Weeyongere Okubuulira Abalala Ebikolwa bya Yakuwa eby’Ekitalo
1. Ebimu ku bikolwa bya Yakuwa eby’ekitalo ebikusanyusa ennyo bye biruwa?
1 Tewali ayinza kwenkana Katonda waffe ow’ekitalo, Yakuwa! Dawudi yawandiika: ‘Ebikolwa byo eby’ekitalo, ai Mukama Katonda wange, bingi nnyo, era n’engeri gy’otulowoozaako; tewali ayinza kukwenkana.’ (Zab. 40:5) Ebikolwa bya Yakuwa eby’ekitalo bizingiramu obutonde, Obwakabaka bwa Masiya, okulaga abantu be ekisa ekyesigamiziddwa ku kwagala, n’omulimu gw’okubuulira ogukolebwa mu nsi yonna. (Zab. 17:7, 8; 139:14; Dan. 2:44; Mat. 24:14) Okwagala kwe tulina eri Yakuwa n’okusiima ebyo byonna by’akoze bituleetera okubuulira abalala ebimukwatako. (Zab. 145:5-7) Mu mwezi gwa Maaki, Apuli ne Maayi, tujja kuba n’omukisa okukola kino mu ngeri esingawo.
2. Tuganyulwa tutya kinnoomu bwe tukola nga bapayoniya abawagizi?
2 Ng’Okola nga Payoniya Omuwagizi: Oyinza okukola enteekateeka omale essaawa 50 nga weenyigira mu buweereza bw’ennimiro mu mwezi gumu oba n’okusingawo mu myezi egya kaweefube ow’enjawulo? Mazima ddala enteekateeka zonna z’onookola zijja kukuviiramu emiganyulo. (Bef. 5:16) Bangi bakisanze nti okukola nga bapayoniya abawagizi kibayamba okulongoosa mu buweereza bwabwe. Kibayamba okubeera abakkakkamu nga babuulira nnyumba ku nnyumba era ne beeyongera okukozesa Baibuli mu ngeri esingawo. Okumala ebiseera ebiwerako mu buweereza bw’ennimiro kikifuula kyangu okuddira buli alaze okusiima, ate era n’abo abatabadde na be bayigiriza Baibuli basobodde okubafuna bwe baweerezza nga bapayoniya abawagizi. Okuva okukola nga payoniya omuwagizi bwe kizingiramu okwewaayo okuweereza abalala, omulimu guno guleeta essanyu.—Bik. 20:35.
3. Abamu basobodde batya okukola nga bapayoniya abawagizi wadde ng’embeera zaabwe nzibu?
3 Toyanguyiriza kugamba nti embeera zo tezikusobozesa kuweereza nga payoniya omuwagizi. Omukadde omu eyakola nga payoniya omuwagizi omwaka oguwedde alina abaana babiri n’omulimu ogw’ekiseera kyonna. Ow’oluganda ono alina eby’okukola ebingi yasobola atya? Okuva bw’akola mu nnaku eza bulijjo, yateekateeka okusiiba mu nnimiro ku wiikendi, ng’atandika n’okubuulira okw’oku luguudo ku ssaawa emu ey’oku makya buli Lwamukaaga. N’abalala bangi mu kibiina abaali mu mbeera y’emu baaweereza nga bapayoniya abawagizi, era bazziŋŋanamu nnyo amaanyi. Mu kibiina ekirala, mwannyinaffe ow’emyaka 99 yasalawo okukola nga payoniya omuwagizi mu Maayi oluvannyuma lwa muwala we okumukubiriza okumweyungako. Abalala mu kibiina ekyo baayamba mwannyinaffe ono nnamukadde okubuulira nnyumba ku nnyumba era n’okuyigiriza abayizi ba Baibuli nga bamusindika mu kagaali ke. Ate era yeenyigira mu kubuulira okw’oku ssimu, okw’oku nguudo era n’okuwandiika amabaluwa. Mukakafu nti kino teyakikola mu maanyi ge, wabula Yakuwa ye yamusobozesa.—Is. 40:29-31.
