EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EZERA 6-10
Yakuwa Ayagala Tumuweereze nga Tetuwalirizibwa
Ezera yakola enteekateeka okuddayo e Yerusaalemi
- Kabaka Alutagizerugiizi yawa Ezera olukusa okuddayo e Yerusaalemi asobole okuzzaawo okusinza okw’amazima 
- Kabaka yawa Ezera “byonna bye yasaba”—zzaabu, ffeeza, eŋŋaano, omwenge, amafuta, n’omunnyo, nga byonna bibalirirwamu ddoola z’Amerika ezisukka mu bukadde ekikumi 
Ezera yali mukakafu nti Yakuwa yandikuumye abaweereza be7:13; 8:21-23
- Olugendo lw’e Yerusaalemi terwali lwangu 
- Olugendo lwali lwa mayiro nga 1,000 era ebitundu bye baayitamu byalimu ebizibu ebitali bimu ebyateeka obulamu bwabwe mu kabi 
- Olugendo lwamala emyezi ng’ena 
- Abo abaddayo baali beetaaga okuba n’okukkiriza okw’amaanyi, okwagala ennyo okusinza okw’amazima, era n’okuba abavumu 
EZERA YATWALA . . .
Zzaabu ne ffeeza ebizitowa ttalanta ezisukka mu 750 Obuzito obwo bwenkana obw’enjovu ssatu ennene obulungi!
EBIZIBU BYE BAAYITAMU NGA BADDAYO
Abazigu, okuyita mu ddungu, n’enjaba ez’obusagwa