LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w12 7/15 lup. 17-21
  • Yakuwa Yanjigiriza Okukola by’Ayagala

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yakuwa Yanjigiriza Okukola by’Ayagala
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Subheadings
  • Similar Material
  • EKIRUUBIRIRWA KYE NNASOBOLA OKUTUUKAKO
  • OKUWEEREZA NGA PAYONIYA MU TASMANIA
  • OMULIMU GW’OKUKYALIRA EBIBIINA N’OKUGENDA MU GIREYAADI
  • TUFUNA OBUZIBU
  • ABAMINSANI ABALALA BATUUKA
  • GYE TUWEEREZA KATI
  • Nfuuka “Byonna eri Abantu aba Buli Ngeri”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 7/15 lup. 17-21

Ebyafaayo

Yakuwa Yanjigiriza Okukola by’Ayagala

Byayogerwa Max Lloyd

Lumu ekiro mu 1955, nze ne muminsani munnange twali mu buweereza bwaffe mu Paraguay, mu bukiikaddyo bw’Amerika. Ennyumba mwe twali yeetooloolwa abantu abaali baswakidde ne batandika okuleekaana nga bagamba nti: “Ffe katonda waffe kanywamusaayi, ayagala musaayi gw’abagwira.” Naye ffe abagwira twajja tutya okubeera mu kifo ekyo?

NNAKULIRA mu Australia era eyo Yakuwa gye yatandikira okunjigiriza okukola by’ayagala. Mu 1938, waliwo Omujulirwa wa Yakuwa eyawa taata wange akatabo akayitibwa Enemies. Taata ne maama tebaali bamativu olw’okuba abakulembeze baabwe ab’eddiini ebintu ebimu ebyali mu Bayibuli baalinga babiyita nfumo bufumo. Oluvannyuma lw’omwaka gumu, bazadde bange beewaayo eri Yakuwa ne babatizibwa. Okuva olwo, okukola Yakuwa by’ayagala kye kintu kye twatandika okukulembeza mu bulamu bwaffe ng’amaka. Mwannyinaze Lesley, eyali ansingako emyaka etaano, ye yaddako okubatizibwa, era nange ne mbatizibwa mu 1940 nga ndi wa myaka mwenda.

Ssematalo II bwe yali yaakatandika, ebitabo by’Abajulirwa ba Yakuwa byawerebwa mu Australia. Bwe kityo, wadde nga nnali nkyali muto, nnayiga okunnyonnyola ebikwata ku nzikiriza yange nga nkozesa Bayibuli yokka. Nnatwalanga Bayibuli ku ssomero ne ngikozesa okunnyonnyola abalala ensonga lwaki nnali sisobola kukubira bbendera saluti n’ensonga lwaki nnali sirina ludda lw’empagira mu lutalo.​—Kuv. 20:4, 5; Mat. 4:10; Yok. 17:16; 1 Yok. 5:21.

Abaana bangi ku ssomero bansosolanga nga bagamba nti nnali mbega wa Bugirimaani. Mu kiseera ekyo waabangawo firimu ezaalagibwanga ku ssomero. Firimu bwe yabanga tennatandika, buli omu yalinanga okuyimirira okuyimba oluyimba lw’eggwanga. Bwe nnasigalanga nga ntudde, abalenzi babiri oba basatu bansikanga enviiri nga baagala nnyimirire. Oluvannyuma nnagobebwa ku ssomero olw’okunywerera ku njigiriza za Bayibuli. Kyokka nnasobola okusoma nga nsinziira waka.

EKIRUUBIRIRWA KYE NNASOBOLA OKUTUUKAKO

Nnalina ekiruubirirwa eky’okufuuka payoniya nga mpezezza emyaka 14. Naye kyammalamu nnyo amaanyi bazadde bange bwe baŋŋamba nti nnalina okusooka okufuna omulimu nkole. Baŋŋamba okusasula ennyumba gye nnasulangamu awaka era ne baŋŋamba nti nnali wa kutandika okuweereza nga payoniya nga mpezezza emyaka 18. Mu kiseera ekyo waaliwo okusika omuguwa ku bikwata ku ssente ze nnali nfuna. Nnabagambanga nti ssente ezo nnali njagala kuzitereka zinnyambe nga ntandise okuweereza nga payoniya, naye bo baazinziggyangako.

