Yamba Abalala Okuganyulwa mu Kinunulo
Ekijjukizo ky’Okufa kwa Kristo Kijja Kubaawo nga Apuli 12
1. Emu ku ngeri abantu ba Katonda gye balagamu nti basiima ekinunulo y’eruwa?
1 “Katonda yeebazibwe olw’ekirabo kye ekitayogerekeka.” (2 Kol. 9:15) Ebigambo ebyo byoleka bulungi engeri gye tusiimamu Katonda olw’obulungi n’okwagala by’alaga abantu be okuyitira mu Mwana we, Yesu Kristo. Tujja kwoleka okusiima okwo bwe tunaakuŋŋaana awamu nga Apuli 12 okujjukira okufa kwa Kristo.
2. Baani abeegatta ku baweereza ba Yakuwa ku mukolo ogw’Ekijjukizo, era basaanidde kukola ki okusobola okuganyulwa mu kinunulo?
2 Abantu ng’obukadde 10, be beegatta ku baweereza ba Yakuwa buli mwaka okujjukira okufa kwa Kristo. Mu kukola ekyo baba booleka nti basiima ssaddaaka ya Kristo. Kyokka, okusobola okuganyulwa mu kinunulo, balina okulaga nti bakikkiririzaamu. (Yok. 3:16, 36) Tuyinza tutya okubayamba okukikkiririzaamu? Mu kiseera kino ng’Ekijjukizo kinaatera okutuuka, tuyinza okubakubiriza okutandika okuyiga Baibuli era n’okubangawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina. Weetegereze engeri y’okukikolamu.
3. Abantu be tuyita ku Kijjukizo tuyinza tutya okutandika okubayigiriza Baibuli?
3 Abayizi ba Baibuli: Bw’oba oyita omuntu okujja ku Kijjukizo, lwaki totandikirawo okumuyigiriza Baibuli ng’okozesa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza? Tandika ng’omunnyonnyola ebyo ebikwata ku Kijjukizo ebisangibwa ku lupapula 206-8, wansi w’omutwe, “Eky’Ekiro kya Mukama Waffe—Omukolo Oguweesa Katonda Ekitiibwa.” Ensonga ezirimu muyinza okuzikubaganyaako ebirowoozo omulundi gumu oba ebiri. Bwe mumala okukubaganya ebirowoozo ku nsonga ezo, omuntu oyo oyinza okumulaga essuula 5, egamba nti, “Ekinunulo—Kirabo kya Katonda Ekisingayo Obulungi,” oboolyawo nayo ayinza okwagala okugikubaganyaako ebirowoozo. Omuyizi oyo bw’aba nga akyayagala okumanya ebisingawo, muddeeyo emabega musome essuula ennya ezisooka.
4. Baani be tuyinza okutandika okuyigiriza Baibuli mu kiseera kino ng’Ekijjukizo kinaatera okutuuka?
4 Baani be tuyinza okutandika okuyigiriza Baibuli nga tugoberera enkola eyo waggulu? Oboolyawo bayinza okuba bakozi banno, bayizi banno, ne baliraanwa bo. Ab’oluganda bayinza okukyalira abaami ba bannyinaffe, abatali bakkiriza. Ate era tobuusa maaso ab’eŋŋanda zo abatali bakkiriza. Ng’oggyeko abo, twandifubye okuyita abo abatakyajjumbira nkuŋŋaana okubeerawo ku Kijjukizo. (Luk. 15:3-7) Ka tufube okuyamba abantu abo aboogeddwako waggulu okuganyulwa mu kinunulo.
5. Tuyinza tutya okukubiriza abo be tuyiga nabo Baibuli awamu n’abalala abaagala amazima okubangawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina eza buli wiiki?
5 Enkuŋŋaana z’Ekibiina: Ekijjukizo lwe lukuŋŋaana abayizi ba Baibuli n’abantu abalala bangi abaagala amazima lwe basooka okubaamu. Naye tuyinza tutya okubakubiriza okujjanga mu nkuŋŋaana z’ekibiina basobole okuganyulwa ekisingawo? Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Apuli 2005 ku lupapula 8, kaawa amagezi gano: “Bategeeze omutwe gw’emboozi ya bonna egenda okuweebwa wiiki eyo. Balage ebigenda okukubaganyizibwako ebirowoozo mu Omunaala gw’Omukuumi ne mu Kusoma okw’Ekitabo okw’Ekibiina. Bannyonnyole Essomero ly’Omulimu gwa Katonda n’Olukuŋŋaana lw’Obuweereza. Bw’oba ng’olina emboozi mu ssomero oyinza okubalaga engeri gy’ogenda okugiwaamu. Babuulire ensonga enkulu ezaayogeddwako mu nkuŋŋaana. Kozesa ebifaananyi ebiri mu bitabo byaffe kikusobozese okubayamba okutegeera obulungi ebyo ebibeera mu nkuŋŋaana. Bakubirize okujja mu nkuŋŋaana amangu ddala nga waakatandika okuyiga nabo.”
6. Bintu ki ebibiri ebisobola okuyamba abo abaagala amazima okuganyulwa mu kinunulo?
6 Abo abaagala amazima bwe bayigirizibwa Baibuli obutayosa era ne banyiikira okubeerawo mu nkuŋŋaana, bakulaakulana mangu mu by’omwoyo. N’olwekyo, ka ffenna tukubirize abalala okweyambisa enteekateeka ezo ez’eby’omwoyo basobole okuganyulwa mu kirabo kya Katonda ekisingiridde, era nga kino kye kinunulo.