OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Kulaakulanya Engeri Ennungi—Obuwombeefu
LWAKI KIKULU:
Bwe tuba abawombeefu tuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa.—Zb 138:6
Bwe tuba abawombeefu tuba n’enkolagana ennungi n’abalala.—Baf 2:3, 4
Kibi nnyo okuba n’amalala.—Nge 16:18; Ezk 28:17
ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:
Saba abalala bakuwe amagezi, era okolera ku magezi ge baba bakuwadde.—Zb 141:5; Nge 19:20
Ba mwetegefu okuweereza abalala.—Mat 20:25-27
Tokkiriza nkizo oba kitone ky’olina kukuleetera kufuna malala.—Bar 12:3
Nnyinza ntya okwoleka obuwombeefu mu ngeri esingako?
MULABE VIDIYO, WEEWALE EBIYINZA OKUKUVIIRAKO OBUTABA MWESIGWA—AMALALA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:
Engeri gye tweyisaamu nga tuwabuddwa eraga etya obanga tuli ba malala oba bawombeefu?
Okusaba kutuyamba kutya okuba abawombeefu?
Tuyinza tutya okulaga nti tuli bawombeefu?