EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | LUKKA 8-9
Okuba Omugoberezi wa Yesu Kyetaagisa Ki?
Omulimi eyalimisanga ente okusobola okulima ennyiriri entereevu, teyalinanga kutunula mabega. Mu ngeri y’emu, Omukristaayo tasaanidde kuwugulibwa bintu bye yaleka mu nsi.—Baf 3:13.
Obulamu bwe bukalubamu, kyangu nnyo okulowooza ku ‘mbeera ennungi’ gye twalimu, oboolyawo nga tetunnayiga mazima. Bwe tukola tutyo, tuyinza okulowooza ku birungi ebyereere ne twerabira ebizibu bye twalina. Ekyo kyennyini Abayisirayiri kye baakola nga bavudde e Misiri. (Kbl 11:5, 6) Ebirowoozo byaffe bwe tubimalira ku bintu bye twaleka, tuyinza okwesanga nga tuzzeeyo mu bulamu bwe twalimu nga tetunnayiga mazima. Kirungi okulowooza ku mikisa gye tufuna kati, ne ku birungi bye tujja okufuna nga tufugibwa Obwakabaka bwa Katonda!—2Ko 4:16-18.