LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w12 3/15 lup. 15-19
  • Buulira n’Obunyiikivu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Buulira n’Obunyiikivu
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Subheadings
  • Similar Material
  • LWAKI TULINA OKUBUULIRA N’OBUNYIIKIVU?
  • KITEGEEZA KI OKUBUULIRA N’OBUNYIIKIVU?
  • WEEYONGERE OKUWEEREZA YAKUWA N’OBUNYIIKIVU
  • EKISEERA KYE TULIMU KIKULU NNYO
  • BAKOLA N’OBUNYIIKIVU
  • Ebinaatuyamba Okubuulira n’Obunyiikivu
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
  • Buulira n’Obunyiikivu!
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
  • “Olunaku Olukulu Olwa Yakuwa Luli Kumpi”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • “Buulira Ekigambo . . . mu Bwangu”
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 3/15 lup. 15-19

Buulira n’Obunyiikivu

“Buuliranga ekigambo, kibuulire n’obunyiikivu.”​—2 TIM. 4:2.

OSOBOLA OKUNNYONNYOLA?

Lwaki Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka baabuulira n’obunyiikivu?

Kiki ekiyinza okutuyamba okubuulira n’obunyiikivu?

Lwaki omulimu gwaffe ogw’okubuulira mukulu nnyo leero okusinga bwe kyali kibadde?

1, 2. Bwe kituuka ku kubuulira n’obunyiikivu, bibuuzo ki bye tusaanidde okwebuuza?

ABANTU abakola omulimu gw’okutaasa obulamu bw’abantu batera okukozesa obwangu obw’ekitalo. Ng’ekyokulabirako, abantu abazikiza omuliro bwe babakubira essimu ng’omuliro gukutte basitukiramu olw’okuba baba bakimanyi nti obulamu bw’abantu buyinza okuba mu kabi.

2 Ng’Abajulirwa ba Yakuwa, twagala okuyamba abantu okulokolebwa. Eyo ye nsonga lwaki omulimu gwaffe ogw’okubuulira tugutwala nga mukulu nnyo. Wadde kiri kityo, tetugukola nga tupakuka. Kati olwo omutume Pawulo yali ategeeza ki bwe yagamba nti: “Buuliranga ekigambo, kibuulire n’obunyiikivu”? (2 Tim. 4:2) Tuyinza tutya okubuulira n’obunyiikivu? Era lwaki tulina okubuulira n’obunyiikivu?

LWAKI TULINA OKUBUULIRA N’OBUNYIIKIVU?

3. Kiki ekiyinza okuvaamu singa abantu bakkiriza amawulire amalungi oba singa bagagaana?

3 Okukijjukira nti omulimu gwaffe ogw’okubuulira gusobola okuwonyaawo obulamu bwaffe awamu n’obw’abalala, kyanditukubirizza okubuulira n’obunyiikivu. (Bar. 10:13, 14) Bayibuli egamba nti: “Bwe ŋŋamba omubi nti Tolirema kufa; bw’anaakyukanga okuleka okwonoona kwe n’akola ebyo ebyalagirwa eby’ensonga; . . . talirema kuba mulamu, talifa. Tewaliba ku bibi bye bye yakola ebirijjukirwa ku ye.” (Ez. 33:14-16) Ate era Bayibuli egamba abo ababuulira amawulire g’Obwakabaka nti: “Ojja kwerokola era olokole n’abo abakuwuliriza.”​—1 Tim. 4:16; Ez. 3:17-21.

4. Lwaki kyali kyetaagisa okubuulira n’obunyiikivu mu kyasa ekyasooka?

4 Okusobola okutegeera ensonga lwaki Pawulo yakubiriza Timoseewo okubuulira n’obunyiikivu, twetaaga okwetegereza ennyiriri eziriraanye ekyawandiikibwa ekyesigamiziddwako ekitundu kino. Pawulo yagamba nti: “Buuliranga ekigambo, kibuulire n’obunyiikivu mu biseera ebirungi ne mu biseera ebizibu, nenyanga, labulanga, buuliriranga, ng’olaga obugumiikiriza era ng’oyigiriza mu ngeri ennungi. Kubanga ekiseera kijja abantu lwe bataligumiikiriza kuyigiriza okw’obulamu, naye nga bagoberera okwegomba kwabwe, balyekuŋŋaanyiza abayigiriza abalibabuulira ebyo bye baagala okuwulira; era baligaana okuwuliriza amazima.” (2 Tim. 4:2-4) Yesu yalagula nti wandizeewo obwakyewaggula. (Mat. 13:24, 25, 38) Obwakyewaggula bwe bwatandikawo, Timoseewo yalina ‘okubuulira ekigambo’ n’obunyiikivu ne mu kibiina mwennyini, asobole okuyamba Abakristaayo obutatwalirizibwa njigiriza ez’obulimba. Obulamu bwabwe bwali mu kabi. Ate kiri kitya leero?

