LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w13 10/15 lup. 12-16
  • Beera ‘Muddu wa Yakuwa’

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Beera ‘Muddu wa Yakuwa’
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Subheadings
  • Similar Material
  • “NJAGALA MUKAMA WANGE”
  • TULI BADDU NAYE TULI BA DDEMBE
  • OMULIMU OGULEETA ESSANYU
  • OBUYIGIRIZE OBWA WAGGULU OBA OBUYIGIRIZE OBUSINGAYO OBULUNGI
  • GANYULWA MU BUYIGIRIZE OBUSINGAYO OBULUNGI
  • EMPEERA Y’OMUDDU
  • “Mwagulibwa na Muwendo”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 10/15 lup. 12-16

Beera ‘Muddu wa Yakuwa’

“Temuba bagayaavu mu bye mukola. . . . Muweereze ng’abaddu ba Yakuwa.”​—BAR. 12:11.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Biki ebizingirwa mu kuba abaddu aboogerwako mu Abaruumi 12:11?

  • Kiki ekinaatuyamba okwewala okuba abaddu ba Sitaani n’ensi ye?

  • Mikisa ki Yakuwa gy’awa abaddu be?

1. Endowooza abantu abasinga obungi gye balina ku kuba omuddu eyawukana etya ku eyo eyogerwako mu Abaruumi 12:11.

ABANTU abasinga obungi bwe balowooza ku muddu, balowooza ku muntu mukama we gw’atulugunya oba gw’ayisa obubi. Naye abaddu ba Katonda si bwe batyo bwe bali. Ekigambo kya Katonda kiraga nti Omukristaayo asobola okwesalirawo okuba omuddu eri Mukama we amwagala. Mu butuufu, omutume Pawulo bwe yagamba Abakristaayo okuba “abaddu ba Yakuwa,” yali abakubiriza okuweereza Yakuwa olw’okuba bamwagala. (Bar. 12:11) Kitegeeza ki okuba omuddu wa Yakuwa? Tuyinza tutya okwewala okuba abaddu ba Sitaani awamu n’ensi ye? Era mikisa ki abaddu ba Yakuwa abeesigwa gye bafuna?

“NJAGALA MUKAMA WANGE”

2. (a) Kiki ekyaleeteranga omuddu Omuisiraeri okusalawo okusigala ng’aweereza mukama we? (b) Omuddu bwe yakkirizanga okutu kwe okuwummulwa kyabanga kiraga ki?

2 Amateeka Katonda ge yawa Abaisiraeri gatuyamba okutegeera ekyo kye tusaanidde okukola okusobola okuba abaddu ba Yakuwa. Oluvannyuma lw’okumala emyaka mukaaga ng’aweereza mukama we, mu mwaka ogw’omusanvu, omuddu Omwebbulaniya yalinanga okuweebwa eddembe okugenda. (Kuv. 21:2) Naye singa omuddu yabanga ayagala nnyo mukama we era nga tayagala kumuleka, yabanga asobola okusigala. Mukama we yalinanga okumusembeza ku luggi oba ku mwango, n’amuwummula okutu ng’akozesa olukato. (Kuv. 21:5, 6) Lwaki yammuwummulanga okutu? Mu lulimi Olwebbulaniya, ekigambo okugonda kikwataganyizibwa n’okuwulira n’okuwuliriza. N’olwekyo, omuddu okukkiriza okutu kwe okuwummulwa kyabanga kiraga nti ayagala okweyongera okuweereza mukama we n’okumugondera. Bwe kityo bwe kiri ne bwe kituuka ku kwewaayo kwaffe. Bwe twewaayo eri Yakuwa, tuba tukiraga nti tuli beetegefu okumugondera olw’okuba tumwagala.

3. Lwaki twewaayo eri Katonda?

3 Bwe twali tetunnabatizibwa, twasooka kusalawo okuweereza Yakuwa, oba okubeera abaddu be. Twewaayo eri Yakuwa olw’okuba twagala okumugondera n’okukola by’ayagala. Tewali yatukaka kwewaayo eri Yakuwa. Mu butuufu, n’abo ababatizibwa nga bakyali bato, beewaayo ku lwabwe okuweereza Yakuwa, so si lwa kuba nti baagala kusanyusa bazadde baabwe. Ffenna twewaayo ku lwaffe okuweereza Yakuwa, Mukama waffe ow’omu ggulu, olw’okuba tumwagala. Omutume Yokaana yagamba nti: “Okwagala Katonda kitegeeza okukwata ebiragiro bye.”​—1 Yok. 5:3.

