LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w14 1/1 lup. 16
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Similar Material
  • Ky’Osaanidde Okukola ng’Oyisiddwa mu Ngeri Etali ya Bwenkanya
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • “Katonda Si Mwenkanya?”
    Funa Enkolagana Ennungi ne Yakuwa
  • Oyinza Otya Okugumira Obutali Bwenkanya?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Yakuwa Ayagala Obwenkanya
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
w14 1/1 lup. 16
Omukazi n’omwana we baavu lunkupe

BAYIBULI EDDAMU EBIBUUZO BINO

Biki by’osaanidde okumanya ku Katonda?

Katonda mwoyo era talabika. Yatonda eggulu, ensi, n’ebintu byonna ebiramu. Tewali yatonda Katonda kubanga Katonda talina ntadikwa. (Zabbuli 90:2) Ayagala abantu bamanye amazima agamukwatako.​—Soma Ebikolwa 17:24-27.

Katonda wa ddala era alina n’erinnya. Tusobola okumanya ezimu ku ngeri ze nga twetegereza ebintu bye yatonda. (Abaruumi 1:20) Naye okusobola okumanya Katonda obulungi, kitwetaagisa okusoma Ekigambo kye, Bayibuli. Bayibuli etuyamba okumanya engeri za Katonda.​—Soma Zabbuli 103:7-10.

Katonda awulira atya bw’alaba obutali bwenkanya?

Omutonzi waffe, Yakuwa, akyayira ddala obutali bwenkanya. (Ekyamateeka 25:16) Yatonda abantu mu kifaananyi kye. Eyo ye nsonga lwaki tukyawa obutali bwenkanya. Katonda si y’aleeta okubonaabona okuliwo. Katonda yawa abantu eddembe ly’okwesalirawo. Eky’ennaku, abantu bangi bakozesa bubi eddembe eryo ne baleetera bannaabwe okubonaabona. Banakuwaza Yakuwa.​—Soma Olubereberye 6:5, 6; Ekyamateeka 32:4, 5.

Yakuwa ayagala obwenkanya, era tajja kutuleka kubonaabona mirembe gyonna. (Zabbuli 37:28, 29) Bayibuli essuubiza nti mu kiseera ekitali kya wala, Katonda ajja kuggyawo okubonaabona kwonna.​—Soma 2 Peetero 3:7-9, 13.

Bayibui essuubiza nti Katonda anaatera okuggyawo obutali bwenkanya

Okumanya ebisingawo, laba essuula 1 mu katabo, Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa

Osobola okukafuna ne ku mukutu www.pr2711.com

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share