5, 6. Ndowooza ki enkyamu abantu be tusanga nga tubuulira ze bayinza okuba nazo?

5 Obwakyewaggula bweyongedde nnyo era bubunye buli wamu. (2 Bas. 2:3, 8) Njigiriza ki enkyamu abantu ze baagala ennyo okuwulira? Leero mu bitundu by’ensi bingi, abantu bayigirizibwa nti ebintu tebyatondebwa butondebwa. Wadde ng’enjigiriza eyo esomesebwa mu masomo ga sayansi, kumpi kati efuuse ng’eddiini abantu gye bakkiririzaamu. Enjigiriza endala enkyamu eri nti, Katonda tatufaako era nti naffe tetwetaaga kumanya bimukwatako. Lwaki abantu bangi baagala nnyo enjigiriza ezo ezibaleetera okwebaka mu by’omwoyo? Enjigiriza ezo zireetera abantu okulowooza nti basobola okukola kyonna kye baagala olw’okuba baba balowooza nti tewali ajja kubasalira musango. Eyo ye nsonga lwaki bangi baagala nnyo enjigiriza ezo.​—Soma Zabbuli 10:4.

6 Waliwo n’ebintu ebirala abantu bye baagala okuwulira. Abantu abamu abagenda mu masinzizo kibasanyusa nnyo okuwulira ng’abakulembeze baabwe ab’eddiini babagamba nti, ‘K’obe nga weeyisa otya, Katonda asigala akwagala.’ Abalala kibasanyusa okuwulira abakulembeze baabwe ab’eddiini nga bagamba nti emikolo gy’eddiini, okugenda mu misa, okukuza ennaku enkulu, awamu n’okusinza ebifaananyi bisobola okubayamba okufuna emikisa gya Katonda. Abantu ng’abo tebakimanyi nti obulamu bwabwe buli mu kabi. (Zab. 115:4-8) Naye bwe tubayamba okutegeera amazima agali mu Bayibuli ne bazuukuka okuva mu tulo, basobola okuganyulwa mu Bwakabaka bwa Katonda.

KITEGEEZA KI OKUBUULIRA N’OBUNYIIKIVU?

7. Tuyinza tutya okwoleka obunyiikivu mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira?

7 Omusawo bw’aba alongoosa omulwadde assaayo nnyo omwoyo olw’okuba aba akimanyi nti obulamu bw’omuntu oyo buli mu kabi. Mu ngeri y’emu, naffe tusobola okulaga nti tuli banyiikivu nga tussaayo omwoyo ku mulimu gwaffe ogw’okubuulira. Ekyo tuyinza okukikola nga tufaayo okumanya ebintu abantu bye balowooza, ebibuuzo bye bayinza okubuuza, oba n’ebintu ebirala ebiyinza okubasikiriza okutuwuliriza. Era kiyinza okutwetaagisa okukola enkyukakyuka ezeetaagisa tusobole okukyalira abantu mu biseera mwe kiyinza okubabeerera ekyangu okutuwuliriza.​—Bar. 1:15, 16; 1 Tim. 4:16.

8. Engeri endala gye tuyinza okwolekamu obunyiikivu y’eruwa?

8 Ate era tuyinza okwoleka obunyiikivu nga tukulembeza ebintu ebisinga obukulu. (Soma Olubereberye 19:15.) Ng’ekyokulabirako, singa ogenda mu ddwaliro okukukebera, era oluvannyuma lw’okukukebera omusawo n’akugamba nti: “Obulwadde bwo bw’amaanyi! Olina okufuna eddagala mu bwangu.” Wandikoze ki? Wandibadde ng’abo abagenda okuzikiza omuliro n’ofubutuka n’ogenda okufuna eddagala? Nedda. Wandisizzaayo omwoyo ng’akuwa amagezi agayinza okukuyamba, era oluvannyuma n’osalawo eky’okukola.