TULI BADDU NAYE TULI BA DDEMBE

4. Kiki kye tulina okukola okusobola okufuuka ‘abaddu b’obutuukirivu’?

4 Nga tuli basanyufu nnyo okuba nti Yakuwa atukkirizza okuba abaddu be! Okukkiriza kwe tulina mu ssaddaaka y’ekinunulo kya Kristo kutusobozesa okuva mu buddu bw’ekibi. Wadde nga tukyali abantu abatatuukiridde, tukkirizza Yakuwa ne Yesu okuba Bakama baffe. Ekyo Pawulo yakinnyonnyola bulungi mu emu ku bbaluwa ze yawandiika. Yagamba nti: “Mwebale nti muli bafu eri ekibi naye nti muli balamu eri Katonda ku lwa Kristo Yesu.” Yagattako nti: “Temumanyi nti bwe mwewaayo eri omuntu yenna okumugondera ng’abaddu muba baddu be kubanga mumugondera, ng’abaddu b’ekibi ekireeta okufa oba ab’obuwulize obuleeta obutuukirivu? Naye Katonda yeebazibwe kubanga mwali baddu ba kibi naye ne mufuuka bawulize okuva mu mitima eri okuyigiriza okwo kwe mwaweebwa. Okuva bwe mwafuulibwa ab’eddembe okuva mu kibi, mwafuuka baddu ba butuukirivu.” (Bar. 6:11, 16-18) Weetegereze nti Pawulo ayogera ku kuba ‘abawulize okuva mu mitima.’ Mu butuufu, bwe twewaayo eri Yakuwa tuba tufuuse “baddu ba butuukirivu.”

5. Kintu ki ffenna kye tulina okulwanyisa, era lwaki?

5 Ng’abaddu ba Katonda abeewaddeyo gy’ali, tulina ebintu bibiri ebiyinza okutulemesa okutuukiriza okwewaayo kwaffe era nga tulina okufuba ennyo okubirwanyisa. Ekisooka, bwe butali butuukirivu bwaffe. Pawulo naye yalina okulwanyisa obutali butuukirivu bwe. Yagamba nti: “Nsanyukira etteeka lya Katonda mu mutima gwange, naye mu mubiri gwange ndaba etteeka eddala erirwanyisa etteeka ery’omu birowoozo byange, era linfuula omuddu w’etteeka ly’ekibi eriri mu mubiri gwange.” (Bar. 7:22, 23) Olw’okuba ffenna tetutuukiridde, tulina okweyongera okulwanyisa okwegomba kw’omubiri gwaffe. Omutume Peetero yagamba nti: “Mubeere bantu ba ddembe, naye ng’eddembe lyammwe temulikozesa ng’ekyekwaso okukola obubi, naye mulikozese ng’abaddu ba Katonda.”​—1 Peet. 2:16.

6, 7. Sitaani akozesa atya ensi eno okusendasenda abantu okuba abaddu be?

6 Ekintu eky’okubiri kye tulina okulwanyisa ye nsi eno eri mu bufuge bwa badayimooni. Sitaani, omufuzi w’ensi eno, akola kyonna ekisoboka okutulemesa okuba abeesigwa eri Yakuwa ne Yesu. Sitaani ayagala okutufuula abaddu be ng’atusendasenda tufuuke abantu b’ensi ye. (Soma Abeefeso 6:11, 12.) Engeri emu kino gy’akikolamu kwe kukozesa ebintu ebiri mu nsi eno okutusikiriza. Omutume Yokaana yagamba nti: “Omuntu yenna bw’ayagala ensi okwagala kwa Kitaffe tekuba mu ye; kubanga buli kintu ekiri mu nsi​—okwegomba kw’omubiri, okwegomba kw’amaaso, n’okweraga olw’ebintu omuntu by’alina mu bulamu​—tebiva eri Kitaffe wabula biva eri ensi.”​—1 Yok. 2:15, 16.

