Obufumbo Butwale ng’Ekirabo Ekiva eri Katonda
“Omusajja anaalekanga kitaawe ne nnyina n’anywerera ku mukazi we ne baba omubiri gumu.”—LUB. 2:24, NW.
1. Lwaki Yakuwa agwanidde okuweebwa ekitiibwa?
YAKUWA KATONDA, Oyo eyatandikawo obufumbo, agwanidde okuweebwa ekitiibwa. Ng’Omutonzi waffe, Omufuzi w’Obutonde Bwonna, era Kitaffe ow’omu ggulu, Yakuwa ayogerwako ng’Oyo agaba ‘buli kirabo ekirungi, na buli kitone ekituukirivu.’ (Yak. 1:17; Kub. 4:11) Kino kiraga nti alina okwagala okw’amaanyi. (1 Yok. 4:8) Buli ky’atuyigiriza, buli ky’atugamba okukola, na buli ky’atuwa kiganyula ffe.—Is. 48:17.
2. Bulagirizi ki Yakuwa bwe yawa abafumbo abaasooka?
2 Baibuli eraga nti kye kimu ku birabo bino ebirungi ebiva eri Katonda. Bwe yagatta abafumbo abaasooka, Adamu ne Kaawa, Yakuwa yabawa obulagirizi obwandibayambye okuba n’obufumbo obulungi. (Soma Matayo 19:4-6.) Singa baagoberera obulagirizi bwa Katonda, bandibadde basanyufu emirembe gyonna. Kyokka baakola ekintu eky’obusirusiru ne basambajja ekiragiro kya Katonda, ekyo ne kibaviiramu emitawaana egy’amaanyi.—Lub. 3:6-13, 16-19, 23.
3, 4. (a) Abantu bangi leero balaga batya nti tebassa kitiibwa mu bufumbo awamu ne Yakuwa katonda? (b) Byakulabirako ki bye tugenda okwetegereza mu kitundu kino?
3 Okufaananako abafumbo abo abaasooka, abantu bangi leero tebagoberera bulagirizi bwa Yakuwa nga baliko bye basalawo mu bufumbo. Abamu babeera wamu naye nga si bafumbo, abalala basalawo okugattibwa n’abo be bafaanaganya nabo ekikula, ate abalala balina endowooza nti obufumbo basobola okubuvaamu wonna we baba baagalidde. (Bar. 1:24-32; 2 Tim. 3:1-5) Babuusa amaaso eky’okuba nti Katonda ye yatandikawo obufumbo, era nti obutassa kitiibwa mu kirabo ekyo buba butassa kitiibwa mu Oyo eyakigaba, Yakuwa Katonda.
4 Ebiseera ebimu, n’abamu ku bantu ba Katonda balekera awo okutunuulira obufumbo nga Yakuwa bw’abutunuulira. Abakristaayo abamu abafumbo basalawo okwawukana, oba okugattululwa nga tebalina misingi gya Byawandiikibwa kwe basinziira. Kino abafumbo bayinza batya okukyewala? Obulagirizi bwa Katonda obuli mu Olubereberye 2:24 buyinza butya okuyamba Abakristaayo okunyweza obufumbo bwabwe? Era abo abaagala okuyingira obufumbo bayinza batya okubwetegekera? Ka twetegerezeeyo ebyokulabirako bisatu okuva mu Baibuli ebiraga engeri okuwa Yakuwa ekitiibwa gye kiyamba obufumbo okuwangaala.
Kulaakulanya Obwesigwa era Obukuume
5, 6. Kiki ekiyinza okuba nga kyagezesa obwesigwa bwa Zekkaliya ne Erizabeesi, era mukisa ki gwe baafuna olw’obwesigwa bwabwe?
5 Zekkaliya ne Erizabeesi baafubanga okukola ekituufu. Buli omu yalonda omuweereza wa Yakuwa omwesigwa okuba munne mu bufumbo. Zekkaliya yakola omulimu gwe ogw’obwakabona n’obwesigwa, era bombi baafubanga okukwata Amateeka ga Katonda. Awatali kubuusabuusa, baalina ebintu bingi ebyali bibaleetera essanyu. Kyokka, singa wabakyalirako mu maka gaabwe mu Yuda, wandikirabye nti waliwo ekintu ekyali kibulawo. Tebaalina baana. Erizabeesi yali mugumba, ate nga bombi baali bakaddiye.—Luk. 1:5-7.