9. Kiki ekiraga nti Pawulo yabuulira n’obunyiikivu ng’ali mu Efeso?

9 Ebigambo Pawulo bye yagamba abakadde b’omu Efeso ebikwata ku ngeri gye yabuuliramu amawulire amalungi mu ssaza ly’e Asiya, biraga nti yali munyiikivu. (Soma Ebikolwa 20:18-21.) Kirabika bwe yatuuka mu ssaza ly’e Asiya, yatandikirawo okubuulira abantu amawulire amalungi nnyumba ku nnyumba. Era okumala emyaka ebiri “buli lunaku [y]abuuliranga abantu mu kizimbe ky’essomero ly’e Tulaano.” (Bik. 19:1, 8-10) Kyeyoleka lwatu nti Pawulo yali munyiikivu nnyo. Okuba nti tulina ‘okubuulira n’obunyiikivu’ tekitegeeza nti buli kiseera tulina kuba nga tubuulira. Naye kitegeeza nti omulimu gw’okubuulira gwe tulina okukulembeza mu bulamu bwaffe.

10. Lwaki tuli basanyufu nti Abayizi ba Bayibuli baabulira n’obunyiikivu?

10 Ekyokulabirako ky’Abayizi ba Bayibuli abaaliwo ng’omwaka gwa 1914 tegunnatuuka kiraga bulungi kye kitegeeza okubuulira n’obunyiikivu. Wadde nga baali batono nnyo, baali bamanyi obukulu bw’ebiseera bye baalimu. Bwe kityo, baakola omulimu gw’okubuulira n’obunyiikivu. Baafulumizanga obubaka bwa Bayibuli mu mpapula z’amawulire era baalaganga n’abantu vidiyo eyitibwa “Photo-Drama of Creation.” Olw’okuba baali banyiikivu nnyo, baasobola okutuusa obubaka bwa Bayibuli ku bantu bukadde na bukadde. Singa tebaabuulira na bunyiikivu, bameka ku ffe abandisobodde okuyiga amazima?​—Soma Zabbuli 119:60.

WEEYONGERE OKUWEEREZA YAKUWA N’OBUNYIIKIVU

11. Kiki ekireetedde abamu okulekera awo okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu?

11 Ebintu ebiri mu nsi bisobola okuwugula omuntu n’alekera awo okutwala omulimu gw’okubuulira ng’ekintu ekikulu. Sitaani akozesa enteekateeka ye ey’ebintu okutuleetera okwemalira mu kwenoonyeza ebintu n’okumalira ebiseera byaffe ku bintu ebitali bikulu. (1 Peet. 5:8; 1 Yok. 2:15-17) Abantu abamu abaali abanyiikivu nga baweereza Yakuwa, baalekera awo okumuweereza n’obunyiikivu. Ng’ekyokulabirako, Dema eyaliwo mu kyasa ekyasooka, yali amaze ebbanga ng’akolera wamu ne Pawulo naye ebintu by’ensi byamutwaliriza n’alekera awo okutambula naye. Mu kifo ky’okweyongera okuzzaamu Pawulo amaanyi mu kiseera ekyo ekyali ekizibu ennyo, Dema yamwabulira.​—Fir. 23, 24; 2 Tim. 4:10.

12. Nkizo ki gye tulina leero, era nkizo ki gye tujja okufuna mu biseera eby’omu maaso?

12 Bwe tuba ab’okusigala nga tuli banyiikivu, tulina okwewala ebintu ebiyinza okutuwugula okuva ku mulimu gwaffe ogw’okubuulira. Twetaaga okufuba ennyo okusobola “okunyweza obulamu obwa nnamaddala.” (1 Tim. 6:18, 19) Oteekwa okuba ng’okimanyi nti mu Bwakabaka bwa Katonda tujja kuba n’ebiseera bingi okukola ebintu bingi ebituleetera essanyu. Naye ekiseera kino kya kuyamba bantu kuwonawo ku Kalumagedoni. Enkizo eyo tetujja kuddamu kugifuna.