7 Abantu bangi mu nsi leero baagala okwefunira ebintu bingi nga bwe kisoboka. Sitaani aleetera abantu okulowooza nti okuba ne ssente ennyingi kye kireeta essanyu. Amadduuka amanene agatunda ebintu eby’enjawulo gali buli wamu. Obulango obuba ku mikutu gy’empuliziganya bukubiriza abantu okwefunira ebintu bingi n’okumalira ebiseera bingi ku by’okwesanyusaamu. Ng’ekyokulabirako, ebitongole ebitambuza abantu, bitera okukubiriza abantu okugenda mu bitundu by’ensi ebitali bimu okwesanyusaamu, kyokka ng’abantu be baba bagenda okuba nabo beebo abalina endowooza y’ensi. Kumpi buli wamu we tuba, tusendebwasendebwa okutambuliza obulamu bwaffe ku mitindo gy’ensi.

8, 9. Kintu ki eky’akabi gye tuli, era lwaki?

8 Ng’ayogera ku abo abaali mu kibiina Ekikristaayo mu kyasa ekyasooka abaali bayingiddemu omwoyo gw’ensi, Peetero yagamba nti: “Banyumirwa okuba mu binyumu mu budde obw’emisana. Abantu bano mabala era nkovu, bafuna essanyu lingi nnyo mu njigiriza zaabwe ez’obulimba ze bayigiriza nga bali wamu nammwe ku bijjulo. Boogera ebigambo eby’okwewaana ebitaliimu nsa, era olw’okwegomba kw’omubiri n’olw’empisa ez’obugwenyufu basendasenda abo abaakamala okwekutula ku bantu abeeyisa obubi. Wadde nga babasuubiza eddembe, bo bennyini baddu ba mpisa mbi. Kubanga buli awangulwa omuntu aba muddu w’oyo.”​—2 Peet. 2:13, 18, 19.

9 Omuntu bw’agoberera “okwegomba kw’amaaso” taba wa ddembe. Mu kifo ky’ekyo, afuuka muddu wa Sitaani Omulyolyomi, omufuzi w’ensi eno. (1 Yok. 5:19) Kiba kyangu omuntu oyo okutwalirizibwa omwoyo gw’okwagala eby’obugagga, ate ng’omwoyo ogwo guyinza okuba omuzibu ennyo okweggyamu.

OMULIMU OGULEETA ESSANYU

10, 11. Okusingira ddala baani Sitaani baayagala okulumba, era buzibu ki obuli mu buyigirize obwa waggulu?

10 Nga bwe kyali mu lusuku Adeni, ne leero Sitaani ayagala nnyo okulumba abo abatalina bumanyirivu. Bwe kityo, ayagala nnyo okulumba naddala abo abakyali abato. Sitaani anyiiga nnyo bw’alaba abo abakyali abato oba omuntu omulala yenna ng’asazeewo okufuuka omuddu wa Yakuwa. Sitaani ayagala okulemesa abo bonna abeewaddeyo eri Yakuwa okusigala nga beesigwa.

11 Kati ka tuddemu tulowooze ku muddu eyakkirizanga okuwummulwa okutu. Mu kusooka ayinza okuba nga yawuliranga obulumi; naye oluvannyuma obulumi obwo bwawonanga era n’asigaza akabonero akalaga nti yali asazeewo okusigala ng’aweereza mukama we. Omuvubuka kiyinza obutamwanguyira kusalawo kweyisa mu ngeri eyawukana ku y’abavubuka banne, era oboolyawo kiyinza n’okumuleetera okuwulira obubi. Sitaani ayagala abantu balowooze nti okuba n’omulimu omulungi mu nsi ye kye kisobola okubaleetera essanyu erya nnamaddala. Naye ekituufu kiri nti omuntu okusobola okufuna essanyu erya nnamaddala aba alina okuba ng’afaayo ku byetaago bye eby’omwoyo. Yesu yagamba nti: “Balina essanyu abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo.” (Mat. 5:3) Abakristaayo abeewaayo eri Yakuwa beemalira ku kukola Katonda by’ayagala, so si ku ebyo Sitaani by’ayagala. Amateeka ga Yakuwa ge gabasanyusa, era ge bafumiitirizaako emisana n’ekiro. (Soma Zabbuli 1:1-3.) Naye obuyigirize obwa waggulu obusinga obungi tebusobozesa muweereza wa Yakuwa kufuna biseera bimala kufumiitiriza ku Kigambo kya Katonda n’okukola ku byetaago bye eby’omwoyo.

