Kozesa Vidiyo ng’Oyigiriza
Yakuwa bwe yali abuulira Ibulayimu ne Yeremiya obubaka obukulu ennyo, teyakoma ku kwogera bwogezi nabo, wabula yakozesa n’ebintu ebirabwako. (Lub. 15:5; Yer. 18:1-6) Tusobola okuyamba abayizi baffe aba Bayibuli okutegeera n’okukolera ku ebyo bye bayiga nga tukozesa ebintu ebirabwako, gamba nga vidiyo zaffe. Ebituweereddwa wammanga bituyamba okumanya lwe tuyinza okulaga omuyizi vidiyo zaffe. Kijjukire nti buli muyizi aba wa njawulo, n’olwekyo oyinza okukyusakyusaamu nga bwe kiba kyetaagisizza.
Akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza
◻ Essuula 1: Nga mumaze okusoma akatundu 17, mulabe The Wonders of Creation Reveal God’s Glory
◻ Essuula 2: Nga mugimazeeko, mulabe The Bible—Mankind’s Oldest Modern Book
◻ Essuula 9: Nga mumaze okusoma akatundu 14, mulabe Jehovah’s Witnesses—Organized to Share the Good News
◻ Essuula 14: Nga mugimazeeko, mulabe The Bible—Its Power in Your Life
◻ Essuula 15: Nga mumaze okusoma akatundu 10, mulabe Our Whole Association of Brothers
Akatabo “Kwagala kwa Katonda”
◻ Essuula 3: Nga mumaze okusoma akatundu 15, mulabe Young People Ask—How Can I Make Real Friends?
◻ Essuula 4: Nga mugimazeeko, mulabe Respect Jehovah’s Authority
◻ Essuula 7: Nga mumaze okusoma akatundu 12, mulabe No Blood—Medicine Meets the Challenge
◻ Essuula 9: Nga mumaze okusoma akatundu 6, mulabe Warning Examples for Our Day
◻ Essuula 17: Nga mugimazeeko, mulabe ‘Walk by Faith, Not by Sight’
Waliwo vidiyo endala ezisobola okuganyula abayizi ba Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, abo abayigganyizibwa basobola okuzzibwamu amaanyi bwe balaba vidiyo erina omutwe, Faithful Under Trials—Jehovah’s Witnesses in the Soviet Union oba Jehovah’s Witnesses Stand Firm Against Nazi Assault. Abavubuka basobola okuganyulwa bwe balaba vidiyo, Pursue Goals That Honor God ne Young People Ask—What Will I Do With My Life? Lamba mu katabo ko Baibuli Ky’Eyigiriza ne “Kwagala kwa Katonda,” kikusobozese okujjukira lw’oyinza okulaga omuyizi vidiyo oba okugimwazika agirabe. Bwe tufuna vidiyo empya, lowooza ku ngeri gy’oyinza okuzikozesaamu okusobola okutuuka ku mutima gw’omuyizi wo owa Bayibuli.—Luk. 24:32.