Weeteeketeeke Bulungi ng’Ogenda Okuyigiriza
1. Lwaki tusaanidde okussa essira ku kuyamba omuyizi wa Baibuli okusiima ebyo by’ayiga?
1 Bwe tuba tuyigiriza omuyizi wa Baibuli, tulina okuba nga tweteeseteese bulungi okusobola okumwagazisa okuweereza Yakuwa. Okufuba kwaffe kujja kuvaamu ebibala singa tuyamba omuyizi okusiima ebyo by’ayiga okuva mu Baibuli. Kino kijja kumuleetera okubaako ky’akolawo. (Ma. 6:5; Nge. 4:23; 1 Kol. 9:26) Naye kino tuyinza kukikola tutya?
2. Okusaba kuyinza kutya okutuyamba nga tweteekateeka?
2 Saba Yakuwa nga Weeteekateeka: Okuva bwe kiri nti Yakuwa yakuza ensigo ez’amazima mu mutima gw’omuyizi, kiba kirungi okutandika okweteekateeka ng’osabira omuyizi oyo n’ebyetaago bye. (1 Kol. 3:6; Yak. 1:5) Okusaba ng’okwo era kuyinza okutuyamba okumanya engeri gye tuyinza okweyongera okuyambamu omuyizi wa Baibuli okujjuzibwa “okumanya okutuufu” okukwata ku ebyo Yakuwa by’ayagala.—Bak. 1:9, 10.
3. Tuyinza tutya okulowooza ku muyizi nga tweteekateeka okumuyigiriza?
3 Lowooza ku Muyizi: Yesu yali akimanyi nti okuyigiriza obulungi kizingiramu okulowooza ku bawuliriza. Emirundi ng’ebiri, Yesu yabuuzibwa ekibuuzo kye kimu: “Nkole ki okusobola okusikira obulamu obutaggwaawo?” Ku buli mulundi, yaddamu ekibuuzo ekyo mu ngeri ya njawulo. (Luk. 10:25-28; 18:18-20) Tusaanidde okulowooza ku muyizi nga tweteekateeka okumuyigiriza. Byawandiikibwa ki ku ebyo ebiweereddwa bye tunaamusomera? Tunaamuyigiriza byenkana wa? Nsonga ki z’ayinza okuzibuwalirwa okutegeera oba okukkiriza? Bwe tulowooza ku bibuuzo by’ayinza okubuuza, tujja kuba beeteefuteefu okubiddamu obulungi.
4. Kiki ekizingirwa mu kuteekateeka obulungi?
4 Ddamu Weekenneenye by’Ogenda Okuyigiriza: Ka kibe nti ekitundu ekyo tukisomye enfunda n’enfunda, guno gwe gujja okuba omulundi ogusooka okukisoma n’omuyizi. Bwe tuba ab’okumutuuka ku mutima, kiba kirungi ne tweteekateeka bulungi buli lwe tuba tugenda okumuyigiriza. Kino kiba kitegeeza nti tulina okukola ekyo kye tukubiriza abayizi baffe okukola. Ddamu weekenneenye ebyo by’ogenda okuyigiriza nga mw’otwalidde n’ebyawandiikibwa ebiweereddwa, nga bw’olowooza ku muyizi, era oboolyawo ng’osaza ne ku nsonga enkulu.—Bar. 2:21, 22.
5. Tuyinza tutya okukoppa Yakuwa?
5 Yakuwa ayagala nnyo okulaba nga buli muyizi wa Baibuli akulaakulana. (2 Peet. 3:9) Bwe tuwaayo ekiseera okweteekerateekera buli muyizi wa Baibuli, kiba kiraga nti tulina endowooza ng’eya Yakuwa.