Okweyongera Okubuulira Abantu Aboogera Olulimi Olugwira
1. Bantu ba ngeri ki be tusanga nga tubuulira mu kitundu kyaffe?
1 Yesu Kristo yalagula nti amawulire amalungi gandibuuliddwa mu nsi yonna “okuba obujulirwa eri amawanga gonna.” Abo bonna abeenyigira mu mulimu gw’okubuulira n’okuyigiriza bamanyi bulungi obukulu bw’ebigambo ebyo. (Mat. 24:14; 28:19, 20) Nga tukola omulimu gw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa, tuyinza okusanga abantu ab’amawanga ag’enjawulo abatayogera lulimi lwaffe. Abo nabo beetaaga okuwulira obubaka bw’Obwakabaka era n’okwegatta ku kibiina kya Yakuwa ng’olunaku lwe olw’entiisa terunnatuuka. (Mal. 3:18) Tuyinza tutya okweyongera okubuulira abantu aboogera olulimi olugwira abali mu kitundu kyaffe?
2. Tuyinza tutya okukoppa Yakuwa nga tubuulira abantu aboogera olulimi olulala?
2 Tunuulira Abo Aboogera Olulimi Olulala nga Yakuwa bw’Abatunuulira: Okusobola okwoleka okwagala kwa Yakuwa eri abo bonna abali mu kitundu kyaffe, tulina okuba nga twagala nnyo okuyamba abantu okufuna okumanya okutuufu okukwata ku Yakuwa Katonda ow’amazima, ka babe nga boogera lulimi ki. (Zab. 83:18; Bik. 10:34, 35) Wadde ng’essira tusinga kulissa ku abo aboogera olulimi olukozesebwa ekibiina kye tulimu, tulina okulowooza era n’okufaayo ku abo aboogera olulimi olulala era n’okunoonya engeri gye tuyinza okubatuusaako amawulire g’Obwakabaka bwa Katonda. Okubuusa amaaso abo aboogera olulimi olulala, tekituukagana na kigendererwa kya Yakuwa eky’okuwa obujulirwa abantu ab’amawanga gonna. Kati olwo tuyinza tutya okuyamba abantu abatayogera lulimi lwaffe?
3. Katabo ki ak’omuganyulo akatuweereddwa, era tuyinza kwetegeka tutya okusobola okukakozesa?
3 Kozesa Akatabo Good News for People of All Nations: Akatabo kano kaakubibwa okutuyamba okubuulira abantu aboogera olulimi olutali lwaffe. Beera n’akatabo kano buli kiseera, faayo okumanya ebikalimu, era beera mwetegefu okukakozesa. Okusobola okukakozesa obulungi, lamba awali ennimi ez’enjawulo ezoogerwa abantu b’omu kitundu kyammwe. Bwe kiba nti waliwo ebitabo ebiri mu nnimi ezo, kyandibadde ky’amagezi okufunayo ebitabo ebitonotono by’onoowa abantu ng’abo ng’omaze okubatuusaako obubaka obuli mu katabo.
4. Tuyinza tutya okukozesa akatabo Nations mu buweereza bwaffe?
4 Bw’osanga omuntu mu buweereza ayogera olulimu olulala era nga tokakasa lulimi ki lw’ayogera, tandika ng’omulaga ebiri ku ddiba ly’akatabo. Weesongeko oyogere ensi gy’ovaamu, era okirage nti wandyagadde okumanya ensi mwava n’olulimi lw’ayogera. Ng’omaze okutegeera olulimi lw’ayogera, genda ku lukalala olulaga ebirimu, laba olupapula okuli olulimi olwo, mulage ebigambo ebiri mu nnukuta enkwafu ebiri waggulu ku lupapula olwo, era kirage nti wandyagadde asome obubaka obwo. Ng’amaze okusoma, muwe tulakiti eri mu lulimi lwe oba mulage ebigambo ebisiigiddwako, ebiraga nti oli mwetegefu okumuleetera akatabo akali mu lulimi lwe. Oluvannyuma songa ku bigambo “erinnya lyange” ebiri mu nnukuta enkwafu, era omubuulire erinnya lyo. Songa ku kigambo “eriryo” ekiri mu nnukuta enkwafu, era omuleke alikubuulire. Kola enteekateeka okumuddira omulundi omulala.
