Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okutandika Emboozi Osobole Okubuulira Embagirawo
Lwaki Kikulu: Bwe tuba tubuulira nnyumba ku nnyumba, oluusi tetusanga bantu mu maka gaabwe. Kyokka tuyinza okubasanga nga tulinnye takisi, nga tugenze mu ddwaliro, nga tuli ku mirimu gyaffe, ku ssomero, oba mu bifo ebirala. Yakuwa ayagala abantu bonna bafune akakisa okuwulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka. (1 Tim. 2:3, 4) Naye okusobola okubabuulira, emirundi mingi ffe tuba tulina okutandika okwogera nabo.
Mu Mwezi Guno Gezaako Kino:
Buli wiiki gezaako okutandika okunyumya waakiri n’omuntu omu ng’olina ekigendererwa eky’okumubuulira amawulire amalungi.