Kyakulabirako Kirungi gy’Oli Oba Kulabula gy’Oli?
“Katonda wa Yakobo . . . anaatuyigirizanga ku makubo ge, naffe tunaatambuliranga mu mpenda ze.”—IS. 2:3.
1, 2. Ebyokulabirako ebiri mu Bayibuli biyinza bitya okukuganyula?
KYA lwatu nti okkiriza nti ebintu ebyawandiikibwa mu Bayibuli bya muganyulo gy’oli. Mu Bayibuli mulimu ebyokulabirako by’abasajja n’abakazi abaalina okukkiriza b’osaanidde okukoppa. (Beb. 11:32-34) Naye era mulimu n’ebyokulabirako by’abasajja n’abakazi ebibi by’osaanidde okwewala. Ebyokulabirako byabwe bisaanidde okuba okulabula gy’oli.
2 Kyokka, abantu abamu aboogerwako mu Bayibuli baakola ebintu ebirungi bye tusaanidde okukoppa n’ebibi bye tusaanidde okwewala. Lowooza ku Dawudi, eyali omusumba omuwombeefu oluvannyuma n’afuuka kabaka ow’amaanyi. Yateekawo ekyokulabirako ekirungi mu kwagala amazima ne mu kwesiga Yakuwa. Naye era Dawudi yakola ebibi eby’amaanyi, gamba ng’okwenda ku Basuseba, okutta Uliya, n’okwetulinkiriza okubala abantu. Mu kitundu kino, tugenda kwetegereza ekyokulabirako kya mutabani we Sulemaani, eyali kabaka era omu ku bawandiisi ba Bayibuli. Ka tusooke twetegereze ebintu ebirungi bibiri bye tusobola okumukoppako.
“Amagezi ga Sulemaani”
3. Lwaki tuyinza okugamba nti Sulemaani yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi?
3 Oyo asinga Sulemaani obukulu, Yesu Kristo, yayogera ku Kabaka Sulemaani ng’oyo eyateekawo ekyokulabirako ekirungi kye tusaanidde okukoppa. Yesu yagamba abamu ku Bayudaaya nti: “Kabaka omukazi ow’omu bukiika ddyo alizuukirira wamu n’ab’omulembe guno ng’omusango gusalibwa era alibasingisa omusango; kubanga yava ku nkomerero y’ensi, n’ajja okuwulira amagezi ga Sulemaani, naye laba! asinga Sulemaani ali wano.” (Mat. 12:42) Yee, Sulemaani yali amanyiddwa nnyo olw’amagezi ge, era naffe tukubirizibwa okufuna amagezi.
4, 5. Sulemaani yafuna atya amagezi, naye ffe tuyinza tutya okugafuna?
4 Sulemaani bwe yali yaakatandika okufuga, Katonda yamulabikira mu kirooto n’amugamba okusaba ekintu kyonna ky’ayagala. Olw’okuba yali akimanyi nti yalina obumanyirivu butono mu bulamu, Sulemaani yasaba Katonda amuwe amagezi. (Soma 1 Bassekabaka 3:5-9.) Katonda yasanyuka nnyo Sulemaani bwe yamusaba amagezi mu kifo ky’okumusaba obugagga n’ekitiibwa, bw’atyo n’amuwa “omutima omugezigezi era omutegeevu” awamu n’obugagga. (1 Bassek. 3:10-14) Nga Yesu bwe yagamba, amagezi ga Sulemaani gaali mangi nnyo ne kiba nti kabaka omukazi ow’e Seeba bwe yawulira ebikwata ku magezi ga Sulemaani, yatindigga olugendo oluwanvu agende ageewulirireko.—1 Bassek. 10:1, 4-9.
5 Ffe tetusuubira kufuna magezi mu ngeri ya kyamagero. Sulemaani yagamba nti “Mukama awa amagezi,” naye era yalaga nti tulina okufuba okufuna amagezi agava eri Katonda, kubanga yawandiika nti: “Oteganga okutu kwo eri amagezi n’ossangayo omutima gwo eri okutegeera.” Sulemaani era yagamba nti tulina ‘okukaabiriranga’ amagezi ‘n’okuganoonyanga.’ (Nge. 2:1-6) Ekyo kiraga nti tusobola okufuna amagezi.