13. Kiki ekiyinza okutuyamba okusigala nga tuli banyiikivu?

13 Okuva bwe kiri nti abantu abasinga obungi leero beebase mu by’omwoyo, kiki ekiyinza okutuyamba okusigala nga tuli banyiikivu? Tusaanidde okukijjukira nti naffe waaliwo ekiseera we twali nga twebase mu by’omwoyo. Naye twayiga amazima agakwata ku Yakuwa ne Yesu era kati naffe tusobola okuyamba abalala okuyiga amazima ago. (Soma Abeefeso 5:14.) Pawulo yagamba nti: “Mwegendereze nnyo engeri gye mutambulamu; temutambula ng’abatalina magezi naye ng’abalina amagezi, nga mukozesa bulungi buli kakisa ke mufuna kubanga ennaku mbi.” (Bef. 5:15, 16) Mu nsi eno embi, kikulu nnyo okukozesa ebiseera byaffe ku bintu ebinaatuyamba okusemberera Yakuwa.

EKISEERA KYE TULIMU KIKULU NNYO

14-16. Lwaki omulimu gwaffe ogw’okubuulira mukulu nnyo leero okusinga bwe kyali kibadde?

14 Bulijjo Abakristaayo babaddenga beetaaga okukola omulimu gw’okubuulira n’obunyiikivu, naye mu kiseera kino beetaaga okugukola n’obunyiikivu okusinga bwe kyali kibadde. Mu 1914, akabonero k’okubeerawo kwa Kristo kaatandika okweyoleka. (Mat. 24:3-51) Obulamu bw’abantu buli mu kabi. Wadde ng’endagaano z’emirembe nnyingi zikoleddwa, amawanga kirimaanyi gakyalina eby’okulwanyisa by’amaanyi ga nukiriya nga 2,000. Amawanga agamu gagamba nti ebimu ku by’okulwanyisa by’amaanyi ga nukiriya bye gaalina byabula. Kyandiba nti kati eby’okulwanyisa ebyo biri mu mikono gya bannalukalala? Abantu abamu bagamba nti bannalukalala basobola okutandikawo olutalo ne lusaanyaawo abantu bonna. Naye entalo si kye kintu kyokka ekitadde obulamu bw’abantu mu kabi.

15 Alipoota emu eyafulumizibwa mu London mu 2009, yagamba nti “Enkyukakyuka mu mbeera y’obudde kye kintu ekikyasinze okuteeka obulamu bw’abantu mu kabi mu kyasa kino ekya 21.” Era yagattako nti: “Ekyo kye kizibu omuntu ky’agenda okwolekagana nakyo okumala emyaka egiwerako era ekyo kigenda kwongera okuteeka obulamu bw’abantu bangi mu kabi.” Ekyo kijja kwongera okuleetawo ekyeya, amataba, endwadde, omuyaga, era kijja kuleetera abantu okulwanira ebintu ebitono ebisigaddewo. Tewali kubuusabuusa nti entalo n’obutyabaga bitadde obulamu bw’abantu mu kabi.

16 Abantu abamu balowooza nti amawanga okukozesa eby’okulwanyisa bya nukiriya kye kijja okuviirako ebyo ebiri mu “kabonero” k’okubeerawo kwa Kristo okutandika okweyoleka. Era abantu abasinga obungi tebategeera makulu g’akabonero ako. Naye akabonero ako kamaze emyaka mingi nga keeyoleka, ekiraga nti tuli mu kiseera ky’okubeerawo kwa Kristo era nti enteekateeka y’ebintu eno eneetera okuzikirizibwa. (Mat. 24:3) Ebyo ebiri mu kabonero ako byeyolese bulungi nnyo leero. Kino kye kiseera abantu okuzuukuka okuva mu tulo otw’eby’omwoyo. Okuyitira mu mulimu gwaffe ogw’okubuulira, tusobola okubayamba okuzuukuka.

17, 18. (a) Okukimanya nti tuli mu nnaku ez’oluvannyuma, kitukwatako kitya? (b) Kiki ekiyinza okuleetera abantu okwagala okuyiga Bayibuli?

17 Ekiseera kye tusigazza okusobola okwoleka okwagala kwaffe eri Yakuwa n’okumaliriza omulimu gw’okubuulira gwe yatuwa okukola mu nnaku zino ez’oluvannyuma kisigaddeyo kitono. Ebyo Pawulo bye yagamba Abakristaayo b’omu Rooma abaaliwo mu kyasa ekyasooka bikulu nnyo gye tuli leero. Yagamba nti: “Mumanyi ekiseera kye mulimu, nti essaawa etuuse mmwe okuzuukuka mu tulo, kubanga kaakano obulokozi bwaffe buli kumpi okusinga mu kiseera we twafuukira abakkiriza.”​—Bar. 13:11.

