EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YOKAANA 11-12
Beera Musaasizi nga Yesu
Lwaki engeri Yesu gye yayolekamu obusaasizi n’ekisa yeewuunyisa?
Wadde nga Yesu teyayita mu bizibu ebimu abalala bye baayitamu, yessa mu bigere byabwe
Teyaswala kwoleka nneewulira ye mu lujjudde
Yabaako ky’akolawo okuyamba abo abaali mu bwetaavu