6. Tuyinza tutya okukoppa ekyokulabirako kya Sulemaani ekirungi?
6 Buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza, ‘Okufaananako Sulemaani, nange amagezi agava eri Katonda ngatwala nga ga muwendo nnyo?’ Ebizibu by’eby’enfuna ebiriwo mu nsi leero bireetedde abantu bangi okwemalira ku buyigirize obwa waggulu, ku kunoonya ssente, ne ku mirimu gyabwe. Ate kiri kitya eri ggwe awamu n’ab’omu maka go? Ebintu by’osalawo okukola mu bulamu biraga nti onoonya amagezi agava eri Katonda ng’anoonya eby’obugagga? Kyandiba nti weetaaga okukyusa endowooza gy’olina ku ssente ne ku buyigirize kikuyambe okweyongera okufuna amagezi agava eri Katonda? Amagezi agava eri Katonda ge tufuna gajja kutuganyula emirembe gyonna. Sulemaani yagamba nti: “Olitegeera obutuukirivu n’omusango, n’eby’ensonga, weewaawo buli kkubo eddungi.”—Nge. 2:9.
Sulemaani Bwe Yakulembeza Okusinza okw’Amazima, Waaliwo Emirembe
7. Yeekaalu ya Katonda yatuuka etya okuzimbibwa?
7 Amangu ddala nga Sulemaani yakafuuka kabaka, yatandika okuzimba yeekaalu okudda mu kifo kya weema entukuvu eyakozesebwanga mu kusinza okuva mu kiseera kya Musa. (1 Bassek. 6:1) Tuyinza okugiyita yeekaalu ya Sulemaani, naye teyagizimba lwa kwagala kwekolera linnya, kubanga n’ekirowoozo ky’okugizimba tekyali kikye. Mu butuufu, Dawudi ye yasooka okufuna ekirowoozo eky’okuzimba yeekaalu. Era Katonda yabuulira Dawudi engeri gye yali ayagala yeekaalu ezimbibwemu awamu n’ebintu ebyandigibaddemu. Dawudi era aliko ebintu bingi bye yawaayo okuwagira omulimu gw’okuzimba yeekaalu. (2 Sam. 7:2, 12, 13; 1 Byom. 22:14-16) Naye Sulemaani ye yaweebwa obuvunaanyizibwa obw’okuzimba yeekaalu, omulimu ogwatwala emyaka omusanvu n’ekitundu.—1 Bassek. 6:37, 38; 7:51.
8, 9. (a) Sulemaani yatuteerawo atya ekyokulabirako ekirungi mu butalekulira kukola bintu ebirungi? (b) Sulemaani bwe yakulembeza okusinza okw’amazima, kiki ekyavaamu?
8 Sulemaani yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi mu butalekulira kukola bintu ebirungi n’okukulembeza ebintu ebisinga obukulu mu bulamu. Yeekaalu bwe yamala okuzimbibwa era n’essanduuko y’endagaano n’eteekebwamu, Sulemaani yakiikirira abantu mu kusaba. Yasaba Yakuwa ng’agamba nti: “Amaaso go gazibukenga eri ennyumba eno emisana n’ekiro, eri ekifo kye wayogerako nti Erinnya lyange linaabeeranga omwo: okuwulira okusaba omuddu wo kw’anaasabanga ng’atunuulira ekifo kino.” (1 Bassek. 8:6, 29) Abaisiraeri ne bannaggwanga baali basobola okusaba nga batunudde eri yeekaalu eyo eyazimbibwa okuweesa erinnya lya Katonda ekitiibwa.—1 Bassek. 8:30, 41-43, 60.
9 Kiki ekyavaamu Sulemaani bwe yakulembeza okusinza okw’amazima? Yeekaalu bwe yamala okutongozebwa, abantu ‘baasanyuka era ne bajaguza mu mitima gyabwe olw’obulungi bwonna Yakuwa bwe yali alaze Dawudi omuddu we ne Isiraeri.’ (1 Bassek. 8:65, 66) Emyaka 40 Sulemaani gye yamala ng’afuga, abantu baafuna ebintu ebirungi bingi era baali mu mirembe. (Soma 1 Bassekabaka 4:20, 21, 25.) Ekyo kiragibwa bulungi mu Zabbuli 72, era zabbuli eyo etuyamba okutegeera emikisa gye tujja okufuna mu bufuzi bw’oyo Asinga Sulemaani Obukulu, Yesu Kristo.—Zab. 72:6-8, 16.
