LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w10 3/15 lup. 14-18
  • Tambulira mu Mwoyo Otuukirize Okwewaayo Kwo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Tambulira mu Mwoyo Otuukirize Okwewaayo Kwo
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Kitegeeza ki ‘Okutambulira mu Mwoyo’?
  • Okukulemberwa Omwoyo ​—Mu Ngeri Ki?
  • Weesigame ku Mwoyo gwa Katonda
  • Okukulemberwa Omwoyo Gwa Katonda—Mu Kyasa Ekyasooka ne Leero
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Lwaki Twetaaga Okukulemberwa Omwoyo gwa Katonda?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Engeri Omwoyo Omutukuvu Gye Gutuyambamu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2019
  • Mwoyo Omutukuvu Kye Ki?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
w10 3/15 lup. 14-18

Tambulira mu Mwoyo Otuukirize Okwewaayo Kwo

“Mutambulirenga mu mwoyo, temujja kukola mubiri bye gwegomba.”​—BAG. 5:16.

1. Kubatizibwa ki okw’emirundi ebiri okwaliwo ku lunaku lwa Pentekooti?

ABAGOBEREZI ba Yesu baasobola okwogera mu nnimi ez’enjawulo ku lunaku lwa Pentekooti mu mwaka ogwa 33 mu mbala eno, olw’okuba baali babatiziddwa n’omwoyo omutukuvu. Ku olwo baayoleka ekirabo ky’omwoyo mu ngeri ey’ekyamagero. (1 Kol. 12:4-10) Biki ebyava mu kwoleka ekirabo kino era ne mu bigambo omutume Peetero bye yayogera eri abantu? Bangi ‘baalumwa mu mitima gyabwe.’ Oluvannyuma lw’okukubirizibwa Peetero, beenenya era ne babatizibwa. Ebyawandiikibwa bigamba nti: “Abo abakkiriza ebigambo bye ne babatizibwa, era ku lunaku olwo abantu ng’enkumi ssatu ne beeyongerako.” (Bik. 2:22, 36-41) Nga Yesu bwe yali alagidde, baabatizibwa mu mazzi mu linnya lya Kitaffe, n’Omwana, n’omwoyo omutukuvu.​—Mat. 28:19.

2, 3. (a) Njawulo ki eri wakati w’okubatizibwa n’omwoyo omutukuvu n’okubatizibwa mu linnya ly’omwoyo omutukuvu? (b) Lwaki abo bonna abafuuka Abakristaayo ab’amazima kibeetaagisa okubatizibwa mu mazzi?

2 Naye, waliwo enjawulo yonna wakati w’okubatizibwa n’omwoyo omutukuvu era n’okubatizibwa mu linnya ly’omwoyo omutukuvu? Yee. Abo ababatizibwa n’omwoyo omutukuvu bazaalibwa omulundi ogw’okubiri ng’abaana ba Katonda ab’omwoyo. (Yok. 3:3) Bafukibwako amafuta ng’abo abajja okuba bakabaka era bakabona mu Bwakabaka bwa Katonda obw’omu ggulu, era baba bafuuse mubiri gwa Kristo ogw’eby’omwoyo. (1 Kol. 12:13; Bag. 3:27; Kub. 20:6) N’olwekyo, okubatizibwa kuno​—nga Yakuwa abatiza abantu n’omwoyo omutukuvu​—kwaliwo okuva ku lunaku lwa Pentekooti n’okweyongerayo, ng’alonda abantu okuba abasika awamu ne Kristo. (Bar. 8:15-17) Ate kiri kitya ku kubatizibwa mu mazzi mu linnya ly’omwoyo omutukuvu, okutera okubaawo ku nkuŋŋaana ennene ez’abantu ba Yakuwa?

