Akasanduuko K’ebibuuzo
◼ Mwannyinaffe asaanidde okubikka ku mutwe gwe singa aba alina omuntu gw’ayigiririza Bayibuli ku mulyango ng’ali n’ow’oluganda?
Mwannyinaffe bw’aba agenda okuyigiriza omuyizi we ng’ali n’ow’oluganda, aba alina okubikka ku mutwe gwe. (1 Kol. 11:3-10) Watchtower eya Jjulaayi 15, 2002, ku lupapula 27, yagamba nti: ‘Mu mbeera ng’eyo, mwannyinaffe aba avudde eka ng’akimanyi nti alina omuntu gw’agenda okuyigiriza Bayibuli, era nti y’agenda okukubiriza. Bw’aba ayigiriza omuyizi we, aba ng’ayigiriza mu kibiina. N’olwekyo, bw’aba ng’ali n’ow’oluganda, aba alina okubikka ku mutwe gwe.’ Bwe kityo bwe kirina okuba ne bw’aba ng’ali n’omubuulizi omusajja atali mubatize. Mwannyinaffe aba alina okubikka ku mutwe gwe, ka kibe nti omuyizi bamuyigiririza mu nnyumba, ku mulyango, oba mu kifo ekirala.
Ku luuyi olulala, singa omuntu gwe baba bakubaganya naye ebirowoozo ku mulyango aba tannafuuka muyizi wa Bayibuli, mwannyinaffe kiba tekimwetaagisa kubikka ku mutwe gwe ne bwe kiba nti azzeeyo eri omuntu oyo okumulaga engeri gye tuyigirizaamu abantu Bayibuli oba okukubaganya naye ebirowoozo ng’akozesa ekimu ku bitabo bye tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli. Okuva bwe kiri nti abo be tukubaganya nabo ebirowoozo ku mulyango emirundi egisinga tusooka kubaddira enfunda eziwerako nga tebannafuuka bayizi ba Bayibuli, bannyinaffe basaanidde okupimaapimamu okulaba ddi lwe basaanidde okutandika okubikka ku mitwe gyabwe.