Okuweereza nga Bapayoniya Kinyweza Enkolagana Yaffe Ne Katonda
‘Kirungi okuyimba nga tutendereza Katonda waffe.’—ZAB. 147:1.
1, 2. (a) Kiki ekiyinza okuvaamu singa tulowooza ku muntu gwe twagala era ne tumwogerako? (Laba ekifaananyi waggulu.) (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwekenneenya?
OKULOWOOZA ku muntu gwe twagala n’okumwogerako, kisobola okunyweza enkolagana yaffe naye. Bwe kityo bwe kiri ne bwe kituuka ku nkolagana yaffe ne Yakuwa Katonda. Bwe yabanga alunda endiga, Dawudi yamalanga ebiseera bingi ku ttale ekiro, ng’atunuulira emmunyeenye era ng’alowooza ne ku Oyo eyazitonda. Dawudi yagamba nti: “Bwe ndowooza eggulu lyo, omulimu gw’engalo zo, omwezi n’emmunyeenye, bye walagira; omuntu kye kiki, ggwe okumujjukira?” (Zab. 8:3, 4) Oluvannyuma lw’okulowooza ku ngeri ey’ekitalo Katonda gye yali atuukirizaamu ekigendererwa kye ekikwata ku Isiraeri ow’omwoyo, omutume Pawulo yagamba nti: “Obugagga bwa Katonda n’amagezi ge n’okumanya kwe nga bya buziba!”—Bar. 11:17-26, 33.
2 Bwe tuba tubuulira, tulowooza ku Yakuwa era ne tumwogerako. Ekyo kinyweza enkolagana yaffe naye. Bapayoniya bangi bakirabye nti okumala ebiseera bingi nga babuulira, kibaleetedde okwongera okwagala Katonda. Bw’oba ng’oli mu buweereza obw’ekiseera kyonna oba ng’olowooza ku ky’okubuyingira, lowooza ku kino: Obuweereza obw’ekiseera kyonna buyinza butya okunyweza enkolagana yo ne Yakuwa? Bw’oba oli payoniya, ‘Kiki ekinaakuyamba okweyongera okuweereza nga payoniya?’ Bw’oba tonnatandika kuweereza nga payoniya, ‘Nkyukakyuka ki z’oyinza okukola okusobola okutandika okuweereza nga payoniya?’ Kati ka tulabe engeri obuweereza obw’ekiseera kyonna gye buyinza okutuyamba okunyweza enkolagana yaffe ne Katonda.
OBUWEEREZA OBW’EKISEERA KYONNA BUNYWEZA ENKOLAGANA YAFFE NE KATONDA
3. Okwogera ku mikisa Obwakabaka gye bunaaleeta kituganyula kitya?
3 Okwogera ku mikisa Obwakabaka bwa Katonda gye bunaaleeta kinyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa. Byawandiikibwa ki by’otera okukozesa ng’obuulira? Kyandiba nti osinga kwagala kukozesa Zabbuli 37:10, 11; Danyeri 2:44; Yokaana 5:28, 29; oba Okubikkulirwa 21:3, 4? Buli lwe twogera ku bisuubizo bya Katonda ng’ebyo nga tubuulira, kituyamba okujjukira nti “buli kirabo ekirungi na buli kitone ekituukiridde” kiva eri Katonda waffe Omugabi. Ekyo kituyamba okunyweza enkolagana yaffe naye.—Yak. 1:17.
4. Okulaba embeera ey’eby’omwoyo abantu be tubuulira gye balimu kituyamba kitya okusiima Yakuwa by’atukolera?
4 Okulaba embeera embi ey’eby’omwoyo abantu be tubuulira gye balimu kituleetera okwongera okwagala amazima. Abantu abatasinza Yakuwa tebalina bulagirizi bwesigika obusobola okubayamba okufuna essanyu mu bulamu. Abasinga obungi beeraliikirira ebiseera eby’omu maaso era tebalina ssuubi. Tebalina kigendererwa mu bulamu. N’abo abeetwala okuba bannaddiini bamanyi kitono nnyo ku Byawandiikibwa. Balinga abantu abaali mu Nineeve. (Soma Yona 4:11.) Bwe tumala ebiseera bingi nga tubuulira, tweyongera okukiraba nti Yakuwa atulabirira bulungi nnyo mu by’omwoyo. (Is. 65:13) Naye Yakuwa takoma ku kulabirira baweereza be mu by’omwoyo; awa abantu bonna akakisa okubudaabudibwa n’okufuna essuubi. Ekyo kiraga nti Yakuwa mulungi nnyo.—Kub. 22:17.
