Eby’Okwejjukanya ku Kijjukizo
Ekijjukizo ky’omwaka guno kijja kubaawo ku Ssande, Apuli 8. Abakadde balina okwekenneenya ensonga eziddirira:
◼ Nga muteegeka ekiseera eky’okukuŋŋaanirako, mukakase nti obubonero tebujja kuyisibwa ng’enjuba tennaba kugwa.
◼ Buli muntu nga mw’otwalidde n’omwogezi, alina okutegeezebwa ekiseera kyennyini n’ekifo awanaabeera omukolo.
◼ Ekika ky’omugaati ogusaanidde n’enviinyo birina okufunibwa era bitegekebwe.—Laba Watchtower aka Febwali 15, 1985, olupapula 19.
◼ Amasowaani, giraasi, n’emmeeza esaanidde era n’ekitambala eky’oku mmeeza birina okutegekebwa nga bukyali.
◼ Kingdom Hall oba ekifo ekirala kyonna eky’okukuŋŋaaniramu kirina okulongoosebwa obulungi ng’ekiseera tekinnaba kutuuka.
◼ Abaaniriza abagenyi n’abaweereza balina okulondebwa n’okutegeezebwa nga bukyali ku bikwata ku mirimu gyabwe n’enkola ey’okugoberera.
◼ Enteekateeka zirina okukolebwa okuweereza eyafukibwako amafuta yenna ataasobole kubeerawo olw’obulwadde.
◼ Bwe kiba nti ebibiina ebisukka mu kimu bijja kukozesa Kingdom Hall y’emu, wateekwa okubeerawo entegeka ennungi wakati w’ebibiina okusobola okwewala omujjuzo mu kisenge, mu luggya, n’awasimba emmotoka.