EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA | YOKAANA 13-14
“Mbateereddewo Ekyokulabirako”
Yesu bwe yanaaza ebigere by’abatume be yali abayigiriza okuba abeetoowaze n’okukola emirimu egitwalibwa ng’egya wansi.
Nnyinza ntya okwoleka obwetoowaze . . .
nga nfunye obutategeeragana n’omuntu omulala?
nga mpabuddwa?
ng’Ekizimbe ky’Obwakabaka kyetaaga okulongoosebwa oba okuddaabirizibwa?