5. Okuyigiriza abalala amazima kituyamba kitya obutamalira birowoozo byaffe ku bizibu bye tulina?
5 Okuyigiriza abalala amazima kituyamba obutamalira birowoozo byaffe ku bizibu bye tulina. Trisha, aweereza nga payoniya owa bulijjo, agamba nti yayisibwa bubi nnyo bazadde be bwe baagattululwa. Lumu yali awulira ennaku ya maanyi era ng’awulira nti tayagala kugenda kubuulira. Wadde kyali kityo, yasalawo okugenda okuyigiriza abayizi be basatu Bayibuli. Baali baana bato naye nga bali mu maka agalimu ebizibu ebingi. Kitaabwe yali yabaabulira ate nga mukulu waabwe abatulugunya. Trisha agamba nti: “Nnakiraba nti ebizibu bye nnalina, byali bitono nnyo ku by’abaana abo. Naye bwe twali tusoma baatandika okuteekako akamwenyumwenyu. Abaana abo baalinga ekirabo Yakuwa kye yampa ku olwo.”
6, 7. (a) Okuyigiriza abantu Bayibuli kinyweza kitya okukkiriza kwaffe? (b) Okulaba engeri okukolera ku misingi gya Bayibuli gye kikyusaamu obulamu bw’abantu kituleetera kuwulira tutya?
6 Okuyigiriza abalala amazima agali mu Bayibuli kinyweza okukkiriza kwaffe. Omutume Pawulo yayogera ku Bayudaaya abamu abaali batakolera ku ebyo bye baayigirizanga. Yagamba nti: “Ggwe ayigiriza omulala, teweeyigiriza wekka?” (Bar. 2:21) Naye bapayoniya si bwe batyo bwe bali. Bapayoniya babuulira abantu bangi era batera okuba n’abayizi ba Bayibuli bangi. Okusobola okuyigiriza obulungi abantu Bayibuli, bapayoniya kibeetaagisa okwetegeka obulungi n’okunoonyereza buli lwe baba bagenda okuyigiriza omuntu Bayibuli. Payoniya omu ayitibwa Janeen agamba nti: ‘Buli lwe njigiriza omuntu Bayibuli, okukkiriza kwange kweyongera okunywera.’
7 Okulaba engeri okukolera ku misingi gya Bayibuli gye kiyambamu abantu okukyusa obulamu bwabwe kituleetera okwongera okusiima amagezi agava eri Katonda. (Is. 48:17, 18) Ekyo kitukubiriza okuba abamalirivu okukolera ku misingi gya Bayibuli mu bulamu bwaffe. Mwannyinaffe Adrianna aweereza nga payoniya agamba nti: “Abantu bwe bagezaako okwesigama ku magezi gaabwe, obulamu bwabwe tebuba bulungi. Naye bwe batandika okukolera ku magezi agava eri Yakuwa, obulamu bwabwe butandika okulongooka.” Ow’oluganda Phil aweereza nga payoniya agamba nti: ‘Kinsanyusa nnyo okulaba engeri Yakuwa gy’ayambamu abantu okukyusa obulamu bwabwe.’
