“Nnandisobodde Ntya . . . Okuggyako nga Waliwo Ampa Obulagirizi?”
1 Omubuulizi w’enjiri Firipo bwe yabuuza Omuwesiyopya omulaawe obanga yali ategeera by’asoma okuva mu Kigambo kya Katonda, omusajja oyo yaddamu nti: “Ddala, nnandisobodde ntya okubitegeera, okuggyako nga waliwo ampa obulagirizi?” Firipo yamuyamba okutegeera amawulire amalungi agakwata ku Yesu, ne kiviirako omusajja oyo okubatizibwa amangu ddala. (Bik. 8:26-38, NW) Firipo yali agondera ekiragiro kya Kristo ‘eky’okufuula abantu abayigirizwa okuva mu mawanga gonna, nga babatizibwa era nga bayigirizibwa.’—Mat. 28:19, 20.
2 Tuteekwa okugondera ekiragiro ekyo eky’okufuula abayigirizwa, nga Firipo bwe yakola. Kyokka, okukulaakulana okw’amangu ennyo ng’okwo okw’Omuwesiyopya omulaawe si kwe kutera okubaawo mu bantu be tuyigiriza Baibuli. Omusajja oyo, Omuyudaaya omukyufu eyali amanyi Ebyawandiikibwa, yalina omutima mulungi era kye yali yeetaaga kyokka kwe kukkiriza Yesu nga Masiya eyasuubizibwa. Kuba kusoomooza kwa maanyi singa be tuyigiriza tebalina kye bamanyi ku Baibuli, nga babuzaabuziddwa enjigiriza z’eddiini ez’obulimba, oba nga bazitoowereddwa ebizibu eby’amaanyi ennyo. Kiki ekijja okutuyamba okutuuka ku buwanguzi nga tuyamba be tuyigiriza Baibuli okutuuka ku kwewaayo n’okubatizibwa?
3 Manya Ebyetaago eby’Eby’Omwoyo eby’Omuyizi wa Baibuli: Olupapula olw’omunda olwa Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Agusito 1998 lwayogera ku buwanvu bw’ekiseera kye tuyinza okusoma n’abantu, nga tukozesa brocuwa Atwetaagisa era n’akatabo Okumanya. Lwawa obulagirizi buno: “Kyetaagisa okugera sipiidi ey’okusoma okusinziira ku mbeera n’obusobozi bw’omuyizi. . . . Ekikulu ye muyizi okutegeera obulungi so si okumalako amangu akatabo. Buli muyizi yeetaaga okukkiriza kwe okuppya okuba n’omusingi omunywevu mu Kigambo kya Katonda.” N’olwekyo, kiba kya magezi obutayanguyiriza nga musoma ebiri mu katabo Okumanya ng’oluubirira mukamaleko mu myezi mukaaga. Kiyinza okwetaagisa ekiseera ekisukka mu myezi omukaaga okusobola okuyamba abantu abamu okutuuka ku ddaala ery’okubatizibwa. Ng’okubiriza okuyiga buli wiiki, waayo ebiseera ebyetaagisa okuyamba omuyizi okutegeera n’okukkiriza by’ayiga okuva mu Kigambo kya Katonda. Mu mbeera ezimu, kiyinza okwetaagisa wiiki bbiri oba ssatu okumalako essuula emu mu katabo Okumanya. Kino kijja kubawa ekiseera ekimala okusoma n’okutegeera ebyawandiikibwa ebingi ebiba biweereddwa.—Bar. 12:2.
4 Kyokka, kiba kitya singa oluvannyuma lw’okumalako akatabo Okumanya, okiraba nti omuyizi yeetaaga okweyongera okutegeera amazima oba nti tannasalawo mu bujjuvu okugoberera amazima n’okuwaayo obulamu bwe eri Katonda? (1 Kol. 14:20) Kiki ekirala ky’oyinza okukola okumuyamba okutambulira mu kkubo erituusa mu bulamu?—Mat. 7:14.
5 Kola ku Byetaago eby’Eby’Omwoyo eby’Omuyizi wa Baibuli: Bwe kyeyoleka nti omuntu akulaakulana, wadde mpolampola, era nti yeeyongera okusiima by’ayiga, weeyongere okuyiga naye Baibuli mu katabo ak’okubiri oluvannyuma lw’okumaliriza brocuwa Atwetaagisa n’akatabo Okumanya. Kino kiyinza obuteetaagisa mu buli mbeera, naye bwe kiba kyetaagisa, weeyongere okusoma naye mu katabo Emirembe egy’Amazima, United in Worship, oba God’s Word. Ababuulizi abasinga obungi balina obutabo buno bwe kiba nti mu kibiina tebuliiwo. Mu buli ngeri, brocuwa Atwetaagisa n’akatabo Okumanya bye birina okusooka okusomebwa. Omuyizi, okuddiŋŋana, era n’ebiseera ebiweereddwayo okwongera mu maaso okuyiga okwo bisaanidde okubalibwa n’okuteekebwa ku lipoota, ka kibe nti omuyizi abatizibwa nga tannamalako katabo ak’okubiri.
6 Kino kitegeeza nti abo abaakabatizibwa nga baasoma ekitabo kimu kyokka kati basaanidde okuweebwa obuyambi obulala nga basomesebwa ekitabo eky’okubiri? Nedda si kye kitegeeza. Kyokka, bayinza okuba nga balekedde awo okubuulira oba nga tebakulaakulana mu mazima, era bayinza okuwulira nti beetaaga obuyambi obusingawo okusobola okugoberera amazima mu ngeri esingawo mu bulamu bwabwe. Omulabirizi w’obuweereza asaanidde okwebuuzibwako nga tonnaddamu kusomesa mubuulizi omubatize. Kyokka, singa olinayo omuntu gw’omanyi eyasomako akatabo Okumanya ebiseera ebiyise naye n’atakulaakulana kutuuka ku kwewaayo n’okubatizibwa, oyinza okumubuuza obanga yandyagadde okuddamu okuyigirizibwa Baibuli.
7 Kabonero ka kwagala okw’Ekikristaayo okufaayo ennyo ku buli muntu gwe tuyigiriza. Ekiruubirirwa kyaffe kwe kuyamba omuyizi okufuna okutegeera okusingawo okw’Ekigambo kya Katonda. Olwo nno, okusinziira ku by’ayize ayinza okusalawo okunywerera ku mazima n’okuwaayo obulamu bwe eri Yakuwa, ng’alaga okwewaayo okwo ng’abatizibwa mu mazzi.—Zab. 40:8; Bef. 3:17-19.
8 Ojjukira ekyaliwo ng’Omuwesiyopya omulaawe abatiziddwa? ‘Yagenda musanyufu’ ng’omuyigirizwa omuppya owa Yesu Kristo. (Bik. 8:39, 40) Ffe ffennyini era n’abo be tuyamba okulaba ekkubo ery’amazima ka tufune essanyu lingi nnyo mu kuweereza Yakuwa Katonda—kaakano era n’emirembe gyonna!