“Mukolenga Bwe Mutyo Okunzijukiranga Nze”
“Bwe yamala okwebaza [n’amenyamu omugaati] n’agamba nti: ‘Guno gukiikirira omubiri gwange oguweebwayo ku lwammwe. Mukolenga bwe mutyo okunzijukiranga nze.’ ”—1 KOL. 11:24.
1, 2. Kiki abatume kye bayinza okuba nga baalowoozaako bwe baamanya nti omwezi gwa Nisaani gwali gutandise?
ABAKUUMI b’omu Yerusaalemi bwe balaba omwezi nga gubonese, ekyo bakitegeeza ab’Olukiiko Olukulu olw’Abayudaaya. Ab’Olukiiko olwo balangirira nti omwezi gwa Nisani gutandise. Batuma ababaka okusaasaanya amawulire ago buli wamu mu bwangu. Abatume bwe bamanya nti embaga ey’Okuyitako eneetera okutuuka, bakitegeera nti Yesu ayagala okugenda e Yerusaalemi asobole okutuukayo ng’olunaku lw’embaga ey’Okuyitako terunnatuuka.
2 Mu kiseera ekyo, Yesu awamu n’abatume be baali mu Pereya (emitala w’Omugga Yoludaani) nga bagenda e Yerusaalemi. (Mat. 19:1; 20:17, 29; Mak. 10:1, 32, 46) Okuva bwe kiri nti olunaku olusooka olw’omwezi gwa Nisaani lwali lumaze okutegeerwa, kyali kitegeeza nti waali wabulayo ennaku 13 embaga ey’Okuyitako etuuke. Embaga eyo yakwatibwanga nga Nisani 14, oluvannyuma lw’enjuba okugwa.
3. Lwaki Abakristaayo bafuba okutegeera ebikwata ku nnaku z’omwezi ez’embaga ey’Okuyitako?
3 Omukolo gw’eky’Ekiro kya Mukama Waffe, ogwadda mu kifo ky’embaga ey’Okuyitako, gwa kubaawo nga Apuli 14, 2014, oluvannyuma lw’enjuba okugwa. Olunaku olwo lujja kuba lukulu nnyo eri Abakristaayo ab’amazima n’abantu abalala abaagala amazima. Lwaki? Kubanga 1 Abakkolinso 11:23-25 wagamba nti: “Mu kiro Mukama waffe Yesu mwe baamuweerayo yatoola omugaati era bwe yamala okwebaza n’agumenyamu n’agamba nti: ‘Guno gukiikirira omubiri gwange oguweebwayo ku lwammwe. Mukolenga bwe mutyo okunzijukiranga nze.’ Era ne ku kikopo yakola bw’atyo.”
4. (a) Bibuuzo ki ebikwata ku mukolo gw’Ekijjukizo bye tusaanidde okwebuuza? (b) Tumanya tutya ennaku z’omwezi omukolo gw’Ekijjukizo kwe gulina okukwatirwa buli mwaka? (Laba akasanduuko “Omukolo gw’Ekijjukizo Ogwa 2014.”)
4 Omukolo gw’Ekijjukizo gwe mukolo gwokka Yesu gwe yalagira abagoberezi be okukwata buli mwaka era naawe osaanidde okugubaako. N’olwekyo tusaanidde okwebuuza: ‘Tuyinza tutya okwetegekera omukolo ogwo? Bintu ki ebinaakozesebwa ku mukolo ogwo? Gunaakwatibwa gutya? Era omukolo ogwo awamu n’ebintu ebinaakozesebwa birina makulu ki?’
OMUGAATI N’ENVINNYO EBIKOZESEBWA KU MUKOLO GW’EKIJJUKIZO
5. Kiki Yesu kye yalagira abatume be okukola okusobola okuteekateeka ekijjulo eky’Okuyitako?
5 Yesu bwe yagamba abatume be okugenda okuteekateeka ekisenge mwe bandiriiridde ekijjulo eky’Okuyitako, yali tabagamba kugenda kutimba kisenge ekyo. Mu kifo ky’ekyo, kye yali abeetaagisa kwe kulaba nti ekisenge ekyo kiyonjo era nti kibamala bulungi. (Soma Makko 14:12-16.) Baalina okubaako ebintu bye bategeka, nga mw’otwalidde omugaati ogutali muzimbulukuse n’envinnyo. Oluvannyuma lw’okulya ekijjulo eky’Okuyitako, Yesu yayogera ku mugaati ogwo n’envinnyo.