Ekyokulabirako kya Sulemaani—Kulabula Gye Tuli
10. Nsobi ki ey’amaanyi Sulemaani gye yakola?
10 Lwaki tuyinza okugamba nti ekyokulabirako kya Sulemaani era kulabula gye tuli? Oboolyawo ekintu ky’oyinza okusooka okulowoozaako be bakazi abagwira be yawasa n’abazaana be yalina. Bayibuli egamba nti: “Olwatuuka Sulemaani ng’akaddiye bakazi be ne bakyusa omutima gwe okugoberera bakatonda abalala: omutima gwe ne gutatuukirira eri Mukama.” (1 Bassek. 11:1-6) Kya lwatu nti tewandyagadde kukoppa kyakulabirako kye ekyo ekibi. Naye ekyo kye kintu ekibi kyokka Sulemaani kye yakola? Lowooza ku bintu ebimu ebibi bye yakola mu bulamu bwe ebitera okubuusibwa amaaso era olabe ekyo ky’oyinza okubiyigirako.
11. Kiki kye tuyigira ku bufumbo bwa Sulemaani obwasooka?
11 Sulemaani yafugira emyaka 40. (2 Byom. 9:30) Kati olwo kiki kye tuyiga mu ebyo ebiri mu 1 Bassekabaka 14:21? (Soma.) Okusinziira ku lunyiriri olwo, Sulemaani bwe yafa, mutabani we Lekobowaamu yatandika okufuga nga kabaka nga wa myaka 41, ne nnyina yali ayitibwa “Naama Omwamoni.” Kino kiraga nti Sulemaani bwe yali tannafuuka kabaka, yawasa omukazi omugwira okuva mu ggwanga ery’abalabe ba Isiraeri eryali lisinza bakatonda ab’obulimba. (Balam. 10:6; 2 Sam. 10:6) Omukazi oyo yali asinza bakatonda abo? Ne bwe kiba nti yali asinza bakatonda ab’obulimba, ayinza okuba nga yalekera awo okubasinza n’atandika okusinza Katonda ow’amazima, nga Lakabu ne Luusi bwe baakola. (Luus. 1:16; 4:13-17; Mat. 1:5, 6) Ka kibe nga kyali kityo, Sulemaani ateekwa okuba nga yalina bakoddomi be n’ab’eŋŋanda za mukazi we abaali batasinza Yakuwa.
12, 13. Nsobi ki ey’amaanyi Sulemaani gye yakola bwe yali yaakafuuka kabaka, era kiki ky’ayinza okuba nga kye yali yeekwasa?
12 Sulemaani yeeyongera okwonooneka oluvannyuma lw’okufuuka kabaka. Sulemaani yafuuka “mukoddomi wa Falaawo kabaka w’e Misiri, n’atwala muwala wa Falaawo, n’amuleeta mu kibuga kya Dawudi.” (1 Bassek. 3:1) Omukazi oyo Omumisiri yatandika okusinza Katonda ow’amazima nga Luusi bwe yakola? Tewali kiraga nti bw’atyo bwe yakola. Naye Ebyawandiikibwa biraga nti Sulemaani yamuzimbira ennyumba (oboolyawo n’abakozi be Abamisiri) ebweru w’ekibuga kya Dawudi. Lwaki? Kubanga yakiraba nti kyali tekisaana muntu eyali asinza bakatonda ab’obulimba okuba okumpi n’essanduuko y’endagaano.—2 Byom. 8:11.
13 Sulemaani ayinza okuba nga yali alowooza nti okuwasa omumbejja wa Misiri kyandinywezezza enkolagana eyali wakati wa Isiraeri ne Misiri. Naye ekyo tekyali kya magezi, kubanga Katonda yali yagaana Abaisiraeri okufumbiriganwa n’Abakanani, era n’amenyayo n’agamu ku mawanga g’Abakanani ge bataalina kufumbiriganwa nago. (Kuv. 34:11-16) Kyandiba nti Sulemaani yalowooza nti tekyali kikyamu okuwasa Omumisiri okuva bwe kiri nti Misiri teyali emu ku mawanga ago agaamenyebwa? Bw’aba nga bw’atyo bwe yali alowooza, ddala ensonga eyo yalimu eggumba? Sulemaani yabuusa amaaso ensonga lwaki Yakuwa yali agaanye Abaisiraeri okufumbiriganwa n’abantu b’amawanga amalala—ekintu ekyandibaleetedde okutandika okusinza bakatonda ab’obulimba.—Soma Ekyamateeka 7:1-4.
