Mu Kiseera ky’Ekijjukizo, Onooba Munyiikivu nga Yakuwa ne Yesu?
1. Mu kiseera ky’Ekijjukizo, Abajulirwa ba Yakuwa bafuba kukola ki?
1 Yakuwa akola n’obunyiikivu okutuukiriza ekigendererwa kye. Nga lwogera ku gimu ku mikisa gy’Obwakabaka bwa Katonda, Isaaya 9:7 lugamba nti: “Obunyiikivu bwa Mukama ow’eggye bulituukiriza ekyo.” Mu ngeri y’emu, Omwana wa Katonda bwe yali wano ku nsi yanyiikirira okusinza okw’amazima. (Yok. 2: 13-17; 4:34) Mu kiseera ky’Ekijjukizo buli mwaka, ababuulizi bukadde na bukadde bafuba okuba abanyiikivu nga Yakuwa ne Yesu nga bongera ku biseera bye bamala nga babuulira. Naawe onookola bw’otyo?
2. Okuva nga Maaki 7, kiki kye tusaanidde okukola n’obunyiikivu?
2 Kaweefube ow’Okuyita Abantu ku Kijjukizo: Kaweefube ow’okuyita abantu ku Kijjukizo ky’omwaka guno ajja kutandika ku Lwomukaaga nga Maaki 7. Kola kati enteekateeka ezinaakusobozesa okubuulira n’obunyiikivu mu kiseera ekyo. Ababuulizi bajja kufuna essanyu lingi bwe banaayita abantu bangi nga bwe kisoboka abali mu kitundu kye babuuliramu. Fuba okuyita abayizi bo aba Bayibuli, abo b’oddiŋŋana, bakozi banno, ab’eŋŋanda zo, ne bayizi banno ng’okozesa akapapula akayita abantu ku kijjukizo oba omukutu jw.org.
3. Tuyinza tutya okuba abanyiikivu nga Yesu, mu Maaki ne Apuli?
3 Okuweereza nga Payoniya Omuwagizi: Bwe tunaaba abanyiikivu era tujja kusobola okwongera ku biseera bye tumala nga tubuulira. Ababuulizi bangi bajja kuweereza nga bapayoniya abawagizi mu Maaki ne Apuli, kubanga kijja kuba kisoboka okuwaayo essaawa 30. Mu kusinza kw’amaka oba nga weesomesa, lowooza ku ngeri gy’onooyongera ku biseera by’omala ng’obuulira. (Nge. 15:22) Bw’onooba omunyiikivu mu kaweefube ono, kijja kukubiriza abalala okuba abanyiikivu. Bw’oneeteekateeka obulungi n’oyongera ku biseera by’omala ng’obuulira, ojja kuba munyiikivu nga Yesu.—Mak. 6:31-34.
4. Birungi ki ebinaavaamu bwe tunaabeera abanyiikivu nga Yakuwa ne Yesu?
4 Mu kiseera ky’Ekijjukizo bwe tunaabeera abanyiikivu nga Yakuwa ne Yesu, kijja kuvaamu ebirungi bingi. Abantu bangi mu kitundu kye tubuuliramu bajja kuwulira amawulire amalungi. Tujja kufuna essanyu eriva mu kuweereza Yakuwa n’okugaba. (Bik. 20:35) N’ekisinga obukulu, tujja kusanyusa Katonda waffe n’Omwana we.