6. (a) Oluvannyuma lw’okulya ekijjulo eky’Okuyitako, kiki Yesu kye yayogera ku mugaati? (b) Mugaati gwa ngeri ki ogukozesebwa ku mukolo gw’Ekijjukizo?
6 Matayo, omu ku batume abaaliwo ku mukolo ogwo, oluvannyuma yawandiika nti: ‘Yesu yatoola omugaati n’asaba, n’agumenyamu, n’aguwa abayigirizwa ng’agamba nti: “Mukwate mulye.” ’ (Mat. 26:26) Okufaananako omugaati ogwakozesebwa ku mbaga ey’Okuyitako, “omugaati” ogwo nagwo tegwali muzimbulukuse. (Kuv. 12:8; Ma. 16:3) Omugaati ogwo gwakolebwa mu ŋŋaano n’amazzi, era tegwateekebwamu kizimbulukusa wadde ebintu ebirala, gamba ng’omunnyo. N’olwekyo, omugaati ogwo tegwazimbulukuka. Gwali mukalu era nga mwangu okumenyaamenyamu. Ne leero, omukolo gw’Ekijjukizo bwe guba tegunnatuuka, abakadde bayinza okubaako gwe basaba okukola omugaati ng’ogwo ng’akozesa eŋŋaano n’amazzi, era n’agufumbira mu ssefuliya oboolyawo ng’asiizeemu kabutto akatonotono. (Bwe kiba nti tekisobose kufuna buwunga bwa ŋŋaano, oyo akola omugaati ogwo ayinza okukozesa obuwunga bw’omuceere, obwa ssayiri, oba obwa kasooli).
7. Nvinnyo ya kika ki Yesu gye yakozesa ku ky’Ekiro kya Mukama Waffe, era nvinnyo ya kika ki ekozesebwa ku mukolo gw’Ekijjukizo?
7 Matayo era yagamba nti: ‘Yesu yatoola n’ekikopo, ne yeebaza, n’akibawa, ng’agamba nti: “Munyweko mwenna.” ’ (Mat. 26:27, 28) Ekikopo ekyo kyalimu envinnyo emmyufu. (Ogwo tegwali mubisi bubisi ogw’emizabbibu, kubanga waali wayise ekiseera ng’amakungula g’emizabbibu gawedde.) Wadde nga ku kijjulo eky’Okuyitako Abaisiraeri kye baakwatira e Misiri tekwaliko nvinnyo, Yesu teyagamba nti ku mbaga ey’Okuyitako tekwalina kubaako nvinnyo. Mu butuufu, envinnyo eyafikkawo ku mbaga ey’Okuyitako, Yesu gye yakozesa ku ky’Ekiro kya Mukama Waffe. N’olwekyo, ku mukolo gw’Ekijjukizo kubaako envinnyo. Okuva bwe kiri nti tewali kintu kyonna kyali kyetaagisa kugattibwa mu musaayi gwa Yesu okusobola okugufuula ogw’omuwendo, n’envinnyo eyo terina kugattibwamu kintu kirala kyonna. N’olwekyo, envinnyo emmyufu omutali kintu kyonna kigattiddwamu y’erina okukozesebwa ku mukolo ogwo. Eyinza okukolebwa awaka oba eyinza okugulibwa. Ebimu ku bika by’envinnyo ebiyinza okugulibwa mulimu Beaujolais, Burgundy, oba Chianti.
OMUGAATI N’ENVINNYO BIKIIKIRIRA KI?
8. Lwaki Abakristaayo basaanidde okufumiitiriza ku ekyo omugaati n’envinnyo kye bikiikirira?
8 Omutume Pawulo yakiraga nti ng’oggyeko abatume, n’Abakristaayo abalala bonna baali ba kukwata eky’Ekiro kya Mukama Waffe. Yawandiikira bakkiriza banne ab’omu Kkolinso ebbaluwa n’abagamba nti: ‘Nnabawa ekyo kye nnafuna okuva eri Mukama waffe, nti Mukama waffe Yesu yatoola omugaati, era bwe yamala okwebaza n’agumenyamu n’agamba nti: “Guno gukiikirira omubiri gwange oguweebwayo ku lwammwe. Mukolenga bwe mutyo okunzijukiranga nze.” ’ (1 Kol. 11:23, 24) N’olwekyo, okuva bwe kiri nti Abakristaayo bonna balina okukwata omukolo guno omukulu buli mwaka, basaanidde okufumiitiriza ku ekyo omugaati n’envinnyo kye bikiikirira.
