LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w14 12/1 lup. 16
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Similar Material
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Wa we tusobola okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebikulu ennyo mu bulamu?
    Wa we tusobola okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebikulu ennyo mu bulamu?
  • Amagezi Amalala Agayamba Amaka
    Zuukuka!—2018
  • Okubonaabona kuliggwaawo?
    Okubonaabona Kuliggwaawo?
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
w14 12/1 lup. 16

BAYIBULI EDDAMU EBIBUUZO BINO

Oyinza otya okuyigiriza abaana bo okwagala Katonda?

Omuzadde ayigiriza omwana we ng’akozesa ebitonde

Kozesa ebitonde okuyamba omwana wo okumanya Katonda n’okumwagala

Abaana bo bwe baba ab’okwagala Katonda balina okukakasa nti Katonda gyali era nti abaagala. Ate era kibeetaagisa okuyiga ebimukwatako. (1 Yokaana 4:8) Ng’ekyokulabirako, beetaaga okuyiga ebintu nga bino: Lwaki Katonda yatonda abantu? Lwaki Katonda aleseewo okubonaabona? Biki Katonda by’anaakolera abantu mu biseera eby’omu maaso?​—Soma Abafiripi 1:9.

Okusobola okuyamba abaana bo okwagala Katonda, naawe kennyini olina okukiraga nti omwagala. Bwe banaakiraba nti oyagala Katonda, bajja kukukoppa.​—Soma Ekyamateeka 6:5-7; Engero 22:6.

Oyinza otya okuyigiriza obulungi abaana bo?

Ekigambo kya Katonda kya maanyi. (Abebbulaniya 4:12) N’olwekyo, yamba abaana bo okutegeera ebyo Bayibuli by’eyigiriza. Okusobola okuyigiriza obulungi abantu, Yesu yababuuzanga ebibuuzo, yabawulirizanga, era yabannyonnyolanga Ebyawandiikibwa. Naawe okusobola okuyigiriza obulungi abaana bo, osaanidde okukoppa Yesu.​—Soma Lukka 24:15-19, 27, 32.

Ate era, ebyo ebiri mu Bayibuli ebikwata ku ngeri Katonda gye yakolaganangamu n’abantu bisobola okuyamba abaana okumanya Katonda n’okumwagala. Ebitabo ebisobola okukuyamba okuyigiriza abaana bo biri ku mukutu, www.pr2711.com/lg.​—Soma 2 Timoseewo 3:16.

Okumanya ebisingawo, laba essuula 14 ey’akatabo, Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa

Osobola okukafuna ku mukutu www.pr2711.com, oba oyinza okukalagiriza ng’okozesa emu ku ndagiriro eziri ku lupapula 2

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share