14. Ekyokulabirako kya Sulemaani kituyigiriza ki?
14 Ekyo Sulemaani kye yakola kirina kye kituyigiriza? Mwannyinaffe ayinza okutandika okwekwasa obusongasonga n’asalawo okumenya etteeka lya Katonda erikwata ku kufumbirwa “mu Mukama waffe mwokka.” (1 Kol. 7:39) Era ow’oluganda ayinza okwekwasa obusongasonga asobole okwenyigira mu mizannyo egiba ku masomero, obutasasula misolo, oba okulimba nga waliwo ensonga z’aba abuuziddwako olw’okutya okuswala. Eky’okuyiga kiri nti, tetusaanidde kwekwasa busongasonga ne tumenya amateeka ga Katonda nga Sulemaani bwe yakola.
15. Yakuwa yalaga atya Sulemaani ekisa, naye kiki kye tusaanidde okujjukira?
15 Kyewuunyisa nti wadde nga Sulemaani yali amaze okuwasa omumbejja oyo omugwira, Katonda yamuwa amagezi ge yali amusabye era n’amwongerako n’obugagga. (1 Bassek. 3:10-13) Sulemaani yali amenye amateeka ga Yakuwa, naye Bayibuli teraga nti Yakuwa yamuggyako obwakabaka oba nti yamubonereza. Kino kiri kityo olw’okuba Katonda akimanyi nti tetutuukiridde era nti twakolebwa mu nfuufu. (Zab. 103:10, 13, 14) Naye tusaanidde okukijjukira nti: Ebyo bye tukola bisobola okutuviiramu ebizibu kati oba mu biseera eby’omu maaso.
Abakazi Bangi Nnyo!
16. Kiragiro ki Sulemaani kye yamenya bwe yawasa abakazi abangi?
16 Mu kitabo ky’Oluyimba, Kabaka Sulemaani yayogera ku muwala omu n’agamba nti yali mulungi okusinga bakabaka abakazi 60 n’abazaana 80. (Lu. 6:1, 8-10) Kiyinzika okuba nti abo be bakazi n’abazaana be yalina mu kiseera ekyo. Ka kibe nti abasinga obungi ku bakazi abo oba bonna baali basinza Yakuwa, ekituufu kiri nti Sulemaani yali amenye ekiragiro kya Katonda. Okuyitira mu Musa, Katonda yali alagidde nti kabaka wa Isiraeri yenna yali talina ‘kwefunira bakazi bangi, omutima gwe guleme okukyuka.’ (Ma. 17:17) Kyokka ne ku mulundi guno, Yakuwa teyaggyako Sulemaani bwakabaka. Mu butuufu, Katonda yeeyongera okumuwa emikisa n’amukozesa n’okuwandiika ekitabo kya Bayibuli eky’Oluyimba.
17. Kiki kye tutasaanidde kwerabira?
17 Naye ekyo kiraga nti Sulemaani yali asobola okujeemera Katonda awatali kufuna mutawaana gwonna era nti naffe tusobola okumujeemera ne watabaawo kitutuukako? Nedda, wabula kiraga nti Katonda mugumiikiriza nnyo. Ekituufu kiri nti omuntu asobola okumenya amateeka ga Katonda ne watabaawo kimutuukako mangu ago, naye ekyo tekitegeeza nti tajja kufuna mutawaana gwonna luvannyuma. Sulemaani yawandiika nti: “Kubanga omusango ogusalirwa ekikolwa ekibi tebagutuukiriza mangu, omutima gw’abaana b’abantu kyeguva gukakasibwa ddala mu bo okukola obubi.” Yagattako nti: “Naye mazima mmanyi ng’abo abatya Katonda banaabanga bulungi, abatya mu maaso ge.”—Mub. 8:11, 12.