9. Ndowooza ki enkyamu abamu gye balina ku mugaati Yesu gwe yakozesa?
9 Abantu b’amadiini agamu bagamba nti Yesu yagamba nti: ‘Guno gwe mubiri gwange,’ era balowooza nti omugaati ogwo mu ngeri ey’eky’amagero gwafuukira ddala omubiri gwa Yesu. Naye ekyo si kituufu.a Omubiri gwa Yesu n’omugaati ogutali muzimbulukuse byombi byali awo mu maaso g’abatume nga babirabako. Kyeyoleka lwatu nti Yesu yali ayogera mu ngeri ya kabonero, nga bwe yateranga okukola.—Yok. 2:19-21; 4:13, 14; 10:7; 15:1.
10. Omugaati ogukozesebwa ku ky’Ekiro kya Mukama Waffe gukiikirira ki?
10 Omugaati abatume gwe baali balabako era gwe baali bagenda okulya gwali gukiikirira omubiri gwa Yesu. Mubiri ki ogwo? Emabegako, abaweereza ba Yakuwa baali balowooza nti, okuva bwe kiri nti Yesu yamenyamu omugaati kyokka ng’ate tewali ggumba lye na limu lyamenyebwa, omugaati ogwo gwali gukiikirira “omubiri gwa Kristo,” ekibiina ky’abaafukibwako amafuta. (Bef. 4:12; Bar. 12:4, 5; 1 Kol. 10:16, 17; 12:27) Naye oluvannyuma lw’okwongera okwekenneenya Ebyawandiikibwa, baakitegeera nti omugaati ogwo gukiikirira omubiri gwa Yesu ogw’ennyama, ogwali gwamuteekerwateekerwa. Yesu “yabonaabona mu mubiri,” n’atuuka n’okukomererwa ku muti. N’olwekyo, ku ky’Ekiro kya Mukama Waffe, omugaati ogukozesebwa gukiikirira omubiri gwa Yesu ogw’ennyama mwe ‘yeetikkira ebibi byaffe.’—1 Peet. 2:21-24; 4:1; Yok. 19:33-36; Beb. 10:5-7.
11, 12. (a) Kiki Yesu kye yayogera ku nvinnyo? (b) Envinnyo ekozesebwa ku ky’Ekiro kya Mukama Waffe ekiikirira ki?
11 Okutegeera ekyo omugaati kye gukiikirira, kituyamba okutegeera ekyo Yesu kye yayogera ku nvinnyo. Bayibuli egamba nti: “Era ne ku kikopo yakola bw’atyo, bwe yamala okulya eky’ekiro n’agamba nti: ‘Ekikopo kino kikiikirira endagaano empya ekoleddwa olw’omusaayi gwange.’ ” (1 Kol. 11:25) Mu nkyusa za Bayibuli nnyingi ebigambo ebyo byavvuunulwa mu ngeri y’emu ng’enkyusa ya Robert Young bw’egamba. Egamba nti: ‘Ekikopo kino ye ndagaano empya mu musaayi gwange.’ Ekikopo Yesu kye yali akutte ye yali endagaano empya? Nedda. Yesu yali ayogera ku nvinnyo eyali mu “kikopo.” Yesu yagamba nti envinnyo yali ekiikirira omusaayi gwe ogwayiibwa.
12 Okusinziira ku Njiri ya Makko, Yesu yagamba nti: “[Ekikopo] kino kikiikirira ‘omusaayi gwange ogw’endagaano,’ ogugenda okuyiibwa ku lw’abangi.” (Mak. 14:24) Ate Enjiri ya Matayo eraga nti omusaayi gwa Yesu gwali gwa ‘kuyiibwa ku lw’abangi basobole okusonyiyibwa ebibi.’ (Mat. 26:28) N’olwekyo, envinnyo emmyufu ekiikirira omusaayi gwa Yesu ogwayiibwa. Okuyitira mu musaayi gwa Yesu, tusobola okununulibwa era ne ‘tusonyiyibwa ebyonoono byaffe.’—Soma Abeefeso 1:7.