8. Okukolera awamu ne bakkiriza bannaffe nga tubuulira kituganyula kitya?
8 Okukolera awamu ne bakkiriza bannaffe nga tubuulira kituzzaamu amaanyi. (Nge. 13:20) Bapayoniya abasinga obungi bamala ebiseera bingi mu buweereza nga bakolera wamu ne bakkiriza bannaabwe. Ekyo kibawa akakisa ‘okuzziŋŋanamu amaanyi.’ (Bar. 1:12; soma Engero 27:17.) Mwannyinaffe Lisa, aweereza nga payoniya, agamba nti: ‘Ku mulimu gye nkolera, bakozi bannange bangi balina obuggya n’omwoyo gw’okuvuganya. Buli lunaku baba mu ŋŋambo era bakozesa olulimi olubi. Ebiseera ebimu banjerega olw’okukolera ku misingi gya Bayibuli. Kyokka bwe mba ne bakkiriza bannange mu mulimu gw’okubuulira, boogera ebintu ebizimba. Kyo kituufu nti we nzirirayo eka mba nkooye, naye mba mpulira nga nzizeemu amaanyi.’
9. Omwami n’omukyala bwe baweerereza awamu nga bapayoniya, kiyamba kitya obufumbo bwabwe?
9 Omwami n’omukyala bwe baweerereza awamu nga bapayoniya, kiyamba obufumbo bwabwe okwongera okunywera. (Mub. 4:12) Madeline n’omwami we bombi baweereza nga bapayoniya. Madeline agamba nti: “Nze n’omwami wange bwe tukomawo awaka twogera ku ebyo bye tuba tusanze nga tubuulira oba twogera ku bintu bye tuba tusomye mu Bayibuli bye tusobola okukozesa nga tubuulira. Buli mwaka gwe tumala nga tuweerereza wamu nga bapayoniya, enkolagana yaffe yeeyongera okunywera.” Trisha n’omwami we nabo baweereza nga bapayoniya. Trisha agamba nti: ‘Twewala okugwa mu mabanja, era ekyo kituyambye obuteemalira ku kunoonya ssente. Tugendera wamu okuddiŋŋana n’okuyigiriza abantu Bayibuli. Ekyo kiyambye obufumbo bwaffe okwongera okunywera.’
Okuba mu buweereza obw’ekiseera kyonna kireeta essanyu lingi (Laba akatundu 9)
10. Bwe tukulembeza Obwakabaka era ne tulaba engeri Katonda gy’atuyambamu, kituyamba kitya okwongera okumwesiga?
10 Bwe tukulembeza Obwakabaka, tweyongera okwesiga Yakuwa, tukiraba nti atuyamba, era nti addamu okusaba kwaffe. Kyo kituufu nti Abakristaayo bonna abeesigwa beesiga Yakuwa. Naye abo abaweereza nga bapayoniya bakimanyi nti okwesiga Yakuwa kye kisobola okubayamba okweyongera okuweereza nga bapayoniya. (Soma Matayo 6:30-34.) Ow’oluganda Curt, aweereza nga payoniya era aweereza ng’omuyambi w’omulabirizi w’ekitundu, yasabibwa okugenda okukyalira ekibiina ekimu, naye nga kimwetaagisa okuvugawo emmotoka okumala essaawa bbiri n’ekitundu. Curt ne mukyala we, nga naye aweereza nga payoniya, baalina amafuta agasobola okubatwala naye nga tebalina gabakomyawo, ate nga ne gye yali akolera baali ba kumusasula luvannyuma lwa wiiki emu. Curt agamba nti, “Nnatandika okwebuuza obanga nnali nsazeewo mu ngeri ey’amagezi.” Oluvannyuma lw’okusaba, twakkiriza okugenda, nga tuli bakakafu nti Katonda yali ajja kukola ku byetaago byaffe. Bwe baali banaatera okusimbula, mwannyinaffe omu yabakubira essimu n’abagamba nti yalina ekirabo kye yali ayagala okubawa. Ekirabo ekyo zaali ssente. Ekyewuunyisa kiri nti ssente ze yabawa zeezo zennyini ze baali beetaaga okugula amafuta agabakomyawo. Curt agamba nti, ‘Ebintu ng’ebyo bwe bibaawo, bituyamba okukiraba nti Yakuwa akola ku byetaago byaffe.’