6 Mu Isiraeri ey’edda, okuzaala abaana kyatwalibwanga ng’ekintu ekikulu ennyo, era amaka gaabangamu abantu bangi. (1 Sam. 1:2, 6, 10; Zab. 128:3, 4) Omusajja Omuisiraeri, mu ngeri ey’obukuusa, yali ayinza okugoba mukazi we olw’obutamuzaalira baana. Kyokka ye Zekkaliya yanywerera ku Erizabeesi. Teyagezaako kwekwasa busongasonga kwawukana ne mukazi we, era ne mukazi we ekyo teyakikola. Wadde ng’obutaba na baana kyabaleeteranga ennaku, beeyongera okuweereza Yakuwa n’obwesigwa. Mu ngeri ey’ekyamagero, Yakuwa yabawa omukisa ne bazaala omwana ow’obulenzi wadde nga baali bakaddiye.—Luk. 1:8-14.
7. Mu ngeri ki endala Erizabeesi gye yalaga nti yali mwesigwa eri omwami we?
7 Erizabeesi yayoleka obwesigwa mu ngeri endala. We yazaalira mutabani we, Yokaana, Zekkaliya yali azibye omumwa nga takyasobola kwogera olw’okugaana okukkiriza ebigambo bya malayika wa Katonda. Wadde kyali kityo, Zekkaliya ateekwa okuba ng’alina engeri gye yali abuuliddeko mukyala we nti malayika wa Yakuwa yali alagidde nti omwana atuumibwe “Yokaana.” Baliraanwa be n’ab’eŋŋanda ze baali baagala okutuuma omwana erinnya lya kitaawe. Naye Erizabeesi yanywerera ku ekyo omwami we kye yali amugambye. Yagamba nti: “Nedda, ajja kutuumibwa Yokaana.”—Luk. 1:59-63.
8, 9. (a) Obwesigwa buyamba butya mu kunyweza obufumbo? (b) Abafumbo bayinza batya okulaga obwesigwa buli omu eri munne?
8 Okufaananako Zekkaliya ne Erizabeesi, abafumbo leero nabo boolekagana n’okugezesebwa okutali kumu. Obufumbo omutali bwesigwa tebusobola kuwangaala. Okuzannyirira n’omuntu bwe mutafaananya kikula, okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu, obwenzi, n’ebirala ebiringa ebyo, bisobola okumalawo obwesigwa mu bufumbo. Era obwesigwa bwe buggwaawo mu bufumbo, n’okwagala kukendeera. Obwesigwa buyinza okugeraageranyizibwa ku kikomera ekikuuma ab’omu maka obutatuukibwako kabi era ekitangira abantu abakyamu okubayingirira. N’olwekyo, abafumbo bwe baba nga beesigaŋŋana, basobola bulungi okubeera awamu nga tebalina kye batya era nga buli omu yeeyabiza munne, ekyo ne kinyweza okwagala kwabwe. Yee, obwesigwa kintu kikulu nnyo.
9 Yakuwa yagamba Adamu nti: “Omusajja anaalekanga kitaawe ne nnyina n’anywerera ku mukazi we.” (Lub. 2:24, NW) Ekyo kitegeeza ki? Omuntu bw’ayingira obufumbo, aba alina okukendeeza ku nkolagana gy’abadde nayo ne mikwano gye awamu n’ab’eŋŋanda ze. Buli omu alina okusooka okulowooza ku munne mu bufumbo era alina okumuwa ebiseera. Tebasaanidde kukkiriza mikwano gyabwe na ba ŋŋanda zaabwe kubaleetera kulagajjalira bannaabwe mu bufumbo. Era tebasaanidde kukkiriza bazadde baabwe kubayingirira nga baliko bye basalawo oba nga baliko bye batakkiriziganyizzaako. Buli omu alina okunywerera ku munne. Obwo bwe bulagirizi obuva eri Katonda.