Envinnyo abatume gye baanywa yali ekiikirira omusaayi gwa Yesu ogw’endagaano (Laba akatundu 11, 12)
OKUJJUKIRA OKUFA KWA KRISTO
13. Omukolo ogw’okujjukira okufa kwa Kristo ogubaawo buli mwaka gukwatibwa gutya?
13 Bw’onookuŋŋaana awamu n’Abajulirwa ba Yakuwa omulundi gwo ogusooka nga bajjukira okufa kwa Yesu, kiki ky’osuubira okulaba n’okuwulira? Omukolo ogwo gujja kukwatirwa mu kifo ekiyonjo era ekimala bonna abanaaba bazze. Ekifo ekyo kiyinza n’okuba nga kitimbiddwa, naye tekijja kutimbibwa ng’awagenda okuba embaga. Omukadde alina ebisaanyizo ajja kunnyonnyola ekyo Bayibuli ky’eyogera ku mukolo ogwo. Ajja kuyamba abo bonna okukiraba nti ssaddaaka ya Kristo esobozesa abantu abawulize okufuna obulamu. (Soma Abaruumi 5:8-10.) Era omwogezi ajja kunnyonnyola essuubi ery’emirundi ebiri Abakristaayo lye balina.
14. Ssuubi ki ery’emirundi ebiri eryogerwako ku mukolo gw’Ekijjukizo?
14 Essuubi erisooka lye ly’abo abagenda okufugira awamu ne Kristo mu ggulu. Abakristaayo abalina essuubi eryo batono era nga mu bo mulimu abatume ba Yesu abeesigwa. (Luk. 12:32; 22:19, 20; Kub. 14:1) Essuubi ery’okubiri lyeryo Abakristaayo abasinga obungi abaliwo mu kiseera kyaffe lye balina. Essuubi eryo lye ly’okubeera mu lusuku lwa Katonda ku nsi emirembe gyonna. Mu nsi empya, Katonda by’ayagala bijja kukolebwa ku nsi nga bwe kikolebwa mu ggulu, era ekyo Abakristaayo kye babadde basaba okumala ekiseera. (Mat. 6:10) Ebyawandiikibwa biraga nti abantu bajja kubeera mu bulamu obulungi emirembe n’emirembe.—Is. 11:6-9; 35:5, 6; 65:21-23.
15, 16. Bwe kituuka ku mugaati, bintu ki ebikolebwa ku mukolo gw’Ekijjukizo?
15 Omwogezi bw’anaaba anaatera okukomekkereza emboozi, ajja kutegeeza abawuliriza nti ekiseera kituuse okukola ekyo Yesu kye yalagira abatume be okukola. Nga bwe tulabye waggulu, ku mukolo ogwo kujja kubaako omugaati ogutali muzimbulukuse n’envinnyo emmyufu. Omugaati n’envinnyo biyinza okuteekebwa ku mmeeza eri okumpi n’omwogezi. Ajja kukozesa Bayibuli okulaga ebyo Yesu bye yayogera ne bye yakola bwe yali atandikawo omukolo ogwo. Ng’ekyokulabirako, ayinza okusoma mu Njiri ya Matayo awagamba nti: “[Yesu] n’atoola omugaati n’asaba, n’agumenyamu, n’aguwa abayigirizwa ng’agamba nti: ‘Mukwate mulye, guno gukiikirira omubiri gwange.’ ” (Mat. 26:26) Yesu yamenyaamenyamu omugaati ogutaali muzimbulukuse n’aguwa abatume be abaali bamutudde ku njuyi zombi. Bw’onoobaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo nga Apuli 14, ojja kulaba omugaati ogutali muzimbulukuse nga guteekeddwa ku ssowaani. Omugaati ogwo gujja kuba gwamaze dda okumenyebwamenyebwamu.
16 Omugaati bwe gunaaba tegunnayisibwa, wajja kubaawo ow’oluganda asaba essaala ennyimpimpi. Wajja kubaawo essowaani ezimala kiyambe obutamala biseera bingi nga bayisa omugaati ogwo. Tewali bulombolombo bujja kukolebwa ng’omugaati guyisibwa. Wayinza okubaawo abantu abatonotono abalya ku mugaati ogwo oba obutabaawo muntu n’omu agulyako, nga bwe kyali mu bibiina ebisinga obungi okwetooloola ensi ku mukolo gw’Ekijjukizo mu 2013.
