Kaweefube ow’okuyita abantu ku Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti “Okununulibwa Kuli Kumpi!”
Ababuulizi mu Buli Kibiina Bajja Kugaba Akapapula ak’Enjawulo Akayita Abantu
1 Okuva nga Maayi 2006 okutuusa ng’enkuŋŋaana zonna zimaze okugwa, wajja kubaawo kaweefube mu nsi yonna ow’okuyita abantu ku nkuŋŋaana za Disitulikiti ezinaabaawo mu nsi 155. Kaweefube ono ajja kuzingiramu n’enkuŋŋaana ez’enjawulo ezinaabaawo mu Jjulaayi ne wiiki esooka mu Agusito 2006 mu Bugirimaani, Czech Republic, ne Poland.
2 Olw’okuba tusemberedde enkomerero y’ennaku ez’oluvannyuma, enkuŋŋaana zino ezijja okwogera ku kisuubizo kya Katonda eky’okununula abantu okuva mu mulembe guno omubi, zijja kukwata nnyo ku bantu ab’emitima emirungi. Bye banaayiga bijja kubaleetera okulowooza ku binaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Okusobola okuyamba obukadde n’obukadde bw’abantu okufuna akakisa okuwulira obubaka obubudaabuda era obuwa essuubi, ebibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa ebisukka mu 98,000 bikubirizibwa okwenyigira mu kaweefube ow’okuyita abantu ku lukuŋŋaana olunene buli kibiina lwe kinagendamu.
3 Ebibiina bijja kuweebwa obupapula obumala, kisobozese buli mubuulizi okufuna obupapula nga 50. Obunaaba bufisseewo bapayoniya mu kibiina basobola okubukozesa. Buli kibiina kijja kutandika kaweefube ono wiiki ssatu ng’olukuŋŋaana lwe kinagendamu terunnatuuka. Kino kijja kusobozesa ekibiina okumalako ekitundu kyakyo kyonna kye kibuuliramu.
4 Kyandibadde kirungi gwe kennyini n’okwasa oyo gw’oba obuulira akapapula akamuyita ku lukuŋŋaana. Kyokka, awaka bwe wataba muntu, akapapula tusobola okukasonseka mu luggi mu ngeri ey’amagezi. Tusaanidde okufuba okugaba obupapula bwonna mu bbanga erya wiiki essatu.
5 Nga bwe kiragiddwa mu kitundu kino, tuli bakakafu nti obujulirwa obw’amaanyi bujja kuweebwa mu kaweefube ono anaakolebwa mu nsi yonna okuyita abantu ku Lukuŋŋaana lwa Disitulikiti olulina omutwe, “Okununulibwa Kuli Kumpi!” Tusaba Yakuwa awe buli omu omukisa ng’afuba okwenyigira mu kaweefube anaakolebwa mu nsi yonna.