12. Kintu ki abavubuka bangi leero kye balina okusalawo?

12 Omukristaayo bw’aba ne mukama we ow’ensi, ayinza okumulemesa okuweereza obulungi Yakuwa. Mu bbaluwa gye yasooka okuwandiikira Abakkolinso, Pawulo yagamba nti: “Wayitibwa ng’oli muddu? Ekyo tekikweraliikiriza; naye bw’oba ng’osobola okufuuka ow’eddembe, kozesa akakisa ako.” (1 Kol. 7:21) Singa omuddu yabanga ne mukama we atamuyisa bulungi, bwe yandifunye akakisa okumuleka yandibadde amuleka. Leero, mu nsi nnyingi, amateeka geetaagisa omwana okusoma okutuuka ku ddaala erimu. Oluvannyuma abayizi baba ba ddembe okwesalirawo okweyongerayo oba obuteeyongerayo. Singa Omukristaayo asalawo okuluubirira obuyigirize obwa waggulu, kiyinza okumubeerera ekizibu okufuna eddembe okusobola okuba mu buweereza obw’ekiseera kyonna.​—Soma 1 Abakkolinso 7:23.

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 14, 15]

Oyagala kuba muddu w’ani?

OBUYIGIRIZE OBWA WAGGULU OBA OBUYIGIRIZE OBUSINGAYO OBULUNGI

13. Buyigirize bwa ngeri ki obusobola okuganyula ennyo abaweereza ba Yakuwa?

13 Pawulo yagamba Abakristaayo ab’omu Kkolosaayi nti: “Mwegendereze: oboolyawo wayinza okubaawo omuntu ababuzaabuza ng’akozesa obufirosoofo n’eby’obulimba ebitaliimu ebyesigamiziddwa ku bulombolombo bw’abantu n’ebintu eby’omu nsi ebisookerwako so si ku Kristo.” (Bak. 2:8) “Obufirosoofo n’eby’obulimba ebitaliimu ebyesigamiziddwa ku bulombolombo bw’abantu” byeyolekera mu ndowooza z’abantu bangi abatwalibwa okuba abayivu. Obuyigirize obwa waggulu, obutumbula endowooza ng’ezo, tebutera kuyamba bayizi kuyiga kukola bintu ebinaabayamba mu bulamu bwabwe. Kyokka bo abaweereza ba Yakuwa basalawo okufuna obuyigirize obunaabayamba okuyiga okukola ebintu ebinaabasobozesa okweyimirizaawo nga baweereza Katonda. Bakolera ku bigambo bino Pawulo bye yagamba Timoseewo: “Mazima ddala, okwemalira ku Katonda wamu n’okuba omumativu bivaamu amagoba. N’olwekyo, bwe tunaaba n’eby’okulya n’eby’okwambala tunaabanga bamativu n’ebyo.” (1 Tim. 6:6, 8) Mu kifo ky’okwagala okwefunira diguli n’ebitiibwa, Abakristaayo ab’amazima bafuba okufuna ‘amabaluwa agabasemba’ nga beenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira.​—Soma 2 Abakkolinso 3:1-3.

14. Okusinziira ku Abafiripi 3:8, Pawulo yatwala atya enkizo ey’okuba omuddu wa Katonda ne Kristo?

14 Lowooza ku mutume Pawulo. Yayigirizibwa munnamateeka Omuyudaaya ayitibwa Gamalyeri. Obuyigirize Pawulo bwe yafuna busobola okugeraageranyizibwa ku obwo obwa yunivasite leero. Naye Pawulo yatwala atya obuyigirize obwo bwe yabugeraageranya ku nkizo ey’okubeera omuddu wa Katonda ne Kristo? Yagamba nti: “Ebintu byonna nnabyefiiriza olw’okumanya okw’omuwendo okukwata ku Kristo Yesu Mukama wange.” Yagattako nti: “Ku lulwe, nzikirizza okufiirwa ebintu byonna era mbitwala ng’ebisasiro nsobole okufuna Kristo.” (Baf. 3:8) Ebyo Pawulo bye yayogera bisobola okuyamba abavubuka Abakristaayo ne bazadde baabwe abatya Katonda okusalawo obulungi bwe kituuka ku buyigirize. (Laba ebifaananyi.)