18 Ebintu ebiriwo mu nnaku zino ez’oluvannyuma bisobola okuleetera abantu okukiraba nti beetaaga okuyiga Bayibuli. Abalala bayinza okwagala okuyiga Bayibuli bwe bafumiitiriza ku ngeri gavumenti gye ziremereddwa okukola ku bintu gamba ng’eby’enfuna, ebikolwa eby’obukambwe, okwonoonebwa kw’obutonde, n’okukomya okukolebwa kw’eby’okulwanyisa by’amaanyi ga nukiriya. Ate abalala ebizibu bye bafuna mu maka, gamba ng’obulwadde, okugattululwa mu bufumbo, oba okufiirwa abaagalwa baabwe biyinza okubaleetera okwagala okuyiga Bayibuli. Singa twenyigira mu mulimu gw’okubuulira, tujja kusobola okuyamba abantu ng’abo.

BAKOLA N’OBUNYIIKIVU

19, 20. Kiki ab’oluganda bangi kye bakoze okusobola okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira n’obunyiikivu?

19 Ab’oluganda bangi boolese obunyiikivu nga basalawo okwongera ku biseera bye bamala nga babuulira. Ng’ekyokulabirako, ow’oluganda omu mu Ecuador ne mukyala we bwe baava ku lukuŋŋaana olw’olunaku olumu olwaliwo mu 2006 olwalina omutwe “Beera n’Eriiso Eriraba Awamu,” baasalawo okubaako ebintu bye beerekereza. Baakola olukalala lw’ebintu bye baali batakyetaaga. Mu myezi essatu baatunda ebimu ku bintu byabwe ne basasula amabanja gonna ge baalina era ne bava mu nnyumba ennene gye baalimu ne bafuna entonoko. Nga wayise ekiseera kitono, baatandika okuweereza nga bapayoniya abawagizi era oluvannyuma ne basalawo okudda mu kibiina omwali obwetaavu bw’ababuulizi obusingako, ng’omulabirizi w’ekitundu bwe yali abakubirizza okukola.

20 Ow’oluganda omu mu Amerika yagamba nti ye ne mukyala we we baagendera ku lukuŋŋaana olunene olw’olunaku olumu mu 2006, baali bamaze emyaka 30 nga babatiziddwa. Bwe baali baddayo eka, baayogera ku ngeri gye baali bayinza okukolera ku magezi agakwata ku kuba n’eriiso eriraba awamu. (Mat. 6:19-22) Baalina ennyumba ssatu, ettaka, eryato, n’emmotoka ez’ebbeeyi ng’emu ku zo erimu ekinaabiro n’effumbiro. Olw’okuba baali bawulira nti ebiseera byabwe n’amaanyi gaabwe baali babyonoonedde mu kunoonya bya bugagga, baasalawo okweteerawo ekiruubirirwa eky’okuweereza nga bapayoniya. Mu 2008 beegatta ku muwala waabwe, nabo ne batandika okuweereza nga bapayoniya. Ow’oluganda oyo agamba nti, “Tufunye essanyu lingi mu kuweereza Yakuwa awamu ne bakkiriza bannaffe! Tusobodde okuweereza mu bitundu awali obwetaavu bw’ababuulizi b’Obwakabaka obusingako. Ate era okukola ekisingawo mu buweereza kituyambye okwongera okusemberera Yakuwa. Kituleetedde essanyu lingi okulaba engeri abantu gye bakwatiddwako oluvannyuma lw’okuyiga amazima agali mu Kigambo kya Katonda.”

21. Lwaki tusaanidde okubuulira n’obunyiikivu?

21 Tukimanyi nti ‘olunaku lw’omusango era olw’okuzikiririzaako abantu abatatya Katonda’ lunaatera okutuuka. (2 Peet. 3:7) Ekyo kitukubiriza okubuulira n’obunyiikivu ebikwata ku kibonyoobonyo ekinene ekinaatera okutuuka awamu n’ensi empya. Tusaanidde okweyongera okubuulira abantu ebikwata ku ssuubi ery’ebiseera eby’omu maaso. Bwe tubuulira n’obunyiikivu, tuba tulaga nti twagala Katonda awamu ne bantu bannaffe.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share