Ganyulwa mu Nkuŋŋaana z’Okugenda mu Nnimiro
1. Enkuŋŋaana z’okugenda mu nnimiro zituyamba zitya?
1 Enkuŋŋaana z’okugenda mu nnimiro eziba zikubiriziddwa obulungi, zituzzaamu amaanyi era tufuna obulagirizi obwetaagisa. Zitusobozesa okubuulira n’abalala, buli omu n’asobola okuyigira ku munne n’okuzziŋŋanamu amaanyi. (Nge. 27:17; Mub. 4:9, 10) Kiki kye tuyinza okukola okusobola okuganyulwa mu nkuŋŋaana zino?
2. Bintu ki akubiriza by’ayinza okwogerako?
2 Akubiriza: Eby’okwogerako mu nkuŋŋaana zino biba tebiweereddwa. N’olwekyo, bw’oba onoozikubiriza, weetaaga okutegeka obulungi. Tekitegeeza nti olina kukubaganya birowoozo ku kyawandiikibwa ekya buli lunaku, wadde nga bwe kibaamu ebikwata ku buweereza bw’ennimiro oyinza okukikozesa. Lowooza ku ebyo ebijja okuyamba abo abagenda mu kubuulira ku lunaku olwo. Oyinza okukubaganya ebirowoozo ku nnyanjula emu oba okulaga ekyokulabirako. Eky’okwogerako oyinza okukigya mu katabo Reasoning, mu kitabo Ssomero ly’Omulimu, oba okuva mu lumu ku Lukuŋŋaana lw’Obuweereza. Oluusi, musobola okwogera ku ngeri y’okukwatamu embeera enzibu eyinza okubaawo mu kitundu kyammwe, oba okwogera ku ngeri y’okutandika okuyigiriza omuntu Baibuli, naddala bangi bwe baba nga balina be bagenda okuddira. Kyonna ky’oba osazeewo okwogerako, kyogere n’ebbugumu era mu ngeri ezzaamu amaanyi.
3. Olukuŋŋaana lulina kumala ddakiika meka, era biki ebirina okukolebwa mu ddakiika ezo?
3 Olukuŋŋaana lutandike ku ssaawa zennyini wadde ng’abamu tebannajja. Weegendereze engeri gy’ogabanyamu ababuulizi era abaagala ekitundu eky’okukolamu kibalage. Olukuŋŋaana lulina kumala eddakiika 10-15 oba n’obutawera bwe kiba nti wabaddewo olukuŋŋaana olwa kaggwa. Ng’olukuŋŋaana terunnaggwa, buli omu alina okuba ng’amanyi gw’anaakola naye ne gye banaakola. Lulina okufundikirwa n’okusaba.
4. Kiki ekinaatuyamba ffenna okuganyulwa mu bujjuvu mu nkuŋŋaana z’okugenda mu nnimiro?
4 Musobola Okuyamba: Nga bwe kiri ku nkuŋŋaana ez’ekibiina, tulaga nti tuwa Yakuwa ekitiibwa era nti tufaayo ku balala nga tutuukira mu budde. Mwenyigire mu kukubaganya ebirowoozo. Oyinza okuleka akubiriza n’akuwa gw’onookola naye, oba oyinza okumwefunira nga bukyali. Bw’osalawo okwefuniranga ow’okukola naye, fuba ‘okugaziya okwagala kwo’ ng’okola n’ababuulizi ab’enjawulo, so si na mikwano gyo egy’oku lusegere gyokka. (2 Kol. 6:11-13) Olukuŋŋaana bwe luggwa, mwewale okukyusakyusa mu ntegeka eziba zikoleddwa era mugenderewo gye munaabuulira.
5. Enkuŋŋaana z’okugenda mu nnimiro zirina kigendererwa ki?
5 Enkuŋŋaana z’okugenda mu nnimiro zirina ekigendererwa kye kimu n’eky’enkuŋŋaana z’ekibiina. Ziteekebwawo tusobole ‘okulowoozagananga ffekka na ffekka okukubirizanga okwagala n’ebikolwa ebirungi.’ (Beb. 10:24, 25) Singa tufuba okulaba nti tuganyulwa mu nkuŋŋaana zino, kijja kutuyamba okutuukiriza obuweereza bwaffe—‘omulimu omulungi’ ennyo ddala!