Okuyamba Abayizi ba Baibuli Okukulaakulana
Ekitundu 12: Okuyamba Abayizi Baffe Okutandika Okuyigiriza Abantu Baibuli
1 Abayizi baffe aba Baibuli bwe batandika okubuulira, bayinza okutya okufuna abantu be banaayigiriza Baibuli. Tuyinza tutya okubayamba ne basobola okufuna obuvumu okuyigiriza abantu?—Mat. 24:14; 28:19, 20.
2 Omuyizi wa Baibuli w’atandikira okubuulira ng’omubuulizi atali mubatize, ayinza okuba nga yayingira dda mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda. Okutendekebwa kw’afuna okuyitira mu kutegeka ne mu kuwa emboozi, kumusobozesa okuba ‘omuyigiriza atakwatibwa nsonyi, era akozesa obulungi ekigambo eky’amazima.’—2 Tim. 2:15.
3 Muteerewo Ekyokulabirako Ekirungi: Yesu yatendeka abayigirizwa be ng’abawa obulagirizi era ng’abateerawo eky’okulabirako ekirungi. Yagamba: ‘Buli ayigirizibwa bw’amala okuyigirizibwa obulungi, aba ng’oyo amuyigirizza.’ (Luk. 6:40) Kikulu nnyo okukoppa Yesu ng’ossaawo eky’okulabirako ekirungi mu buweereza bwo. Omuyizi wo bw’alaba ekyokulabirako ky’ossaawo mu buweereza, ajja kutegeera nti ekiruubirirwa eky’okuddayo eri abantu kwe kutandika okubayigiriza Baibuli.
4 Mubuulire nti bwe tutegeeza omuntu nti twagala okumuyigiriza Baibuli, kiba tekyetaagisa kumubuulira kalonda yenna akwata ku nteekateeka yaffe ey’okuyigiriza. Era mutegeeze nti ekisinga obulungi kwe kulaga obulazi omuntu engeri y’okuyigamu naye nga musoma akatundu kamu oba bubiri mu katabo. Ebirowoozo ebiyinza okukuyamba okukola kino biri ku lupapula 8 ne mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjanwali 2002 ku lupapula 6.
5 Bwe kiba kyetaagisa, saba omuyizi wo akuwerekereko ng’ogenda okuyigiriza abantu Baibuli oba agende n’omubuulizi omulala alina obumanyirivu. Ayinza okubaako ky’ayogera ku katundu akakubaganyizibwako ebirowoozo oba ku kyawandiikibwa ekiggyayo ensonga enkulu. Bwe yeetegereza engeri gy’oyigirizaamu, ajja kuyiga bingi ebikwata ku ngeri y’okuyambamu abayizi ba Baibuli okukulaakulana. (Nge. 27:17; 2 Tim. 2:2) Musiime era omubuulire we yeetaaga okulongoosaamu.
6 Okutendeka ababuulizi abappya okuba abasomesa abalungi ab’Ekigambo kya Katonda kijja kubayamba okukola “omulimu omulungi” ogw’okufuna era n’okuyigiriza abayizi ba Baibuli. (2 Tim. 3:17) Nga kizzaamu nnyo amaanyi okukolera awamu nabo nga tukubiriza abantu nti: “Ayagala atwale amazzi ag’obulamu buwa”!—Kub. 22:17.