3 Abakristaayo ab’amazima babatizibwa mu mazzi ng’akabonero akalaga nti beewaddeyo eri Yakuwa Katonda. Abo abalina essuubi ery’okugenda mu ggulu balina okubatizibwa mu ngeri eno. Era n’obukadde n’obukadde bw’abasajja n’abakazi ab’omu kiseera kino abalina essuubi ery’okubeera ku nsi emirembe gyonna nabo kibeetaagisa okubatizibwa mu mazzi. Omuntu k’abe ng’alina ssuubi ki, okubatizibwa mu mazzi mu linnya lya Kitaffe, n’Omwana, n’omwoyo omutukuvu kintu kikulu nnyo ky’aba alina okutuukiriza okusobola okusiimibwa mu maaso ga Katonda. Abakristaayo bonna ababatizibwa mu ngeri eno kibeetaagisa ‘okutambuliranga mu mwoyo.’ (Soma Abaggalatiya 5:16.) Ofuba okutambulira mu mwoyo n’oba ng’otuukiriza okwewaayo kwo?

Kitegeeza ki ‘Okutambulira mu Mwoyo’?

4. Kitegeeza ki ‘okutambulira mu mwoyo’?

4 ‘Okutambulira mu mwoyo’ kizingiramu okukkiriza omwoyo omutukuvu okukukulembera. Mu ngeri endala kitegeeza nti oba okulemberwa omwoyo omutukuvu mu byonna by’okola mu bulamu bwo. Abaggalatiya essuula 5 eraga enjawulo eri wakati w’okukulemberwa omwoyo omutukuvu n’okukulemberwa omubiri.​—Soma Abaggalatiya 5:17, 18.

5. Okukulemberwa omwoyo omutukuvu kizingiramu kwewala bikolwa ki?

5 Bw’oba okulemberwa omwoyo omutukuvu, ofuba okwewala ebikolwa eby’omubiri gamba ‘ng’obwenzi, obutali bulongoofu, obugwenyufu, okusinza ebifaananyi, eby’obusamize, empalana, okuyomba, obuggya, obusungu, empaka, okweyawulamu, okwekutulamu obubiina, ensaalwa, okwekatankira omwenge, n’ebinyumu.’ (Bag. 5:19-21) Mu ngeri eyo, ‘ofiisa ebikolwa eby’omubiri okuyitira mu mwoyo.’ (Bar. 8:5, 13) Kino kijja kukuyamba okuteeka ebirowoozo byo ku bintu eby’omwoyo n’okukolera ku bulagirizi bwagwo, mu kifo ky’okufugibwa okwegomba kw’omubiri.

6. Waayo ekyokulabirako okulaga ekyo kye tusaanidde okukola okwoleka ekibala ky’omwoyo.

6 Bw’oleka omwoyo omutukuvu okukukulembera, oba osobola okwoleka engeri ennungi, nga kino kye ‘kibala ky’omwoyo.’ (Bag. 5:22, 23) Naye okusobola okuzooleka, naawe kiba kikwetaagisa okufuba ennyo. Ng’ekyokulabirako: Lowooza ku muntu alima. By’alima okusobola okukula obulungi, byetaaga omusana n’amazzi. Omwoyo omutukuvu tuyinza okugugeraageranya ku musana. Twetaaga omwoyo omutukuvu okusobola okubala ekibala ky’omwoyo. Naye, ennimiro esobola okuvaamu ebibala ebirungi singa omulimi aba tafubye kugirabirira? (Nge. 10:4) Yee, okusobola okubala ekibala ky’omwoyo omutukuvu, oba olina okufuba okulabirira obulungi omutima gwo. Kati weebuuze, ‘Omwoyo omutukuvu nguleka okubala ekibala kyagwo mu nze nga nange mbaako kye nkolawo?’

7. Lwaki kikwetaagisa okusoma n’okufumiitiriza okusobola okubala ekibala ky’omwoyo omutukuvu?

7 Okusobola okukungula ebibala ebirungi, omulimi kimwetaagisa okufukirira ebimera bye. Mu ngeri y’emu, naawe okusobola okukulaakulanya ekibala ky’omwoyo, weetaaga amazzi, nga gano ge mazima agali mu Baibuli ge tufuna okuyitira mu kibiina Ekikristaayo. (Is. 55:1) Oyinza n’okuba ng’oyambye bangi okukiraba nti Ebyawandiikibwa Ebitukuvu byaluŋŋamizibwa omwoyo omutukuvu. (2 Tim. 3:16) N’omuddu omwesigwa era ow’amagezi atuyamba okutegeera amazima agali mu Baibuli. (Mat. 24:45-47) N’olwekyo, okusobola okukulemberwa omwoyo omutukuvu, tulina okusoma Ekigambo kya Katonda n’okukifumiitirizaako. Ekyo bw’oba ng’okikola, oba okoppa ekyokulabirako kya bannabbi ‘abaabulirizanga ennyo era ne banoonyereza n’obwegendereza’ ku bubaka bwe baafunanga. Tekyewuunyisa nti ne bamalayika baagala nnyo okumanya ebikwata ku Zzadde eryasuubizibwa ne ku kibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta.​—Soma 1 Peetero 1:10-12.