Ekiseera bwe kyatuuka okutandika okuweereza nga payoniya, bazadde bange baŋŋamba nti ssente ze banziggyangako, baalinga bazitereka mu bbanka. Ssente ezo zonna baazimpa nsobole okugula engoye n’ebintu ebirala bye nnali ŋŋenda okukozesa nga mpeereza nga payoniya. Bwe kityo, banjigiriza okweyimirizaawo mu kifo ky’okusuubira abalala okundabirira era ekyo kinnyambye nnyo.

Nze ne Lesley bwe twali tukyali bato, bapayoniya abatali bamu baasulanga ewaffe, era twanyumirwanga nnyo okubuulira nabo. Buli wiikendi twabuuliranga nnyumba ku nnyumba, twabuuliranga ku nguudo, era twayigirizanga n’abantu Bayibuli. Mu kiseera ekyo, okutwalira awamu buli mubuulizi yawangayo essaawa 60 buli mwezi. Kumpi buli mwezi maama yawezanga essaawa ezo, bw’atyo n’atuteerawo ekyokulabirako ekirungi.

OKUWEEREZA NGA PAYONIYA MU TASMANIA

Ekitundu gye nnasooka okuweerereza nga payoniya kyali kiyitibwa Tasmania, era ng’eyo mwannyinaze n’omwami we gye baali baweerereza. Kyokka oluvannyuma lw’ekiseera kitono baavaayo ne bagenda mu Ssomero lya Gireyaadi ery’omulundi ogwa 15. Nnalina ensonyi era nnali sivangako waka. Abantu abamu baali bagamba nti nnali sijja kusussa myezi esatu nga ndi mu Tasmania. Kyokka, mu 1950, nga wayise omwaka nga gumu, nnalondebwa okuweereza nga company servant, kati ayitibwa omukwanaganya w’akakiiko k’abakadde. Oluvannyuma, nnalondebwa okuweereza nga payoniya ow’enjawulo, era waliwo ow’oluganda gwe baampa okuweereza naye.

Twasindikibwa okuweereza mu kitundu ekimu ekyesudde ekyalimu ebirombe omwali musimibwa ekikomo. Mu kitundu ekyo tewaaliyo Bajulirwa ba Yakuwa. Twagendera mu bbaasi era ne tutuukayo essaawa ez’olweggulo. Ku olwo twasula mu wooteeri enkadde. Olunaku olwaddako, bwe twali tubuulira twabuuzanga abantu be twayogeranga nabo obanga bamanyi awali ennyumba ey’okupangisa. Obudde bwe bwali bunaatera okuziba, waliwo omusajja eyatugamba nti waaliwo ennyumba y’omubuulizi eyali okumpi n’ekkanisa y’Abapulesibetaliyani etaalimu bapangisa era nti bwe tuba tugyagala tusobola okwogerako n’omudinkoni. Omudinkoni yali musajja wa kisa era yatukkiriza okupangisa ennyumba eyo. Kyali kirabika bulala buli ku makya okuva mu nnyumba y’omukulembeze w’eddiini ne tugenda okubuulira.

Abantu bangi mu kitundu ekyo baali baagala nnyo okuyiga Bayibuli. Twafuna abayizi ba Bayibuli bangi. Abakulembeze b’eddiini bwe baakitegeera nti abantu bangi baali bayiga naffe Bayibuli era nti twali tusula mu nnyumba ya mubuulizi, baalagira omudinkoni okutugobamu mu bwangu. Twalina okuddamu okunoonya aw’okusula.