10. Kiki ekiyinza okuyamba abafumbo okukulaakulanya obwesigwa n’okubukuuma?
10 Obwesigwa buvaamu emiganyulo, ne bwe kiba nti omu ku bafumbo si mukkiriza. Mwannyinaffe omu alina omwami atali mukkiriza agamba nti: “Nneebaza nnyo Yakuwa olw’okunjigiriza okugondera omwami wange n’okumuwa ekitiibwa. Okubeera omwesigwa kitusobozeseza okumala emyaka 47 nga twagalana era nga tuwaŋŋana ekitiibwa.” (1 Kol. 7:10, 11; 1 Peet. 3:1, 2) N’olwekyo, fuba okulaba nti munno mu bufumbo awulira nti alina obukuumi. Mu byonna by’okola era ne by’oyogera, gezaako okulaba engeri gy’oyinza okulagamu munno nti ye muntu asingayo okuba ow’omuwendo gy’oli ku nsi. Kola kyonna ekisoboka okulaba nti tokkiriza muntu yenna oba kintu kyonna kwekiika wakati wo ne munno. (Soma Engero 5:15-20.) Ron ne Jeannette, abamaze emyaka 35 mu bufumbo, bagamba nti, “Olw’okuba tufuba okukola ekyo Katonda ky’atwetaagisa, obufumbo bwaffe bulimu essanyu.”
Obumu Bunyweza Obufumbo
11, 12. Akula ne Pulisikira baayoleka batya obumu (a) awaka, (b) ku mulimu gwabwe, ne (c) mu buweereza bw’Ekikristaayo?
11 Buli omutume Pawulo lwe yayogeranga ku mikwano gye Akula ne Pulisikira, teyayogeranga ku omu nga tayogedde ku mulala. Abafumbo bano abaali obumu batuyamba okuteegera ekyo Katonda kye yali ategeeza bwe yagamba nti omusajja n’omukazi balina okuba “omubiri gumu.” (Lub. 2:24) Baakoleranga wamu emirimu gyabwe egy’awaka, omulimu gwabwe ogw’okweyimirizaawo, ne mu buweereza bw’Ekikristaayo. Ng’ekyokulabirako, Pawulo bwe yagenda e Kkolinso, Akula ne Pulisikira baamutwala mu maka gaabwe, gye yasinziiranga okukola emirimu gye. Oluvannyuma, nga bali mu Efeso, bakkiriza enkuŋŋaana z’ekibiina zibeere mu maka gaabwe era baakolera wamu okuyamba abapya, gamba nga Apolo, okukula mu by’omwoyo. (Bik. 18:2, 18-26) Abafumbo bano abaali abanyiikivu baasengukira e Rooma, era nga bali eyo bakkiriza enkuŋŋaana z’ekibiina okuba mu maka gaabwe. Oluvannyuma baddayo mu Efeso, ne bazzaamu ab’oluganda amaanyi.—Bar. 16:3-5.
12 Okumala ekiseera, Akula ne Pulisikira baakolera wamu ne Pawulo omulimu gw’okukola weema. Ne kino kiraga nti abafumbo bano baakoleranga wamu awatali kuvuganya wadde okuyomba. (Bik. 18:3) Kyokka okukolera awamu mu buweereza obw’Ekikristaayo kye kyasinga okuyamba obufumbo bwabwe okunywera n’okubaamu essanyu. Buli wamu gye baaberanga k’ebe Kkolinso, Efeso, oba Rooma, ‘baakoleranga wamu mu Kristo Yesu.’ (Bar. 16:3) Baakoleranga wamu mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka yonna gye baaweerezanga.
13, 14. (a) Bintu ki ebiyinza okulemesa obumu okubaawo mu bufumbo? (b) Ebimu ku bintu abafumbo bye bayinza okukola okusobola okuba ‘ng’omubiri ogumu’ bye biruwa?
13 Mu butuufu, okuba n’ebiruubirirwa bye bimu era n’okukolera awamu kinyweza obufumbo. (Mub. 4:9, 10) Eky’ennaku kiri nti abafumbo bangi leero bamala obudde butono nnyo ne bannaabwe. Ebiseera ebisinga obungi babimalira ku mirimu gyabwe. Abamu emirimu gyabwe gibeetaagisa okutambula ennyo ate abalala basalawo okugenda bokka ebweru okukola nga baweereza buweereza ssente. Ne bwe baba awaka, abafumbo abamu tebafuna budde kubeerako wamu ne bannaabwe olw’okuba ebiseera ebisinga babimalira ku ttivi, ku mizannyo gya kompyuta, oba ku Internet. Bwe kityo bwe kiri ne mu maka go? Bwe kiba kityo, osobola okukola enkyukakyuka osobole okwongera ku biseera by’omala ng’oli wamu ne munno? Ate kiri kitya singa okolerako wamu ne munno mu kuteekateeka eby’okulya, okwoza ebintu, oba okuyonja awaka? Musobola okukolerako awamu mu kulabirira abaana bammwe oba bazadde bammwe abakaddiye?
