YIGIRIZA ABAANA BO
Yesu Kristo—Tusaanidde Kumutwala Tutya?
Mu Ddesemba, abantu bangi okwetooloola ensi balaba ebifaananyi oba ebibumbe bya Yesu ng’akyali muwere. Biraga nga bamutadde mu lutiba ebisolo mwe biriira. Naye Yesu twandimututte ng’omwana omuwere?—a Ka twogere ku ngeri gye tusaanidde okumutwalamu. Waliwo bye tuyinza okuyigira ku ekyo ekyatuuka ku basumba abaali ebweru ekiro nga bakuuma endiga zaabwe mu Besirekemu.
Malayika alabikira abasumba, era abagamba nti: “Leero Omulokozi, Kristo Mukama waffe, azaaliddwa.” Ate era abagamba nti bajja kusanga Yesu “ng’abikiddwa mu ngoye, ng’azazikiddwa mu lutiba ebisolo mwe biriira.” Amangu ddala, bamalayika abalala bangi bajja era batandika ‘okutendereza Katonda.’
Wandiwulidde otya singa waliwo nga bamalayika batendereza Katonda?— Abasumba basanyuka nnyo, era bagamba nti: “Ka tugende mu Besirekemu tulabe ekibaddewo.” Bwe batuukayo, basanga “Maliyamu ne Yusufu, n’omwana omuwere ng’azazikiddwa mu lutiba ensolo mwe ziriira.”
Oluvannyuma lw’ekiseera kitono, abantu abalala bajja mu Besirekemu eri Maliyamu ne Yusufu. Abasumba bababuulira ebyabaddewo, era bonna beewuunya nnyo. Oli musanyufu okumanya ebintu bino ebirungi?— Ffenna abaagala Katonda tuli basanyufu nnyo. Kati ka tulabe ensonga lwaki okuzaalibwa kwa Yesu kutuleetera essanyu lingi. Naye okusobola okutegeera obulungi ensonga eyo, ka tusooke tulabe ebyaliwo nga Maliyamu tannaba kufumbirwa.
Lumu, malayika ayitibwa Gabulyeri akyalira Maliyamu. Asuubiza Maliyamu nti ajja kuzaala omwana, era nti omwana oyo “aliba mukulu era aliyitibwa Mwana w’Oyo Ali Waggulu Ennyo.” Gabulyeri agamba nti: “Alifuga nga kabaka” era “obwakabaka bwe tebuliggwaawo.”
Maliyamu ayagala okumanya engeri ekyo kye kinaasobokamu, okuva bwe kiri nti teyeegattangako na musajja. Gabulyeri amunnyonnyola nti: “Amaanyi g’Oyo Ali Waggulu Ennyo galikubaako” era “oyo alizaalibwa aliyitibwa mutukuvu, Mwana wa Katonda.” Katonda nga yakola ekyamagero eky’amaanyi ennyo bwe yaddira obulamu bw’Omwana we eyali mu ggulu n’abuteeka mu lubuto lwa Maliyamu, n’azaalibwa wano ku nsi!
Wali olabyeko ebifaananyi ebiriko abasajja basatu be bayita abagezigezi abaagenda okulaba Yesu era nga waliwo n’abasumba?— Mu biseera bya Ssekukkulu, ebifaananyi ebyo bitera okuteekebwa mu bifo ebitali bimu. Naye si kituufu kubayita “abagezigezi.” Ekituufu kiri nti baali balaguzi abalaguzisa emmunyeenye. Baakolanga ekintu ekitasanyusa Katonda. Ka tulabe ebyaddirira nga batuuse. Bayibuli egamba nti: “Ne bayingira mu nnyumba, ne balaba omwana ng’ali ne Maliyamu nnyina.” Ekyo kiraga nti Yesu teyali mu lutiba era yali takyali muwere, wabula yali akuze era ng’abeera ne Yusufu ne Maliyamu mu nnyumba!
Abasajja abo baazuula batya Yesu?— Baali bagoberera ‘mmunyeenye.’ Emmunyeenye eyo teyabatwala butereevu e Besirekemu, wabula yasooka kubatwala ewa Kabaka Kerode e Yerusaalemi. Bayibuli egamba nti Kerode yali ayagala kumanya Yesu w’ali amutte. Kati lowooza ku kino. Ani yakozesa ekintu ekyali kirabika ng’emmunyeenye okutwala abalaguzi abo ewa Kerode?— Si Yakuwa, Katonda ow’amazima, wabula omulabe we, Sitaani Omulyolyomi!
Leero Sitaani ayagala abantu batwale Yesu ng’omwana omuwere. Naye malayika Gabulyeri yagamba Maliyamu nti: “Alifuga nga kabaka . . . , era obwakabaka bwe tebuliggwaawo.” Kati Yesu afuga nga Kabaka mu ggulu, era anaatera okuzikiriza abalabe ba Katonda bonna. Bwe tutyo bwe tusaanidde okutwala Yesu, era tusaanidde okukibuulirako abalala.
Soma mu Bayibuli yo
a Bw’oba osoma n’omwana, siriikiriramu awali akasittale omuleke awe endowooza ye.