GANYULWA MU BUYIGIRIZE OBUSINGAYO OBULUNGI

15, 16. Buyigirize ki bwe tufuna mu kibiina kya Yakuwa, era bulina kigendererwa ki?

15 Embeera eri etya mu matendekero abantu gye bafunira obuyigirize obwa waggulu? Mu matendekero ago, abayizi bangi beenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, mu kwekalakaasa, ne mu bikolwa ebirala ebibi. (Bef. 2:2) Naye ekibiina kya Yakuwa kiyamba abantu okufuna obuyigirize obusingayo obulungi nga bali mu mirembe. Buli omu ku ffe alina enkizo okwenyigira mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda eribaawo buli wiiki. Era waliwo n’amasomero amalala agasobola okutuganyula, gamba ng’Essomero ly’Ab’oluganda Abali Obwannamunigina awamu n’Essomero ly’Abakristaayo Abafumbo. Obuyigirize ng’obwo butuyamba okugondera Yakuwa, Mukama waffe ow’omu ggulu.

16 Tusobola okuzuula eby’obugagga eby’omwoyo bingi nga tukozesa Watch Tower Publications Index oba Watchtower Library. Ekigendererwa ky’obuyigirize bwe tufuna mu kibiina Ekikristaayo kwe kutuyamba okusinza Yakuwa. Obuyigirize obwo butuyamba okulaba engeri y’okuyambamu abalala okutabagana ne Katonda. (2 Kol. 5:20) Ekyo kisobola okubayamba nabo okuyigiriza abalala.​—2 Tim. 2:2.

EMPEERA Y’OMUDDU

17. Bwe tusalawo okuluubirira obuyigirize obusingayo obulungi kivaamu miganyulo ki?

17 Mu lugero lwa Yesu olwa ttalanta, abaddu ababiri abaali abeesigwa mukama waabwe yabasiima olw’omulimu gwe baakola. Yasanyukira wamu nabo era n’abawa obuvunaanyizibwa obusingawo. (Soma Matayo 25:21, 23.) Bwe tusalawo okuluubirira obuyigirize obusingayo obulungi tufuna essanyu n’emikisa mingi. Lowooza ku Michael. Yakola bulungi ku ssomero, era abasomesa be ne basalawo okwogerako naye ku ky’okugenda ku yunivasite. Naye kyabeewunyisa nnyo bwe yabagamba nti yali asazeewo okuyiga omulimu ogw’emikono ogwandimusobozesezza okweyimirizaawo ng’aweereza nga payoniya owa bulijjo. Michael yejjusa olw’okusalawo bw’atyo? Agamba nti: “Obuyigirize bwe nfunye mu kibiina kya Yakuwa nga mpeereza nga payoniya n’obwo bwe nfunye nga mpeereza ng’omukadde tebugeraageranyizika. Emikisa gye nfunye n’enkizo ze nfunye bisingira wala ssente ze nnandifunye. Ndi musanyufu nnyo okuba nti saaluubirira buyigirize bwa waggulu.”

18. Kiki ekikukubiriza okuluubirira obuyigiriza obusingayo obulungi?

18 Obuyigirize obusingayo obulungi butuyigiriza okukola Katonda by’ayagala era butuyamba okuba abaddu ba Yakuwa. Butuyamba okufuna essuubi ‘ery’okusumululwa okuva mu buddu bw’okuvunda’ tusobole okufuna “eddembe ery’ekitiibwa ery’abaana ba Katonda.” (Bar. 8:21) N’ekisinga byonna, butuyigiriza engeri esingayo obulungi ey’okulaga nti twagala Yakuwa, Mukama waffe ow’omu ggulu.​—Kuv. 21:5.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share