Kozesa Omukutu jw.org ng’Obuulira—Beera Mukwano gwa Yakuwa
Ekitundu ekiyitibwa “Bible Teachings” ekiri ku mukutu gwaffe jw.org kirimu ekitundu ky’abaana ekiyitibwa “Become Jehovah’s Friend” (Beera Mukwano gwa Yakuwa), ekirimu ennyimba, buvidiyo, n’ebyo abaana bye bayinza okukola. Okozesa ekitundu kino ng’obuulira? Bw’oba olina omuntu gw’oyigiriza Bayibuli ng’alina abaana, kiba kirungi n’omulaga ekitundu ekyo. Ekyo kiyinza okumusikiriza okulaba ebintu ebirala ebiri ku mukutu gwaffe.
Ow’oluganda omu bwe yali agaba tulakiti Amawulire g’Obwakabaka Na. 38, yagiwa omukyala omu n’atandikirawo okugisoma. Omukyala oyo yalina abaana abato abaali baagala okumanya ebiri ku tulakiti eyo. Ow’oluganda yababuulira ebimu ku ebyo ebigirimu era n’abalaga omukutu gwaffe oguli emabega ku tulakiti eyo. Ate era ow’oluganda yakozesa essimu ye n’alaga omukyala oyo n’abaana be akamu ku buvidiyo obulimu Kalebu.
Mwannyinaffe omu yabuulirako omukyala gw’akola naye ebyo ebikwata ku baana ne ku maka ebiri ku mukutu gwaffe jw.org, era omukyala oyo n’abaana be ne balaba ebimu ku ebyo ebiri ku mukutu ogwo. Oluvannyuma yagamba mwannyinaffe nti abaana be banyumirwa nnyo okuyimba oluyimba olulina omutwe, “Preach the Word” (Buulira Ekigambo), olumu ku nnyimba eziri mu kitundu, “Become Jehovah’s Friend.”
Ffenna tukubirizibwa okumanya ebiri mu kitundu ekyo eky’abaana ekiri ku jw.org, n’okuwanulako obumu ku buvidiyo, ennyimba, oba eby’okukolako tubisse ku masimu gaffe. Bwe tunaakola bwe tutyo, kijja kutwanguyira okukozesa omukutu jw.org nga tuweereza Mukama waffe.—Bik. 20:19.