Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower. 15
“Abantu bangi beebuuza ensonga lwaki ennaku enkulu zifuuse za kukoleramu bizineesi. Olowooza abantu tebavudde ku kigendererwa ky’ennaku ezo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno eraga engeri obulombolombo obukwataganyizibwa n’ennaku enkulu gye bukyuse ennyo ebiseera bwe bigenze biyitawo. Ate era eyogera ku ngeri entuufu ey’okuwamu Katonda ne Kristo ekitiibwa.” Soma Yokaana 17:3.
Awake! Ddes. 22
“Emyaka 85 egiyise, waaliwo obulwadde obwatirimbula abantu abangi mu wiiki 24 zokka okusinga abo abatirimbuddwa mukenenya mu myaka 24 gyokka. Abamu bagamba nti oyo ye kawumpuli akyasinze okuba ow’akabi mu byafaayo byonna. Wali owuliddeko ku ssenyiga ayitibwa Seseeba? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno etutegeeza obanga obulwadde ng’obwo busobola okubaawo nate. Era eraga nti mu biseera eby’omu maaso wajja kuba nga tewakyaliwo bulwadde.” Soma Isaaya 33:24.
The Watchtower Jjan. 1
“Abantu balina obusobozi obw’okukola obulungi, naye ate mu kifo ky’ekyo, batera okukola ebikolobero. Wali weebuuzizzaako ensonga lwaki kiri bwe kityo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno ewa eky’okuddamu ekyesigamiziddwa ku Baibuli. Ate era eraga nti ekiseera kijja kutuuka obulungi buwangule obubi.” Soma Abaruumi 16:20.
Awake! Jjan.
“Wali weebuuzizzaako engeri ensi gy’eribeeramu mu myaka 20 oba 30 egijja? [Muleke abeeko ky’addamu. Soma Zabbuli 119:105.] Baibuli etuyamba okutegeera ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Magazini eno eyogera ku bunnabbi obulaga ekiseera kye tulimu era etuyamba okuba n’essuubi ery’ebiseera eby’omu maaso.”