Ow’oluganda Alondeddwa Okuweereza ku Kakiiko Akafuzi
Ku Lw’okusatu ku makya nga Ssebutemba 5, 2012, kyalangirirwa eri ab’oluganda abaweereza ku Beseri y’omu Amerika n’ey’omu Canada nti Ow’oluganda Mark Sanderson yali alondeddwa okuweereza ku Kakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa. Ow’oluganda Sanderson yatandika okuweereza ku Kakiiko Akafuzi nga Ssebutemba 1, 2012.
Ow’oluganda Sanderson yazaalibwa mu San Diego, California, Amerika, era bazadde be baali Bakristaayo. Yabatizibwa nga Febwali 9, 1975. Yatandika okuweereza nga payoniya mu kibuga Saskatchewan ekya Canada nga Ssebutemba 1, 1983. Yagenda mu Ssomero Eritendeka Abakadde n’Abaweereza (kati eriyitibwa Essomero ly’Ab’oluganda Abali Obwannamunigina) eryali mu Amerika mu 1990. Mu Apuli 1991, yasindikibwa okuweereza nga payoniya ow’enjawulo ku kizinga Newfoundland, Canada. Yaweerezaako ng’omuyambi w’omulabirizi w’ekitundu, oluvannyuma n’ayitibwa okuweereza ku Beseri y’omu Canada mu Febwali 1997. Mu Noovemba 2000, yayitibwa okuweereza ku Beseri y’omu Amerika. Yasooka kuweereza mu kitongole ekikola ku by’obujjanjabi ate oluvannyuma n’aweereza mu kitongole ky’obuweereza.
Mu Ssebutemba 2008, Ow’oluganda Sanderson yagenda mu Ssomero Eritendeka Abo Abali ku Bukiiko bw’Amatabi era oluvannyuma yalondebwa okuweereza ku Kakiiko k’Ettabi lya Philippines. Mu Ssebutemba 2010, yaddayo ku Beseri y’omu Amerika, n’aweereza ng’omuyambi ku Kakiiko k’Obuweereza ak’Akakiiko Akafuzi.