11. Egimu ku mikisa bapayoniya gye bafuna gye giruwa?
11 Bapayoniya bangi bakirabye nti bwe beemalira ku buweereza bwabwe era ne bafuba okunyweza enkolagana yaabwe ne Yakuwa, bafuna emikisa mingi. (Ma. 28:2) Wadde kiri kityo, bapayoniya boolekagana n’okusoomoozebwa okutali kumu. Abaweereza ba Katonda bonna boolekagana n’ebizibu ebyajjawo olw’obujeemu bwa Adamu. Wadde ng’oluusi ebizibu ebimu biyinza okuleetera bapayoniya okuyimirizaamu okuweereza nga bapayoniya, ebizibu ebyo biyinza okugonjoolwa oba okwewalibwa. Kati olwo kiki ekiyinza okuyamba bapayoniya okusigala nga baweereza nga bapayoniya?
SIGALA MU BUWEEREZA OBW’EKISEERA KYONNA
12, 13. (a) Payoniya bw’aba akaluubirirwa okumalayo essaawa ze, kiki ky’asaanidde okukola? (b) Lwaki payoniya alina okufunanga ekiseera okusoma Bayibuli buli lunaku, okwesomesa, n’okufumiitiriza?
12 Bapayoniya abasinga obungi balina eby’okukola bingi. N’olwekyo okusobola okutuukiriza obulungi obuvunaanyizibwa bwabwe, kibeetaagisa okuba n’enteekateeka ennungi. (1 Kol. 14:33, 40) Payoniya bw’aba akaluubirirwa okumalayo essaawa ze, kiyinza okumwetaagisa okwetegereza engeri gy’akozesaamu ebiseera bye. (Bef. 5:15, 16) Ayinza okwebuuza: ‘Kyandiba nti mmalira ebiseera bingi ku by’okwesanyusaamu? Kyandiba nti waliwo enkyukakyuka ze nneetaaga okukola ku mulimu gwange? Kyandiba nti mmalira ebiseera bingi ku bintu ebiteetaagisa?’ Bapayoniya basaanidde bulijjo okwebuuza ebibuuzo ng’ebyo era ne bakole enkyukakyuka ezeetaagisa.
13 Payoniya alina okufunanga ekiseera okusoma Bayibuli buli lunaku, okwesomesa, n’okufumiitiriza ku ebyo by’asoma. Payoniya alina okukakasa nti ebintu ebitali bikulu nnyo tebitwala biseera by’alina kukozesa ku bintu ebyo ebikulu. (Baf. 1:10) Ng’ekyokulabirako, kuba akafaananyi nga payoniya akomyewo awaka oluvannyuma lw’okumala olunaku lwonna ng’abuulira. Ayagala ebiseera eby’akawungeezi abikozese okutegeka enkuŋŋaana. Kyokka asalawo okusooka okukebera obubaka bwe baamusindikidde ku ssimu n’okubuddamu. Ate era agenda ku mukutu gwa Intaneeti asobole okumanya oba ng’ebbeeyi y’ekintu ky’ayagala okugula esse. W’aviira ku ssimu nga kumpi essaawa bbiri nnamba ziyiseewo kyokka nga tannatandika kutegeka nkuŋŋaana. Lwaki ekyo tekiba kirungi? Omuddusi bw’aba ayagala okumala emyaka mingi ng’adduka, aba alina okweriisa obulungi. Mu ngeri y’emu, ow’oluganda bw’aba ayagala okusigala ng’aweereza nga payoniya, alina okweriisa obulungi mu by’omwoyo obutayosa.—1 Tim. 4:16.
14, 15. (a) Lwaki bapayoniya basaanidde okuba n’eriiso eriraba awamu? (b) Payoniya bw’afuna ebizibu, kiki ky’asaanidde okukola?
14 Bapayoniya basaanidde okuba n’eriiso eriraba awamu. Yesu yakubiriza abayigirizwa be okuba n’eriiso eriraba awamu. (Mat. 6:22) Yesu yakuuma eriiso lye nga liraba wamu ne kimuyamba okwemalira ku buweereza bwe nga talina kimutaataaganya. Yesu yagamba nti: “Ebibe birina we bisula n’ebinyonyi birina ebisu, naye Omwana w’omuntu talina w’assa mutwe gwe.” (Mat. 8:20) Bapayoniya abafuba okukoppa Yesu, bakijjukira nti omuntu gy’akoma okuba n’ebintu ebingi gy’akoma okumala ebiseera ebingi ng’abirabirira oba ng’abiddaabiriza.