Ku lunaku olwaddako twabuulira okutuuka ku ssaawa nga mwenda ne tulyoka tutandika okunoonya aw’okusula. Bwe twabulwa aw’okusula, twakwata ensawo zaffe ne tubaako we tuzikweka mu kisaawe, ne tugenda mu maaso n’okubuulira. Obudde bwali bugenda buziba, naye twasalawo okweyongera okubuulira tusobole okumalako ekitundu kye twali tubuulira. Omusajja omu gwe twayogera naye, yatuwa ennyumba ya bisenge bibiri tusulemu!

OMULIMU GW’OKUKYALIRA EBIBIINA N’OKUGENDA MU GIREYAADI

Oluvannyuma lw’okumala emyezi nga munaana nga mpeereza nga payoniya ow’enjawulo, ettabi lya Australia lyannonda okuweereza ng’omulabirizi akyalira ebibiina. Ekyo kyaneewuunyisa nnyo, kubanga nnali wa myaka 20 gyokka! Oluvannyuma lw’okutendekebwa okumala wiiki ntonotono, nnatandika okukyalira ebibiina nsobole okuzzaamu ab’oluganda amaanyi. Wadde ng’ab’oluganda bangi baali bansinga obukulu, tebanyoomanga era baasiimanga emirimu gye nnali nkola.

Bwe nnabanga nkyalira ebibiina nnakozesanga entambula ezitali zimu. Nnalinnyanga bbaasi oba emmotoka endala yonna. Oluusi nnalinnyanga ppikipiki, nga mu mukono ogumu nkwatiddemu ensawo y’engoye ate nga mu mulala nkwatiddemu ensawo y’ebitabo. Kyansanyusanga nnyo okusulako mu maka g’ab’oluganda. Lumu waliwo ow’oluganda eyali aweereza nga company servant eyasalawo okunsuza mu maka ge wadde ng’ennyumba ye yali tennaggwa. Wiiki eyo yonna nnasula mu kasenge akaali kagenda okufuuka ekinaabiro, naye wiiki eyo we yaggwerako ffenna twawulira nga tuzziddwamu nnyo amaanyi mu by’omwoyo!

Ekintu ekirala ekyanneewuunyisa kyaliwo mu 1953 bwe nnayitibwa okugenda mu Ssomero lya Gireyaadi ery’omulundi ogwa 22. Nnali musanyufu nnyo naye ate muli nnawulira nga ntiddemu. Mwannyinaze Lesley n’omwami we bwe baamala okuva mu Ssomero lya Gireyaadi nga Jjulaayi 30, 1950, baasindikibwa okuweereza mu Pakistan. Naye tewaayita na mwaka, Lesley n’alwala era n’afa. Nneebuuza, Bazadde bange banaawulira batya bwe banaakimanya nti nange ŋŋenda kuweereza mu nsi endala? Naye bwe baakitegeerako, baŋŋamba nti: “Genda oweereze Yakuwa yonna gy’ayagala omuweerereze.” Saddamu kulaba ku taata nate. Yafa mu 1957.

Waayita ennaku ntono, nze awamu n’ab’oluganda abalala bataano okuva mu Australia ne tulinnya emmeeri okwolekera ekibuga New York, olugendo olwatutwalira wiiki omukaaga. Bwe twali tugenda, twasoma Bayibuli era ne tubuulirako n’abantu abalala ku mawulire amalungi. Bwe twali tetunnagenda mu South Lansing ekiri mu New York, gye twali tugenda okusomera, twagenda mu lukuŋŋaana olw’ensi yonna olwaliwo mu Jjulaayi 1953 mu kisaawe ky’e Yankee. Abantu abaali ku lukuŋŋaana olwo baawerera ddala 165,829!

Essomero lyaffe ey’omulundi ogwa 22 lyalimu abayizi 120 abaava mu bitundu by’ensi ebitali bimu. Twali tetumanyi wa gye twali tugenda kusindikibwa okutuusiza ddala ku lunaku lwe twamaliriza emisomo gyaffe. Bwe twategeera wa gye twali tugenda, buli omu yayanguwa n’agenda mu tterekero ly’ebitabo erya Gireyaadi okusoma ebikwata ku nsi gye yali asindikiddwa. Nnakitegeera nti mu Paraguay gye nnali nsindikiddwa waali tewaggwayo busambattuko. Bwe nnali nnaakatuukayo, lumu ekiro nnawulira oluyoogaano. Enkeera ku makya nnabuuza baminsani bannange lwaki abantu baawoganye nnyo ekiro. Bansekerera era ne baŋŋamba nti gavumenti yali egiddwako, era nti nnali wa kulaba n’enkyukakyuka endala nnyingi mu by’obufuzi. Baŋŋamba okutunula ebweru. Bwe nnatunulayo, n’alaba abasirikale nga babunye buli wamu!

