Bwe kituuka ku ndagaano empya, kakwate ki akali wakati w’abaafukibwako amafuta n’ab’endiga endala?

• Abakristaayo bonna basaanidde okunywa n’okulya ku bubonero bw’Ekijjukizo?

• Obumu obwalagulwa okubaawo mu kiseera kyaffe bwe buliwa?

[Gulaafu/Ebifaananyi ebiri ku lupapula 25]

(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu magazini)

Bangi kati baweerereza wamu ne Isiraeri wa Katonda

7,313,173

4,017,213

1,483,430

373,430

1950 1970 1990 2009

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share