EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | LWAKI KIKULU OKUBA OMWESIGWA?
Akabi Akali mu Butaba Mwesigwa
“Wabaawo embeera eyeetaagisa obutaba mwesigwa okusobola okugiyitamu.”—Samantha, ow’omu South Africa.
Naawe bw’otyo bw’olowooza? Okufaananako Samantha, ffenna oluusi twesanga mu mbeera enzibu. Engeri gye tweyisaamu nga twesanze mu mbeera eyinza okutuleetera obutaba beesigwa, eraga ekyo kye tuli. Ng’ekyokulabirako, bwe tuba twagala nnyo okusanyusa abalala, tuyinza okukitwala nti oluusi kyetaagisa obutaba beesigwa. Kyokka amazima bwe gazuuka, ebivaamu tebiba birungi n’akamu. Lowooza ku bino:
OBUTABA BEESIGWA KYONOONA ENKOLAGANA YAFFE N’ABALALA
Enkolagana ennungi ebaawo wakati waffe n’abalala eba yeesigamye ku bwesige bwe batulinamu. Kitwala ekiseera abantu okwesigaŋŋana n’okufuuka ab’omukwano. Abantu bwe baba ab’okwesigaŋŋana, buli omu alina okuba ng’ayogera amazima eri munne, era nga buli omu akolera munne ebirungi. Kyokka, ekikolwa kimu ekitali kya bwesigwa kiyinza okwonoona enkolagana ennungi, era kitwala ekiseera kiwanvu okugizzaawo.
Wali olimbiddwako omuntu gwe wali otwala nga mukwano gwo? Bwe kiba bwe kityo, wawulira otya? Oteekwa okuba nga wawulira bubi nnyo. Awatali kubuusabuusa, obutali bwesigwa busobola okwawukanya abantu abadde ab’omukwano nfanfe.
KIVIIRAKO ABALALA OBUTABA BEESIGWA
Okunoonyereza okwakolebwa Profesa Robert Innes, ow’omu yunivasite ya California kwalaga nti “obutali bwesigwa buleetera abalala obutaba beesigwa.” N’olwekyo, obutali bwesigwa busobola okugeraageranyizibwa ku kawuka akaleeta obulwadde—bw’obeera n’omuntu atali mwesigwa, naawe osobola okufuuka atali mwesigwa.
Oyinza otya okwewala obutaba mwesigwa? Bayibuli esobola okukuyamba. Soma ekitundu ekiddako olabe ebimu ku byawandiikibwa ebisobola okukuyamba.