TUFUNA OBUZIBU

Lumu, nnawerekerako omulabirizi w’ekitundu bwe yali agenda okukyalira ekibiina ekyali mu kitundu ekyesudde era ng’agenda kulaga firimu eyitibwa The New World Society in Action. Olugendo lwatutwalira essaawa nga munaana oba mwenda. Twakozesa eggaali y’omukka, ekigaali ekisikibwa embalaasi, n’ekigaali ekisikibwa ente. Twatwala genereeta n’ekyuma ekikozesebwa okulaga ebifaananyi ku lutimbe. Bwe twatuukayo, enkeera olunaku lwonna twalumala tuyita abantu abaali bakola ku faamu ezitali zimu okujja okulaba firimu gye twali tugenda okulaga. Abantu 15 be baaliwo nga tulaga firimu eyo.

Bwe twali twakalaga firimu okumala eddakiika 20 zokka, twagambibwa okuyingira mu nnyumba mu bwangu. Twaggyawo ebyuma byaffe mu bwangu ne tuyingira mu nnyumba. Mu kiseera ekyo, twawulira abantu nga baleekaana era nga bakuba amasasi mu bbanga ng’eno bwe bagamba nti: “Ffe katonda waffe kanywamusaayi, ayagala musaayi gw’abagwira.” Mu nnyumba twalimu abagwira babiri ffekka! Kyokka abantu abaali bazze okulaba firimu baalemesa abantu abo okuyingira mu nnyumba. Naye abantu abo baakomawo ku ssaawa nga mwenda ez’ekiro ne bakuba amasasi mu bbanga era ne bagamba nti baali bagenda kututeega mu kkubo nga tuddayo mu kibuga.

Ab’oluganda babiri baategeeza omukungu wa gavumenti omu ekyo ekyali kibaddewo, era n’ajja olw’eggulo n’embalaasi bbiri n’atuwerekerako nga tugenda mu kibuga. Bwe twali tugenda, buli lwe twatuukanga awali ekisikosiko, yasikangayo emmundu ye n’asooka agenda mu maaso okulawuna okulaba obanga tewali mutawaana gwonna. Nnakiraba nti embalaasi yali ya mugaso nnyo era bwe ntyo nange nnasalawo okwegulirayo emu.

ABAMINSANI ABALALA BATUUKA

Wadde ng’abakulembeze b’amadiini baagezaako okutuziyiza, tweyongera okufuna emikisa mu mulimu gw’okubuulira. Mu 1955, waliwo abaminsani abalala bataano abaatwegattako, nga muno mwe mwali ne mwannyinaffe eyava mu Canada ayitibwa Elsie Swanson, eyali mu Ssomero lya Gireyaadi ery’omulundi ogwa 25. Twaliko naye ku ofiisi y’ettabi okumala akaseera nga tannasindikibwa mu kibuga ekirala. Yali yeemalidde ku kuweereza Yakuwa wadde nga bazadde be baali tebamuwagira era nga tebali mu mazima. Nga Ddesemba 31, 1957, nnawasa Elsie, era twali tubeera ffekka mu maka g’abaminsani agaali mu bukiikaddyo bwa Paraguay.

Tetwalina mazzi mu nnyumba yaffe; naye twalina oluzzi emmanju w’ennyumba yaffe. Tetwalina kinaabiro kya mu nnyumba, tetwalina byuma byoza ngoye, era tetwalina firiiji. Twagulanga eby’okulya bitonotono bireme kutwonoonekako. Naye okuva bwe kiri nti twasalawo okwerekereza ebintu ebimu era nga n’ab’oluganda mu kibiina baatuyamba nnyo, twasigala tuli basanyufu nga tuweereza Yakuwa.