5. Kiki ekisaanidde okukolebwa okusobola okuyamba abantu aboogera olulimi olulala abaagala okuyiga Baibuli?
5 Enteekateeka z’Okuddira Abantu: Tulina okufuba ennyo okuddayo eri omuntu yenna aba alaze nti ayagala obubaka bw’Obwakabaka, k’abe ng’ayogera lulimi ki. Bwe tukitegeera nti omuntu ayagala Katonda n’Ekigambo kye, Baibuli, tusaanidde okujjuzaamu foomu eyitibwa Please Follow Up (S-43) ne tugiwaayo mangu eri omuwandiisi w’ekibiina era naye n’agiweereza ku ofiisi y’ettabi kisobozese omuntu oyo okufuna amukyalira ayogera olulimi lwe. Ofiisi y’ettabi ejja kuweereza foomu eyo eri ekibiina ekikozesa olulimi olwo. Ng’ekibiina ekyo kimaze okufuna foomu eyo, omuntu oyo ajja kukyalirwa amangu ddala nga bwe kisoboka. Omuwandiisi w’ekibiina ayinza okuwa omulabirizi w’obuweereza kopi ya foomu eyo kimusobozese okumanya abantu aboogera olulimi olulala abali mu kitundu kyammwe abaagala okuyiga Baibuli. Foomu eno erina okujjuzibwamu ng’omuntu alagidde ddala nti ayagala okumanya amazima.
6. Kiki kye tusaanidde okukola bwe tusanga omuntu ayagala okumanya amazima ayogera lulimi lulala?
6 Okuva ku olwo lwe tuba tuweerezza foomu (S-43) ku ofiisi y’ettabi, wayinza okuyitawo ekiseera ng’omubuulizi ayogera olulimi lw’omuntu oyo tannamutuukirira. N’olwekyo, omubuulizi eyajjuzaamu foomu eyo ayinza okweyongera okuyamba omuntu oyo okutuusa ng’omubuulizi amanyi olulimi lwe amukyalidde. Bwe kiba kisoboka, ayinza n’okutandika okumuyigiriza Baibuli. Kyokka, omubuulizi ono ayinza atya okufuna ebitabo ebiri mu lulimi lw’omuntu oyo nga bw’alindirira omubuulizi amanyi olulimi lwe?
7. Nteekateeka ki eriwo ey’okufuna ebitabo ebiri mu lulimi olulala olwogerwa abo be tusanga mu buweereza bwaffe?
7 Ebitabo Ebiri mu Nnimi Endala: Ebibiina tebisaanidde kuba na bitabo bingi nnyo ebiri mu nnimi endala. Wadde kiri kityo, singa omulabirizi w’obuweereza akitegeera nti abantu aboogera olulimi olulala baagala okumanya amazima, ayinza okusalawo ekibiina kiragirizeeyo ebitabo ebitonotono ebiri mu lulimi olwo ababuulizi bye bayinza okukozesa. Wayinza okuyitawo ekiseera nga temunnafuna bitabo ebyo. N’olwekyo, muyinza okubifuna okuva ku mukutu gwa Internet, www.watchtower.org. Ku mukutu guno kuliko ebitabo bingi ebiri mu nnimi ez’enjawulo omubuulizi oba omuntu ayagala amazima by’ayinza okufuna mu bwangu. Awatali kubuusabuusa, enteekateeka eno ejja kuba ya muganyulo nnyo nga tufuba okuyamba abo aboogera olulimi olulala abaagala okumanya amazima.
8. Ekibiina kiyinza kitya okuyamba abantu abaagala amazima aboogera olulimi olulala?
8 Obuvunaanyizibwa bw’Ekibiina: Oluusi ekitundu ekirimu abantu abangi aboogera olulimi olugwira era abaagala okuyiga amazima, kiyinza obutaba kumpi n’ekibiina ekikozesa olulimi olwo. N’olwekyo, abantu abaagala amazima aboogera olulimi olulala musaanidde okubayita okujja mu nkuŋŋaana zammwe. Singa abantu bano tubaaniriza bulungi era ne tubalaga nti tubafaako, kiyinza okubakubiriza okujja mu nkuŋŋaana obutayosa. Mu kusooka, olulimi n’obuwangwa biyinza okuba ng’enkonge; kyokka, tewaliiwo kintu kyonna kiyinza kutulemesa kulaga kwagala okwa namaddala okuli mu Bajulirwa ba Yakuwa okwetooloola ensi yonna. (Zef. 3:9; Yok. 13:35) Oyogera bulungi olulimi olulala? Bwe kiba bwe kityo era nga wandyagadde okuyamba abantu aboogera olulimi olwo, osabibwa okutegeeza omuwandiisi w’ekibiina kyo era naye ajja kutegeeza ofiisi y’ettabi. Kino kijja kwanguyira ofiisi y’ettabi okufuna omubuulizi ayinza okuyamba abantu ng’abo abaagala amazima.