Okukulemberwa Omwoyo ​—Mu Ngeri Ki?

8. Lwaki kikulu nnyo okusaba Yakuwa akuwa omwoyo gwe?

8 Ng’oggyeko okusoma Ebyawandiikibwa n’okubifumiitirizaako, weetaaga n’okusaba Yakuwa bulijjo akuwe obulagirizi bwe. Asobola “okukola ebisingira ddala ebyo bye tusaba oba bye tulowooza.” (Bef. 3:20; Luk. 11:13) Kati olwo osobola otya okuddamu omuntu abuuza nti, “Lwaki kinneetaagisa okusaba Katonda bwe kiba nti ‘amanyi ebintu bye nneetaaga nga sinnaba na kubimusaba’?” (Mat. 6:8) Bw’osaba Yakuwa akuwe omwoyo omutukuvu, kiba kiraga nti omwesiga. Ng’ekyokulabirako, singa omuntu akusaba obuyambi, okola kyonna ky’osobola okumuyamba olw’okuba aba alaze nti akutaddemu obwesige. (Geraageranya Engero 3:27.) Mu ngeri y’emu, Yakuwa asanyuka nnyo bw’omusaba omwoyo gwe era ajja kugukuwa.​—Nge. 15:8.

9. Okubaawo mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo kikuyamba kitya okukulemberwa omwoyo gwa Katonda?

9 Ekirala ekisobola okukuyamba okukulemberwa omwoyo omutukuvu ze nkuŋŋaana z’ekibiina n’enkuŋŋaana ennene. Kikulu nnyo okubeerawo mu nkuŋŋaana ezo n’okussaayo omwoyo. Okukola ekyo kikuyamba okutegeera ‘ebintu bya Katonda eby’ebuziba.’ (1 Kol. 2:10) Era kikuganyula nnyo bw’ofuba okubaako by’oddamu. Lowooza ku nkuŋŋaana z’obaddemu mu wiiki ennya ezaakayita. Emirundi emeka gye wawanika omukono gwo okubaako ky’oddamu? Olina we weetaaga okulongoosamu? Bwe kiba kityo, gezaako okukikolako mu wiiki eziddako. Bw’onookola bw’otyo, Yakuwa ajja kukiraba nti oyagala okwenyigira mu nkuŋŋaana era ajja kukuwa omwoyo gwe omutukuvu gukuyambe okwongera okuganyulwa mu nkuŋŋaana.

10. Okutambulira mu mwoyo kizingiramu ki?

10 Okutambulira mu mwoyo kizingiramu okukolera ku kuyitibwa okuli mu Okubikkulirwa 22:17 awagamba nti: “Omwoyo n’omugole bigamba nti: ‘Jjangu!’ Era buli awulira agambe nti: ‘Jjangu!’ Era buli alumwa ennyonta ajje; buli ayagala atwale amazzi ag’obulamu buwa.” Omwoyo, nga guyitira mu kibiina ky’omugole eky’abaafukibwako amafuta, guyita abantu okujja okunywa amazzi ag’obulamu. Bw’oba nga wakkiriza okuyitibwa okwo, naawe ofuba okugamba abalala nti, “Jjangu!”? Nga nkizo ya maanyi okwenyigira mu mulimu guno oguwonya obulamu!

11, 12. Omwoyo omutukuvu guyamba gutya mu mulimu gw’okubuulira?

