LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb18 Ddesemba lup. 5
  • Yimba n’Essanyu Ennyimba Ezitendereza Yakuwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yimba n’Essanyu Ennyimba Ezitendereza Yakuwa
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
  • Similar Material
  • Ennyimba z’Obwakabaka Zituzzaamu Amaanyi
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2017
  • Ennyimba Empya ez’Okukozesa mu Kusinza!
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
  • Ebinaakuyamba mu Kwesomesa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2023
  • Yimba n’Essanyu!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
mwb18 Ddesemba lup. 5
Beera Mukwano gwa Yakuwa Oluyimba 84: Okuweereza Awali Obwetaavu Obusingako

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Yimba n’Essanyu Ennyimba Ezitendereza Yakuwa

Pawulo ne Siira baayimba ennyimba ezitendereza Yakuwa nga bali mu kkomera. (Bik 16:25) Awatali kubuusabuusa, ekyo kyabazzaamu amaanyi ne kibayamba okugumiikiriza. Ate ffe leero? Ennyimba ze tukozesa mu nkuŋŋaana n’ennyimba endala ez’Obwakabaka zisobola okutuzzaamu amaanyi era ne zituyamba okusigala nga tuli beesigwa nga tugezesebwa. N’ekisinga obukulu, zitendereza Yakuwa. (Zb 28:7) Bulijjo tukubirizibwa okufuba okukwata ebigambo by’ennyimba ezo. Ekyo ogezezzaako okukikola? Tusobola okwegezaamu ennyimba ezo mu kusinza kw’amaka tusobole okuzikwata.

MULABE VIDIYO, ABAANA BATENDEREZA YAKUWA NGA BAYIMBA, OLUVANNYUMA MUDDEMU EBIBUUZO BINO:

  • Abawala babiri bayimbira mu situdiyo

    Tuganyulwa tutya bwe tuyimba ennyimba z’Obwakabaka?

  • Mwannyinaffe ateekateeka abaana we bagenda okuyimbira

    Abakola ku vidiyo n’eby’okuwuliriza, beeteekateeka batya nga bagenda okukwata oluyimba?

  • Ab’omu maka bayimba mu kusinza kw’amaka

    Abaana ne bazadde baabwe beeteekerateekera batya oluyimba olugenda okukwatibwa?

  • Abaana nga bayimba

    Nnyimba ki ez’Obwakabaka z’osinga okwagala, era lwaki?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share