Yesu—Yalina Obulamu obw’Amakulu
DDALA Yesu yalina obulamu obw’amakulu? Yakulira mu maka maavu, era teyalina bintu bingi mu bulamu. Mu butuufu, yali “talina w’assa mutwe gwe.” (Lukka 9:57, 58) Okugatta ku ebyo, yakyayibwa, yayogerwako eby’obulimba, era oluvannyuma abalabe be baamutta.
Oyinza okugamba nti, ‘Sirowooza nti obulamu ng’obwo bwali bwa makulu!’ Naye waliwo ebintu ebirala ebikwata ku bulamu bwa Yesu bye tusaanidde okulowoozaako. Ka twetegereze ebintu bina.
1. OKUKOLA KATONDA BY’AYAGALA KYE KYALI EKIGENDERERWA KYA YESU EKIKULU MU BULAMU.
“Emmere yange kwe kukola oyo eyantuma by’ayagala.”—Yokaana 4:34.
Mu bigambo ne mu bikolwa, Yesu yakiraga nti yali ayagala okukola ebyo Yakuwa, Kitaawe ow’omu ggulu, by’ayagala.a Ekyo Yesu kyamuleeteranga essanyu lingi nnyo. Mu butuufu, okukola Katonda by’ayagala yakugeraageranya ku mmere nga bwe kiragibwa mu kyawandiikibwa ekijuliziddwa waggulu. Weetegereze embeera eyaliwo we yayogerera ebigambo ebyo.
Zaali ssaawa mukaaga ez’emisana Yesu we yayogerera ebigambo ebyo. (Yokaana 4:6) Yali yaakamala okuyita ku busozi bw’omu Samaliya era ku ssaawa ezo enjala eteekwa okuba nga yali emuluma. Abayigirizwa be baamwegayirira nti: “Labbi, lya ku mmere.” (Yokaana 4:31) Ebyo bye yabaddamu byalaga nti okukola Katonda by’ayagala kyamuzzangamu amaanyi era yabanga ng’alidde emmere. Ekyo tekiraga nti obulamu bwe bwali bwa makulu?
2. YESU YALI AYAGALA NNYO KITAAWE.
“Njagala Kitange.”—Yokaana 14:31.
Okuviira ddala ng’akyali mu ggulu, Yesu yalina enkolagana ey’oku lusegere ne Kitaawe. Olw’okuba yali ayagala nnyo Katonda yamanyisa abalala erinnya lye, ebigendererwa bye, n’engeri ze. Mu bikolwa ne mu bigambo Yesu yakoppera ddala Kitaawe ne kiba nti bwe tusoma ebikwata ku Yesu tuba ng’abasoma ebikwata ku Kitaawe. Eyo y’ensonga lwaki Firipo bwe yamubuuza nti: “Tulage Kitaawo,” Yesu yamuddamu nti: “Alabye nze aba alabye ne Kitange.”—Yokaana 14:8, 9.
Olw’okuba Yesu yali ayagala nnyo Kitaawe, yali muwulize okutuusa okufa. (Abafiripi 2:7, 8; 1 Yokaana 5:3) Okwagala okwo okungi kwe yalina eri Katonda kwafuula obulamu bwe okuba obw’amakulu.
3. YESU YALI AYAGALA NNYO ABANTU.
“Tewali n’omu alina kwagala nga kuno, omuntu okuwaayo obulamu bwe ku lwa mikwano gye.”—Yokaana 15:13.
Olw’okuba twasikira ekibi, twandibadde tetulina ssuubi lyonna mu biseera eby’omu maaso. Bayibuli egamba nti: “Okuyitira mu muntu omu ekibi kyayingira mu nsi, okufa ne kuyitira mu kibi, bwe kityo okufa ne kubuna ku bantu bonna kubanga bonna baayonoona.” (Abaruumi 5:12) Tewali n’omu ku ffe asobola kwerokola okuva mu kufa.—Abaruumi 6:23.
Eky’essanyu, Yakuwa alina kye yakolawo. Yakkiriza Omwana we atuukiridde, Yesu, okubonaabona n’okufa asobole okununula abantu okuva mu buddu bw’ekibi n’okufa. Olw’okuba Yesu yali ayagala nnyo Kitaawe era ng’ayagala nnyo abantu, yakkiriza okuwaayo obulamu bwe obutuukiridde ku lwaffe. (Abaruumi 5:6-8) Okwagala okwo kwafuula obulamu bwe okuba obw’amakulu.b
4. YESU YALI AKIMANYI NTI KITAAWE AMWAGALA ERA AMUSIIMA.
“Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira.”—Matayo 3:17.
Yesu bwe yali abatizibwa, Yakuwa yayogera ebigambo ebyo ng’asinziira mu ggulu. Bwe kityo, n’akyoleka kaati nti ayagala nnyo Omwana we Yesu era nti amusiima. Eyo ye nsonga lwaki Yesu yagamba nti: “Kitange anjagala”! (Yokaana 10:17) Olw’okuba Yesu yali akimanyi nti Kitaawe amwagala era amusiima, kyamuyamba okugumira okuziyizibwa n’okusekererwa. Ate era kyamuyamba obutekkiriranya ng’agenda okuttibwa. (Yokaana 10:18) Yesu okukimanya nti Kitaawe amwagala era amusiima, kyafuula obulamu bwe okuba obw’amakulu.
Awatali kubuusabuusa, Yesu yalina obulamu obw’amakulu. Waliwo bingi bye tumuyigirako ebisobola okutuyamba okuba n’obulamu obw’amakulu. Ekitundu ekiddako kiraga agamu ku magezi Yesu ge yawa ku ngeri y’okutambuzaamu obulamu bwaffe.
a Bayibuli eraga nti Yakuwa lye linnya lya Katonda.
b Okumanya ebisingawo ebikwata ku miganyulo gye tufuna okuyitira mu kufa kwa Yesu, laba essuula 5 mu katabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.