11 Omulimu guno omukulu gukolebwa wansi w’obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu. Tusoma ku ngeri omwoyo omutukuvu gye gwayambamu abaminsani mu kyasa ekyasooka okubuulira mu bitundu ebyali bitabuulirwangamu. Omutume Pawulo ne banne “omwoyo omutukuvu gwabagaana okubuulira ekigambo mu ssaza ly’e Asiya”; wadde okugenda e Bisuniya. Tetumanyidde ddala ngeri omwoyo gye gwabagaana okugenda mu bitundu ebyo, naye kye tumanyi kiri nti omwoyo gwe gwakulembera Pawulo ne gumutuusa mu bitundu bya Bulaaya. Mu kwolesebwa, yalaba omusajja ow’e Makedoni ng’amwegayirira agende abayambe.​—Bik. 16:6-10.

12 Ne leero, omwoyo gwa Yakuwa guwa obulagirizi mu mulimu gw’okubuulira ogukolebwa mu nsi yonna. Wadde nga Yakuwa takyawa bulagirizi ng’ayitira mu kwolesebwa, awa abaafukibwako amafuta obulagirizi ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu. Era omwoyo gukubiriza ab’oluganda okukola kyonna kye basobola mu mulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza. Tewali kubuusabuusa nti weenyigira mu mulimu guno omukulu ennyo. Naye, osobola otya okwongera ku ssanyu ly’ofuna mu mulimu guno?

13. Osobola otya okukolera ku bulagirizi bw’omwoyo omutukuvu? Waayo ekyokulabirako.

13 Osobola okukolera ku bulagirizi bw’omwoyo omutukuvu ng’ossa mu nkola ebyo ebiyigirizibwa abantu ba Katonda. Lowooza ku kyokulabirako kya mwannyinaffe ayitibwa Mihoko enzaalwa ya Japan. Bwe yali nga yakatandika okuweereza nga payoniya, tekyamwanguyiranga kuddayo eri abantu be yabuuliranga olw’okuba yali awulira nti tasobola kubasikiriza kumuwuliriza. Mu kiseera ekyo, obulagirizi obukwata ku ngeri y’okuddiŋŋana ng’okozesa ebiseera bitono, bwafulumira mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Era ne brocuwa eyitibwa A Satisfying Life​—How to Attain It yafulumizibwa. Brocuwa eno yali etuukana bulungi n’embeera y’abantu b’omu Japan. Mihoko yakozesa amagezi agaaweebwa ku ngeri y’okukozesaamu brocuwa eno, naddala ago agaali gakwata ku kuddiŋŋana ng’okozesa ebiseera bitono. Mu bbanga ttono, yatandika okuyiga Baibuli n’abantu mu kusooka abaali bagaanye. Agamba nti, “Nnafuna abayizi bangi, era waliwo n’ekiseera we nnabeerera n’abayizi 12, abamu ne ntuuka n’okubagamba okuŋŋumiikirizaako nga sinnatandika kusoma nabo!” Mu butuufu, bw’otambulira mu mwoyo, ng’okolera ku bulagirizi obuweebwa abaweereza ba Yakuwa, ofuna emikisa mingi.

Weesigame ku Mwoyo gwa Katonda

14, 15. (a) Abantu abatatuukiridde basobola batya okutuukiriza okwewaayo kwabwe? (b) Oyinza otya okufuna emikwano emirungi?

14 Ng’omuweereza atongozeddwa, olina obuweereza bw’olina okutuukiriza. (Bar. 10:14) Oyinza okuwulira nti tolina bisaanyizo kwetikka buvunaanyizibwa buno. Naye nga bwe kiri ku baafukibwako amafuta, Katonda y’akuwa ebisaanyizo ebyo. (Soma 2 Abakkolinso 3:5.) Bw’onookola kyonna ky’osobola era ne weesigama ku mwoyo gwa Katonda, ojja kusobola okutuukiriza okwewaayo kwo.

15 Kyo kituufu nti si kyangu ffe abantu abatatuukiridde okutuukiriza okwewaayo kwaffe eri Yakuwa, Katonda atuukiridde. Oyinza okufuna obuzibu singa engeri gy’otambuzaamu obulamu bwo ereetera abamu ku abo abaali mikwano gyo okusoberwa era ne batandika ‘okukuvuma.’ (1 Peet. 4:4) Kyokka teweerabira nti kati olina emikwano emirungi mingi, omuli Yakuwa ne Yesu Kristo. (Soma Yakobo 2:21-23.) Era kikulu nnyo okumanya ab’oluganda mu kibiina mw’okuŋŋaanira, abali ekitundu kya ‘baganda bo bonna’ okwetooloola ensi. (1 Peet. 2:17; Nge. 17:17) Yakuwa okuyitira mu mwoyo gwe ajja kukuyamba okufuna emikwano emirungi.