Mu 1963, bwe twali twakatuuka mu Australia nga tugenze okulaba ku maama, maama yakubwa puleesa, nga kirabika kyava ku kuba nti yasanyuka nnyo okulaba ku mutabani we gwe yali amaze emyaka kkumi nga talabako. Ekiseera kyatuuka nga tulina okuddayo mu Paraguay. Twalina okusalawo ku bibiri; tuleke maama mu ddwaliro nga tusuubira nti waliwo omuntu ajja okumulabirira oba tusigale tumulabirire? Oluvannyuma lw’okusaba ennyo, nze ne Elsie twasalawo okusigala tusobole okulabirira maama. Twasobola okumulabirira okutuusa lwe yafa mu 1966 naye tetwava mu buweereza obw’ekiseera kyonna.

Nnamala emyaka mingi nga mpeereza ng’omulabirizi w’ekitundu, nga mpeereza ng’omulabirizi wa disitulikiti mu Australia, era nnafuna enkizo okusomesa abakadde mu Ssomero ly’Obuweereza bw’Obwakabaka. Oluvannyuma nnafuna enkizo endala. Nnalondebwa okuweereza ku Kakiiko k’Ettabi akaasooka mu Australia. Ekiseera bwe kyatuuka okuzimba ofiisi y’ettabi empya, nnalondebwa okulabirira omulimu gw’okuzimba ettabi eryo. Naye olw’okuba waaliwo ab’oluganda bangi abaalina obumanyirivu, era nga bangu okukolagana nabo, twasobola okuzimba ofiisi y’ettabi erabika obulungi ennyo.

Oluvannyuma nnalondebwa okuweereza mu Kitongole ky’Obuweereza, ekirabirira omulimu gw’okubuulira mu ggwanga. Nnafuna n’enkizo okuweereza ng’omulabirizi wa zooni ne nkyalira amatabi agatali gamu okwetooloola ensi okusobola okuzzaamu ab’oluganda amaanyi. Okunyumyako n’ab’oluganda be nnasanga mu nsi ezitali zimu abaali bamaze emyaka mingi nga bali mu makomera ne mu nkambi z’abasibe olw’okusigala nga beesigwa eri Yakuwa, kyanzizaamu nnyo amaanyi.

GYE TUWEEREZA KATI

Mu 2001, bwe nnali nnaakava okukyalira amatabi, nnafuna ebbaluwa eyali empita okugenda okuweereza ku Kakiiko k’Ettabi mu Brooklyn, New York, Amerika. Twasaba Yakuwa atuyambe era twasalawo okugenda okuweereza mu Amerika. Kati tumaze emyaka egisukka mu 11 nga tuweereza mu Brooklyn.

Ndi musanyufu nnyo okuba nti nnina omukyala omwetegefu okukola buli kimu Yakuwa ky’amulagira okukola. Nze ne Elsie kati tulina emyaka 81 buli omu naye tetutera kulwalalwala. Twesunga nnyo ekiseera lwe tujja okuyigirizibwa Yakuwa emirembe gyonna, era twesunga nnyo okufuna emikisa emingi Yakuwa gy’ajja okuwa abo bonna abafuba okukola by’ayagala.

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ebiri ku lupapula 19]

Nnalinnyanga bbaasi oba emmotoka endala yonna. Oluusi nnalinnyanga ppikipiki, nga mu mukono ogumu nkwatiddemu ensawo y’engoye ate nga mu mulala nkwatiddemu ensawo y’ebitabo

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ebiri ku lupapula 21]

Twesunga nnyo ekiseera lwe tujja okuyigirizibwa Yakuwa emirembe gyonna

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 18]

Ku kkono: Nga nkyalira ebibiina mu Australia

Ku ddyo: Nga ndi ne bazadde bange

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 20]

Ku lunaku lwe twafumbiriganwa, nga Ddesemba 31, 1957

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share