14 N’okusinga byonna, mufube okukolera awamu ebintu ebikwatagana n’okusinza Yakuwa. Okusomera awamu ekyawandiikibwa ky’olunaku n’okusinziza awamu ng’amaka kijja kubayamba okussa ekimu n’okuba n’ebiruubirirwa bye bimu. Era mufube okukolera awamu mu buweereza bw’ennimiro. Bwe kiba kisoboka, mugezeeko mwembi okuweereza nga bapayoniya, ne bwe kiba nti embeera yammwe ebasobozesa kukolayo mwezi gumu oba mwaka gumu. (Soma 1 Abakkolinso 15:58.) Mwannyinaffe omu eyaweerezaako nga payoniya awamu n’omwami we agamba nti: “Obuweereza bw’ennimiro bwatusobozesa okufuna ebiseera ebiwerako okubeerako awamu n’okunyumya. Olw’okuba ffembi twalina ekiruubirirwa eky’okuyamba abantu mu by’omwoyo, nnawulira nga ddala tussa kimu. Ng’oggyeko okweyongera okumwagala ng’omwami wange, nnatandika n’okuwulira nga ddala mukwano gwange.” Okukolera awamu kijja kubayamba okwongera okukwatagana mu ebyo ebibanyumira, bye mutwala ng’ebikulu mu bulamu, ne mu nneeyisa yammwe, era okufaananako Akula ne Pulisikira, ekyo kijja kubayamba okwongera okuwulira, okulowooza n’okweyisa ‘ng’omubiri ogumu.’
Mukulembeze Katonda mu Bufumbo Bwammwe
15. Kintu ki ekikulu ennyo ekyetaagisa obufumbo okusobola okuwangaala? Nnyonnyola.
15 Yesu yali amanyi obukulu bw’okukulembeza Katonda mu bufumbo. Yaliwo nga Katonda agatta abafumbo abaasooka. Yalaba essanyu Adamu ne Kaawa lye baalina bwe baali bakyagoberera obulagirizi bwa Katonda, era yalaba n’ebizibu ebyavaamu bwe baasambajja obulagirizi obwo. Bwe kityo, Yesu bwe yali ayigiriza, yajuliza ebigambo bya Kitaawe ebiri mu Olubereberye 2:24. Era yagattako nti: “Katonda kye yagatta awamu, omuntu yenna takyawulanga.” (Mat. 19:6) N’olwekyo, okussa ekitiibwa mu Yakuwa, kikyali kintu kikulu nnyo mu kuyamba obufumbo okubaamu essanyu n’okuwangaala. Mu nsonga eno, bazadde ba Yesu ab’oku nsi, Yusufu ne Maliyamu, baateekawo ekyokulabirako ekirungi.
16. Yusufu ne Maliyamu baakulembeza batya Katonda mu bufumbo bwabwe?
16 Yusufu yali wa kisa eri Maliyamu era yamuwanga ekitiibwa. Bwe yakimanya nti Maliyamu ali lubuto, yayagala okumuyisa mu ngeri ey’ekisa, nga ne malayika wa Katonda tannaba kumunnyonnyola ekyo ekyali kibaddewo. (Mat. 1:18-20) Bombi ng’abafumbo, baagondera ekiragiro kya Kayisaali era baakwata Amateeka ga Musa. (Luk. 2:1-5, 21, 22) Wadde nga basajja bokka be baalinanga okugenda ku mbaga ezaakwatibwanga e Yerusaalemi, Yusufu ne Maliyamu awamu n’ab’omu maka gaabwe bonna baagendangayo buli mwaka. (Ma. 16:16; Luk. 2:41) Mu kukola ebintu ebyo awamu n’ebirala, abafumbo bano baafuba okusanyusa Yakuwa era baalaga nti bassa ekitiibwa mu bintu eby’omwoyo. Tekyewuunyisa nti Yakuwa yabalonda okukuza Omwana we.
17, 18. (a) Abafumbo bayinza batya okukulembeza Katonda mu bufumbo bwabwe? (b) Kino kibaganyula kitya?
