Tulina eby’Obugagga eby’Omuwendo Bye Tusobola Okugabirako Abalala
1 Ekigambo kya Katonda kirimu eby’obugagga eby’eby’omwoyo eby’omuwendo ennyo gye tuli. (Zab. 12:6; 119:11, 14) Lumu Yesu bwe yali ayigiriza ku Bwakabaka, yakozesa ebyokulabirako ebitali bimu, n’oluvannyuma n’abuuza abayigirizwa be nti: “Mubitegedde ebigambo bino byonna?” Bwe baamuddamu nti “Weewaawo,” yabagamba nti: “Buli muwandiisi eyayigirizibwa eby’obwakabaka obw’omu ggulu, kyava afaanana n’omuntu alina ennyumba ye, aggya mu tterekero lye ebintu ebiggya n’ebikadde.”—Mat. 13:1-52.
2 Ebyo bye twayiga nga twakatandika okusoma Baibuli bisobola okutwalibwa ng’eby’obugagga ebikadde. Bwe tweyongera okwekenneenya Ekigambo kya Katonda, tuyiga ebintu ebirala ebiringa eby’obugagga ebiggya. (1 Kol. 2:7) Ate era, okuyitira mu ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi,’ tufuna eby’obugagga ebirala ebipya.—Mat. 24:45.
3 Eby’obugagga bino, ebipya n’ebikadde, tubitwala nga bya muwendo nnyo. Kino kituleetera okwagala okutendekebwa n’okufuna obumanyirivu mu kuyigiriza abalala Ekigambo kya Katonda.
4 Yigira ku Kyokulabirako kya Yesu: Ng’alaga engeri gye yali atwalamu eby’obugagga bino, Yesu yafuba nnyo okubigabirako abalala. Ne bwe yali ng’akooye, tekyamulobera kuggya bya bugagga mu “tterekero” lye n’abigabirako abalala.—Yok. 4:6-14.
5 Okwagala Yesu kwe yalina eri abo abaali obubi mu by’omwoyo kwamuleetera okubuulira abalala amazima g’Ekigambo kya Katonda agawonya obulamu. (Zab. 72:13) Yasaasira abo abaalina enjala y’eby’omwoyo, era kino kyamuleetera ‘okubayigiriza ebintu bingi.’—Mak. 6:34.
6 Koppa Yesu: Okufaananako Yesu, bwe tutwala eby’obugagga bye tulina nga bya muwendo, kijja kutuleetera okwagala okubibuulirako abalala nga tukozesa Baibuli. (Nge. 2:1-5) Wadde ng’oluusi tuyinza okuba nga tukooye, tujja kubuulira n’ebbugumu amazima g’omu Byawandiikibwa. (Mak. 6:34) Okusiima kwe tulina eri eby’obugagga bino eby’omwoyo kujja kutukubiriza okufuba okukola ekisingawo mu buweereza.