EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | EZEEKYERI 1-5
Ezeekyeri Yali Musanyufu Okulangirira Obubaka bwa Yakuwa
Mu kwolesebwa, Yakuwa yawa Ezeekyeri omuzingo n’amugamba okugulya. Ekyo kyalina makulu ki?
Ezeekyeri yalina okutegeera obulungi obubaka Yakuwa bwe yali amuwadde. Okufumiitiriza ku bigambo ebyali mu muzingo ogwo kyandikutte nnyo ku Ezeekyeri ne kimuleetera okubirangirira n’obuvumu
Omuzingo ogwo gwawoomera Ezeekyeri kubanga yalina endowooza ennuŋŋamu ku buvunaanyizibwa obwali bumuweereddwa