Faayo ku Bantu—ng’Obatunuulira mu Maaso
1 Bwe tuba tubuulira mu bifo ebya lukale ne nnyumba ku nnyumba, tutera okufuba ennyo okusisinkanya amaaso gaffe n’ag’omuntu gwe twagala okwogera naye. Mu kaseera ako nga tutunuuliganye, endabika ye ey’oku maaso esobola okutulaga oba nga anakkiriza twogere naye awamu n’engeri gye yeewuliramu munda ye. Mu ngeri y’emu naye asobola okumanya bingi ebitukwatako. Omukyala omu yayogera bw’ati ku Mujulirwa eyamukyalira: “Akamwenyumwenyu ke yalina ku maaso kandaga nti yali mukkakkamu. Kino kyandeetera okwagala okumanya ebisingawo.” Ekyo kye kyaviirako omukyala oyo okuwuliriza amawulire amalungi.
2 Okutunuulira abantu abalala mu maaso kitusobozesa okwogera n’abantu nga tuwa obujulirwa ku nguudo oba ne mu bifo ebya lukale. Ow’oluganda omu atunuulira abantu abanaatera okutuuka w’ali. Nabo bwe bamutunuulira, assaako akamwenyumwenyu era n’abalaga magazini. Ng’akozesa enkola eyo, anyumya n’abantu bangi era agaba ebitabo bingi.
3 Manya Enneewulira y’Abalala: Okutunuulira abalala mu maaso kijja kutuyamba okumanya enneewulira yaabwe. Ng’ekyokulabirako, singa omuntu aba nga tategedde oba nga takkirizza kye twogedde, tujja kukirabira ku ndabika ye ey’oku maaso. Bw’aba ng’abadde alina by’akola oba ng’ebiseera bimuweddeko, nakyo tusobola okukitegeerera ku ndabika ye ey’oku maaso. Mu mbeera ng’ezo, tuyinza okukyusaamuko oba okufunza mu bye tubadde twogera. Okufuba okutegeera enneewulira y’abalala kiraga nti tubafaako.
4 Obwesimbu n’Okwekakasa: Mu nsi nnyingi, okutunuulira omuntu mu maaso kiraga nti oli mwesimbu. Weetegereze Yesu bwe yakola abayigirizwa be bwe baamubuuza nti: “Ani ayinza okulokolebwa?” Baibuli egamba: ‘Yesu n’abatunuulira mu maaso, n’abagamba nti Mu bantu ekyo tekiyinzika; naye Katonda ayinza byonna.’ (Mat. 19:25, 26) Awatali kubuusabuusa, engeri Yesu gye yali alabikamu ku maaso yabaleetera okukakasa by’ayogera. Mu ngeri y’emu, okutunuulira abantu mu maaso nga tubabuulira obubaka bw’Obwakabaka kijja kutuyamba okubalaga nti tuli beesimbu era nti twekakasa.—2 Kol. 2:17; 1 Bas. 1:5.