4. Biki bye twandirowoozezzaako nga tukola enteekateeka ey’okuweereza nga bapayoniya abawagizi?
4 Gezaako okuwandiika ku lupapula enteekateeka etuukana obulungi n’embeera yo. Enteekateeka eziri mu kitundu kino ziyinza okukuyamba. Okola ekiseera kyonna oba osoma? Enteekateeka ey’okubuulira ku wiikendi eyinza okuba ennungi gy’oli. Bw’oba ng’oli mulwaddelwadde era ng’embeera yo tekusobozesa kumala lunaku lwonna mu nnimiro, enteekateeka ekwetaagisa okumala obudde butonotono mu nnimiro buli lunaku y’eyinza okuba ennungi. Tegeezaako abalala nti oyagala kukola nga payoniya omuwagizi. Oboolyawo nabo bayinza okuteekawo ekiruubirirwa ekyo.
5. Abavubuka bayinza kuteekawo biruubirirwa ki mu Maaki, Apuli ne Maayi?
5 Engeri Abavubuka gye Bayinza Okwenyigiramu: Yakuwa asanyuka nnyo abavubuka bwe balangirira ebikolwa bye egy’ekitalo. (Zab. 71:17; Mat. 21:16) Bw’oba ng’oli muvubuka era nga wabatizibwa, oboolyawo oyinza okukola nga payoniya mu mwezi ogulimu oluwummula. Bw’oba nga tosobola kuweereza nga payoniya omuwagizi, osobola okuteekawo ekiruubirirwa eky’okwongera ku ssaawa zo oba okulongoosa mu buweereza bwo mu myezi gino? Bw’oba obadde weenyigira mu buweereza ne bazadde bo naye nga tonnafuuka mubuulizi atali mubatize, kino kye kyandibadde ekiseera ekirungi okufuuka omubuulizi. Teweetaaga kusooka kuba mukugu mu kuddamu ebibuuzo ebikwata ku Baibuli oba okumanya ebintu bingi ng’ababuulizi ababatize. Omanyi enjigiriza za Baibuli ezisookerwako? Emitindo gya Baibuli egikwata ku mpisa oginywererako? Oyagala okumanyibwa ng’Omujulirwa wa Yakuwa? Kati nno, yogerako ne bazadde bo ku nsonga eyo. Bajja kukola enteekateeka musisinkane n’abakadde balabe obanga olina ebisaanyizo.—Laba akatabo Our Ministry empapula 98-99.
6. Tuyinza tutya okuyamba abayizi ba Baibuli okufuuka ababuulizi b’amawulire amalungi?
6 Okuyamba Abalala Okubuulira: Abayizi ba Baibuli abakulaakulana basobola okufuuka ababuulizi ne batwegattako mu myezi egijja egya kaweefube ow’enjawulo. Bw’oba olina omuyizi wa Baibuli akulaakulana, yogerako n’omulabirizi akubiriza okusoma kwammwe okw’ekitabo okw’ekibiina oba omukadde alabirira omulimu gw’obuweereza. Omu ku bo ayinza okukwegattako nga musoma n’omuyizi wo alabe engeri gy’akulaakulanamu. Singa omuyizi oyo aba alina ebisaanyizo era ng’ayagala okufuuka omubuulizi, omulabirizi akubiriza akakiiko k’abakadde ajja kukola enteekateeka abakadde babiri babasisinkane n’omuyizi wo. (Laba Watchtower aka Noovemba 15, 1988, olupapula 17.) Omuyizi oyo bw’akkirizibwa, tandikirawo okumutendeka mu buweereza obw’ennimiro.