18. Ekyokulabirako kya Sulemaani kiraga kitya obutuufu bw’ebigambo ebiri mu Abaggalatiya 6:7?
18 Eky’ennaku kiri nti Sulemaani teyakolera ku bigambo ebyo. Sulemaani yali akoze ebintu ebirungi bingi era Katonda yali amuwadde emikisa mingi. Naye ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, yatandika okukola ensobi ez’omuddiriŋŋanwa. Ogwo gwamufuukira omuze. Ng’ebigambo omutume Pawulo bye yawandiika oluvannyuma bituufu nnyo: “Tolimbibwalimbibwanga: Katonda tasekererwa. Ekintu kyonna omuntu ky’asiga era ky’alikungula”! (Bag. 6:7) Oluvannyuma lw’ekiseera, Sulemaani yafuna ebizibu bingi olw’obutagondera mateeka ga Katonda. Bayibuli egamba nti: “Kabaka Sulemaani n’ayagala abakazi bangi bannaggwanga wamu ne muwala wa Falaawo, abakazi ab’oku Bamowaabu n’Abamoni n’Ab[e]edomu n’Abasidoni n’Abakiiti.” (1 Bassek. 11:1) Kiyinzika okuba nti bangi ku bakazi abo baasigala basinza bakatonda baabwe ab’obulimba, era ekyo kirina kye kyakola ku Sulemaani. Yatandika okukola ebintu ebibi, n’aba nga takyasiimibwa mu maaso ga Katonda waffe omugumiikiriza.—Soma 1 Bassekabaka 11:4-8.
Kye Tuyigira ku Kyokulabirako Kye—Ekirungi n’Ekibi
19. Byakulabirako ki ebirungi ebiri mu Bayibuli?
19 Yakuwa yaluŋŋamya Pawulo okuwandiika nti: “Ebintu byonna ebyawandiikibwa edda byawandiikibwa okutuyigiriza, tusobole okuba n’essuubi okuyitira mu bugumiikiriza ne mu kubudaabuda okuva mu Byawandiikibwa.” (Bar. 15:4) Mu bintu ebyo ebyawandiikibwa mwe muli n’ebyokulabirako ebirungi bingi eby’abasajja n’abakazi abaalina okukkiriza okw’amaanyi. Pawulo yagamba nti: “Njogere ki nate? Ebiseera bijja kunzigwako bwe nnaayogera ku Gidyoni, Balaka, Samusooni, Yefusa, Dawudi, Samwiri, ne bannabbi abalala, olw’okukkiriza baawangula obwakabaka mu ntalo, baakola eby’obutuukirivu, baafuna ebisuubizo, . . . [baali banafu] ne bafuulibwa ab’amaanyi.” (Beb. 11:32-34) Tusobola okuyigira ku byokulabirako ebyo ebirungi eby’abantu abo aboogerwako mu Bayibuli era ne tufuba okubakoppa.
20, 21. Lwaki osaanidde okuyigira ku byokulabirako ebiri mu Bayibuli?
20 Naye era mu Bayibuli mulimu n’ebyokulabirako ebyawandiikibwa okutulabula. Ebimu ku byo bya basajja n’abakazi mu kusooka abaali abeesigwa eri Yakuwa era abaali basiimibwa mu maaso ge. Bwe tusoma Bayibuli, tusobola okulaba ekyo ekyaviirako abantu ba Katonda abamu okukola ebintu ebibi, ne twewala okugwa mu nsobi y’emu. Abamu ku bo baatandikiriza mpolampola okufuna endowooza enkyamu, oluvannyuma ne basalawo okukola ebintu ebyabaviiramu emitawaana. Tuyinza tutya okuganyulwa mu byokulabirako byabwe? Tusaanidde okwebuuza ebibuuzo nga bino: ‘Omuntu ono yatandika atya okufuna endowooza enkyamu? Nange ekyo kisobola okuntuukako? Kiki kye nnyinza okukola okwewala okugwa mu nsobi y’emu?’
21 Twetaaga okufumiitiriza ennyo ku byokulabirako bino, kubanga Pawulo yagamba nti: “Ebintu bino byabatuukako bibe ebyokulabirako, era byawandiikibwa okutulabula ffe abatuukiddwako enkomerero y’omulembe guno.”—1 Kol. 10:11.
Kiki ky’Oyize?
• Lwaki tuyinza okugamba nti mu Bayibuli mulimu ebyokulabirako ebirungi n’ebibi?
• Lwaki Sulemaani yakola ensobi ez’omuddiriŋŋanwa?
• Kiki ky’oyigira ku nsobi za Sulemaani?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]
Sulemaani yakozesa amagezi Katonda ge yamuwa
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]
Oyinza otya okwewala okugwa mu nsobi Sulemaani ze yagwamu?