9. Ddi lwe kiyinza okwetaagisa ababuulizi okuyiga olulimi olulala, era kino kikolebwa kitya?
9 Okuyiga Olulimi Olulala: Bw’oba oyamba abo aboogera olulimi olulala, kiba kirungi okubakubiriza okutandika okugenda mu nkuŋŋaana ezikubirizibwa mu lulimi lwabwe bwe ziba nga teziri wala nnyo. Kyokka, ekyo bwe kiba nga tekisoboka, ababuulizi abamu bayinza okusalawo okuyiga olulimi olulala basobole okuyamba abantu aboogera olulimi olwo. Bwe kiba nti ekibiina ekikozesa olulimi olwo kiri wala nnyo, ofiisi y’ettabi eyinza okusalawo ababuulizi bayigirizibwe olulimi olulala basobole okuyamba abantu abangi aboogera olulimi olugwira abali mu kitundu ekyo. Bwe kiba bwe kityo, ofiisi y’ettabi eyinza okutegeeza ebibiina ebiri okumpi n’ekitundu ekyo ku bwetaavu obuliwo era n’ekirango ekikwata ku nteekateeka ey’okuyiga olulimi olulala kiyinza okuyisibwa. Abo ababa beewandiisizza okuyiga olulimi olulala basaanidde okuba n’ekiruubirirwa eky’okutandikawo ekibiina oba ekibinja ekinaayamba abo aboogera olulimi olugwira.
10. Ddi ekibinja ekyogera olulimi olugwira lwe kiyinza okutandikibwawo, era kino kisinziira ku ki?
10 Okutandikawo Ekibinja: Okusobola okutandikawo ekibinja ekikozesa olulimi lwonna olwogerwa mu kitundu, waliwo ebisaanyizo bina ebirina okusooka okutuukirizibwa. (1) Wateekwa okubaawo abantu abawerako aboogera olulimi olwo ng’abaagala okuyiga amazima. (2) Wasaanidde okubaawo ababuulizi abamanyi olulimi olwo oba abatandise okuluyiga. (3) Walina okubaawo omukadde oba omuweereza asobola okukubiriza waakiri olukuŋŋaana lumu buli wiiki mu lulimi olwo. (4) Akakiiko k’abakadde kasaanidde okuba akeetegefu okuyamba ekibinja ekyo. Ebisaanyizo bino bwe biba nga bituukirizibwa bulungi, akakiiko k’abakadde kajja kuwandiikira ofiisi y’ettabi ebikwata ku kibinja ekyo nga kasaba kakkirizibwe okutandikawo ekibinja ekyogera olulimi olugwira. (Laba akatabo Organized, lup. 106-107.) Omukadde alabirira ekibinja ekyo ayitibwa “omulabirizi w’ekibinja” ate bw’aba omuweereza, ayitibwa “omuweereza w’ekibinja.”
11. Lwaki nkizo ya maanyi okweyongera okubuulira abantu aboogera olulimi olugwira abali mu kitundu kyaffe?
11 Okweyongera okubuulira abantu aboogera olulimi olugwira abali mu kitundu kyaffe kintu kikulu nnyo mu mulimu ogw’okubuulira ogukolebwa mu nsi yonna, Yesu Kristo gwe yatandikawo. Ka tunyiikire okutuukiriza obuweereza bwaffe tulabe engeri Yakuwa gye yeeyongera okukankanya amawanga ng’aleeta abo abeegombebwa. (Kag. 2:7) Nga kirungi nnyo okukolera awamu mu nsonga eno! Tusaba Yakuwa awe omukisa okufuba kwaffe nga tweyongera okubuulira abo aboogera olulimi olugwira abali mu bitundu byaffe nga bulijjo tukijjukira nti ka kibe nti abantu boogera lulimi ki, Katonda asobola okukuza ensigo ez’amazima!—1 Kol. 3:6-9.