7. Ababuulizi aboosa okubuulira emyezi egimu era n’abo abaludde nga tebakyabuulira bayinza batya okuyambibwa?
7 Abalabirizi abakubiriza okusoma ekitabo kw’ekibiina basaanidde okufaayo ennyo ku abo aboosa okubuulira emyezi egimu era n’abatakyabuulira. Basabe bakoleko naawe mu buweereza. Singa baba bamaze emyezi mingi nga tebakyabuulira, kiba kirungi abakadde babiri basooke boogereko nabo okulaba obanga balina ebisaanyizo. (Laba Akasanduuko k’Ebibuuzo mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Noovemba 2000.) Ekibiina bwe kinaanyiikirira obuweereza mu myezi gino egya kaweefube ow’enjawulo, kiyinza okubakubiriza okuddamu okwenyigira mu buweereza obutayosa.
8, 9. Abakadde bayinza kukola ki okukubiriza ab’oluganda okwenyigira mu kaweefube ono ow’enjawulo?
8 Teekateeka Kati Okukola mu Ngeri Esingawo: Abakadde, mutandikireewo okukubiriza ab’oluganda basobole okukola nga bapayoniya abawagizi. Ekyokulabirako kyammwe ekirungi ne bye mwogera biyinza okubazzaamu ennyo amaanyi. (1 Peet. 5:3) Omuwendo gwa bapayoniya abawagizi ogwasembayo okuba omunene gwali gwa bapayoniya bameka? Guyinza okusingawo omwaka guno? Abalabirizi abakubiriza okusoma ekitabo okw’ekibiina n’abo ababayambako basaanidde okulaba engeri gye bayinza okukubirizaamu abali mu kibinja kyabwe okwongera amaanyi mu buweereza bwabwe. Abakadde abakubiriza omulimu gw’obuweereza bayinza okuteekateeka enkuŋŋaana endala ez’obuweereza bw’ennimiro. Ekibiina mukitegeeze enteekateeka ezikoleddwa nga bukyali. Kakasa nti ababuulizi abasobola bakwasibwa obuvunaanyizibwa obw’okukubiriza enkuŋŋaana z’ennimiro era n’okulaba nti enkuŋŋaana ezo zitandika era ne ziggwera mu budde. (Laba Akasanduuko k’Ebibuuzo mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Ssebutemba 2001.) Omulabirizi w’obuweereza asaanidde okukakasa nti waliwo ebitabo ne magazini ebimala awamu n’ekitundu eky’okukolamu.
9 Omwaka ogwayita abakadde b’omu kibiina ekimu baatandikirawo okukubiriza ekibiina okukola nga bapayoniya abawagizi era bangi ku bo baawaayo okusaba kwabwe. Baategekawo enkuŋŋaana endala ez’obuweereza bw’ennimiro—olumu nga lutandika ku ssaawa 11:30 ez’oku makya n’okubuulira ku nguudo, olulala ku ssaawa 9:00 ez’olweggulo okusobozesa abo abaali bavudde ku ssomero, ate olw’okusatu ku ssaawa 12:00 ez’olweggulo okusobozesa abo abaali bavudde ku mirimu. Okugatta ku ezo, enkuŋŋaana ssatu ez’okugenda mu nnimiro zaateekebwawo buli Lwamukaaga. Abantu 66 mu kibiina ekyo be baakola nga bapayoniya abawagizi mu Apuli!
10. Ab’omu maka bayinza batya okwongera amaanyi mu buweereza bwabwe?
10 Mu kuyiga kwammwe okw’amaka okunaddako, lwaki totegekawo kiseera mwogere ku biruubirirwa byammwe eby’emyezi egijja? Bwe munaakolera awamu era ne muba n’enteekateeka ennungi, abamu mu maka gammwe oba bonna bayinza okukola nga bapayoniya abawagizi. Ekyo bwe kiba tekisoboka, muteekeewo ekiruubirirwa eky’okwongera amaanyi mu buweereza bwammwe nga mumala ekiseera kiwanvu mu nnimiro oba nga mubuulira ne ku mirundi emirala. Mutegeeze Yakuwa ensonga eno ng’amaka. Osobola okuba omukakafu nti Yakuwa ajja kukuwa omukisa olw’okufuba kwo.—1 Yok 3:22.
