EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | OLUYIMBA LWA SULEMAANI 1-8
Omuwala Omusunamu Yassaawo Ekyokulabirako Ekirungi
Kyakulabirako ki ekirungi kye yatuteerawo?
Yalindirira okutuusa lwe yandifunye omuntu gw’ayagalira ddala
Abalala bwe baamupikiriza okwagala omuntu yenna eyali amwegwanyiza, teyakkiriza
Yali mwetoowaze era yeekuuma
Omukwano gwe gwali tegusobola kugulwa
Weebuuze:
‘Ngeri ki ennungi omuwala Omusunamu gye yalina gye nnyinza okukoppa?’