16. Okufaananako Pawulo, lwaki ‘wandisanyukidde obunafu’?

16 Wadde ng’ofunye emikwano emirungi mu kibiina, kiyinza obutakubeerera kyangu kwaŋŋanga bizibu by’osanga mu bulamu. Ebizibu ebingi by’oyolekagana nabyo oluusi biyinza okukuleetera okuwulira ng’oweddemu amaanyi. Ekyo kye kiseera kyennyini we weetaagira okusaba Yakuwa akuwe omwoyo gwe omutukuvu. Pawulo yawandiika nti: “Bwe mbeera omunafu lwe mba ow’amaanyi.” (Soma 2 Abakkolinso 4:7-10; 12:10.) Pawulo yali akimanyi bulungi nti omwoyo gwa Katonda gusobola okuyamba omuntu okuvvuunuka obunafu obwa buli ngeri. N’olwekyo, amaanyi ga Katonda agakola gasobola okukuyamba ng’onafuye oba nga weetaaga obuyambi. Pawulo yagamba nti yali ‘asanyukira obunafu.’ Buli lwe yabanga omunafu, yakiraba nti omwoyo omutukuvu gwamuyambanga. Naawe omwoyo ogwo gusobola okukuyamba!​—Bar. 15:13.

17. Omwoyo omutukuvu guyinza gutya okukuyamba okukwata ekkubo ettuufu?

17 Twetaaga omwoyo gwa Katonda okusobola okutuukiriza okwewaayo kwaffe. Kuba akafaananyi ng’oli mugoba wa lyato. Ekigendererwa kyo kwe kuweereza Yakuwa emirembe gyonna. Omwoyo omutukuvu gulinga empewo gye weetaaga okusobola okutuuka obulungi gy’olaga. Tewandyagadde kuwugulibwa mwoyo gwa nsi ya Sitaani. (1 Kol. 2:12) Bwe kityo olina okutegeera obulungi empewo entuufu eneekuyamba okutuuka gy’olaga, nga guno gwe mwoyo omutukuvu. Okuyitira mu Kigamba kya Katonda ne mu kibiina ekikulemberwa omwoyo gwe, omwoyo omutukuvu gujja kukuyamba okukwata ekkubo ettuufu.

18. Omaliridde kukola ki, era lwaki?

18 Bw’oba ng’osoma Baibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa era ng’obeerawo mu nkuŋŋaana zaabwe, naye nga tonnaba kusalawo kwewaayo na kubatizibwa, osaanidde okwebuuza, ‘Kiki ekindobera okukikola?’ Bw’oba ng’otegedde ekifo omwoyo omutukuvu kye gulina mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Yakuwa era n’engeri gye gukolamu, fuba okukolera ku ebyo by’oyize. Yakuwa ajja kukuwa emikisa mingi. Ajja kukuwa omwoyo gwe omutukuvu. Bw’oba nga wabatizibwa emyaka mingi emabega, awatali kubuusabuusa olabye engeri omwoyo omutukuvu gye gukuyambyemu. Olabye n’engeri Katonda gy’akuwaddemu amaanyi ng’akozesa omwoyo gwe. Yee, ekyo kisobola okuba bwe kityo emirembe n’emirembe. N’olwekyo, ba mumalirivu okutambuliranga mu mwoyo omutukuvu.

Ojjukira?

• Kitegeeza ki ‘okutambulira mu mwoyo’?

• Bintu ki ebinaakuyamba ‘okutambuliranga mu mwoyo’?

• Oyinza otya okutuukiriza okwewaayo kwo?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]

Okusobola okulabirira obulungi omutima gwo kikwetaagisa okufuba ennyo

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 16, 17]

Okulemberwa omwoyo gwa Katonda?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share