17. Bwe kituuka ku nvinnyo, nkola ki egobererwa ku mukolo gw’Ekijjukizo?
17 Oluvannyuma lw’okuyisa omugaati, omwogezi ajja kulaga ekyo Yesu kye yaddako okukola. Bayibuli egamba nti: “N’atoola n’ekikopo, ne yeebaza, n’akibawa, ng’agamba nti: ‘Munyweko mwenna; kino kikiikirira “omusaayi gwange ogw’endagaano,” ogugenda okuyiibwa ku lw’abangi basobole okusonyiyibwa ebibi.’ ” (Mat. 26:27, 28) Enkola y’emu eyo ejja kugobererwa ku mukolo gw’Ekijjukizo. Wajja kubaawo ow’oluganda asaba essaala, era oluvannyuma ‘ebikopo’ omuli envinnyo emmyufu bijja kuyisibwa mu bantu bonna abanaabaawo.
18. Wadde nga wayinza obutabaawo alya ku mugaati era anywa ku nvinnyo, lwaki kikulu ffenna okubaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo?
18 Abasinga obungi ku abo ababaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo tebalya ku mugaati era tebanywa ku nvinnyo olw’okuba Yesu yakiraga nti abo bokka abanaafugira awamu naye mu Bwakabaka obw’omu ggulu be balina okulya ku mugaati n’okunywa ku nvinnyo. (Soma Lukka 22:28-30; 2 Tim. 4:18) Abalala bonna abanaabaawo ku mukolo ogwo bajja kuba batunuulizi. Wadde kiri kityo, okubaawo ku mukolo gw’eky’Ekiro kya Mukama Waffe kiraga nti ssaddaaka ya Yesu bagitwala ng’ekintu ekikulu ennyo. Bwe baba ku mukolo ogwo, bafumiitiriza ku mikisa emingi gye basobola okufuna okuyitira mu ssaddaaka y’ekinunulo kya Yesu. Mu mikisa egyo mwe muli essuubi ery’okuba mu “kibiina ekinene” eky’abantu abanaawonawo mu “kibonyoobonyo ekinene.” Abantu abo be banaaba boozezza “ebyambalo byabwe ne babitukuza mu musaayi gw’Omwana gw’Endiga.”—Kub. 7:9, 14-17.
19. Kiki ky’osaanidde okukola okusobola okweteekerateekera omukolo gw’Ekijjukizo n’okuguganyulwamu mu bujjuvu?
19 Abaweereza ba Yakuwa okwetooloola ensi yonna beetegekera omukolo gw’Ekijjukizo. Nga wabulayo wiiki ntono olunaku lw’Ekijjukizo lutuuke, tujja kwenyigira mu kaweefube ow’okuyita abantu ku mukolo ogwo. Ng’ebula ennaku ntono omukolo gw’eky’Ekiro kya Mukama Waffe gutuuke, abasinga obungi ku ffe tujja kusoma ku ebyo Yesu bye yakola ne ku ebyo ebyaliwo ng’omukolo ogwo tegunnabaawo mu mwaka gwa 33 E.E. Tujja kukola enteekateeka ezeetaagisa okulaba nti tubaawo ku mukolo ogwo. Kikulu nnyo okutuuka ng’oluyimba oluggulawo terunnatandika, tusobole okwaniriza abo abanaaba bazze era tuleme kusubwa kitundu kyonna ekiri ku programu. Ffenna abanaabaawo bwe tunaaba ab’okuganyulwa mu bujjuvu mu ebyo ebinaayogerwa, tusaanidde okugoberera mu Bayibuli zaffe ng’ebyawandiikibwa bisomebwa. N’ekisinga obukulu, bwe tunaabaawo ku mukolo gw’Ekijjukizo kijja kulaga nti ssaddaakab ya Yesu tugitwala ng’ekintu ekikulu era nti tukolera ku kiragiro kye kino: “Mukolenga bwe mutyo okunzijukiranga nze.”—1 Kol. 11:24.
a Omwekenneenya Omugirimaani ayitibwa Heinrich Meyer yagamba nti: ‘Okuva bwe kiri nti Yesu yali akyali mulamu, era nga n’omusaayi gwe gwali tegunnayiibwa, tewali n’omu ku batume be eyali ayinza okulowooza nti yali aliira ddala omubiri gwa Yesu. Yesu yakozesa ebigambo ebitegeerekeka obulungi nga tayagala batume be bamutegeere bubi.’
b Waliwo ennaku bbiri buli mwaka essaawa ez’ekiro n’ez’emisana lwe ziba nga kumpi zenkanankana okwetooloola ensi yonna. Ekyo kiyitibwa equinox. Equinox esooka ebaawo mu Maaki ate ey’okubiri ebaawo mu Ssebutemba.