11. (a) Bintu ki eby’ekitalo ssaddaaka ya Yesu bye yasobozesa? (b) Ekijjukizo ky’okufa kwa Kristo kinaabaawo ku ssaawa mmeka era mu kifo ki mu kitundu kyammwe?
11 Ekikolwa kya Katonda Ekisingayo Okuba eky’Ekitalo: Ekikolwa kya Katonda ekisingayo eky’okwoleka okwagala, kwe kuba nti yawaayo Omwana we omu yekka ng’ekinunulo ku lwaffe. (1 Yok 4:9, 10) Ssaddaaka ey’ekinunulo y’esinziirwako okununula olulyo lw’omuntu okuva mu kibi n’okufa. (Bar. 3:23, 24) Endagaano empya yateekebwawo omusaayi gwa Yesu ogwayiika, ne kisobozesa abantu abatatuukiridde okufuuka abaana ba Katonda nga balina essuubi ery’okufuga mu Bwakabaka obw’omu ggulu. (Yer. 31:31-34; Mak. 14:24) Ekisingira ddala obukulu, obuwulize bwa Yesu bwaviirako erinnya lya Yakuwa okutukuzibwa. (Ma. 32:4; Nge. 27:11) Ku Ssande nga Apuli 4, oluvannyuma lw’enjuba okugwa, wajja kubaawo Ekijjukizo ky’okufa kwa Kristo mu nsi yonna.
12. Abappya banaaganyulwa batya mu kubeerawo ku mukolo gw’Ekijjukizo ky’okufa kwa Kristo?
12 Okukwata eky’Ekiro kya Mukama waffe kigulumiza Yakuwa olw’ebikolwa bye eby’ekitalo. Okwogera kwa bonna kutuleetera okusiima Yakuwa olw’okutuwa ekinunulo. Abappya abanaabaawo ku mukolo ogwo bajja kusobola okulaba ebikolwa bya Yakuwa ebirala eby’ekitalo. Bajja kulaba obumu n’okwagala Yakuwa by’ayigiriza abantu be okwoleka. (Bef. 4:16, 22-24; Yak. 3:17, 18) Omuntu okubeerawo ku mukolo guno kirina kinene nnyo kye kiyinza okukola ku ndowooza ye, n’olwekyo twagala abantu bangi nnyo nga bwe kisoboka babeewo.—2 Kol. 5:14, 15.
13, 14. Baani be tusaanidde okuyita ku Kijjukizo, era tuyinza kukikola tutya?
13 Okuyita Abalala Okubaawo: Tandikirawo okukola olukalala lw’abo b’onooyita. Olukalala olwo lwandibaddeko ab’omu maka go abatali mu nzikiriza yaffe, baliraanwa, b’okola nabo oba b’osoma nabo, b’oyigiriza Baibuli n’abo be wali oyigiriza, era n’abo bonna b’onaddiŋŋana. Abalabirizi abakubiriza okusoma ekitabo okw’ekibiina basaanidde okussa ku lukalala lwabwe ababuulizi abatakyabuulira.
14 Kozesa obupapula obwaniriza abantu okujja ku mukolo gw’Ekijjukizo, era owandiikeko bulungi essaawa n’ekifo awanaabeera omukolo guno. Oba oyinza okweyambisa olupapula olw’emabega olwa Watchtower aka Maaki 15, 2004 oba Awake! aka Maaki 22, 2004. Nga Apuli 4 lugenda lusembera, jjukiza abo be wayita ng’ogendayo mu buntu oba ng’oyogera nabo ku ssimu.