17 Nammwe mufuba okukulembeza Katonda mu bufumbo bwammwe? Ng’ekyokulabirako, bwe muba mulina ensonga enkulu ze mwagala okusalawo, musooka kunoonyereza ku misingi gya Baibuli, kusaba, oba kwebuuza ku Bakristaayo abakuze mu by’omwoyo? Oba musalawo okugonjoola ebizibu byammwe nga musinziira ku magezi gammwe, ku ga mikwano gyammwe, oba ku g’ab’eŋŋanda zammwe? Mufuba okukolera ku magezi agakwata ku bufumbo agaweebwa omuddu omwesigwa? Oba mugoberera mpisa za mu kitundu oba magezi g’abantu? Mufuba okusabira awamu, okusomera awamu, okweteerawo ebiruubirirwa eby’omwoyo, n’okwogera ku bintu bye mulina okukulembeza mu maka gammwe?
18 Ng’ayogera ku bufumbo bwabwe bwe bamazeemu emyaka 50 nga basanyufu, Ray agamba nti, “Tusobodde okuvvuunuka ebizibu byonna, olw’okuba tufudde Yakuwa ‘omuyondo ogw’okusatu.’” (Soma Omubuulizi 4:12.) Danny ne Trina nabo ekyo kyennyini kye bakoze. Bagamba nti: “Okuweerereza awamu Katonda, kiyambye obufumbo bwaffe okunywera.” Kati bamaze emyaka egisukka mu 34 mu bufumbo nga basanyufu. Singa mufuba okukulembeza Katonda mu bufumbo bwammwe, ajja kubayamba okufuna essanyu era ajja kubawa emikisa gye.—Zab. 127:1.
Mweyongere Okussa Ekitiibwa mu Kirabo kya Katonda
19. Lwaki Katonda yawa abantu ekirabo ky’obufumbo?
19 Abantu abasinga obungi leero beerowoozaako bokka. Naye bo abaweereza ba Yakuwa ebintu babiraba mu ngeri ya njawulo. Bakimanyi nti Katonda yawa abantu ekirabo ky’obufumbo asobole okutuukiriza ekigendererwa kye. (Lub. 1:26-28) Singa Adamu ne Kaawa bassa ekitiibwa mu kirabo ekyo, ensi yonna yandifuuse olusuku lwa Katonda olujjudde abantu abasanyufu era abatuukirivu.
20, 21. (a) Lwaki obufumbo tusaanidde okubutwala ng’ekintu ekitukuvu? (b) Kirabo ki kye tujja okuyigako mu wiiki ejja?
20 N’ekisinga obukulu, abaweereza ba Katonda obufumbo babutwala ng’ekintu ekisobola okubayamba okuweesa Yakuwa ekitiibwa. (Soma 1 Abakkolinso 10:31.) Nga bwe tulabye, obwesigwa, obumu, n’okukulembeza Katonda biyamba okunyweza obufumbo. N’olwekyo, ka tube nga tweteekateeka kuyingira bufumbo, nga twagala kubunyweza, oba nga twagala kubutaasa, tulina okusooka okukimanya nti obufumbo nteekateeka ya Katonda era nti butukuvu. Okujjukira ekyo kijja kutuyamba okukola kyonna ekisoboka okugoberera obulagirizi obuli mu Kigambo kya Katonda nga tulina bye tusalawo mu bufumbo. Mu ngeri eyo, tujja kuba tulaga nti tussa ekitiibwa mu kirabo ky’obufumbo n’Oyo eyakituwa, Yakuwa Katonda.
21 Kya lwatu nti obufumbo si kye kirabo kyokka Yakuwa ky’atuwadde, era si kye kyokka ekireeta essanyu mu bulamu. Mu kitundu kyaffe ekiddako, tujja kwetegereza ekirabo ekirala eky’omuwendo ennyo ekiva eri Katonda—ekirabo eky’obwannamunigina.
Wandizzeemu Otya?
• Lwaki Abakristaayo abafumbo basaanidde okuba abeesigwa?
• Lwaki okukolera awamu kinyweza obufumbo?
• Abafumbo bayinza batya okukulembeza Katonda mu bufumbo bwabwe?
• Tuyinza tutya okulaga nti tussa ekitiibwa mu Yakuwa, Oyo eyatandikawo obufumbo?
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 15]
Okukolera awamu kiyamba abafumbo okusigala nga bali bumu