15 Bapayoniya bakimanyi nti okuweereza nga payoniya nkizo ya maanyi. Wadde kiri kityo, bakimanyi nti si ba waggulu ku b’oluganda abalala. Bulijjo bakijjukira nti baweereza nga bapayoniya olw’okuba Yakuwa abalaze ekisa kye eky’ensusso. N’olwekyo, omuntu yenna bw’aba ayagala okusigala ng’aweereza nga payoniya, aba alina okwesiga Yakuwa. (Baf. 4:13) Bapayoniya bonna bafuna ebizibu. (Zab. 34:19) Kyokka bwe bafuna ebizibu, basaanidde okusaba Yakuwa abawe obulagirizi era ne bamulindirira, mu kifo ky’okwanguwa okulekera awo okuweereza nga bapayoniya. (Soma Zabbuli 37:5.) Bapayoniya bwe balaba engeri Katonda gy’abalabiriramu, kibayamba okwongera okumusemberera.—Is. 41:10.
OSOBOLA OKUTANDIKA OKUWEEREZA NGA PAYONIYA?
16. Bw’oba oyagala okuweereza nga payoniya, kiki ky’osaanidde okukola?
16 Bw’oba oyagala okufuna emikisa abo abali mu buweereza obw’ekiseera kyonna gye bafuna, ekyo kibuulireko Yakuwa. (1 Yok. 5:14, 15) Yogerako n’abo abaweereza nga bapayoniya. Weeteerewo ebiruubirirwa ebinaakusobozesa okufuuka payoniya. Ekyo kyennyini Ow’oluganda Keith ne mukyala we Erika kye baakola. Bombi baalina omulimu ogw’ekiseera kyonna, era okufaananako abafumbo bangi ab’emyaka gyabwe, baagula ennyumba n’emmotoka empya amangu ddala nga baakafumbiriganwa. Bagamba nti: “Twali tulowooza nti ebintu ebyo byali bijja kutuleetera essanyu, naye si bwe kityo bwe kyali.” Keith bwe yafiirwa omulimu gwe, yatandika okuweereza nga payoniya omuwagizi. Agamba nti: “Okuweereza nga payoniya omuwagizi kyandeetera essanyu lingi.” Keith ne Erika baakola omukwano ku w’oluganda ne mukyala we abaali baweereza nga bapayoniya. Bapayoniya abo baabayamba okukiraba nti okwewala okuba n’ebintu ebingi n’okuweereza nga bapayoniya kireeta essanyu lingi. Kiki Keith ne Erika kye baasalawo okukola? Bagamba nti: “Twakola olukalala lw’ebiruubirirwa byaffe eby’omwoyo bye twali twagala okutuukako ne tulutimba ku firiiji. Buli kiruubirirwa kye twatuukangako nga tukisazaako.” Oluvannyuma lw’ekiseera, Keith ne Erika baatandika okuweereza nga bapayoniya.
17. Lwaki kikulu okulowooza ku nkyukakyuka z’oyinza okukola osobole okutandika okuweereza nga payoniya?
17 Osobola okutandika okuweereza nga payoniya? Bw’oba owulira nti tosobola kuweereza nga payoniya mu kiseera kino, kola kyonna ekisoboka okwongera okunyweza enkolagana yo ne Yakuwa nga weenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira. Bw’osaba Yakuwa era n’otunula mu mbeera yo, oyinza okukiraba nti waliwo enkyukakyuka z’oyinza okukola n’osobola okutandika okuweereza nga payoniya. Bw’onootandika okuweereza nga payoniya, essanyu ly’onoofuna lijja kusingira wala ebintu byonna by’onooba weefiirizza. Ojja kufuna essanyu eriva mu kukulembeza Obwakabaka. (Mat. 6:33) Era ojja kufuna essanyu eriva mu kugaba. Ate era, ojja kwongera ku biseera by’omala ng’olowooza ku Yakuwa era ng’omwogerako. Bw’onookola bw’otyo, ojja kweyongera okwagala Yakuwa era ojja kumusanyusa.