Watchtower eri mu Lungereza Olugonzeddwamu Lwaki Yatandika Okukubibwa?
OKUMALA emyaka mingi abantu okwetooloola ensi babadde basoma magazini ya Watchtower era ebaganyudde nnyo. Mu Jjulaayi 2011, Watchtower eri mu Lungereza olugonzeddwamu yatandika okukubibwa. Watchtower eyo yagamba nti: “Magazini eno ejja kukubibwa buli mwezi okumala omwaka gumu, era bwe kinaaba kyetaagisa, ejja kwongera okukubibwa.”
Kati tuli basanyufu okubategeeza nti tusazeewo okugenda mu maaso n’okukuba Watchtower eyo. Ate era, mu kiseera ekitali kya wala Watchtower eri mu lulimi olugonzeddwamu ejja kutandika okukubibwa mu Lufalansa, mu Lupotugo, ne mu Lusipeyini.
ENSONGA LWAKI BANGI BAGYAGALA NNYO
Oluvannyuma lw’okufuna magazini eri mu Lungereza olugonzeddwamu, ab’oluganda bangi mu South Pacific baagamba nti: “Kati ab’oluganda basobola bulungi okutegeera amakulu g’ebintu ebibeera mu Watchtower.” Mwannyinaffe okuva mu nsi endala yagamba nti: “Ebiseera bye twamalanga nga tunoonya amakulu g’ebigambo ebimu mu nkuluze kati tubikozesa okutegeera obulungi ebyawandiikibwa ebiba biragiddwa n’engeri gye bikwataganamu n’ekitundu kye tuba tusoma.”
Mwannyinaffe omu eyasomera mu yunivasite emu ey’omu Amerika yagamba nti: “Nnamala emyaka 18 nga nkozesa Olungereza olukakali. Bwe nnabanga njogera nnakozesanga Olungereza oluzibu okutegeera. Naye nnakiraba nti nnali nneetaaga okukola enkyukakyuka ez’amaanyi mu ngeri gye nnali njogeramu. Watchtower eri mu Lungereza olugonzeddwamu ennyambye nnyo. Ennyambye okuyiga okunnyonnyola ebintu mu ngeri ennyangu.”
Mwannyinaffe abeera mu Bungereza eyabatizibwa mu 1972 yayogera bw’ati ku Watchtower eri mu Lungereza olugonzeddwamu: “Bwe nnali nsoma Watchtower eyo eyasooka, nnawulira nga Yakuwa eyali atudde okumpi nange ng’ankutte ku kibegaabega nga tugisomera wamu. Nnawulira ng’omwana kitaawe gw’asomera olugero.”
Mwannyinaffe omu aweereza ku Beseri y’omu Amerika era amaze emyaka egisukka mu 40 nga mubatize yagamba nti Watchtower eri mu Lungereza olugonzeddwamu emuyambye okwongera okutegeera Ebyawandiikibwa. Ng’ekyokulabirako, akasanduuko akalina omutwe “Amakulu g’ebigambo ebimu” akaali mu Watchtower eya Ssebutemba 15, 2011, kannyonnyola bwe kati amakulu g’ebigambo “ekibinja ekinene eky’abajulirwa” ebiri mu Abebbulaniya 12:1: “Baali bangi nnyo ne kiba nti tebasobola na kubalibwa.” Mwannyinaffe oyo yagamba nti: “Nneeyongera okutegeera ekyawandiikibwa ekyo.” Ate bwe yali ayogera ku lukuŋŋaana lw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi, yagamba nti: “Omwana ne bw’asoma obusomi eky’okuddamu ng’akozesa Watchtower eri mu Lungereza olugonzeddwamu, ebyo byaddamu owulira ng’aba abitadde mu bigambo bye.”
Mwannyinaffe omulala aweereza ku Beseri yagamba nti: “Mba nneesunga okuwulira abaana nga baddamu mu lukuŋŋaana lw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi. Watchtower eri mu Lungereza olugonzeddwamu eyambye abaana okuddamu nga beekakasa bye boogera. Ebyo bye baddamu binzizzaamu nnyo amaanyi.”
Mwannyinaffe omu eyabatizibwa mu 1984 yayogera bw’ati ku Watchtower eyo: “Mpulira nga Watchtower eyo baagiwandiikira nze. Nyangu okutegeera. Kati bye nziramu mu lukuŋŋaana lw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi mba mbyekakasa bulungi.”
ABAZADDE BAGYAGALA NNYO
Maama omu alina mutabani we ow’emyaka omusanvu agamba nti: “Bwe twabanga tutegeka Omunaala gw’Omukuumi, kyantwaliranga ebiseera bingi okunnyonnyola mutabani wange amakulu g’ebigambo ebitali bimu era kyankooyanga nnyo.” Watchtower eri mu Lungereza olugonzeddwamu emuyambye etya? Agamba nti: “Kinneewuunyisa okulaba nti kati mutabani wange asobola okusoma obutundu era n’abutegeera bulungi. Okuva bwe kiri nti Watchtower eyo ekozesa ebigambo ebyangu okutegeera era nga ne sentensi zaayo nnyimpimpi, emwanguyira okusoma. Kati asobola okutegeka ebyo by’annaddamu mu lukuŋŋaana nga simuyambyenako, era agoberera bulungi ng’obutundu bwonna busomebwa.”
Maama omu alina muwala we ow’emyaka omwenda yagamba nti: “Twalinanga okumuyambako okufuna eby’okuddamu mu lukuŋŋaana lw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi. Naye kati asobola okufuna eby’okuddamu nga tewali amuyambyeko. Era tetukyamala biseera bingi nga tumunnyonnyola ebigambo ebizibu. Olw’okuba kati by’asoma abitegeera bulungi, annyumirwa nnyo okubeerawo mu lukuŋŋaana olwo.”
ABAANA BAWULIRA BATYA?
Abaana bangi bawulira nga Watchtower eyo okusingira ddala bagitegekera bo. Rebecca, omuwala ow’emyaka 12, yawandiika nti: “Mbasaba mugende mu maaso n’okukuba Watchtower eyo!” Yagattako nti: “Njagala nnyo akasanduuko akalina omutwe ‘Amakulu g’ebigambo ebimu.’ Kayamba abaana okutegeera amakulu g’ebigambo.”
Nicolette, omuwala ow’emyaka omusanvu yawandiika nti: “Watchtower yanzibuwaliranga nnyo. Naye kati nsobola okwetegekera eby’okuddamu nga tewali annyambyeko.” Emma, omuwala ow’emyaka omwenda, yawandiika nti: “Watchtower eyo ennyambye nnyo awamu ne muto wange ow’emyaka omukaaga. Kati ebintu ebisinga tubitegeera bulungi! Mwebale nnyo!”
Kya lwatu nti bangi baganyuddwa nnyo mu Watchtower eri mu Lungereza olugonzeddwamu. Okuva bwe kiri nti Watchtower eyo yamugaso nnyo, ejja kweyongera okukubibwa awamu n’eyo gye tubadde tukozesa eyatandika okukubibwa mu 1879.