15. Tuyinza tutya okulaga nti twaniriza abagenyi ku mukolo gw’Ekijjukizo?
15 Ku Mukolo gw’Ekijjukizo: Gezaako okutuuka nga bukyali awali omukolo gw’Ekijjukizo. Laga omwoyo gw’okwaniriza abagenyi ng’olamusa abappya n’ebbugumu. (Bar. 12:13) Ggwe ovunaanyizibwa ennyo ku bagenyi b’oyita. Balage nti baaniriziddwa, era banjule eri abalala mu kibiina. Oboolyawo oyinza okutuula nabo. Bwe baba tebalina Baibuli oba akatabo k’ennyimba yimbira wamu nabo oba saba omuntu omulala ayimbe nabo. Oluvannyuma lw’omukolo, beera mwetegefu okuddamu ebibuuzo bye bayinza okuba nabyo. Bwe wabaawo ababa bazze omulundi gwabwe ogusoose, babuuze obanga bandyagadde okuyiga ebisingawo ku Kigambo kya Katonda n’ebigendererwa bye. Bategeeze enteekateeka ey’okubayigiriza Baibuli.
16. Kiki ekiyinza okukolebwa okuyamba abo abaaliwo ku Kijjukizo okukulaakulana mu by’omwoyo?
16 Weeyongere Okuyamba Abo Abaaliwo ku Kijjukizo: Mu wiiki eziddirira Ekijjukizo, abo abaaliwo ku Kijjukizo bayinza okwetaaga obuyambi obulala. Mu abo muyinza okubaamu abo abaali bajjumbira ennyo enkuŋŋaana naye nga kati bajja bbalirirwe. Abakadde bajja kuba bulindaala okukakasa nti abali ng’abo tebabuusibwa maaso, nga bagezaako okuzuula ensonga eyabaviirako okulekera awo okukulaakulana mu by’omwoyo. Ggumiza obukulu bw’ebiseera bye tulimu. (1 Peet. 4:7) Bayambe okulaba emiganyulo egiri mu kugondera okubuulirira okuli mu kyawandiikibwa okukwata ku kukuŋŋaana awamu n’abantu ba Katonda obutayosa.—Beb. 10:24, 25.
17. Lwaki twandyeyongedde okubuulira abantu ebikolwa bya Yakuwa eby’ekitalo?
17 Ebikolwa bya Yakuwa bya kitalo nnyo ne kiba nti tetusobola na kubitegeera byonna ne bwe tuba ba kubeerawo emirembe gyonna. (Yobu 42:2, 3; Mub. 3:11) N’olwekyo, tujja kuba n’ebintu bingi kwe tunaasinziira okumutendereza. Mu kiseera kino eky’Ekijjukizo tuyinza okulaga nti tusiima ebikolwa bya Yakuwa eby’ekitalo nga tufuba okugaziya obuweereza bwaffe.
[Akasanduuko akali ku lupapula 4]
Osobola Okukola nga Payoniya Omuwagizi nga Weeyambisa Emu ku Nteekateeka Zino Eziddirira?
Maaki Su M* Tu* W* Th F Sa Omugatte
Buli Lunaku 2 1 1 1 1 1 5 51
Ennaku Bbiri 0 5 0 5 0 0 0 50
Wiikendi Zokka 5 0 0 0 0 0 8 52
Wiikendi
n’Ennaku Bbiri 2 0 0 2 0 2 6 50
Apuli Su M Tu W Th* F* Sa Omugatte
Buli Lunaku 2 1 1 1 1 1 5 50
Ennaku Bbiri 0 0 0 0 5 5 0 50
Wiikendi Zokka 5 0 0 0 0 0 8 52
Wiikendi
n’Ennaku Bbiri 2 0 0 2 0 2 6 50
Maayi Su* M* Tu W Th F Sa* Omugatte
Buli Lunaku 2 1 1 1 1 1 4 51
Ennaku Bbiri 0 5 0 0 0 0 5 50
Wiikendi Zokka 3 0 0 0 0 0 7 50
Wiikendi
n’Ennaku Bbiri 2 0 0 2 0 2 5 51
* Ennaku ziri ttaano mu mwezi